Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ekyamateeka Olwokubiri 25

25 (A)Abantu babiri bwe banaabanga n’enkaayana, ensonga zaabwe ne bazitwala mu mbuga z’amateeka, abalamuzi ne babasalirawo, banaalangiriranga asinze n’oyo gwe gusinze. (B)Singa oyo gwe gunaasiŋŋanga anaabanga asaanira okukubwangamu obuga, omulamuzi anaamugalamizanga wansi n’akubirwa mu maaso ge omuwendo gw’obuga obuggya mu musango gw’anaabanga azzizza, (C)naye nga tebusukka buga amakumi ana. Bwe bunaasukkanga omuwendo ogwo munnammwe anaabanga aswazibbwa nnyo mu maaso gammwe.

(D)Ente[a] temugisibanga mimwa bwe munaabanga mugikozesa okuwuula emmere ey’empeke.

Obuvunaanyizibwa eri Owooluganda Afudde

(E)Abooluganda bwe banaabanga babeera wamu, omu n’afa nga talina mwana wabulenzi, nnamwandu we tafumbirwanga musajja atali wa mu luggya lwa bba. Muganda wa bba anaatwalanga nnamwandu oyo n’amuwasa, n’atuukiriza obuvunaanyizibwa bwa muganda we omugenzi eri nnamwandu oyo. (F)Omwana owoobulenzi gw’anaasookanga okuzaala y’anaasikiranga erinnya lya muganda we omugenzi, bwe lityo erinnya ly’omugenzi ne litasangulwawo mu Isirayiri. (G)Naye omusajja bw’anaabanga tayagala kuwasa nnamwandu wa muganda we, nnamwandu oyo anaagendanga eri abakulembeze abakulu ab’omu kibuga kye, ku wankaaki, n’abagamba nti, “Muganda wa baze agaanye okuwangaaza erinnya lya muganda we mu Isirayiri. Kubanga agaanye okutuukiriza gye ndi obuvunaanyizibwa bw’alina ku muganda we.” Abakulembeze abakulu b’omu kibuga banaayitanga omusajja oyo ne boogera naye. Bw’anaakakanyalanga n’agamba nti, “Saagala kumuwasa,” (H)kale, nnamwandu wa muganda we anaatambulanga n’alaga awali omusajja oyo mu maaso g’abakulembeze abakulu b’omu kibuga, anaamwambulangamu engatto mu kigere kye ekimu, era anaamuwandiranga amalusu mu maaso n’ayogera nti, “Bwe kityo bwe kinaakolebwanga ku musajja atazimba lunyiriri lwa luggya lwa muganda we.” 10 Oluggya lw’omusajja oyo lunaamanyibwanga mu Isirayiri ng’Oluggya lw’Omwambule Engatto.

Ebiragiro Ebirala

11 Bwe wanaabangawo abasajja babiri abalwana, mukazi w’omu bw’anajjanga okutaasa bba ku mulabe we n’amukwata ebitundu bye eby’ekyama, 12 (I)omutemangako omukono gwe. Tomusaasiranga.

13 (J)Tossanga mu nsawo zo mayinja gapima ga ngeri bbiri ez’enjawulo, ng’erimu lizitowa, kyokka nga linnaalyo liwewuka. 14 Tobeeranga na bipima bya ngeri bbiri eby’enjawulo, ng’ekimu kinene, kyokka nga kinnaakyo kitono. 15 (K)Kikugwanira obeerenga n’amayinja agapima obuzito obutuufu, era n’ebipima ebirala eby’amazima era ebituufu, olyoke owangaalenga ng’oli mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa. 16 (L)Kubanga Mukama Katonda wo akyayira ddala abo bonna abakola ebyo ebitali bya bwesigwa.

17 (M)Teweerabiranga Abamaleki bye baakukola bwe wali mu lugendo lwo ng’ova mu Misiri. 18 (N)Bwe wali okooye nnyo nga n’amaanyi gakuweddemu, baakusanga mu lugendo lwo olwo, ne balumba abo bonna abaali basembyeyo emabega wo ne babatta; Katonda nga tebamutya. 19 (O)Bw’olimala okutuuka mu nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira, ng’akumazeeko n’abalabe bo bonna ku njuyi zonna, ng’owummudde, ozikiririzanga ddala Abamaleki n’obamalirawo ddala bonna wansi w’eggulu, ne watabaawo baliddayo kubajjukira nti baali babaddewo. Ekyo tokyerabiranga.

Zabbuli 116

116 (A)Mukama mmwagala,
    kubanga awulidde eddoboozi lyange n’okwegayirira kwange.
(B)Kubanga ateze okutu kwe gye ndi,
    kyennaavanga mmukoowoola ebbanga lyonna lye ndimala nga nkyali mulamu.

(C)Emiguwa gy’okufa gyansiba,
    n’okulumwa okw’emagombe kwankwata;
    ne nzijula ennaku nnyingi n’okutya.
(D)Ne ndyoka nkoowoola erinnya lya Mukama nti,
    “Ayi Mukama, ndokola.”

