M’Cheyne Bible Reading Plan
Yagalanga Mukama Katonda wo
6 “Kale nno, bino bye biragiro, n’amateeka, Mukama Katonda wammwe bye yandagira okubayigiriza, mubikwatenga era mubigonderenga, nga mumaze okusomoka omugga Yoludaani nga muyingidde mu nsi ejja okubeera obutaka bwammwe obw’enkalakkalira. 2 (A)Bw’otyo ggwe n’abaana bo, n’abaana b’abaana bo oluvannyuma lwabwe, olyoke otyenga Mukama Katonda wo ennaku zonna ez’obulamu bwo, ng’ogondera amateeka ge n’ebiragiro bye, bye nkuwa leero; olyoke owangaalenga. 3 (B)Noolwekyo, wulira, Ayi Isirayiri, ogonderenga ebiragiro ebyo n’obwegendereza, ebintu byonna bikugenderenga bulungi, mulyoke muzaale mwalenga nnyo, mu nsi ekulukuta n’amata n’omubisi gw’enjuki, nga Mukama Katonda wa bajjajjaabo bwe yakusuubiza.
Etteeka ly’Okwagala
4 (C)“Wulira, Ayi Isirayiri: Mukama Katonda waffe ali omu. 5 (D)Oyagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’omwoyo gwo gwonna, n’amaanyi go gonna. 6 (E)Amateeka gano ge nkuwa leero ogakwatanga ku mutima gwo. 7 (F)Ogayigirizanga abaana bo n’obwegendereza. Ogoogerengako bw’onoobanga otudde mu maka go, ne bw’onoobanga otambula mu kkubo, bw’onoobanga ogalamiddeko, ne bw’onoobanga ogolokose. 8 (G)Onoogasibanga ku mikono gyo, nga bwe bubonero obw’okukujjukizanga, era ogatekanga ne ku kyenyi kyo. 9 (H)Onoogawandiikanga ku myango gy’ennyumba yo, era ne ku nzigi zo.
10 (I)“Mukama Katonda wammwe bw’alimala okukutuusa mu nsi gye yalayirira bajjajjaabo: Ibulayimu, ne Isaaka, ne Yakobo okugibawa, nga mulimu ebibuga ebinene ebikulaakulana, by’otaazimba, 11 (J)n’amayumba agajjudde buli kintu kyonna ekirungi, ky’otaateekamu, n’enzizi z’otaasima, n’ennimiro z’emizabbibu n’emizeeyituuni z’otaasimba; kale, bw’onoomalanga okulya n’okkuta, 12 weekuumenga olemenga okwerabira Mukama eyakuggya mu nsi ey’e Misiri eyali ey’obuddu.
13 (K)“Otyanga Mukama Katonda wo. Ye gw’obanga oweereza yekka, era mu linnya lye lyokka mw’obanga olayiriranga. 14 Temuweerezanga bakatonda balala, bakatonda b’amawanga aganaabanga gabeetoolodde; 15 (L)kubanga Mukama Katonda wo, ali wakati mu mmwe, Katonda wa buggya; obusungu bwe bugenda kukubuubuukirangako, akuzikirize, akumalewo ku nsi. 16 (M)Temugezesanga Mukama Katonda wammwe, nga bwe mwakola nga muli e Masa. 17 (N)Munyiikirenga okukuumanga n’okugonderanga amateeka n’ebiragiro Mukama Katonda wammwe by’akuwadde. 18 (O)Okolanga ebyo Mukama by’akkiriza ebituufu era ebirungi; olwo olyoke obe bulungi ng’oyingidde mu nsi eyo ennungi Mukama gye yalayirira bajjajjaabo okugibawa, 19 ng’agobyemu abalabe bo bonna, nga Mukama Katonda bwe yasuubiza.
