Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Samwiri 23

Ebigambo ebya Dawudi eby’Enkomerero

23 (A)Bino bye bigambo ebya Dawudi, mutabani wa Yese, eby’enkomerero:

ebigambo eby’omusajja eyagulumizibwa,
    Ali Waggulu ennyo,
Katonda wa Yakobo gwe yafukako amafuta,
    omuyimbi wa Zabbuli za Isirayiri:

(B)“Omwoyo wa Mukama yayogerera mu nze,
    ekigambo kye kyali mu kamwa kange.
(C)Katonda wa Isirayiri yayogera,
    olwazi lwa Isirayiri yaŋŋamba nti,
‘Omuntu bw’afuga n’obutuukirivu,
    n’afugira mu kutya Katonda,
(D)ali ng’ekitangaala eky’oku makya,
    enjuba ng’evaayo ku ggulu nga tekuli bire,
obudde nga butangaala oluvannyuma lw’enkuba okukya
    ereetera omuddo okuvaayo mu ttaka.’
(E)Ennyumba yange tetuukiridde mu maaso ga Katonda?
    Teyalagaana nange endagaano ey’enkalakkalira,
    n’agiteekateeka era n’aginyweza mu buli nsonga?
Ekimulobera okumpa omukisa,
    n’okuddamu buli kye mmusaba, kiki?
(F)Naye abatatya Katonda baliba nga amaggwa agasuulibwa wa bbali,
    kizibu okugakwata n’engalo.
Buli agakwatako kimugwanira okukozesa ekyuma
    oba olunyago lw’effumu,
    era gookerwa awo omuliro we bagakuŋŋaanyirizza.”

Abasajja ba Dawudi ab’Amaanyi

Gano ge mannya ag’abasajja ba Dawudi abalwanyi ab’amaanyi be yalina: Yosebu-Basusebesi Omutakemoni eyali omukulu wa bazira abasatu ab’oku ntikko; yatta abasajja lunaana mu lulumbagana lumu.

(G)Eyamuddiriranga ye yali Eriyazaali mutabani wa Dodayi Omwakowa. Yali ne Dawudi bwe baasoomooza Abafirisuuti abaali bakuŋŋaanye okulwana. Abasajja ba Isirayiri baali bazze ennyuma, 10 naye ye nayimirira ku bubwe n’atta Abafirisuuti, n’omukono gwe ne gukoowa, ne gusanyalalira ku kitala. Mukama n’abawa obuwanguzi obw’amaanyi olunaku olwo, abaserikale ne baddayo eri Eriyazaali okunyaga ebintu byabo abattibwa.

11 Owookusatu ye yali Samma mutabani wa Agee Omukalali. Abafirisuuti bwe baakuŋŋaanira mu musiri ogw’ebijanjaalo, abasajja ba Isirayiri ne babadduka, 12 Samma yayimirira wakati mu musiri, n’agulwanirira, era n’atta Abafirisuuti. Mukama n’awa Abayisirayiri obuwanguzi obw’amaanyi.

13 (H)Mu kiseera eky’okukungula, basatu ku bakungu amakumi asatu ne bagenda eri Dawudi mu mpuku eya Adulamu, ekibinja ky’Abafirisuuti nga basiisidde mu kiwonvu Lefayimu. 14 (I)Mu kiseera ekyo Dawudi yali mu kigo, n’olusiisira lw’Abafirisuuti nga luli mu Besirekemu. 15 Dawudi n’alumwa ennyonta, n’ayogera nti, “Waliwo omuntu ayinza okunsenera amazzi okuva mu luzzi oluliraanye wankaaki wa Besirekemu?” 16 (J)Awo abasajja be abazira abasatu ne bawaguza mu nkambi ey’Abafirisuuti, ne basena amazzi okuva mu luzzi lwa Besirekemu olwali luliraanye wankaaki, ne bagatwalira Dawudi. 17 (K)Naye mu kifo eky’okuganywa n’agayiwayo eri Mukama. N’ayogera nti, “Kikafuuwe, Ayi Mukama Katonda, nze okukola ekyo. Nnyinza ntya okunywa omusaayi ogw’abasajja abawaddeyo obulamu bwabwe?” Bw’atyo n’ataganywa.

Ebyo bye bimu ku bintu abasajja abo abasatu abazira bye baakola.

18 (L)Waaliwo ne Abisaayi muganda wa Yowaabu, mutabani wa Zeruyiya, naye nga mukulu w’abasajja amakumi asatu. Yayimusiza effumu lye eri abasajja ebikumi bisatu n’abatta, ne yeekolera erinnya okwenkanankana abasatu. 19 N’aba wa kitiibwa nnyo mu bali amakumi asatu newaakubadde nga teyatuuka ku ssa ery’abali abasatu.

