M’Cheyne Bible Reading Plan
Okuyambagana
22 (A)Bw’olabanga ente ya munno, oba endiga ye, ng’ebula okuva ewaabayo, togirekanga bulesi ne weesuulirayo ogwa nnaggamba naye ogikwatanga n’ogizzaayo ewa nnyiniyo. 2 Nannyini yo bw’abanga tasula kumpi naawe, obanga nannyini yo tomumanyi, ogireetanga mu maka go n’obeeranga nayo okutuusa nannyini yo lw’alijja ng’aginoonya; olwo nno n’olyoka ogimuddiza. 3 Okolanga bw’otyo ng’osanze endogoyi ya munno, obanga olonze ekyambalo kya munno, oba ekintu kyonna ekirala munno ky’anaabanga abuliddwa kyokka ggwe n’okironda. Tolemanga kuyamba munno ng’ali mu buzibu, ate nga wandisobodde okumuyamba. Obusobozi bw’onoobanga nabwo okuyamba munno tobumukwekanga.
4 (B)Bw’onoolabanga endogoyi ya munno, oba ente ye, ng’egudde ku kkubo, togiyitangako buyisi, wabula omuyambanga okugiyimusa.
Omusajja Okwefaanaanyiriza Omukazi, oba Omukazi Okwefaanaanyiriza Omusajja
5 Omukazi taayambalenga ngoye za kisajja, so n’omusajja taayambalenga ngoye za kikazi; kubanga abakola ebyo Mukama Katonda wammwe abakyayira ddala.
6 (C)Temutwalanga Nnyonyi Nzadde. Bwe munaalabanga ekisu ky’ennyonyi ku muti, oba ku mabbali g’ekkubo, nga kirimu amagi oba obwana obuto, nga ne nnyina waabwo abumaamidde, oba atudde ku magi, bwe munaatwalanga obwana obuto, nnyina waabwo temumutwalirangako.
7 (D)Obwana obuto munaayinzanga okubutwala, kyokka nnyina waabwo mumulekanga n’agenda, mulyoke mufunenga emirembe mu mutima awamu n’obuwangaazi.
Akasenge ak’Okukugira Akasolya
8 Bwe muneezimbiranga enju empya ey’akasolya akatereevu[a] akatali keesulifu, mukolangako akasenge waggulu okwebungulula akasolya ako, kalyoke kaziyizenga omuntu okuva eyo waggulu n’agwa wansi, n’aleeteranga ennyumba eyo omusango olw’omusaayi ogunaabanga guyiise.
Obutatabulatabulanga Bintu bya Njawulo
9 (E)Wakati w’ennyiriri z’emizabbibu temusimbangamu mmere ya ngeri ndala, bwe munaakikolanga, ebibala by’emizabbibu n’eby’emmere gye munaabanga musimbyemu, byombi munaabifiirwanga.
10 (F)Ente n’endogoyi temuzigattanga wamu ne muzisibanga ku kikoligo kye kimu eky’ekyuma kye munaabanga mulimisa.
11 (G)Temwambalanga ngoye ezinaabanga zirukiddwa n’ewuzi z’ebyoya by’endiga nga zigattiddwa wamu n’ewuzi eza linena.
12 (H)Mutunganga emijunga ku buli nsonda ennya ez’eminagiro gyammwe gye munaayambalanga.
