M’Cheyne Bible Reading Plan
Okufa kwa Abusaalomu
18 Awo Dawudi n’akuŋŋaanya abasajja be yalina, n’abalondamu abaduumizi b’enkumi n’abaduumizi b’ebikumi. 2 (A)Dawudi n’abalagira bagende, ekimu kya kusatu nga kiduumirwa Yowaabu, ekimu kya kusatu ekirala nga kiduumirwa muganda wa Yowaabu, Abisaayi batabani wa Zeruyiya, n’ekimu kya kusatu ekirala nga kiduumirwa Ittayi Omugitti. Kabaka n’agamba abasajja nti, “Nange n’agenda nammwe.”
3 (B)Naye abasajja ne boogera nti, “Toteekwa kugenda naffe, kubanga ffe bwe tunadduka tebaatufeeko. Ekitundu ku ffe ne bwe tunaafa tebaafeeyo. Ggwe olimu abantu omutwalo gumu ku ffe ffenna. Ekisinga obulungi weeteeketeeke okutudduukirira ng’osinziira mu kibuga.” 4 Kabaka n’addamu nti, “Kye musiimye kye nnaakola.” Awo kabaka n’ayimirira ku mabbali ga wankaaki, ng’eggye lyonna likumba okufuluma mu bibinja eby’ekikumi n’eby’olukumi. 5 Kabaka n’alagira Yowaabu, ne Abisaayi ne Ittayi ng’ayogera nti, “Omuvubuka Abusaalomu mumukwate n’ekisa ku lwange.”
Abantu bonna ne bawulira kabaka ng’awa abaduumizi bonna ebiragiro ebikwata ku Abusaalomu. 6 (C)Awo eggye ne lifuluma ku ttale okulwana ne Isirayiri, olutalo ne luba mu kibira kya Efulayimu. 7 Abasajja ba Isirayiri ne bakubibwa abasajja ba Dawudi, era bangi ne battibwa ku lunaku olwo. Baawera ng’emitwalo ebiri. 8 Olutalo ne lubuna ensi yonna, abantu bangi ne bafiira mu kibira okusinga n’abattibwa n’ekitala.
9 (D)Awo Abusaalomu n’asisinkana n’abasajja ba Dawudi. Yali yeebagadde ennyumbu ye. Ennyumbu n’eyita wansi w’amatabi amangi ag’omwera omunene, omutwe gwa Abusaalomu ne gulaaliramu, n’asigala ng’alengejja mu bbanga, ennyumbu gye yali yeebagadde n’egenda mu maaso. 10 Omu ku basajja bwe yakiraba n’ategeeza Yowaabu nti, “Laba nnalengedde Abusaalomu ng’awanikiddwa ku mwera.” 11 (E)Yowaabu n’agamba omusajja eyajja okumubuulira nti, “Kiki, wamulabye? Kiki ekyakulobedde okumuttirawo? N’andikusasudde gulaamu kikumi mu kkumi na ttaano eza ffeeza ne nkuwa n’olukoba olw’obuzira.”
12 Naye omusajja n’amuddamu nti, “Ne bwe wandinsasudde kilo kkumi n’emu eza ffeeza, sandigololedde mukono gwange ku mwana wa kabaka. Ffenna twawulidde kabaka ng’abalagira ggwe, Abisaayi ne Ittayi nti, ‘Waleme okubaawo omuntu yenna anaakola Abusaalomu akabi ku lwange.’ 13 (F)Kale singa mmusse ne ngwa mu mitawaana, tewandimpolerezza, kubanga omanyi nga tewali kigambo ekikwekebwa kabaka.”
14 (G)Yowaabu n’ayogera nti, “Sirina bbanga lya kukwonoonerako.” N’addira obusaale busatu n’abulasa mu kifuba kya Abusaalomu ng’akyali mulamu mu mwera. 15 (H)N’abavubuka kkumi abaasitulanga ebyokulwanyisa bya Yowaabu ne beetooloola Abusaalomu ne bamukuba ne bamutta.
16 (I)Awo Yowaabu n’afuuwa ekkondeere, eggye ne lireka okugoberera Isirayiri kubanga Yowaabu yabayimiriza. 17 (J)Ne batwala Abusaalomu, ne bamusuula mu lunnya oluwanvu mu kibira, ne bamutuumako amayinja. Isirayiri yenna ne badduka nga buli muntu adda ewuwe.