20 (M)Ne Benaya mutabani wa Yekoyaada ow’e Kabuzeeri yali musajja mulwanyi nnyo eyakola ebyobuzira ebikulu. Yatta babiri ku basajja abazira aba Mowaabu, ate n’aserengeta ne mu bunnya n’atta empologoma mu kiseera eky’obutiti. 21 N’atta Omumisiri omunene ennyo. Newaakubadde ng’Omumisiri yalina effumu mu mukono gwe, Benaya ye ng’alina muggo; yamunyagako effumu lye, n’alimuttisa. 22 Ebyo bye byobuzira Benaya mutabani wa Yekoyaada bye yakola, era naye n’ayatiikirira ng’abasajja bali abasatu abazira. 23 N’aweebwa ekitiibwa mu makumi asatu, newaakubadde nga teyatuuka ku ssa ery’abasatu. Dawudi n’amufuula omukulu w’abambowa.

24 (N)Mu makumi asatu mwe mwali:

Asakeri muganda wa Yowaabu,

Erukanani mutabani wa Dodo ow’e Besirekemu,

25 (O)Samma Omukalodi,

Erika Omukalodi,

26 (P)Kerezi Omupaluti,

Ira mutabani wa Ikkesi Omutekowa,

27 (Q)Abiyezeeri Omwanasosi,

Mebunnayi Omukusasi,

28 (R)Zalumoni Omwakowa,

Makalayi Omunetofa,

29 (S)Kerebu mutabani wa Baana Omunetofa,

Ittayi mutabani wa Libayi ow’e Gibea eky’e Benyamini,

30 (T)Benaya Omupirasoni,

Kiddayi ow’oku bugga obw’e Gaasi,

31 (U)Abi-Aluboni Omwalubasi,

ne Azumavesi Omubalukumi,

32 ne Eriyaba Omusaaluboni,

batabani ba Yaseni, Yonasaani,

33 ne Samma Omukalali,

Akiyamu mutabani wa Salali Omwalali,

34 (V)Erifereti mutabani wa Akasubayi Omumaakasi,

Eriyaamu mutabani wa Akisoferi Omugiro,

35 (W)Kezulo Omukalumeeri,

Paalayi Omwalubi,

36 (X)Igali mutabani wa Nasani ow’e Zoba,

Bani Omugaadi,

37 Zereki Omwamoni,

Nakalayi Omubeerosi, eyasitulanga ebyokulwanyisa bya Yowaabu mutabani wa Zeruyiya,

38 (Y)Ira Omuyisuli,

Galebu Omuyisuli,

39 (Z)ne Uliya Omukiiti.

Bonna awamu baali amakumi asatu mu musanvu.

Abaggalatiya 3

Kukkiriza Oba Kukuuma Mateeka

(A)Mmwe Abaggalatiya abatalina magezi ani eyabaloga, so nga nabannyonnyola bulungi Yesu Kristo eyakomererwa ku musaalaba ne mukitegeera? (B)Kino kyokka kye njagala muntegeeze; mwaweebwa Mwoyo lwa bikolwa eby’amateeka, nantiki lwa kuwulira kwa kukkiriza? Muyinza mutya obutaba na magezi kutuuka awo, abaatandikira mu Mwoyo, kaakano mutuukirizibwa mu mubiri? Okubonaabona kwonna kwe mwabonaabona kwali kwa bwereere? Bwe kuba nga ddala kwa bwereere. (C)Abawa Omwoyo n’abawa n’okukola eby’amaanyi mu mmwe, akola lwa bikolwa by’amateeka oba lwa kuwulira olw’okukkiriza? (D)Ibulayimu yakkiriza Katonda ne kimubalirwa okuba obutuukirivu.

(E)Kale mumanye nti abo abakkiriza be baana ba Ibulayimu. (F)Olw’okuba nga baategeera ebiribaawo n’ekyawandiikibwa, ng’olw’okukkiriza, Katonda aliwa amawanga obutuukirivu, Enjiri kyeyava ebuulirwa Ibulayimu edda nti, “Mu ggwe amawanga gonna mwe galiweerwa omukisa.” (G)Noolwekyo abo abakkiriza bagabanira wamu omukisa ne Ibulayimu eyakkiriza.