Amateeka ag’Enkolagana y’Abasajja n’Abakazi
13 (I)Omusajja bw’aneewasizanga omukazi, kyokka oluvannyuma lw’okusula naye, n’amukyawa, 14 n’amuwaayiriza ng’amukonjera ng’agamba nti, “Nawasa omukazi ono, naye bwe nasula naye saamusanga nga mbeerera,” 15 Kitaawe w’omuwala oyo ne nnyina banaaleeteranga abakulembeze abakulu ab’ekibuga ekyo, nga bali ku wankaaki waakyo, obujulizi obunaalaganga ng’omuwala waabwe yali mbeerera. 16 Kitaawe w’omuwala anaategeezanga abakulembeze abakulu nti, “Nagabira omusajja ono omwana wange omuwala amuwase, naye omusajja amukyaye. 17 Kaakano wuuno amuwaayiriza ng’amukonjera ng’amwogerako nti, Muwala wo namusanga nga si mbeerera.” Naye obujulizi buubuno obulaga ng’omwana wange ono omuwala yali mbeerera. Abazadde b’omuwala banaayanjululizanga essuuka y’obuliri mu maaso g’abakulembeze abakulu ab’ekibuga ekyo. 18 (J)Abakulembeze abakulu b’ekibuga ekyo banaatwalanga bba w’omuwala, banaasookanga okumukubamu. 19 Ate ne bamusalira omutango gwa sekeri za ffeeza kikumi[b]; banaaziwanga kitaawe w’omuwala; kubanga omusajja oyo anaabanga aleese erinnya ebbi ku muwala wa Isirayiri embeerera. Omuwala oyo anaabeeranga mu maka g’omusajja oyo ebbanga lyonna, era omusajja takkirizibwenga kugoba mukazi we oyo ebiro byonna omusajja oyo by’alimala nga mulamu.
20 Naye singa omusajja nga by’anaabanga ayogedde bya mazima, nga n’obujulizi obukakasa ng’omuwala yali mbeerera bunaabanga bubuze, 21 (K)kale nno omuwala oyo anaaleetebwanga ku muzigo gw’ennyumba ya kitaawe, era abasajja ab’omu kibuga ky’omuwala oyo banaamukubiranga awo amayinja n’afa. Kubanga anaabanga akoze ekikolwa kya bugwenyufu nnyo eky’okumanya abasajja ng’akyali mu luggya lwa kitaawe. Ekibi musaananga mukimalemu mu Isirayiri.
22 (L)Omusajja bw’anaakwatibwanga nga yeebase n’omukyala w’omusajja omulala, kale, omusajja akwatiddwa n’omukyala gw’anaabanga yeebase naye, bombi baakuttibwanga. Ekibi musaana mukimalengamu mu Isirayiri.
23 Bwe wanaabangawo omuwala embeerera ayogerezebwa afumbirwe, omusajja n’amusanga mu kibuga ne yeebaka naye, 24 (M)munaabaleetanga bombi ku wankaaki w’ekibuga ekyo ne mubakuba amayinja ne bafa; omuwala, bwe kibanga nga yali munda mu kibuga naye n’atakuba nduulu kufuna buyambi; omusajja, kubanga yayonoona omuwala ajja okufumbirwa omusajja we. Bwe mutyo bwe munaamalangamu ekibi mu mmwe.
25 Naye omusajja bw’anaasanganga omuwala ayogerezebwa ku ttale n’amukwata ne yeebaka naye olw’empaka, kale nno omusajja anaabanga yeebase n’omuwala oyo y’anattibwanga. 26 Omuwala oyo temumukolangako kintu kyonna, kubanga anaabanga talina kibi kyonna ky’akoze ekinaamusaanyizanga okufa. Ensonga ezo zifaanana ng’ez’omuntu anaabanga alumbaganye muliraanwa we n’amutemula. 27 Olwokubanga omuwala ono anaabanga ayogerezebwa okufumbirwa yasangibwa omusajja ku ttale etali bantu, anaayinzanga okuba nga yeekubira enduulu naye ne watabaawo amudduukirira okumuyamba.
28 (N)Omusajja bw’anasisinkananga omuwala embeerera naye nga taliiko amwogereza, n’amukwata ne yeebaka naye, ne bakwatibwa nga bali mu kikolwa ekyo, 29 omusajja anaabanga yeebase n’omuwala oyo anaasasulanga kitaawe w’omuwala sekeri eza ffeeza amakumi ataano.[c] Omusajja anaawasanga omuwala oyo okuba mukazi we, kubanga anaabanga amaze okumusobyako. Era taamugobenga okumala ebbanga lyonna omusajja oyo nga mulamu.
