Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

M’Cheyne Bible Reading Plan

The classic M'Cheyne plan--read the Old Testament, New Testament, and Psalms or Gospels every day.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Ekyamateeka Olwokubiri 21

Etteeka ku Butemu ng’Eyatemula Tamanyiddwa

21 Bw’olimala okuyingira mu nsi Mukama Katonda gy’akuwa okugirya, omuntu n’asangibwa mu nsiko ng’attiddwa, kyokka ng’eyamusse tamanyiddwa, bakadde bo, abakulembeze, n’abalamuzi bo banaafulumanga ne bagenda bapima obuwanvu bw’ebbanga okuva ku mulambo okutuuka ku bibuga ebinaabanga bigwebulunguludde. Kale nno abakadde abakulembeze b’ekibuga ekinaabanga kisinga okuliraana n’omulambo ogwo, banaaddiranga ente enduusi etakozesebwangako mulimu gwonna, etassibwangamu kikoligo, ne bagiserengesa mu kiwonvu ekirimu akagga akakulukuta; ekitalimwangamu wadde okusimbwamu emmere. Mu kiwonvu omwo mwe banaanyoleranga ensingo y’ente eyo ne bagimenya. (A)Kale nno batabani ba Leevi, bakabona, banaavangayo ne basembera, kubanga Mukama Katonda wo yabalonda okumuweerezanga, n’okusabiranga emikisa mu linnya lya Mukama n’okutereezanga empaka zonna n’obulumbaganyi. (B)Awo abakadde abakulembeze bonna ab’omu kibuga ekinaasinganga okuliraana omulambo ogwo, banaanaabiranga engalo zaabwe ku nte eri enduusi eyamenyebbwa ensingo mu kiwonvu[a], ne boogera nti, “Emikono gyaffe si gye gyayiwa omusaayi guno, ne bwe gwali guyiyibwa amaaso gaffe tegaagulaba, tetwaliwo nga guyiyibwa. (C)Osonyiwe abantu bo, Isirayiri, be wanunula Ayi Mukama Katonda, oleme kuleka wakati mu bantu bo, Isirayiri, omusango ogw’okuyiwa omusaayi, gwe batazzanga.” Bwe batyo banaasonyiyibwanga omusango gw’omusaayi ogwo. (D)Bw’otyo bw’onoggyangawo omusango wakati wammwe ogw’okuyiwa omusaayi ogutaliiko nsonga, kubanga onoobanga okoze ekituufu mu maaso ga Mukama Katonda.

Okuwasa Omukazi Omunyage

10 (E)Bw’ogendanga okutabaala balabe bo, Mukama n’abagabula mu mikono gyo n’onyagayo abantu, 11 mu abo abanyagiddwa bw’onoolabangamu omukazi alabika obulungi n’omwagala, n’oyagala okumuwasa, 12 (F)omutwalanga mu maka go, n’omulagira okumwa omutwe gwe, n’okusalako enjala ze, 13 (G)n’engoye ze mwe yawambirwa azeeyambulangamu. Bw’anaamalanga mu nju yo omwezi mulamba ng’akungubagira kitaawe ne nnyina, onoogendanga gy’ali n’obeera bba, naye anaabeeranga mukazi wo. 14 (H)Kyokka bw’anaabanga takusanyusizza, omuwanga eddembe n’agenda so tomutundanga nsimbi. Tomuyisanga nga muddu, kubanga ggwe wamumalamu ekitiibwa kye.

Eddembe ery’Obwebange ery’Omwana Omubereberye

15 (I)Omusajja bw’anaabanga n’abakazi babiri, omu nga muganzi naye omulala nga mukyawe, bombi ne bamuzaalira abaana aboobulenzi, naye ng’omwana omubereberye ye w’omukyawe; 16 (J)bw’anaabanga agabira batabani be abo ebintu bye mu ddaame lye, takkirizibwenga kuyisa mwana wa muganzi ng’omubereberye, singa omwana w’omukyawe ye mubereberye. 17 (K)Anaasaaniranga okukkiriza nti omwana w’omukyawe ye mubereberye, era anaamuwanga emiteeko ebiri egy’ebintu bye byonna by’alina, kubanga oyo ge maanyi ga kitaawe amabereberye. Ye nannyini ddembe ery’obwebange ery’omwana omubereberye.