10 (H)Naye abo abafugibwa ebikolwa eby’amateeka, bafugibwa kikolimo; kubanga kyawandiikibwa nti, “Buli ataagobererenga byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo ky’amateeka, akolimiddwa.” 11 (I)Kimanyiddwa bulungi nti tewali n’omu Katonda gw’awa butuukirivu olw’okukuuma amateeka, kubanga abatuukirivu banaabeeranga balamu lwa kukkiriza, 12 (J)naye amateeka tegeesigama ku kukkiriza, naye anaagagobereranga anaabeeranga mulamu mu go. 13 (K)Kristo yatununula okuva mu kikolimo ky’amateeka, bwe yafuuka ekikolimo ku lwaffe, kubanga kyawandiikibwa nti, “Akolimiddwa buli awanikiddwa ku muti.” 14 (L)Kale kaakano amawanga gaweebwe omukisa gwa Ibulayimu, mu Kristo Yesu, tulyoke tuweebwe ekyasuubizibwa eky’Omwoyo olw’okukkiriza.

Etteeka n’Ekisuubizo

15 Abooluganda njogera mu buntu; endagaano bw’eba ng’ekakasibbwa, tewabaawo agiggyawo newaakubadde agyongerako. 16 (M)Katonda yasuubiza Ibulayimu n’Omwana we, naye tekigamba nti n’abaana be ng’abangi, naye yayogera ku omu, oyo ye Kristo. 17 (N)Kye ŋŋamba kye kino: endagaano eyakakasibwa Katonda nga wayiseewo emyaka ebikumi bina mu asatu n’efuuka etteeka, teyadibya ekyo ekyasuubizibwa. 18 (O)Kuba oba ng’obusika bwesigamye ku mateeka, buba tebukyali bwa kisuubizo; naye yabuwa Ibulayimu olw’okusuubiza.

19 (P)Kale lwaki amateeka gaateekebwawo? Gaagattibwa ku kisuubizo olw’aboonoonyi okutuusa ezzadde eryasuubizibwa lwe lirikomawo, nga lyawulibbwa mu bamalayika olw’omukono gw’omutabaganya. 20 (Q)Naye omutabaganya si w’omu, naye Katonda ali omu.

21 (R)Amateeka galwanagana n’ebyo Katonda bye yasuubiza? Kikafuuwe. Kubanga singa amateeka gaali galeeta obulamu, ddala ddala amateeka gandituwadde obutuukirivu. 22 (S)Naye ebyawandiikibwa bitegeeza nti ebintu byonna bifugibwa kibi, ekyasuubizibwa kiryoke kiweebwe abakkiriza olw’okukkiriza mu Yesu Kristo.

23 (T)Naye okukkiriza nga tekunnajja, twafugibwanga mateeka, nga tusibibwa olw’okukkiriza okugenda okubikkulwa; 24 (U)ge gaali gatukuuma, amateeka galyoke gatutuuse eri Kristo, tulyoke tuweebwe obutuukirivu olw’okumukkiriza. 25 Naye okukkiriza bwe kwajja, ng’olwo tetukyetaaga mateeka kutukuuma.

Baana ba Katonda

26 (V)Kubanga kaakano mwenna muli baana ba Katonda olw’okukkiriza Yesu Kristo, 27 (W)kubanga abaabatizibwa bonna mu Kristo, baayambala Kristo. 28 (X)Tewakyali kusosola wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, wakati wa muddu na wa ddembe, wakati wa musajja na mukazi, kubanga mwenna muli omu mu Kristo Yesu. 29 Kale kaakano nga bwe muli aba Kristo, muli zadde lya Ibulayimu, ng’ekisuubizo ky’abasika bwe kiri.

Ezeekyeri 30

Okukungubagira Misiri

30 Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, (A)“Omwana w’omuntu, wa obunnabbi oyogere nti: ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Mwekaabireko mwogere nti,
    “Zibasanze ku lunaku olwo”
(B)kubanga olunaku luli kumpi,
    olunaku lwa Mukama luli kumpi,
olunaku olw’ebire
    eri bannaggwanga.
(C)Ekitala kirirumba Misiri,
    n’ennaku eribeera mu Buwesiyopya.
Bwe balifiira mu Misiri,
    obugagga bwe bulitwalibwa
    n’emisingi gyayo girimenyebwa.’

(D)Obuwesiyopya, ne Puuti[a], ne Luudi ne Buwalabu yonna, ne Kubu n’abantu bonna ab’ensi ey’endagaano balittibwa ekitala awamu ne Misiri.