30 (O)Omusajja taawasenga mukyala wa kitaawe aleme kuweebuulanga kitiibwa kya buliri bwa kitaawe.
Zabbuli ya Dawudi.
110 (A)Mukama yagamba Mukama wange nti:
“Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo,
okutuusa lwe ndimala okufufuggaza abalabe bo
ne mbassa wansi w’ebigere byo.[a]”
2 (B)Mukama aligaziya obufuzi bwo okuva mu Sayuuni;
olifuga abalabe bo.
3 (C)Abantu bo balyewaayo bokka mu ggye lyo
ng’ekiseera ky’olutalo kituuse.
Abavubuka bo,
nga bali mu by’ekitiibwa ekitukuvu,
balikukuŋŋaanirako ng’omusulo bwe gulabika ng’obudde bwakakya.
4 (D)Mukama yalayira,
era tagenda kukijjulula,
yagamba nti, “Olibeera kabona emirembe gyonna
ng’engeri ya Merukizeddeeki bw’eri.”
5 (E)Mukama anaakulwaniriranga;
bakabaka abakulwanyisa anaababetentanga mu busungu bwe obungi.
6 (F)Aliramula amawanga, abafuzi b’ensi yonna n’abazikiriza,
n’entuumo z’emirambo ziriba nnyingi ku nsi yonna.
7 (G)Alinywa amazzi mu kagga ku kkubo,
n’addamu amaanyi ag’obuwanguzi.
111 Mutendereze Mukama!
Nneebazanga Mukama n’omutima gwange gwonna,
mu lukiiko lw’abalongoofu, era ne mu lukuŋŋaana.
2 (H)Mukama by’akola bikulu;
bifumiitirizibwako abo bonna ababisanyukira.
3 Emirimu gye mikulu nnyo era gya kitiibwa,
n’obutuukirivu bwe tebuggwaawo emirembe gyonna.
4 (I)Ayamba abantu okujjukira ebyamagero bye,
Mukama wa kisa era ajjudde okusaasira.
5 (J)Agabira abamutya emmere;
era ajjukira endagaano ye buli kiseera.
6 Abantu be abalaze ng’ebikolwa bye bwe biri eby’amaanyi;
n’abagabira ensi eyali ey’abannaggwanga.
7 (K)By’akola byonna bya bwesigwa era bya bwenkanya;
n’amateeka ge gonna ga bwesigwa,
8 (L)manywevu emirembe gyonna;
era yagassaawo nga ga bwesigwa era nga ga mazima.
9 (M)Yanunula abantu be;
n’alagira endagaano ye ebeerewo emirembe gyonna.
Erinnya lye ttukuvu era lya ntiisa!
10 (N)Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera
era abo abagondera ebigambo ebyo bajjudde obutegeevu.
Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna.
Omuweereza wa Mukama
49 (A)Mumpulirize mmwe ebizinga,
mmwe muwulire kino amawanga agali ewala.
Nnali sinazaalibwa Mukama n’ampita.
Bwe nnali nkyali mu lubuto lwa mmange n’ayatula erinnya lyange.
2 (B)Yakola akamwa kange ng’ekitala eky’obwogi,
nankweka mu kisiikirize ky’omukono gwe.
Yanfuula akasaale akazigule
era nankweka mu mufuko gwe.
3 (C)Era n’aŋŋamba nti, “Ggwe muweereza wange, Isirayiri,
mu ggwe mwe ndiweerwa ekitiibwa.”
4 (D)Naye ne njogera nti, “Nteganidde bwereere,
amaanyi gange ng’amalidde bwereere era gafudde busa.
Kyokka ate Mukama yannamula,
n’empeera yange eri ne Katonda wange!”
