Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
2 Samwiri 2

Dawudi Afukibwako Amafuta Okuba Kabaka wa Yuda

(A)Oluvannyuma lw’ebyo Dawudi ne yeebuuza ku Mukama nti, “Nyambuke mu kimu ku bibuga bya Yuda?”

Mukama n’amuddamu nti, “Yambuka.”

N’abuuza nate nti, “Ŋŋende mu kiruwa?”

Mukama n’amuddamu nti, “E Kebbulooni.”

(B)Awo Dawudi n’agenda eyo ne bakyala be bombi, Akinoamu Omuyezuleeri ne Abbigayiri nnamwandu wa Nabali ow’e Kalumeeri. (C)Dawudi n’atwala n’abasajja abaali naye, buli muntu n’amaka ge, ne basenga mu Kebbulooni ne mu byalo byakyo. (D)Awo abantu ba Yuda ne bajja mu Kebbulooni, ne bafukirako eyo Dawudi amafuta okuba kabaka w’ennyumba ya Yuda.

Dawudi n’ategeezebwa nti abantu ab’e Yabesugireyaadi be baaziika Sawulo, (E)n’abatumira ababaka okubagamba nti, “Mukama abawe omukisa olw’ekisa n’ekitiibwa bye mwalaga Sawulo mukama wammwe ne mumuziika. (F)Mukama abalage ekisa n’okwagala, nange ndibalaga ky’ekimu olw’ekyo kye mukoze. Noolwekyo kyemunaava mubeera ab’amaanyi era abavumu, kubanga oluvannyuma olw’okufa kwa Sawulo mukama wammwe, ennyumba ya Yuda enfuseeko amafuta okubeera kabaka waabwe.”

Olutalo Olwabaawo Wakati w’Ennyumba ya Dawudi n’Ennyumba ya Sawulo

(G)Mu biro ebyo, Abuneeri[a] mutabani wa Neeri, omuduumizi w’eggye lya Sawulo, n’atwala Isubosesi mutabani wa Sawulo e Makanayimu. (H)N’amufuula kabaka w’e Gireyaadi, ow’Abasuuli[b], ow’e Yezuleeri, owa Efulayimu, owa Benyamini era owa Isirayiri yenna.

10 Isubosesi, mutabani wa Sawulo yali wa myaka amakumi ana we yatandika okufuga Isirayiri, era n’afugira emyaka ebiri. Naye ennyumba ya Yuda ne bagoberera Dawudi. 11 (I)Ebbanga Dawudi lye yabeerera kabaka mu Kebbulooni ng’afuga ennyumba ya Yuda lyali emyaka musanvu n’emyezi mukaaga.

12 (J)Abuneeri mutabani wa Neeri n’abasajja ba Isubosesi mutabani wa Sawulo, ne bava e Makanayimu ne bagenda e Gibyoni. 13 (K)Yowaabu[c] mutabani wa Zeruyiya n’abasajja ba Dawudi ne bagenda okubasisinkana ku kidiba eky’e Gibyoni. Ekibinja ekimu ne kituula ku luuyi olumu olw’ekidiba, n’ekirala ne kituula ku luuyi olulala.

14 Awo Abuneeri n’agamba Yowaabu nti, “Abamu ku basajja bagolokoke beegezeemu mu maaso gaffe.” Yowaabu n’amuddamu nti, “Kale bagolokoke.” 15 Ne bagolokoka, kkumi na babiri ne babalibwa okuva ku ludda lwa Benyamini ne Isubosesi mutabani wa Sawulo, n’ababala kkumi na babiri okuva ku ludda lwa Dawudi. 16 Buli omu n’akwatagana ne gwe yali atunuuliganye naye, ne banyolegana emitwe, ne bafumitigana amafumu, ne bagwira wamu. Era ekifo ekyo mu Gibyoni ne kituumibwa Kerukasu-Kazzulimu.

17 (L)Olutalo ne lweyongerera ddala, Abuneeri n’abasajja be ne bawangulwa abasajja ba Dawudi. 18 (M)Batabani ba Zeruyiya abasatu Yowaabu, Abisaayi, ne Asakeri baaliyo, era Asakeri yali muwenyusi wa misinde ng’empeewo ey’omu ttale. 19 Asakeri n’agoba Abuneeri emisinde, obutatunula ku mukono ogwa ddyo wadde ogwa kkono. 20 Awo Abuneeri bwe yatunula emabega we, n’abuuza nti, “Ye ggwe Asakeri?”