Abaana Abakakanyavu Abatawulira

18 (L)Omuntu bw’anaabanga ne mutabani we omukakanyavu omujeemu atagondera biragiro bya kitaawe wadde ebya nnyina, atabafaako bwe bamubonerezaamu olw’obutawulira, 19 kitaawe ne nnyina banaamukwatanga ne bamuleeta eri abakulu abakulembeze ab’omu kibuga kye waabwe nga bali wabweru w’omulyango gw’ekibuga ekyo. 20 Banaategeezanga abakulu abakulembeze b’omu kibuga kye waabwe nti, “Mutabani waffe ono mukakanyavu era mujeemu. Tatuwulira. Wa mulugube nnyo era mutamiivu.” 21 (M)Kale nno abasajja b’omu kibuga ekyo banaamukubanga amayinja ne bamutta. Bw’otyo bw’onoomalangawo ekibi wakati wo. Isirayiri yenna anaakiwuliranga, n’atya.

Amateeka Agatali Gamu

22 (N)Omuntu bw’anaasingibwanga ogw’okufa n’attibwa, n’awanikibwa ku muti, 23 (O)omulambo gwe teguulekebwenga ku muti ne gusulako ekiro kyonna; onoomuziikanga ku lunaku olwo lwennyini, kubanga omuntu awanikibwa ku muti, Katonda aba amukolimidde. Togwagwawazanga nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okugirya okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira.

Zabbuli 108-109

Oluyimba. Zabbuli ya Dawudi.

108 Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda;
    nnaayimbanga ne nkutendereza n’omwoyo gwange gwonna.
Muzuukuke, mmwe entongooli n’ennanga ey’enkoba,
    nzija kuyimba okukeesa obudde.
Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama, mu bantu bonna,
    nnaakuyimbiranga mu mawanga gonna.
Okwagala kwo kunene, kutumbiira okutuuka ku ggulu;
    n’obwesigwa bwo butuuka ku bire.
(A)Ogulumizibwenga, Ayi Katonda, okuyisa eggulu;
    n’ekitiibwa kyo kibune ensi yonna.

Tulokole otuyambe n’omukono gwo ogwa ddyo,
    abo booyagala banunulibwe.
Katonda ayogedde ng’asinziira mu kifo kye ekitukuvu n’agamba nti,
    “Nga nzijudde essanyu, ndisala mu Sekemu,
    era n’Ekiwonvu kya Sukkosi ndikigabanyagabanyaamu.
(B)Ensi ya Gireyaadi yange, n’eya Manase nayo yange.
    Efulayimu mwe muli abalwanyi bange abazira;
    ate mu Yuda mwe munaavanga bakabaka.
Mowaabu be baweereza bange abawulize;
    ate Edomu be baddu bange;
    Abafirisuuti ndibaleekaanira mu ddoboozi ery’omwanguka ery’obuwanguzi.”

10 Ani anantuusa ku kibuga ekigumu ekinywevu?
    Ani anankulembera okunnyingiza mu Edomu?
11 (C)Si ggwe, ayi Katonda, atusudde,
    atakyatabaala n’amaggye gaffe?
12 Tudduukirire nga tulwanyisa abalabe baffe,
    kubanga obuyambi bw’abantu temuli nsa.
13 Bwe tunaabeeranga ne Katonda tunaabanga bawanguzi;
    kubanga y’anaalinnyiriranga abalabe baffe wansi w’ebigere bye.