5 (E)Era kaakano Mukama ayogera,
oyo eyammumba mu lubuto okubeera omuweereza we,
okukomyawo Yakobo gy’ali
era n’okukuŋŋaanya Isirayiri gy’ali.
Kubanga ndi wa kitiibwa mu maaso ga Mukama
era Katonda wange afuuse amaanyi gange.
6 (F)Mukama agamba nti,
“Eky’okubeera omuweereza wange
n’okuzza amawanga ga Yakobo
era n’okukomyawo abantu ba Isirayiri kintu kitono nnyo.
Nzija kukufuula ekitangaala eri abamawanga,
olyoke oleete obulokozi bwange eri ensi yonna.”
7 (G)Bw’ati bw’ayogera Mukama,
Omununuzi era Omutukuvu wa Isirayiri,
eri oyo eyanyoomebwa n’akyayibwa amawanga,
eri omuweereza w’abafuzi nti,
“Bakabaka baliyimirira ne bakuwa ekitiibwa,
abalangira balikulaba ne bakuvuunamira.
Kino kiribaawo ku lwa Mukama, omwesigwa Omutukuvu wa Isirayiri,
oyo akulonze.”
Isirayiri Azzibwawo
8 (H)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
“Ndikwanukula mu biro mwe ndisiimira,
ku lunaku olw’obulokozi ndikuyamba.
Ndikukuuma ne nkufuula endagaano eri abantu,
muliddayo ku ttaka lyammwe ne muddizibwa ebitundu byammwe ebyazika,
9 (I)nga mugamba abasibe nti, ‘Muveemu,’
n’abo abali mu kizikiza nti, ‘Mube n’eddembe!’
“Banaaliranga ku mabbali g’ekkubo,
ne ku ntikko z’obusozi bwonna obwereere banasangangako omuddo.
10 (J)Tebaalumwenga njala newaakubadde ennyonta,
ebbugumu ly’omu ddungu teriibakwatenga newaakubadde omusana okubookya.
Oyo abakwatirwa ekisa alibakulembera,
anaabatwalanga awali enzizi z’amazzi.
11 (K)Era ndifuula ensozi zange zonna okuba amakubo
era enguudo zange ennene zirigulumizibwa.
12 (L)Laba, abantu bange balidda okuva ewala,
abamu, baliva mu bukiikakkono
n’abalala ebuvanjuba, n’abalala bave mu nsi ye Sinimu.”
13 (M)Yogerera waggulu n’essanyu, era jjaguza ggwe ensi.
Muyimbe mmwe ensozi!
Kubanga Mukama agumya abantu be era alisaasira abantu be ababonyaabonyezebwa.
14 Naye Sayuuni n’ayogera nti, “Mukama andese,
era Mukama wange anneerabidde.”
15 (N)“Nnyina w’omwana ayinza okwerabira omwana we gw’ayonsa,
n’atasaasira mwana eyava mu lubuto lwe?
Weewaawo, wadde ng’ayinza okumwerabira
naye nze sirikwerabira.
16 (O)Laba, nkuwandiise mu bibatu by’engalo zange;
ebisenge byo binaabeeranga mu maaso gange.
17 (P)Abaana bo banguwa okujja era abakuzimba balisukkuluma ku bakuzikiriza
era abo abaakuzikirizanga balikuvaamu bagende.
18 (Q)Yimusa amaaso go otunule enjuuyi zonna olabe.
Abantu bo beekuŋŋaanya bajja gy’oli.
Nga bwe ndi Katonda omulamu,
balikwesiimisa, obambale ng’ebikomo n’emidaali ebyebbeeyi
ng’omugole bw’ayambala malidaadi,” bw’ayogera Mukama.
19 (R)“Wadde nga wazika n’olekebwa awo ensi yo n’ezikirizibwa,
kaakano ojja kubeera mufunda nga toja mu bantu bo,
era abo abakuteganya
banaakubeeranga wala.