N’addamu nti, “Ye nze.”

21 Abuneeri n’amugamba nti, “Tunula ku mukono gwo ogwa ddyo oba ku mukono gwo ogwa kkono ogye ku omu ku bavubuka akuli okumpi ekyokulwanyisa kye.” Naye Asakeri n’atalekaayo kumugoba. 22 (N)Abuneeri n’addamu okumulabula ng’agamba nti, “Bw’oleka okungoba! Lwaki ondeetera okukutta? Muganda wo Yowaabu nnaamudda wa?”

23 (O)Naye Asakeri ne yeeyongera bweyongezi okumugoba; Abuneeri kwe kumufumita mu lubuto n’omuwunda gw’effumu, effumu ne liggukira mu mugongo, n’agwa wansi era n’afiirawo.

24 Naye Yowaabu ne Abisaayi ne bagoba Abuneeri. Enjuba bwe yali eneetera okugwa, ne batuuka ku lusozi Amma, oluliraanye Giya mu kkubo ery’eddungu ery’e Gibyoni. 25 Awo abasajja b’e Benyamini ne beekola ekibinja kimu, ne badda ku luuyi lwa Abuneeri, ne bayimirira ku lusozi olumu.

26 (P)Abuneeri n’akoowoola Yowaabu n’ayogera nti, “Ekitala kirirya ennaku zonna? Tolaba nti enkomerero ya byonna buliba bukyayi bwereere? Kale kiki ekikulobera okulagira abantu bo balekeraawo okucocca baganda baabwe?”

27 Yowaabu n’addamu nti, “Katonda nga bw’ali omulamu, ne bwe watandikyogedde, obudde bwe bwandikeeredde ng’abasajja balekeddaawo okugoba baganda baabwe.” 28 (Q)Awo Yowaabu n’afuuwa ekkondeere[d], abasajja bonna ne bayimirira, ne balekeraawo okugoba Isirayiri, era n’okubalwanyisa.

29 (R)Ekiro ekyo kyonna Abuneeri n’abasajja be ne batambula ne bayita mu Alaba, ne basomoka Yoludaani, ne batambula mu kiseera eky’oku makya kyonna ne batuuka e Makanayimu.

30 Awo Yowaabu n’addayo ng’alese okugoba Abuneeri, n’akuŋŋaanya abasajja be. Bwe baababala, ne basanga ng’abasajja kkumi na mwenda be baali bafudde, okwo nga tobaliddeeko Asakeri. 31 Naye abasajja ba Dawudi baali basse Ababenyamini ebikumi bisatu mu nkaaga ku abo abaali ne Abuneeri. 32 (S)Ne batwala omulambo gwa Asakeri ne bamuziika ku biggya bya kitaawe e Besirekemu. N’oluvannyuma Yowaabu n’abasajja be ne batambula ekiro kyonna, ne batuuka e Kebbulooni enkeera.

1 Abakkolinso 13

Okwagala

13 (A)Singa njogera ennimi z’abantu n’eza bamalayika, naye nga sirina kwagala, mba ng’ekidde, ekireekaana oba ng’ekitaasa ekisaala. (B)Ne bwe mba n’ekirabo eky’okwogera eby’obunnabbi, ne ntegeera ebyama byonna, era ne mmanya ebintu byonna, era ne bwe mba n’okukkiriza okungi ne kunsobozesa n’okusiguukulula ensozi, naye nga sirina kwagala, mba siri kintu. (C)Ne bwe mpaayo ebyange byonna okuyamba abaavu, era ne bwe mpaayo omubiri gwange ne nneewaana, naye ne siba na kwagala, sibaako kye ngasibbwa.

(D)Okwagala kugumiikiriza era kwa kisa. Okwagala tekulina buggya era tekwenyumiikiriza wadde okwekuluntaza. (E)Okwagala tekukola bitasaana, tekunoonya byakwo, tekunyiiga mangu, era tekusiba kibi ku mwoyo. (F)Okwagala tekusanyukira bitali bya butuukirivu, wabula kusanyukira mazima. Okwagala kugumira byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna era kugumiikiriza byonna.