Ya Makulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

109 (D)Ayi Katonda wange gwe ntendereza,
    tonsiriikirira.
(E)Kubanga abantu abakola ebibi era abalimba,
    banjogeddeko eby’obulimba.
(F)Banfukumulidde ebigambo eby’obukyayi,
    ne bannumbagana awatali nsonga.
(G)Bwe mbalaga omukwano, bo bandaga bukyayi;
    kyokka nze mbasabira.
(H)Bwe mbakolera ebirungi bo bansasulamu bibi;
    bwe mbalaga okwagala bo bankyawa bukyayi.

(I)Mumulabire omuntu omukozi w’ebibi amwolekere;
    wabeewo amuwawaabira.
(J)Bwe banaawoza, omusango gumusinge;
    n’okusaba kwe kufuuke kwonoona.
(K)Aleme kuwangaala;
    omuntu omulala amusikire.
(L)Abaana be basigalire awo nga tebaliiko kitaabwe,
    ne mukyala we afuuke nnamwandu.
10 Abaana be bataataaganenga nga bagenda basabiriza;
    bagobebwe ne mu bifulukwa mwe basula.
11 (M)Amubanja ajje awambe ebibye byonna;
    n’abagwira bamunyageko ebintu bye byonna bye yakolerera.
12 (N)Waleme kubaawo amusaasira,
    wadde akolera abaana be ebyekisa.
13 (O)Ezzadde lye lizikirizibwe,
    n’amannya g’abazzukulu be gasangulwe mu ago ag’omu mulembe oguliddirira.
14 (P)Mukama ajjukirenga ebyonoono bya bakadde be;
    n’ekibi kya nnyina kireme kwerabirwanga.
15 (Q)Mukama ajjukirenga ebyonoono byabwe bulijjo,
    n’ensi ebeerabirire ddala.

16 (R)Kubanga talowoozangako kukolera muntu yenna kya kisa;
    naye yayigganyanga abaavu, n’abeetaaga,
    n’abanakuwavu n’abatuusa ne ku kufa.
17 (S)Yayagalanga nnyo okukolima; kale ebikolimo bimwefuulire. Teyayagalanga mikisa; kale gimwesambire ddala!
18 (T)Yeeteekako okukolima ng’ekyambalo,
    ne kumutobya ng’amazzi,
    ne kuyingira mu magumba ge ng’amafuta.
19 Kubeerenga ng’ekyambalo ky’ayambadde,
    era ng’olukoba lwe yeesibye emirembe gyonna.
20 (U)Ebyo byonna y’eba ebeera empeera, Mukama gy’awa abo abandoopaloopa,
    era abanjogerako eby’akabi ebyereere.

21 (V)Naye ggwe, Ayi Mukama Katonda wange,
    nnwanirira olw’erinnya lyo;
    era omponye olw’okwagala kwo okulungi okutaggwaawo.
22 Kubanga ndi mwavu era ali mu kwetaaga,
    n’omutima gwange gunyolwa nnyo.
23 (W)Sikyaliwo, ndi ng’ekisiikirize eky’akawungeezi;
    mmansuddwa eri ng’enzige.
24 (X)Amaviivi gange ganafuye olw’okusiiba;
    omubiri gwange gukozze ne guggwaamu ensa.
25 (Y)Abandoopaloopa bansekerera;
    bwe bandaba nga banyeenyeza omutwe.

26 (Z)Mbeera, Ayi Mukama Katonda wange!
    Ondokole ng’okwagala kwo okutaggwaawo bwe kuli.
27 (AA)Baleke bategeere nti ggwe okikoze,
    n’omukono gwo Ayi Mukama.
28 (AB)Balikoma, naye ggwe olimpa omukisa!
    Leka abannumbagana baswale,
    naye nze omuddu wo nga nsanyuka!
29 (AC)Abandoopa baswazibwe,
    n’ensonyi zaabwe zibabuzeeko obwekyusizo.

30 (AD)Nneebazanga Mukama n’akamwa kange;
    nnaamutenderezanga wakati mu kibiina ekinene.
31 (AE)Kubanga alwanirira omunaku ali mu kwetaaga,
    n’amuwonya abo abaagala afe.