(E)Mukama wa kisa, era mutuukirivu;
    Katonda waffe ajjudde okusaasira.
(F)Mukama alabirira abantu abaabulijjo;
    bwe nnali mu buzibu obunene, n’andokola.

(G)Wummula ggwe emmeeme yange,
    kubanga Mukama abadde mulungi gy’oli.
(H)Kubanga ggwe, Ayi Mukama, owonyezza omwoyo gwange okufa,
    n’amaaso gange ogawonyezza okukaaba;
    n’ebigere byange n’obiwonya okwesittala,
(I)ndyoke ntambulirenga mu maaso ga Mukama
    mu nsi ey’abalamu.

10 (J)Nakkiriza kyennava njogera nti,
    “Numizibbwa nnyo.”
11 (K)Ne njogera nga nterebuse nti,
    “Abantu bonna baliraba.”

12 Mukama ndimusasula ntya
    olw’ebirungi bye ebingi bwe bityo by’ankoledde?
13 (L)Nditoola ekikompe eky’obulokozi,
    ne nkoowoola erinnya lya Mukama.
14 (M)Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama,
    mu maaso g’abantu be bonna.

15 (N)Okufa kw’abatukuvu ba Mukama kwa muwendo nnyo eri Mukama.
16 (O)Ayi Mukama,
    onsumuluddeko ebyansiba n’onfuula wa ddembe,
    nange nnaakuweerezanga ennaku zonna.

17 (P)Ndiwaayo ekiweebwayo eky’okwebaza,
    ne nkoowoola erinnya lya Mukama.
18 Ndituukiriza obweyamo bwange eri Mukama,
    mu maaso g’abantu be bonna,
19 (Q)mu mpya z’ennyumba ya Mukama;
    wakati wo, ggwe Yerusaalemi.

Mutendereze Mukama.

Isaaya 52

Katonda Alizzaawo Yerusaalemi

52 (A)Zuukuka, zuukuka,
    oyambale amaanyi go, ggwe Sayuuni.
Ggwe Yerusaalemi ekibuga ekitukuvu,
    teekako ebyambalo byo ebitemagana.
Kubanga okuva leero mu miryango gyo
    temukyayingira mu atali mukomole n’atali mulongoofu.
(B)Weekunkumuleko enfuufu,
    yimuka otuule ku ntebe ey’obwakabaka ggwe Yerusaalemi.
Weesumulule enjegere mu bulago bwo,
    ggwe Omuwala wa Sayuuni eyanyagibwa.

(C)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Mwatundibwa bwereere
    era mujja kununulibwa awatali kusasula nsimbi.”

(D)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna nti,

“Omulundi ogwasooka abantu bange baagenda e Misiri okusengayo,
    oluvannyuma, Omwasuli n’abajooga.

(E)“Kaakano kiki ate kye ndaba wano?

“Kubanga abantu bange baatwalirwa bwereere
    era abo ababafuga babasekerera,”
    bw’ayogera Mukama.
“Erinnya lyange
    livvoolebwa olunaku lwonna.
(F)Mu biseera ebijja abantu bange balimmanya.
    Olunaku lujja lwe balitegeera nga nze nakyogera.
Weewaawo, Nze.”
(G)Nga birungi ku nsozi ebigere by’oyo aleeta amawulire amalungi,
    alangirira emirembe,
    aleeta ebigambo ebirungi,
alangirira obulokozi,
    agamba Sayuuni nti, “Katonda wo afuga.”
(H)Wuliriza!
    Amaloboozi g’abakuumi bo gawulikika, gayimusiddwa.
Bonna awamu bajaguza olw’essanyu.
    Kubanga okudda kwa Mukama mu Sayuuni balikulaba n’amaaso gaabwe.
(I)Mubaguke okuyimba ennyimba ez’essanyu mwenna,
    mmwe ebifo bya Yerusaalemi ebyazika.
Kubanga Mukama asanyusizza abantu be,
    anunudde Yerusaalemi.
10 (J)Mukama aliraga omukono gwe omutukuvu eri amawanga gonna,
    bagulabe.
Enkomerero z’ensi zonna
    ziriraba obulokozi bwa Katonda waffe.

11 (K)Mugende, mugende muveewo awo.
    Temukwata ku kintu kyonna kitali kirongoofu.
Mukifulumemu mubeere balongoofu
    mmwe abasitula ebyombo bya Mukama.
12 (L)Naye temulivaamu nga mwanguyiriza
    so temuligenda nga mudduka;
kubanga Mukama alibakulembera abasookeyo;
    Katonda wa Isirayiri y’alibakuuma.