(E)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“ ‘Abawagira Misiri baligwa,
    n’amaanyi ge yeewaana nago galimuggwa.
Okuva ku mulongooti ogw’e Sevene
    baligwa n’ekitala,
    bw’ayogera Mukama Katonda.
(F)Balirekebwawo
    wakati mu nsi endala ezalekebwawo,
n’ebibuga byabwe
    biribeera ebimu ku ebyo ebyasaanawo.
Olwo balimanya nga nze Mukama
    bwe ndikuma ku Misiri omuliro,
    n’ababeezi baayo bonna balibetentebwa.

(G)“ ‘Ku lunaku olwo ndiweereza ababaka mu byombo okutiisatiisa Obuwesiyopya buve mu bugayaavu bwabwo. Entiisa eribakwata ku lunaku Misiri lwe linakuwala, kubanga entiisa erina okujja.

10 (H)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Ndimalawo ebibinja by’Abamisiri
    nga nkozesa omukono gwa Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni.
11 (I)Ye n’eggye lye, ensi esinga okuba enkambwe mu mawanga,
    balireetebwa okuzikiriza ensi.
Baligyayo ebitala byabwe
    ne bajjuza ensi ey’e Misiri emirambo.
12 (J)Ndikaza emigga gya Kiyira,
    ne ntunda ensi eri abantu ababi;
nga nkozesa bannaggwanga,
    ndizikiriza ensi na buli kintu ekigirimu.

Nze Mukama nkyogedde.

13 (K)“ ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

“ ‘Ndizikiriza bakatonda baabwe
    ne nzikiriza bakatonda abakole n’emikono mu Noofu.
Temulibaamu mulangira mu nsi ey’e Misiri nate,
    era ensi yonna ndigireetako entiisa.
14 (L)Ndifuula Pasulo okuba amatongo,
    ne Zowani ndikikumako omuliro
    ne mbonereza n’ab’omu No.
15 Ndifuka ekiruyi kyange ku Sini,
    ekigo kya Misiri eky’amaanyi,
    era ndimalawo n’ebibinja bya No.
16 Ndikuma omuliro ku Misiri,
    ne Sini baliba mu bubalagaze bungi,
ne No balitwalibwa omuyaga,
    ne Noofu baliba mu kubonaabona okw’olubeerera.
17 (M)Abavubuka ab’e Oni n’ab’e Pibesesi
    baligwa n’ekitala,
    n’ebibuga biriwambibwa.
18 (N)Enzikiza eriba ku Tapaneese emisana,
    bwe ndimenya ekikoligo kya Misiri,
    era n’amaanyi ge yeewaana nago galimuggwaamu.
Alibikkibwa n’ebire
    era n’ebyalo bye biriwambibwa.
19 Bwe ntyo bwe ndibonereza Misiri,
    bategeere nga nze Mukama.’ ”

20 (O)Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ogumu, mu mwezi ogw’olubereberye ku lunaku olw’omusanvu, ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 21 (P)“Omwana w’omuntu, mmenye omukono gwa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, era laba tegusibiddwa okusiigako eddagala, n’okugussaako ekiwero okugusiba, guleme okufuna amaanyi okukwata ekitala. 22 (Q)Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nnina ensonga ne Falaawo, ye kabaka w’e Misiri, era ndimenya emikono gye, omulamu ogw’amaanyi n’ogwo ogwamenyekako, ne nsuula ekitala okuva mu mukono gwe. 23 (R)Ndisaasaanya Abamisiri mu mawanga ne mu nsi ennyingi. 24 (S)Ndinyweza emikono gya kabaka w’e Babulooni ne nteeka ekitala mu mukono gwe, naye ndimenya emikono gya Falaawo, era alisindira mu maaso ga kabaka w’e Babulooni, ng’omuntu afumitiddwa anaatera okufa. 25 Ndinyweza emikono gya kabaka w’e Babulooni, naye emikono gya Falaawo giriremala, balyoke bamanye nga nze Mukama. Nditeeka ekitala mu mikono gya kabaka w’e Babulooni, n’akigololera ku nsi y’e Misiri. 26 (T)Ndibunya Abamisiri mu mawanga ne mbasaasaanya ne mu nsi yonna, era balimanya nga nze Mukama.”

Zabbuli 78:38-72

38 (A)Naye ye n’abakwatirwanga ekisa
    n’abasonyiwanga,
    n’atabazikiriza;
emirundi n’emirundi ng’akoma ku busungu bwe,
    n’atabamalirako kiruyi kye okubazikiririza ddala.
39 (B)Yajjukira nga baali mubiri bubiri;
    ng’empewo egenda n’etedda!