(G)Okwagala tekulemererwa; obunnabbi buliggyibwawo, n’ennimi zirikoma, n’eby’amagezi birikoma. (H)Kubanga tumanyiiko kitundu, ne bunnabbi nabwo bwa kitundu. 10 (I)Naye ebituukiridde bwe birijja, olwo eby’ekitundu nga biggwaawo. 11 Bwe nnali omuto, nayogeranga ng’omuto, nalowoozanga ng’omuto, ne byonna nga mbiraba mu ngeri ya kito. Naye bwe nakula ne ndeka eby’ekito. 12 (J)Kaakano tulaba kifaananyi bufaananyi, ng’abali mu ndabirwamu eteraba bulungi; naye tulirabira ddala bulungi amaaso n’amaaso. Kaakano mmanyiiko kitundu butundu, naye luli ndimanyira ddala byonna, mu bujjuvu.

13 (K)Kaakano waliwo ebintu bisatu eby’olubeerera: okukkiriza, n’okusuubira, era n’okwagala. Naye ekisingako ku ebyo obukulu kwe kwagala.

Ezeekyeri 11

Abakulembeze ba Isirayiri Basalirwa Omusango

11 (A)Awo Omwoyo n’ansitula n’antwala ku luggi olw’ebuvanjuba olw’ennyumba ya Mukama. Ku mulyango awo waaliwo abasajja amakumi abiri mu bataano wakati mu bo nga mwe muli Yaazaniya mutabani wa Azuli ne Peratiya mutabani wa Benaya, abakulembeze b’abantu. Mukama n’aŋŋamba nti, “Omwana w’omuntu, bano be basajja abeekobaana okukola ebitali bya butuukirivu era abawabya ekibuga kino. (B)Boogera nti, ‘Ekiseera tekituuse tuzimbe amayumba? Ekibuga kino ye ntamu, ffe nnyama.’ (C)Kyonoova obawa obunnabbi; era yogera ggwe omwana w’omuntu.”

(D)Awo Omwoyo wa Mukama n’anzikako, n’aŋŋamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Bwe mutyo bwe mwogera, ggwe ennyumba ya Isirayiri, naye mmanyi ebirowoozo byammwe. (E)Musse abantu bangi mu kibuga kino, ne mujjuza enguudo zaakyo abafu.

(F)Mukama Katonda kyava ayogera nti, Emirambo gye musuddemu ye nnyama, n’ekibuga kino ye ntamu, naye ndikibagobamu. (G)Mutya ekitala, era ekitala kye ndibaleetako, bw’ayogera Mukama Katonda. (H)Ndibagoba mu kibuga, ne mbawaayo mu mukono gwa bannamawanga ne bababonereza. 10 (I)Muligwa n’ekitala, era ndibasalira omusango ku nsalo ya Isirayiri, ne mumanya nga nze Mukama. 11 (J)Ekibuga kino tekiriba ntamu yammwe, era nammwe temuliba nnyama yaakyo. Ndibasalira omusango ku nsalo ya Isirayiri. 12 (K)Mulitegeera nga nze Mukama, kubanga temugoberedde biragiro byange newaakubadde amateeka gange, naye mukoze ng’amawanga amalala agabeetoolodde bwe gakola.”

13 (L)Awo bwe nnali nkyayogera ebyobunnabbi, Peratiya mutabani wa Benaya n’afa. Ne ngwa bugazi wansi ne nkaaba n’eddoboozi ddene, nga njogera nti, “Ayi Mukama Katonda, olimalirawo ddala ekitundu kya Isirayiri ekyasigalawo?”

14 Ekigambo kya Mukama ne kinzijira n’aŋŋamba nti, 15 (M)“Omwana w’omuntu, baganda bo, baganda bo ab’enda yo n’ennyumba yonna eya Isirayiri, beebo abantu ab’omu Yerusaalemi be baayogerako nti, ‘Bali wala ne Mukama, era ensi eno yatuweebwa okuba omugabo gwaffe.’ ”

Abayisirayiri Basuubizibwa Okuddayo

16 (N)“Kyonoova oyogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti, Newaakubadde nga nabasindika mu mawanga ne mbasaasaanya mu nsi nnyingi, naye mbalabiriridde mu nsi gye baagenda.’ 17 (O)Era kyonoova oyogera nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti: ndibakuŋŋaanya okuva mu mawanga ne mbaggya mu nsi gye mwasaasaanyizibwa, ne mbaddiza ensi ya Isirayiri.’

18 (P)“Bwe balikomawo, baliggyamu ebitali bya butuukirivu byonna n’eby’emizizo ebirimu byonna. 19 (Q)Ndibawa omutima gumu ne mbateekamu omwoyo omuggya; ndibaggyamu omutima ogw’ejjinja, ne mbawa omutima ogw’ennyama. 20 (R)Oluvannyuma baligoberera ebiragiro byange, ne bagenderera okukuuma amateeka gange, era baliba bantu bange, nange ndiba Katonda waabwe. 21 (S)Naye abo abanaagoberera ebitali bya butuukirivu n’eby’emizizo, ndibaleetako ebyo bye baakola ku mitwe gyabwe, bw’ayogera Mukama Katonda.”