Isaaya 48

Katonda bye Yayogera Bituukirira

48 (A)“Muwulire kino, mmwe ennyumba ya Yakobo,
    abayitibwa erinnya lya Isirayiri,
    era abaava mu nda ya Yuda.
Mmwe abalayirira mu linnya lya Mukama,
    era abaatula Katonda wa Isirayiri,
    naye si mu mazima wadde mu butuukirivu.
(B)Kubanga beeyita ab’ekibuga ekitukuvu,
    abeesiga Katonda wa Isirayiri,
    Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
(C)Okuva ku ntandikwa, nayasanguza ebyali bigenda okubaawo;
    byava mu kamwa kange ne mbyogera.
    Amangwago ne tubikola ne bituukirira.”
(D)Kubanga namanya obukakanyavu bwammwe;
    ebinywa by’ensingo nga bikakanyavu ng’ekyuma;
    ekyenyi ng’ekikomo.
(E)Nabamanyisizaawo edda ebyali bigenda okujja nga tebinnabaawo,
    muleme kugamba nti,
“Bakatonda bange be baabikola:
    Ekifaananyi kyange ekyole
    n’ekifaananyi ekisaanuuse bye byakikola.”
Mulabe ebintu bino nabibagamba dda,
    era temubikkirize?

“Okuva leero nzija kubabuulira ku bintu ebiggya ebigenda okujja,
    eby’ekyama bye mutawulirangako.
Mbikola kaakano,
    so si ekiseera ekyayita:
mwali temubiwulirangako mu biseera eby’emabega
    si kulwa nga mugamba nti, ‘Laba nnali mbimanyi.’
(F)Towulirangako wadde okutegeera.
    Okuva edda n’edda okutu kwo tekuggukanga.
Kubanga namanya nti wali kyewaggula,
    okuva ku kuzaalibwa kwo wayitibwa mujeemu.
(G)Olw’erinnya lyange
    ndwawo okusunguwala. Olw’ettendo lyange
    ndwawo okukusunguwalira nneme okukuzikiriza.
10 (H)Laba nkugezesezza naye si nga ffeeza.
    Nkugezesezza mu kirombe ky’okubonaabona.
11 (I)Ku lwange nze,
    ku lwange nze ndikikola. Erinnya lyange nga livumiddwa.
    Ekitiibwa kyange sirikiwa mulala.

Isirayiri Enunulibwa

12 (J)“Mpuliriza ggwe Yakobo.
    Isirayiri gwe nalonda.
Nze Nzuuyo.
    Nze ow’olubereberye era nze ow’enkomerero.
13 (K)Omukono gwange gwe gwateekawo omusingi gw’ensi,
    era omukono gwange ogwa ddyo ne gwanjuluza eggulu.
Bwe mbiyita
    byombi bijja.

14 (L)“Mwekuŋŋaanye mwenna
    mujje muwulire!
Ani ku bo eyali alangiridde ebintu bino?
    Mukama amwagala; ajja kutuukiriza ekigendererwa kye e Babulooni,
    era omukono gwe gwolekere Abakaludaaya.[a]
15 (M)Nze; Nze nzennyini nze njogedde.
    Nze namuyita.
Ndimuleeta
    era alituukiriza omulimu gwe.

16 (N)“Munsemberere muwulirize bino.

“Okuva ku lubereberye saayogera mu kyama.
    Nze mbaddewo okuviira ddala ku ntandikwa.”

Era kaakano Mukama Ayinzabyonna
    n’Omwoyo we antumye.