18 (K)Mu bulamu bwe, Abusaalomu yaddira empagi n’agiteeka mu kiwonvu kya kabaka ng’ekijjukizo kye; n’ayogera nti, “Sirina mwana wabulenzi kwe balijjuukirira erinnya lyange.” Empagi n’agituuma erinnya lye, era eyitibwa kijjukizo kya Abusaalomu ne leero.
Dawudi Akungubagira Abusaalomu
19 (L)Akimaazi mutabani wa Zadooki n’ayogera nti, “Ka nziruke, ntwalire kabaka amawulire nga Mukama bw’amulokodde mu mukono gw’omulabe we.” 20 Naye Yowaabu n’amugamba nti, “Si ggwe onootwala amawulire leero. Oligatwala olunaku olulala olutali lwa leero, kubanga mutabani wa kabaka afudde.”
21 Awo Yowaabu n’agamba omusajja Omukusi nti, “Genda otegeeze kabaka by’olabye.” Omukusi n’avuunama mu maaso ga Yowaabu n’adduka. 22 Akimaazi mutabani wa Zadooki n’agamba Yowaabu nate nti, “Nkwegayiridde, nzikiriza mmale gagoberera Omukusi.” Yowaabu n’amuddamu nti, “Mutabani wange, kiki ekinaaba kikutwala ate nga tolina mawulire g’onootwala aganakuweesa ekirabo?” 23 N’ayogera nti, “Ka mmale gagenda.”
Awo Yowaabu n’amugamba nti, “Dduka.” Akimaazi n’addukira mu kkubo ery’olusenyi lwa Yoludaani n’ayisa Omukusi.
24 (M)Awo Dawudi yali atudde wakati w’emiryango ebiri ogw’omunda n’ogw’ebweru, omukuumi n’alinnya waggulu ku wankaaki ku bbugwe. Bwe yayimusa amaaso ge n’alengera omusajja ng’ajja adduka yekka. 25 Omukuumi n’ayogerera waggulu n’ategeeza kabaka. Awo kabaka n’amugamba nti, “Bw’aba ng’ali yekka ateekwa okuba ng’aleeta mawulire malungi.” Omusajja n’asembera.
26 (N)Omukuumi n’alengera omusajja omulala ng’ajja adduka, n’akoowoola omuggazi nti, “Laba omusajja omulala ajja adduka yekka.” Kabaka n’ayogera nti, “Naye ateekwa okuba ng’aleeta mawulire malungi.”
27 (O)Awo omukuumi n’ayogera nti, “Kindabikira nga enziruka ey’oli akulembedde eri ng’eya Akimaazi mutabani wa Zadooki.” Kabaka n’ayogera nti, “Oyo musajja mulungi era ajja n’amawulire malungi.”
28 Awo Akimaazi n’ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba kabaka nti, “Byonna birungi.” N’avuunama mu maaso ga kabaka, ne yeeyala wansi n’ayogera nti, “Yeebazibwe Mukama Katonda wo, azikirizza abasajja abayimusizza omukono ku mukama wange kabaka.”
29 Awo kabaka n’abuuza nti, “Omuvubuka Abusaalomu ali bulungi?” Akimaazi n’addamu nti, “Yowaabu bwe yabadde ng’anaatera okutuma omuddu wa kabaka, nange omuddu wo, nalabye oluyoogaano olunene, naye saategedde kyabadde wo.”
30 Kabaka n’amugamba nti, “Ggwe dda wabbali.” N’adda wabbali n’ayimirira awo.
31 Awo Omukusi n’atuuka, n’ayogera nti, “Wulira amawulire amalungi mukama wange kabaka. Mukama akulokodde leero mu mukono gw’abo bonna abakuyimukiramu.”
32 (P)Kabaka n’abuuza Omukusi nti, “Omuvubuka Abusaalomu mulamu?” Omukusi n’addamu nti, “Ekituuse ku muvubuka oyo, kituuke ku balabe ba mukama wange kabaka, n’abo bonna abamuyimukiramu okumukola akabi.”
33 (Q)Kabaka n’afuna ensisi, n’ayambuka mu kisenge ekyali waggulu wa wankaaki, n’akaaba. N’agenda nga bw’ayogera nti, “Mutabani wange Abusaalomu, mutabani wange, mutabani wange Abusaalomu. Singa nze nfudde mu kifo kyo, Abusaalomu, mutabani wange!”