22 (T)Awo bakerubi, ne zinnamuziga nga ziri ku mabbali gaabwe ne bayimusa ebiwaawaatiro byabwe, ng’ekitiibwa kya Katonda wa Isirayiri kibali waggulu. 23 (U)Ekitiibwa kya Mukama ne kiva wakati mu kibuga ne kiyimirira waggulu w’olusozi oluli ku luuyi olw’ebuvanjuba w’ekibuga. 24 (V)Omwoyo n’ansitula mu kwolesebwa okw’Omwoyo wa Katonda n’antwala mu Bukaludaaya eri abaawaŋŋangusibwa. 25 (W)Awo okwolesebwa kwe nafuna ne nkuvaako, ne ntegeeza abaawaŋŋangusibwa byonna Mukama bye yali andaze.

Zabbuli 50

Zabbuli ya Asafu.

50 (A)Oyo Owaamaanyi, Mukama Katonda,
    akoowoola ensi
    okuva enjuba gy’eva okutuuka gy’egwa.
(B)Katonda ayakaayakana
    ng’ava mu Sayuuni n’obulungi bw’ekitiibwa kye ekituukiridde.
(C)Katonda waffe ajja, naye tajja kasirise,
    omuliro ogusaanyaawo buli kintu gwe gumukulembera,
    n’omuyaga ogw’amaanyi ne gumwetooloola.
(D)Akoowoola abali mu ggulu ne ku nsi,
    azze okusalira abantu be omusango.
(E)Agamba nti, “Munkuŋŋaanyize abantu bange abaayawulibwa,
    abaakola nange endagaano nga bawaayo ssaddaaka.”
(F)Eggulu litegeeza obutuukirivu bwa Katonda
    kubanga Katonda yennyini ye mulamuzi.

(G)“Muwulirize, mmwe abantu bange, nange nnaayogera.
    Ggwe Isirayiri bino bye nkuvunaana:
    Nze Katonda, Katonda wo.
(H)Sikunenya lwa ssaddaaka zo,
    oba ebiweebwayo ebyokebwa by’ossa mu maaso gange bulijjo.
(I)Sikyakkiriza nte nnume n’emu evudde mu kiralo kyo,
    wadde embuzi ennume ezivudde mu bisibo byo.
10 (J)Kubanga buli nsolo ey’omu kibira yange,
    awamu n’ente eziri ku nsozi olukumi.
11 Ennyonyi zonna ez’oku nsozi nzimanyi,
    n’ebiramu byonna eby’omu nsiko byange.
12 (K)Singa nnumwa enjala sandikubuulidde:
    kubanga ensi n’ebigirimu byonna byange.
13 Ndya ennyama y’ente ennume,
    wadde okunywa omusaayi gw’embuzi?

14 (L)“Owangayo ssaddaaka ey’okwebaza eri Katonda;
    era otuukirizanga obweyamo bwo eri oyo Ali Waggulu Ennyo.
15 (M)Bw’obanga mu buzibu,
    nnaakuwonyanga, naawe onongulumizanga.”

16 (N)Naye omubi Katonda amugamba nti,

“Lekeraawo okwatulanga amateeka gange,
    n’endagaano yange togyogerangako.
17 (O)Kubanga okyawa okuluŋŋamizibwa,
    n’ebigambo byange tobissaako mwoyo.
18 (P)Bw’olaba omubbi, ng’omukwana;
    era weetaba n’abenzi.
19 (Q)Okolima era olimba;
    olulimi lwo lwogera ebitali bya butuukirivu.
20 (R)Muganda wo omwogerako bibi byereere buli kiseera,
    era owayiriza omwana wa nnyoko yennyini.
21 (S)Ebyo byonna obikoze, ne nsirika,
    n’olowooza nti twenkanankana.
Naye kaakano ka nkunenye,
    ebisobyo byonna mbikulage.

22 (T)“Ggwe eyeerabira Katonda, ebyo bisseeko omwoyo,
    nneme kukuyuzaayuza nga tewali na wa kukuwonya.
23 (U)Oyo awaayo ssaddaaka ey’okwebaza angulumiza,
    era ateekateeka ekkubo
    ndyoke mulage obulokozi bwa Katonda.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.