40 (C)Baamujeemeranga nnyo bwe baali mu ddungu;
    ne banakuwaza nnyo omutima gwe.
41 (D)Ne baddamu ne bakema Katonda,
    ne banyiiza Omutukuvu wa Isirayiri.
42 Tebajjukira buyinza bwe;
    wadde olunaku lwe yabanunulirako mu mikono gy’omulabe;
43 bwe yalaga obubonero bwe mu Misiri,
    n’ebyamagero bye mu kitundu kya Zowani,
44 (E)yafuula amazzi g’emigga gyabwe omusaayi,
    ne batanywa mazzi gaagyo.
45 (F)Yabaweereza agabinja g’ensowera ne zibaluma,
    n’abaweereza n’ebikere ne bibadaaza.
46 (G)Ebirime n’ebibala byabwe yabiwa enzige
    ne bulusejjera.
47 (H)Yazikiriza emizabbibu gyabwe n’omuzira,
    era ne gukuba n’emisukomooli gyabwe.
48 (I)Yatta ente zaabwe n’amayinja g’omuzira;
    n’ebisibo byabwe ne bittibwa eraddu.
49 (J)Obusungu bwe obungi bwababuubuukirako,
    n’ekiruyi kye n’obukambwe ne bibamalamu ensa.
    N’alyoka abasindikira ekibinja kya bamalayika okubazikiriza.
50 Yabalaga obusungu bwe,
    n’atabasonyiwa kufa,
    n’abasindikira kawumpuli.
51 (K)Yatta ababereberye bonna ab’omu Misiri,
    nga be bavubuka ab’ebibala ebibereberye eby’omu nnyumba ya Kaamu.
52 (L)N’alyoka afulumya abantu be ng’endiga,
    n’abatambuza mu ddungu ng’ekisibo.
53 (M)N’abaluŋŋamya mu mirembe nga tebatya,
    ennyanja n’esaanyaawo abalabe baabwe.
54 (N)N’abatuusa ku nsalo y’ensi entukuvu;
    ku lusozi lwe yeewangulira, n’omukono gwe ogwa ddyo.
55 (O)Yagobamu amawanga nga balaba,
    n’abagabanyiza ebitundu by’ensi eyo;
    n’atuuza bulungi ebika bya Isirayiri mu maka gaabyo.
56 Naye era ne bakema Katonda;
    ne bamujeemera oyo Ali Waggulu Ennyo,
    ne bagaana okugondera ebiragiro bye.
57 (P)Ne bamuvaako ne baba bakuusa nga bajjajjaabwe bwe baali,
    ne baggwaamu obwesigwa ng’omutego gw’obusaale omukyamu.
58 (Q)Kubanga baasunguwaza Katonda olw’ebifo ebigulumivu bo bye beegunjira okusinzizangamu,
    ne bamukwasa obuggya olwa bakatonda baabwe abalala.
59 (R)Katonda bwe yabiraba n’asunguwala nnyo, n’aviira ddala ku Isirayiri.
60 (S)N’ava mu weema ey’omu Siiro[a],
    eweema mwe yabeeranga ng’ali mu bantu be.
61 (T)N’awaayo amaanyi ge mu busibe,
    n’ekitiibwa kye n’akiwaayo eri omulabe.
62 Abantu be yabaleka ne battibwa n’ekitala,
    n’asunguwalira omugabo gwe.
63 (U)Omuliro ne gusaanyaawo abavubuka baabwe abalenzi,
    ne bawala baabwe ne babulwa ow’okubawasa.
64 (V)Bakabona baabwe battibwa n’ekitala, ne bannamwandu baabwe tebaasobola kubakungubagira.

65 (W)Awo Mukama n’alyoka agolokoka ng’ali nga ava mu tulo,
    ng’omusajja omuzira azuukuka mu tulo ng’atamidde.
66 (X)N’akuba abalabe be ne badduka;
    n’abaswaza emirembe gyonna.
67 Mukama yaleka ennyumba ya Yusufu,
    n’ekika kya Efulayimu n’atakironda;
68 (Y)naye n’alonda ekika kya Yuda,
    lwe lusozi Sayuuni lwe yayagala.
69 N’azimba awatukuvu we ne wagulumira ng’ensozi empanvu;
    ne waba ng’ensi gye yanyweza emirembe gyonna.
70 (Z)Yalonda Dawudi omuweereza we;
    n’amuggya mu kulunda endiga.
71 (AA)Ave mu kuliisa endiga,
    naye alundenga Yakobo, be bantu be,
    era alabirirenga Isirayiri omugabo gwe, gwe yeerondera.
72 (AB)N’abalabirira n’omutima ogutaliimu bukuusa,
    n’abakulembera n’amagezi g’emikono gye.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.