Pawulo n’abatume ab’obulimba
11 (A)Mbasaba mungumiikirizeeko mu busirusiru bwange obutono, weewaawo mungumiikirize. 2 (B)Mbakwatirwa obuggya, obuggya bwa Katonda, kubanga naboogereza omusajja omu, nga muli mbeerera zennyini, ne mbawaayo eri Kristo; 3 (C)kyokka neeraliikirira nnyo nga ntya nti si kulwa nga mulimbibwa nga Kaawa bwe yalimbibwa omusota ne muwaba mu birowoozo byammwe okuva mu bwetoowaze n’obutukuvu obuli mu Kristo. 4 (D)Bwe wabaawo omuntu ajja n’ababuulira Yesu omulala gwe tutabuulira, oba ne mufuna omwoyo omulala, gwe mutafunanga, oba ne mubuulirwa Enjiri endala gye mutabuulirwanga, mubigumiikiriza. 5 Kubanga ndowooza ng’abatume abakulu ennyo tebalina kye bansinza. 6 (E)Kubanga newaakubadde nga siri mumanyirivu mu kwogera, naye si mu kutegeera, wabula mu ngeri yonna twaboolesa ebintu byonna.
7 (F)Oba nasobya bwe netoowaza mulyoke mugulumizibwe, bwe nabuulira Enjiri ya Katonda ey’obwereere? 8 (G)Nanyaga ekkanisa endala, kubanga zampeerezanga ensimbi ne nzikozesa nga ndi nammwe ndyoke mbaweereze, 9 (H)era bwe nnali nammwe ne mbaako bye neetaaga, ssaazitoowerera muntu yenna kubanga abooluganda abaava e Makedoniya bampanga byonna bye nnali neetaaga, ne neekuuma nnyo obutabazitoowerera mu buli kintu, era nzija kwongera okwekuuma bwe ntyo. 10 (I)Ng’amazirna ga Kristo bwe gali mu nze, okwenyumiriza kuno tekujja kuziyizibwa mu nze mu bitundu bya Akaya. 11 (J)Lwaki? Olw’okubanga sibaagala? Katonda amanyi nga mbaagala. 12 Naye nzija kweyongera okukola nga bwe nkola ndyoke nziggyewo omukisa eri abo abaagala okukozesa omukisa ogwo abaagala okulabika nga ffe mu kwenyumiriza kwabwe. 13 (K)Abantu ng’abo batume baabulimba, era bakozi baabukuusa, nga beefuula abatume ba Kristo. 14 Naye ekyo tekyewuunyisa, kubanga Setaani yeefuula nga malayika ow’omusana. 15 (L)Noolwekyo abamuweereza bwe beefuula ng’abaweereza b’obutuukirivu tekitwewuunyisa. Ku nkomerero bagenda kubonerezebwa ng’ebikolwa byabwe biri.
Okubonaabona kwa Pawulo
16 (M)Nziramu okubagamba nti omuntu yenna aleme kundowooza kuba musirusiru; kyokka ne bwe mundowooza okuba omusirusiru, munsembeze, nange neenyumirizeeko katono. 17 (N)Kaakano bye njogera Mukama si yandagidde okubyogera, wabula neeyisa ng’omusirusiru mu buvumu buno obw’okwenyumiriza. 18 (O)Naye obanga bano beenyumiriza mu by’omubiri nange ka nneenyumirize. 19 (P)Mmwe muli bagezi, kyemuva mugumiikiriza abasirusiru. 20 Omuntu yenna bw’abafuula abaddu, oba n’abanyaga, oba n’abalyazaamanya, oba ne yeegulumiza, oba n’abakuba empi, mukigumiikiriza. 21 (Q)Ekyo kinswaza okukyogera kubanga tubadde banafu mu ekyo. Naye omuntu yenna kye yeewaayo okukola, nga njogera mu busirusiru, nange neewaayo okukikola. 22 (R)Bo Baebbulaniya? Nange bwe ndi. Bagamba nti Bayisirayiri? Nange bwe ntyo. Bazzukulu ba Ibulayimu? Nange bwe ndi. 23 (S)Bagamba nti baweereza ba Kristo? Nga njogera ng’agudde eddalu, nze mbasinga; Mbasinga okukola ennyo, era nsibiddwa mu kkomera emirundi mingi okubasinga, n’emirundi gye nkubiddwa mingi okusingawo, era emirundi mingi ne mba kumpi n’okufa. 24 Abayudaaya bankuba embooko amakumi asatu mu mwenda ku mirundi egy’enjawulo etaano. 25 (T)Nakubwa emiggo emirundi esatu. Omulundi gumu nakubwa amayinja. Emirundi esatu ekyombo kye nalingamu kyamenyeka. Olulala ne nsula era ne nsiiba mu buziba. 26 (U)Ntambudde nnyo, era emirundi mingi ne mpona akabi k’omujjuzo gw’emigga, ne mpona n’akabi ak’abanyazi, n’empona ab’eggwanga lyange, era n’Abamawanga abalala. Nayolekera obubenje obw’omu kibuga, ne mpona n’okufiira mu ddungu ne mu muyaga ogw’oku nnyanja, ne mpona n’akabi ak’abantu abeeyita abooluganda; 27 (V)mu kukola ennyo ne mu kufuba nga seebaka, mu kulumwa enjala ne mu kufuuyibwa empewo ne mu kubeera obwereere. 28 Ebirala bye simenye nga nabyo bikyali awo, neeraliikirira buli lunaku nga ndowooza ku Kkanisa zonna nga bwe ziri. 29 Bwe wabaawo anafuye, nange nzigwamu amaanyi, omulala bw’agwa mu kibi, nange njaka munda yange.