Okunnyonnyolanga Abaana Amateeka
20 (P)“Mu biseera ebirijja, omwana wo bw’akubuuzanga nti, Ebyo byonna ebinnyonnyola buli kalonda, n’amateeka, n’ebiragiro Mukama Katonda waffe bye yabalagira, bitegeeza ki? 21 Omuddangamu nti, ‘Twali baddu ba Falaawo mu nsi ey’e Misiri, naye Mukama Katonda n’atuggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi. 22 Mukama Katonda n’alaga obubonero obw’ekitalo, n’akola ebyamagero ebinene era ebitatendeka ku Misiri ne ku Falaawo n’ab’omu maka ge bonna, nga naffe tulaba. 23 N’atuggyayo n’atuyingiza muno alyoke atuwe ensi eno gye yalayirira bajjajjaffe okugibawa. 24 (Q)Mukama n’atulagira okukwatanga amateeka gano gonna n’okugagonderanga, n’okutyanga Mukama Katonda waffe ennaku zonna, alyoke atukuumenga nga tuli mu mbeera ennungi, era nga tuli balamu, nga bwe tuli leero. 25 (R)Era singa tuneegenderezanga ne tukwata amateeka gano gonna ne tugagonderanga, mu maaso ga Mukama Katonda waffe, nga bwe yatulagira, tunaabanga tutuukirizza ebyo by’ayagala.’ ”
Endagaano ya Katonda ne Dawudi.
89 (A)Nnaayimbanga ku kwagala kwo okungi, Ayi Mukama, emirembe gyonna.
Nnaatenderezanga obwesigwa bwo n’akamwa kange, bumanyibwe ab’emirembe gyonna.
2 (B)Ddala ddala nnaategeezanga nti okwagala kwo tekuggwaawo ennaku zonna;
n’obwesigwa bwo bunywevu ng’eggulu.
3 Nakola endagaano n’omulonde wange;
nalayirira omuweereza wange Dawudi nti,
4 (C)“Ezadde lyo nnaalinywezanga ennaku zonna,
era entebe yo ey’obwakabaka nnaaginywezanga emirembe gyonna.”
5 (D)Eggulu linaatenderezanga ebyamagero byo n’obwesigwa bwo,
Ayi Mukama, mu kibiina ky’abatukuvu bo.
6 (E)Kale, mu ggulu waggulu, ani ageraageranyizika ne Mukama?
Ani afaanana nga Mukama, mu abo ababeera mu ggulu?
7 (F)Katonda atiibwa nnyo mu lukiiko olw’abatukuvu;
era wa ntiisa okusinga bonna abamwetooloola.
8 (G)Ayi Mukama Katonda ow’Eggye, ani akufaanana?
Oli wa buyinza, Ayi Mukama, ojjudde obwesigwa.
9 (H)Ggwe ofuga amalala g’ennyanja;
amayengo gaayo bwe geekuluumulula ogakkakkanya.
10 (I)Lakabu wamubetentera ddala;
abalabe bo n’obasaasaanya n’omukono gwo ogw’amaanyi.
11 (J)Eggulu liryo, n’ensi yiyo;
ensi yonna gwe wagitonda ne byonna ebigirimu.
12 (K)Watonda obukiikakkono n’obukiikaddyo;
ensozi Taboli ne Kerumooni zitendereza erinnya lyo.
13 Oli wa buyinza bungi nnyo; omukono gwo gwa maanyi,
omukono gwo ogwa ddyo gunaagulumizibwanga.
14 (L)Obutuukirivu n’obwenkanya gwe musingi gw’obwakabaka bwo.
Okwagala n’obwesigwa bye binaakukulemberanga.
15 (M)Balina omukisa abantu abamanyi okukutendereza Mukama n’amaloboozi ag’essanyu;
Ayi Mukama, banaatambuliranga mu ssanyu lyo.
16 (N)Banaasanyukiranga mu linnya lyo okuzibya obudde,
n’obutuukirivu bwo banaabugulumizanga.
17 (O)Kubanga gw’obawa amaanyi ne bafuna ekitiibwa.
Olw’okwagala kwo otutuusa ku buwanguzi olw’ekisa kyo.
18 (P)Ddala ddala, Mukama ye ngabo yaffe,
Omutukuvu wa Isirayiri kabaka waffe.
19 Mu biro biri eby’edda wayogera n’omuweereza wo
omwesigwa mu kwolesebwa nti, Ngulumizizza omuzira ow’amaanyi;
ngulumizizza omuvubuka
okuva mu bantu abaabulijjo.
20 (Q)Nalaba Dawudi, omuweereza wange;
ne mufukako amafuta gange amatukuvu okuba kabaka.
21 (R)Nnaamukulemberanga,
n’omukono gwange gunaamunywezanga.
22 (S)Tewaliba mulabe we alimuwangula,
so n’aboonoonyi tebaamunyigirizenga.