17 (O)Bw’atyo bw’ayogera Mukama, Omununuzi wammwe,
    Omutukuvu wa Isirayiri nti,
“Nze Mukama Katonda wo
    akuyigiriza okukulaakulana,
    akukulembera mu kkubo ly’oteekwa okutambuliramu.
18 (P)Singa kale wali owulirizza ebiragiro byange!
    Wandibadde n’emirembe egikulukuta ng’omugga!
    Era n’obutuukirivu bwo ng’amayengo g’ennyanja,
19 (Q)ezzadde lyo lyandibadde ng’omusenyu
    abaana bo ng’obuweke bwagwo.
Erinnya lyabwe teryandivuddewo
    wadde okuzikirira nga wendi.”

20 (R)Muve mu Babulooni,
    mudduke Abakaludaaya.
Mugende nga mutegeeza amawulire gano n’essanyu.
    Mugalangirire wonna wonna
    n’okutuusa ku nkomerero y’ensi.
Mugambe nti, “Mukama anunudde omuddu we Yakobo!”
21 (S)So tebaalumwa nnyonta bwe yabayisa mu malungu.
    Yabakulukusiza amazzi mu lwazi:
yayasa olwazi
    amazzi ne gavaamu.

22 (T)“Tewali mirembe eri aboonoonyi,” bw’ayogera Mukama.

Okubikkulirwa 18

Okugwa kwa Babulooni

18 (A)Oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba malayika omulala ng’akka okuva mu ggulu n’obuyinza obungi ennyo era ensi n’eyakaayakana olw’ekitiibwa kye yalina. (B)N’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti,

“Babulooni ekibuga ekikulu kigudde! kigudde!
    Kifuuse empuku ya baddayimooni,
n’ekkomera lya buli mwoyo ogutali mulongoofu,
    n’ekkomera erya buli nnyonyi etali nnongoofu,
    n’ekkomera erya buli kisolo ekitali kirongoofu, ebyakyayibwa.
(C)Kubanga amawanga gonna gaanywa ku mwenge gw’obwenzi bwe.
    Bakabaka ab’omu nsi bonna baayenda naye.
Era abasuubuzi ab’omu nsi yonna
    bagaggawadde olw’obulamu bwe obw’okwejalabya.”

(D)Ne mpulira eddoboozi eddala nga lyogera okuva mu ggulu nga ligamba nti,

“ ‘Mmwe abantu bange muve mu kibuga ekyo’
    muleme kwegatta mu bibi bye,
    muleme kubonerezebwa wamu naye.
(E)Kubanga ebibi bye bingi nnyo, era bituuse ne mu ggulu,
    era Katonda ajjukira obutali butuukirivu bwe.
(F)Mumuyise nga naye bwe yayisa abalala;
    mumubonereze emirundi ebiri olw’ebikolwa bye ebibi.
    Mumuyengere emirundi ebiri mu kikompe kye yagabulirangamu abalala.
(G)Nga bwe yeegulumiza ne yeejalabya,
    bw’otyo bw’oba omubonereza era omunakuwaze,
kubanga ayogera mu mutima gwe nti,
    ‘Ntudde nga kabaka omukazi,
siri nnamwandu,
    era sirina nnaku.’
(H)Noolwekyo ebibonyoobonyo eby’okufa n’okukaaba n’enjala birimujjira mu lunaku lumu,
    era alizikirizibwa n’omuliro;
kubanga Mukama Katonda
    amusalidde omusango.

(I)“Bakabaka ab’omu nsi abeegatta naye mu bwenzi bwe ne beejalabya naye, balimukaabira nga bakuba ebiwoobe bwe baliraba omukka oguva mu kifo mw’alyokerwa. 10 (J)Baliyimirira wala nga bakankana olw’okutya era nga boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti,

“ ‘Zikisanze, Zikisanze Babulooni ekibuga ekyo ekikulu!
    Ekibuga eky’amaanyi,
Kubanga mu ssaawa emu omusango gwakyo gusaliddwa.’