20 (S)Abantu bo abazaalibwa mu buwaŋŋanguse
lumu balyogera ng’owulira nti,
‘Ekifo kino nga kifuuse kifunda bulala;
tuwe ekifo aw’okubeera.’
21 (T)N’olyoka oyogera mu mutima gwo nti,
‘Ani eyanzaalira abaana bano bonna?
Nafiirwa abaana bange bonna ng’ate ndi mugumba.
Nawaŋŋangusibwa ne nsigala nzekka.
Bano baava ludda wa?
Nasigala nzekka,
naye ate bano, baava wa?’ ”
Okuzzibwawo kwa Isirayiri mu Kitiibwa
22 (U)Bw’atyo bw’ayogera Mukama Katonda nti, “Laba, ndikolera abamawanga obubonero
era ndiyimusiza abantu ebbendera yange:
era balireeta batabani bo nga babasitulidde mu bifuba
ne bawala bo nga babasitulidde ku bibegabega byabwe.
23 (V)Era bakabaka be balibeera ba kitammwe babalabirire,
ne bannabagereka babeere bamaama ababayonsa.
Balivuunama mu maaso go nga batunudde wansi;
balikomba enfuufu y’omu bigere byo.
Olwo lw’olimanya nti nze Mukama,
abo bonna abannindirira n’abansuubiriramu tebalikwatibwa nsonyi.”
24 (W)Omunyago guyinza okuggyibwa ku mutabaazi,
oba omuwambe omutuukirivu okuwona omutabaazi?
25 (X)Naye bw’ati bw’ayogera Mukama:
“N’oyo eyawambibwa omutabaazi alisumululwa ateebwe,
n’omunyago guggyibwe ku mulabe wo,
kubanga ndiyomba n’oyo ayomba naawe,
era ndirokola mponye abaana bo.
26 (Y)Ndiriisa abakujooga ennyama yaabwe bo.
Era balittiŋŋana batamiire omusaayi gwabwe, nga wayini.
Olwo abalina omubiri bonna bamanye nti nze Mukama Omulokozi wo,
Omununuzi wo,
ow’Amaanyi owa Yakobo.”
Aleruuya
19 (A)Oluvannyuma lw’ebyo ne mpulira oluyoogaano lw’abantu abangi mu ggulu nga bagamba nti,
“Aleruuya!
Obulokozi n’ekitiibwa n’amaanyi bya Katonda waffe.
2 (B)Kubanga ensala ye ey’emisango ya mazima era ya butuukirivu.
Yabonereza malaaya omukulu
eyayonoona ensi n’obwenzi bwe.
Era yawoolera eggwanga ku mwenzi oyo olw’omusaayi gw’abaweereza be.”
3 (C)Ate ne boogera ogwokubiri mu ddoboozi ery’omwanguka nti,
“Aleruuya!
Omukka ogw’okwokebwa kwe n’omuliro, gunyooka emirembe n’emirembe!”
4 (D)Awo ebiramu ebina n’abakadde amakumi abiri mu abana ne basinza Katonda eyali atudde ku ntebe ey’obwakabaka, nga bagamba nti,
“Amiina. Aleruuya.”
5 (E)Awo eddoboozi ne liva mu ntebe ey’obwakabaka nga ligamba nti:
“Mumutendereze Katonda waffe,
mmwe abaddu be mwenna
abamutya
abeekitiibwa n’abatali baakitiibwa.”
6 (F)Ate ne mpulira oluyoogaano lw’abantu abangi olwawulikika ng’amayengo ag’ennyanja ennene, oba ng’eddoboozi ery’okubwatuka, ne boogera nti,
“Aleruuya,
kubanga Mukama Katonda waffe Ayinzabyonna y’afuga.
7 (G)Ka tusanyuke, tujaguze,
era tumugulumize,
kubanga ekiseera kituuse eky’embaga ey’obugole ey’Omwana gw’Endiga,
era n’omugole we yeeteeseteese.