23 (T)Abalabe be n’abamukyawa ndibamerengula,
n’amaggye agamulwanyisa ndigabetenta.
24 (U)Obwesigwa bwange n’okwagala kwange kunaabanga naye,
ne mu linnya lyange aneeyongeranga okuba ow’amaanyi.
25 (V)Alifuga okuva ku migga
okutuuka ku nnyanja ennene.[a]
26 (W)Anankowoolanga ng’agamba nti, Ggwe Kitange era Katonda wange,
ggwe Lwazi olw’Obulokozi bwange.
27 (X)Ndimufuula omwana wange omubereberye,
era kabaka asinga okugulumizibwa mu bakabaka bonna ab’ensi.
28 (Y)Okwagala kwange kunaabeeranga naye ennaku zonna;
n’endagaano gye nkoze naye teeremenga kutuukirira.
29 (Z)Ezzadde lye teririggwaawo emirembe gyonna,
n’obwakabaka bunaavanga mu kika kye ennaku zonna.
30 Abaana be bwe banaanyoomanga amateeka gange,
ne batagoberera biragiro byange;
31 bwe banaamenyanga ebiragiro byange,
ne batagondera mateeka gange,
32 (AA)ndibabonereza n’omuggo olw’ebibi byabwe,
ne mbakuba emiggo olw’ebyonoono byabwe.
33 (AB)Naye ssirirekayo kumwagala,
wadde okumenyawo obwesigwa bwange gy’ali.
34 (AC)Sigenda kulemwa kutuukiriza ndagaano yange,
wadde okukyusa ku ebyo akamwa kange bye koogedde.
35 Nalayira omulundi gumu, ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
nti, “Dawudi sigenda kumulimba.”
36 Ezzadde lye teririggwaawo emirembe gyonna;
n’entebe ye ey’obwakabaka enaabeerangawo emirembe gyonna okufaanana ng’enjuba.
37 Entebe ye ey’obwakabaka erinywezebwa emirembe n’emirembe,
ng’omwezi ku ggulu era nga ye mujulirwa wange omwesigwa.
38 (AD)Naye kaakano, gwe wafukako amafuta omusudde,
omukyaye era omunyiigidde.
39 (AE)Endagaano gye wakola n’omuweereza wo wagimenyawo,
n’engule ye n’ogisuula eri mu nfuufu.
40 (AF)Wamenyaamenya bbugwe we yenna,
n’oggyawo n’ebigo bye.
41 (AG)Abatambuze baanyaga ebintu bye;
n’afuuka ekisekererwa mu baliraanwa be.
42 (AH)Wayimusa omukono gw’abalabe be ogwa ddyo,
n’osanyusa abalabe be bonna.
43 (AI)Wakyusa ekitala kye
n’otomuyamba mu lutalo.
44 Ekitiibwa kye wakikomya;
entebe ye ey’obwakabaka n’ogisuula wansi.
45 (AJ)Ennaku z’obuvuka bwe wazisalako,
n’omuswaza.
46 (AK)Ayi Mukama, olyekweka ennaku zonna?
Obusungu bwo obubuubuuka ng’omuliro bulikoma ddi?
47 (AL)Jjukira ekiseera ky’obulamu bwange nga bwe kiri ekimpi.
Wateganira bwereere okutonda abantu bonna!
48 (AM)Muntu ki omulamu atalifa, omuntu asobola okwewonya okufa
n’awangula amaanyi g’emagombe?
49 Ayi Mukama, okwagala kwo okw’edda okutaggwaawo,
kwe walayirira Dawudi mu bwesigwa bwo, kuli luuyi wa?
50 (AN)Ayi Mukama, jjukira abaweereza bo nga basekererwa,
engeri abantu ab’omu mawanga amangi, bwe banzitoowerera mu mutima nga banvuma;
51 (AO)abalabe bo banvuma, Ayi Mukama;
ne bajerega oyo gwe wafukako amafuta, nga bamukijjanya buli gy’alaga.
52 (AP)Mukama atenderezebwenga emirembe gyonna!
Amiina era Amiina!
Amawanga gasalirwa Omusango
34 (A)Musembere mmwe amawanga muwulirize.
Musseeyo omwoyo mmwe abantu.
Ensi ewulirize, ne byonna ebigirimu,
ensi ne byonna ebigivaamu.