11 (K)“Abasuubuzi b’omu nsi balimukaabira nga bamukungubagira kubanga nga tewakyali abagulako byamaguzi byabwe. 12 (L)Ebyamaguzi ebya zaabu, n’ebya ffeeza, n’eby’amayinja ag’omuwendo, ne luulu, n’eby’engoye eza linena, n’eza kakobe, n’eza liiri, n’emyufu era na buli muti gwonna ogwa kaloosa, n’ebintu eby’amasanga, na buli kika eky’emiti egy’omuwendo ennyo, n’ebikomo, n’ebyuma awamu n’amayinja aga mabbo; 13 (M)n’ebyakaloosa, n’ebinzaali, n’obubaane, n’omuzigo gw’omugavu, n’envinnyo, n’amafuta, n’obuwunga bw’eŋŋaano obulungi; n’ente, n’endiga; n’embalaasi, n’amagaali; n’abaddu n’emyoyo gyabwe.

14 “Ekibala emmeeme yo kye yeegombanga, tekyakirina, byonna eby’omuwendo omungi n’eby’okwejalabya tebikyali bibyo. Bikuvuddeko byonna so toliddayo kubirabako nate emirembe gyonna.” 15 (N)Bwe batyo abasuubuzi abaagaggawala olw’okubaguza ebintu bino, baliyimirira wala nga nabo batya, olw’okutya okubonaabona kwe, n’okukaaba kwe, n’okunakuwala kwe, 16 (O)nga bagamba nti,

“ ‘Zikisanze, Zikisanze, ekibuga ekikulu,
    ekifaanana ng’omukazi ayambadde engoye eza linena omulungi, n’eza kakobe, n’emyufu,
    era ng’ataddemu eby’omu bulago ebya zaabu n’amayinja ag’omuwendo omungi ne luulu.
17 (P)Mu ssaawa emu obugagga obwenkanaawo bwonna buzikiridde!’

“Era abo bonna abalina emmeeri ez’eby’obusuubuzi awamu n’abagoba baazo, n’abo abazikolamu, baayimirira wala. 18 (Q)Bakaaba nga balaba omukka oguva mu muliro ogumwokya, nga gwambuka, nga bwe bagamba nti, ‘Ekibuga ekiri nga kino kirirabika wa nate?’ 19 (R)Ne beeyiyira enfuufu ku mitwe gyabwe nga banakuwadde era nga bakaaba nga boogera nti,

“ ‘Zikisanze, Zikisanze, ekibuga ekikulu!
    Kyabagaggawaza bonna
    abaalina ebyombo ku lubalama lw’ennyanja olw’obugagga obwakirimu,
naye kaakano mu ssaawa emu byonna ebyakirimu bizikiridde.’

20 (S)“Kyokka ggwe eggulu ssanyuka olw’okubonerezebwa kwe,
    nammwe abatukuvu
    ne bannabbi n’abatume musanyuke.
Kubanga Katonda amusalidde omusango
    ku lwammwe.”

21 (T)Awo malayika omu ow’amaanyi n’asitula ejjinja eddene eriri ng’olubengo n’alisuula mu nnyanja nga bw’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti,

“Bwe kityo Babulooni,
    ekibuga ekikulu bwe kirisuulibwa wansi n’amaanyi,
    era tekiriddayo kulabika nate emirembe gyonna.
22 (U)Mu ggwe temuliwulirwa nate ddoboozi lya bayimbi,
    n’abakubi b’ennanga n’ery’abafuuyi b’endere, n’ery’abafuuyi b’eŋŋombe.
Mu ggwe temulisangibwamu muweesi
    wadde okuweesa okw’engeri yonna,
newaakubadde okuvuga kw’olubengo nga basa
    tekuliwulirwa mu ggwe.
23 (V)Ekitangaala ky’ettabaaza ng’eyaka
    tekirirabikira mu ggwe nate,
kubanga abasuubuzi be wasuubulanga nabo baamanyika nnyo mu nsi yonna,
    era walimbalimba amawanga gonna n’eby’obulogo bwo.
24 (W)Era mu Babulooni mwasangibwamu omusaayi gw’abatukuvu n’ogwa bannabbi,
    n’abo bonna abattibwa ku nsi.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.