30 (W)Naye obanga kiŋŋwanidde okwenyumiriza, ka neenyumirize olw’ebyo ebiraga obunafu bwange! 31 (X)Katonda, era Kitaawe wa Mukama waffe Yesu, atenderezebwa emirembe n’emirembe, amanyi nga ssirimba. 32 (Y)Bwe nnali mu Damasiko, Kabaka Aleta yalagira gavana alagire abakuumi b’ekibuga, nkwatibwe, 33 (Z)naye ne mpisibwa mu ddirisa, eryali mu kisenge kya bbugwe w’ekibuga, nga ndi mu kisero kye baaleebeesa ku miguwa okuntuusa ebweru wansi, bwe ntyo abo ne mbawona.
Obunnabbi eri Amoni
25 Awo ekigambo kya Mukama Katonda ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 2 (A)“Omwana w’omuntu, simba amaaso go eri abaana ba Amoni obawe obunnabbi. 3 (B)Bagambe nti, ‘Muwulire ekigambo kya Mukama Katonda. Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, kubanga mwakuba mu ngalo ne mwogera nti, “Otyo!” ku watukuvu wange bwe wayonooneka, n’ensi ya Isirayiri bwe yafuuka amatongo, ne ku bantu ba Yuda bwe baatwalibwa mu buwaŋŋanguse, 4 (C)kyendiva mbawaayo eri abantu ab’Ebuvanjuba mube bantu baabwe ab’obwannanyini. Balikola olusiisira mu mmwe ne basiisira wakati mu mmwe, era balirya ebibala byammwe ne banywa n’amata gammwe. 5 (D)Ndifuula Labba okubeera eddundiro ly’eŋŋamira ne Amoni ne mufuula ekifo endiga we ziwummulira. Olwo mulimanya nga nze Mukama. 6 (E)Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: kubanga wakuba mu ngalo, n’osambagala n’ebigere, n’osanyuka n’ettima lyonna ery’omutima gwo n’osekerera ensi ya Isirayiri, 7 (F)kyendiva nkugololerako omukono gwange era ndikuwaayo okuba omunyago eri amawanga. Ndikusalirako ddala ku mawanga era nkumalirewo ddala okuva mu nsi. Ndikuzikiriza, era olimanya nga nze Mukama.’ ”
Obunnabbi ku Mowaabu
8 (G)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Kubanga Mowaabu ne Seyiri baayogera nti, “Laba ennyumba ya Yuda efuuse ng’amawanga amalala gonna,” 9 (H)kyendiva nswaza oluuyi olumu olwa Mowaabu okutandika n’ebibuga ebiri ku nsalo yaakyo, Besu Yesimosi, ne Baalu Myoni, ne Kiriyasayimu, ekitiibwa ky’ensi eyo. 10 (I)Ndiwaayo abantu ab’e Mowaabu wamu n’abantu ab’e Amoni eri abantu ab’Ebuvanjuba mube bantu baabwe ab’obwannanyini, abantu ba Amoni balemenga okujjukirwanga mu mawanga, 11 era ne Mowaabu ndimubonereza. Olwo balimanya nga nze Mukama.’ ”
Obunnabbi ku Edomu
12 (J)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Kubanga Edomu yawoolera eggwanga ku nnyumba ya Yuda, bw’etyo n’esingibwa omusango olw’ekikolwa ekyo, 13 (K)Mukama Katonda kyava ayogera nti, Ndigololera ku Edomu omukono gwange, ne nzita abantu be n’ebisolo byabwe. Ndigisaanyaawo, n’abo abaliba mu Temani okutuuka e Dedani balifa ekitala. 14 (L)Ndiwoolera eggwanga ku Edomu nga nkozesa omukono gw’abantu bange Isirayiri, era balikola ku Edomu ng’obusungu bwange n’ekiruyi kyange bwe byenkana; balimanya okuwoolera eggwanga kwange bwe kwenkana, bw’ayogera Mukama Katonda.’ ”
Obunnabbi ku Bafirisuuti
15 (M)“Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, ‘Kubanga Abafirisuuti beesasuza nga bawoolera eggwanga ne beesasuza n’ettima, ne banoonya okuzikiriza Yuda, n’obukambwe obw’edda, 16 (N)Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nnaatera okugololera omukono gwange ku Bafirisuuti, era nditta Abakeresi, n’abaliba basigaddewo ku mabbali g’ennyanja ndibazikiriza. 17 Ndibawoolera eggwanga n’ebibonerezo eby’amaanyi eby’ekiruyi. Balimanya nga nze Mukama, bwe ndiwoolera eggwanga ku bo.’ ”
EKITABO III
Zabbuli 73–89
Zabbuli ya Asafu.
