Add parallel Print Page Options

18 (A)Benaaya mutabani wa Yekoyaada nga ye mukulu w’Abakeresi n’Abaperesi[a] abaakuumanga ba kabaka, batabani ba Dawudi nga be bawi ba magezi ab’obwakabaka.

Read full chapter

Footnotes

  1. 8:18 Abakeresi n’Abaperesi baali magye mapangise. Abakeresi baava Kuleete, ate Abaperesi nga bava Bufirisuuti. Ebibinja ebyo byombi bye byakumanga bakabaka.

38 (A)Awo Zadooki kabona, ne Nasani nnabbi ne Benaya mutabani wa Yekoyaada, n’Abakeresi n’Abaperesi[a] ne beebagaza Sulemaani ennyumbu ya Kabaka Dawudi, ne baserengeta nga bamuwerekera okugenda e Gikoni.

Read full chapter

Footnotes

  1. 1:38 Abakeresi n’Abaperesi baali bakuumi ba Dawudi ab’oku mwanjo. Baava Kuleete ne Bufirisuuti (2Sa 8:18)

44 era kabaka atumye Zadooki kabona, ne Nasani nnabbi, ne Benaya mutabani wa Yekoyaada, n’Abakeresi n’Abaperesi, okugenda naye nga bamwebagazza ennyumbu ya kabaka.

Read full chapter

16 (A)Mukama Katonda kyava ayogera nti, Nnaatera okugololera omukono gwange ku Bafirisuuti, era nditta Abakeresi, n’abaliba basigaddewo ku mabbali g’ennyanja ndibazikiriza.

Read full chapter

(A)Zibasanze mmwe ababeera ku lubalama lw’ennyanja,
    eggwanga ery’Abakeresi!
Ekigambo kya Mukama kikwolekedde,
    ggwe Kanani, ensi ey’Abafirisuuti.
Ndikuzikiriza
    so tewaliba asigalawo.

Read full chapter

16 (A)N’abakulembera n’abatwalayo, era laba, nga basaasaanye mu kifo kyonna ku ttale, nga balya, nga banywa, nga bazina olw’omunyago omunene gwe baggya mu nsi ey’Abafirisuuti, ne mu nsi ya Yuda.

Read full chapter

13 (A)Yoswa n’amusabira omukisa n’awa Kalebu omwana wa Yefune Omukenezi Kebbulooni okuba omugabo gwe.

Read full chapter

Omugabo gwa Kalebu

13 (A)Yoswa n’awa Kalebu omwana wa Yefune omugabo mu baana ba Yuda Kiriasualuba, ye Kebbulooni, ng’ekiragiro kya Mukama bwe kyali. Aluba ye yali kitaawe wa Anaki.

Read full chapter

Okugabanya ensi ebuvanjuba bwa Yoludaani

14 (A)Bino by’ebitundu Abayisirayiri bye baafuna ng’omugabo mu nsi y’e Kanani, Eriyazaali[a] kabona, ne Yoswa, omwana wa Nuuni, n’emitwe gy’ennyumba eza bakitaabwe ez’ebika by’abaana ba Isirayiri bye baabagabira.

Read full chapter

Footnotes

  1. 14:1 Eriyazaali Yali mutabani wa Alooni.