8 (H)Omugole n’ayambazibwa olugoye olwa linena omulungi ennyo,
olunekaaneka era olusingayo okutukula.”
(Linena omulungi ennyo by’ebikolwa eby’obutuukirivu eby’abatukuvu.)
9 (I)Malayika n’aŋŋamba nti, “Wandiika nti balina omukisa abo abayitiddwa ku kijjulo ky’embaga ey’obugole ey’Omwana gw’Endiga.” N’ayongerako na kino nti, “Katonda yennyini ye yakyogera.”
10 (J)Ne ndyoka ngwa wansi ku bigere bye okumusinza naye ye n’aŋŋamba nti, “Tokikola! Kubanga nange ndi muddu wa Katonda nga ggwe era ng’abooluganda abalala abanywerera ku ebyo Yesu bye yatumanyisa! Ssinza Katonda. Okutegeeza kwa Yesu gwe mwoyo gw’obunnabbi.”
Eyeebagadde Embalaasi Enjeru
11 (K)Ne ndaba eggulu nga libikkuse era laba embalaasi enjeru ng’agyebagadde ayitibwa Omwesigwa era Ow’amazima, asala omusango mu butuukirivu era mulwanyi wa kitalo mu ntalo. 12 (L)Amaaso ge gaali ng’olulimi lw’omuliro ogwaka, era nga yeetikkidde engule nnyingi ku mutwe gwe, ng’alina erinnya eriwandiikiddwa, kyokka ye yekka nga y’alimanyi. 13 (M)Yali ayambadde ekyambalo ekyali kinnyikiddwa mu musaayi era ng’erinnya lye ye Kigambo wa Katonda. 14 (N)Ab’eggye ery’omu ggulu abaali bambadde engoye eza linena omulungi ennyo enjeru, nabo ne bamugoberera nga beebagadde embalaasi enjeru. 15 (O)Mu kamwa ke mwavaamu ekitala eky’obwogi eky’okutemesa amawanga. “Alibafuga n’omuggo ogw’ekyuma.” Alirinnya ku ssogolero ly’omwenge ogw’obusungu bwe, kye kiruyi kya Katonda Ayinzabyonna. 16 (P)Ku kyambalo kye ne ku kisambi kye kwali kuwandiikiddwako nti:
“Kabaka wa Bakabaka era Mukama wa bakama.”
17 (Q)Awo ne ndaba malayika omu ng’ayimiridde mu njuba ng’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba ebinyonyi nti, “Mujje mukuŋŋaane ku kijjulo kya Katonda omukulu, 18 (R)mulye ennyama y’emirambo gya bakabaka, abakulu b’amaggye n’abasajja ab’amaanyi, n’egy’embalaasi n’egy’abo abazeebagala, era n’egy’abantu bonna abaddu n’ab’eddembe, abeekitiibwa n’abatali baakitiibwa.”
19 (S)Awo ne ndyoka ndaba ekisolo n’abafuzi ab’omu nsi n’amaggye gaabwe nga bakuŋŋaanye balwanyise oyo eyali yeebagadde embalaasi, awamu n’eggye lye. 20 (T)Ekisolo ne kiwambibwa awamu ne nnabbi ow’obulimba eyakolanga ebyamagero ng’ekisolo kiraba; bye yakola ng’alimbalimba abo abakkiriza akabonero k’ekisolo era abasinza ekifaananyi kyakyo. Awo ekisolo ne nnabbi ow’obulimba ne basuulibwa nga balamu, mu nnyanja ey’omuliro eyaka ne salufa. 21 (U)Abaasigalawo ne battibwa n’obwogi bw’ekitala ekyava mu kamwa k’oyo eyeebagadde embalaasi. Ennyonyi zonna ez’omu bbanga ne zirya ne zekkutira emirambo gyabwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.