Okubonaabona n’Ekitiibwa ky’Omuweereza wa Mukama

13 (M)Laba, omuweereza wange by’akola alibikozesa magezi,
    aliyimusibwa asitulibwe, era assibwemu nnyo ekitiibwa.
14 Ng’abaamulaba ne bennyamira bwe baali abangi,
    endabika ye ng’eyonoonese nnyo nga takyafaananika,
    era ng’eyonoonese evudde ku y’abantu,
15 (N)bw’atyo bw’anawuniikiriza amawanga mangi;
    bakabaka balibunira ku lulwe;
kubanga ekyo ekitababulirwanga balikiraba,
    era ekyo kye batawulirangako, balikitegeera.

Okubikkulirwa 22

Omugga ogw’Obulamu

22 (A)Awo malayika n’andaga omugga ogw’amazzi ag’obulamu agamasamasa ng’endabirwamu, nga gukulukuta okuva mu ntebe ey’obwakabaka eya Katonda, n’ey’Omwana gw’Endiga, (B)nga gukulukutira wakati mu luguudo olunene. Ku mbalama zombi ez’omugga kwaliko emiti egy’obulamu, gumu ku buli ludda, egibala ebibala ekkumi n’ebibiri era nga buli mwezi kubeerako ebibala eby’engeri endala; n’amakoola gaagwo nga gakozesebwa ng’eddagala okuwonya amawanga. (C)Mu kibuga ekyo tewalibaayo kikolimo nate. Entebe ey’obwakabaka eya Katonda n’ey’Omwana gw’Endiga ziribeera eyo, n’abaddu be balimuweereza, (D)era banaalabanga amaaso ge, n’erinnya lye liriwandiikibwa mu byenyi byabwe. (E)Teribaayo kiro, noolwekyo ettabaaza oba enjuba tebiryetaagibwa, kubanga Mukama Katonda y’anaabaakiranga era banaafuganga emirembe n’emirembe. (F)Awo malayika n’aŋŋamba nti, “Ebigambo bino bituufu, bya mazima. Era Katonda w’emyoyo gya bannabbi, atumye malayika we okulaga abaddu be ebyo ebiteekwa okubaawo amangu.”

Okujja kwa Yesu

(G)“Era laba, nzija mangu. Alina omukisa oyo akwata ebigambo by’obunnabbi ebiri mu kitabo kino.”

(H)Nze Yokaana nalaba era ne mpulira ebintu ebyo. Era bwe nabiraba ne mbiwulira ne ngwa wansi okusinza malayika oyo eyabindaga; (I)kyokka ye n’aŋŋamba nti, “Tokola kintu ekyo kubanga nange ndi muddu nga ggwe era nga baganda bo bannabbi bwe bali, awamu n’abo bonna abakwata ebigambo ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. Ssinza Katonda.”

10 (J)Awo n’aŋŋamba nti, “Ebyo by’owandiise eby’obunnabbi tobikuuma nga bya kyama kubanga biri kumpi okutuukirira. 11 (K)Era ekiseera ekyo bwe kirituuka, buli akola ebitali bya butuukirivu alyeyongera okukola ebitali bya butuukirivu, era n’omugwagwa alyeyongera okugwagwawala, kyokka abatuukirivu balyeyongera okuba abatuukirivu, n’abatukuvu balyeyongera okuba abatukuvu.

12 (L)“Laba, nzija mangu nsasule buli omu ng’ebikolwa bye bwe biri. 13 (M)Nze Alufa era nze Omega, Owoolubereberye era Asembayo, Entandikwa era Enkomerero.

14 (N)“Balina omukisa abo abayoza ebyambalo byabwe, baliweebwa obuyinza okuyingira mu miryango gy’ekibuga ne balya ne ku bibala ebiva ku muti ogw’obulamu. 15 (O)Ebweru w’ekibuga y’ebeera embwa, n’abalogo, n’abenzi, n’abassi, n’abasinza bakatonda abalala n’abo bonna abaagala era abakola eby’obulimba.

16 (P)“Nze Yesu, ow’omu kikolo era ow’omu lulyo lwa Dawudi, ntumye malayika wange gye muli okubuulira Ekkanisa ebigambo bino. Nze Mmunyeenye eyaka ey’Enkya.”

17 (Q)Omwoyo n’Omugole boogera nti, “Jjangu.” Na buli awulira ayogere nti, “Jjangu.” Buli alumwa ennyonta ajje, buli ayagala ajje anywe ku mazzi ag’obulamu ag’obuwa.

18 (R)Ntegeeza buli omu awulira ebigambo eby’obunnabbi ebiri mu kitabo: Omuntu yenna alibyongerako, Katonda alimwongerako ebibonoobono ebiwandiikiddwa mu kitabo kino. 19 (S)Era omuntu yenna alikendeeza ku bigambo by’obunnabbi ebiri mu kitabo kino, Mukama alimuggyako omugabo gwe ku muti ogw’obulamu ne mu kibuga ekyo ekitukuvu ekiwandiikiddwako mu kitabo kino.

20 (T)Oyo ayogedde ebintu bino agamba nti, “Weewaawo nzija mangu!”

Amiina! Jjangu Mukama waffe Yesu!

21 (U)Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga ne bonna. Amiina.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.