73 (A)Ddala Katonda mulungi eri Isirayiri
n’eri abo abalina omutima omulongoofu.
2 Naye nze amagulu gange gaali kumpi okutagala
era n’ebigere byange okuseerera.
3 (B)Kubanga nakwatirwa ab’amalala obuggya;
bwe nalaba ababi nga bagaggawala nnyo.
4 Kubanga tebalina kibaluma;
emibiri gyabwe miramu era minyirivu.
5 (C)Tebeeraliikirira kabi konna ng’abalala.
So tebalina kibabonyaabonya.
6 (D)Amalala kyegavudde gabafuukira ng’omukuufu ogw’omu bulago,
n’obukambwe ne bubafuukira ekyambalo.
7 (E)Bagezze n’amaaso gaabwe ne gazimbagatana;
balina bingi okusinga bye beetaaga.
8 (F)Baduula era emboozi zaabwe zijjudde eby’okujooga.
Batiisatiisa abalala n’okubeeragirako.
9 Emimwa gyabwe gyolekedde eggulu;
n’ennimi zaabwe zoogera eby’okwewaanawaana buli wantu.
10 Abantu ba Katonda kyebava babakyukira
ne banywa amazzi mangi.
11 Era ne beebuuza nti, “Katonda bino abimanyi atya?
Ali Waggulu Ennyo abitegeera?”
12 (G)Aboonoonyi bwe bafaanana bwe batyo;
bulijjo babeera mu ddembe, nga beeyongera kugaggawala.
13 (H)Ddala omutima gwange ngukuumidde bwereere obutayonoona,
n’engalo zange ne nzinaaba obutaba na musango.
14 Naye mbonaabona obudde okuziba,
era buli nkya mbonerezebwa.
15 Singa ŋŋamba nti njogere bwe nti,
nandibadde mukuusa eri omulembe guno ogw’abaana bo.
16 (I)Bwe nafumiitiriza ntegeere ensonga eyo;
nakisanga nga kizibu nnyo,
17 (J)okutuusa lwe nalaga mu watukuvu wa Katonda,
ne ntegeera enkomerero y’ababi.
18 (K)Ddala obatadde mu bifo ebiseerera;
obasudde n’obafaafaaganya.
19 (L)Nga bazikirizibwa mangu nga kutemya kikowe!
Entiisa n’ebamalirawo ddala!
20 (M)Bali ng’omuntu azuukuse n’ategeera nti yaloose buloosi;
era naawe bw’otyo, Ayi Mukama,
bw’oligolokoka olinyooma embeera yaabwe omutali nsa.
21 Omutima gwange bwe gwanyiikaala,
n’omwoyo gwange ne gujjula obubalagaze,
22 (N)n’aggwaamu okutegeera ne nfuuka ataliiko kye mmanyi,
ne mba ng’ensolo obusolo mu maaso go.
23 Newaakubadde ebyo biri bwe bityo naye ndi naawe bulijjo;
gw’onkwata ku mukono gwange ogwa ddyo.
24 (O)Mu kuteesa kwo onkulembera,
era olintuusa mu kitiibwa.
25 (P)Ani gwe nnina mu ggulu, wabula ggwe?
Era tewali na kimu ku nsi kye neetaaga bwe mba naawe.
26 (Q)Omubiri gwange n’omutima gwange biyinza okulemwa;
naye Katonda ge maanyi g’omutima gwange,
era ye wange ennaku zonna.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.