2 (B)Mukama anyiigidde amawanga gonna,
ekiruyi kye kiri ku magye gaabwe gonna.
Alibazikiririza ddala,
alibawaayo okuttibwa.
3 (C)Abantu baabwe abattibwa balisuulibwa ebweru,
n’emirambo gyabwe giriwunya,
n’ensozi zirinnyikira omusaayi gwabwe.
4 (D)Emmunyeenye zonna ez’omu ggulu zirisaanuuka,
n’eggulu liryezingako ng’omuzingo;
n’eggye ery’omu ggulu lirigwa,
ng’ebikoola ebiwotose ebiva ku muzabbibu,
ng’ebirimba ebyayongobera ebiva ku mutiini.
5 (E)Weewaawo ekitala kyange kinywedde ne kijjuzibwa mu ggulu,
era laba, kikkira ku Edomu okusala omusango,
abantu be mmaliddewo ddala.
6 Ekitala kya Mukama kisaabye omusaayi,
kiriko amasavu,
omusaayi gw’abaana b’endiga n’embuzi,
amasavu agava mu nsingo za sseddume.
Mukama alina ekiweebwayo mu Bozula,
era waliyo n’okuttibwa okw’amaanyi mu Edomu.
7 (F)Embogo zirifiira wamu nazo,
n’obute obulume, ne ziseddume zirifiira wamu nazo.
Ensi yaabwe erijjula omusaayi,
n’enfuufu erinnyikira amasavu.
8 (G)Mukama alina olunaku olw’okuwalanirako eggwanga,
omwaka ogw’okwesasuza, olw’ensonga eya Sayuuni.
9 Emigga gya Edomu girikalira ne gifuuka bulimbo,[a]
n’enfuufu ye erifuuka ng’obuwunga bwa salufa ayokya.
Ensi ye erifuuka ng’obulimbo[b] obuggya omuliro.
10 (H)Talizikizibwa emisana n’ekiro,
n’omukka gwe gulinyooka ennaku zonna.
Edomu alisigala kifulukwa emirembe n’emirembe,
era tewaliba n’omu ayita mu nsi eyo.
11 (I)Ekiwuugulu eky’omu ddungu n’ekiwuugulu ekireekaana, birikibeeramu.
Ekiwuugulu ekinene ne namuŋŋoona birizimbamu ebisu byabyo.
Katonda aligololera ekipimo eky’okwewunika,
n’ekipimo ekinaaleka Edomu nga njereere.
12 (J)Abakungu be tebalibaako kye bayita bwakabaka,
n’abalangira be bonna baliggwaawo.
13 (K)Amaggwa galimera ku minaala egy’ekibuga kye,
n’emyennyango n’amatovu ne bimera mu bigo bye ebyanywezebwa.
Aliyiggibwa ebibe,
era ebiwuugulu birimufuula ekifo eky’okuwummulirangamu.
14 (L)Ensolo ez’omu ddungu gye zirisisinkana empisi,
n’embuzi enkambwe ez’omu nsiko gye ziriramusiganyiza.
Era eyo ebisolo ebitambula ekiro nabyo biriwummula
nga byefunidde ekifo eky’okuwummulirangamu.
15 (M)Ekiwuugulu kiribiikira eyo amagi,
ne kigaalula,
ne kirabirira abaana baakyo wansi w’ekisiikirize kyakyo.
Era eyo ne kamunye gy’alikuŋŋaanira, empanga n’enseera.
16 (N)Tunula mu muzingo gwa Mukama osome.
Tewali na kimu ku ebyo ekiribulayo,
era ekirume kiriba n’ekikazi, n’ekikazi ne kiba n’ekirume.
Akamwa ka Mukama ke kalagidde,
era Omwoyo we yalibikuŋŋaanya.
17 (O)Agabira buli kimu omugabo gwakyo,
era omukono gwe gubigabanyiza mu kigera.
Birikibeeramu ennaku zonna,
bibeere omwo emirembe n’emirembe.
Entebe ey’Obwakabaka mu Ggulu
4 (A)Laba, oluvannyuma lw’ebyo ne ndaba oluggi oluggule mu ggulu, era ne mpulira n’eddoboozi lye limu lye nawulira olubereberye eryali livuga ng’eryekkondere nga liŋŋamba nti, “Yambuka wano nkulage ebyo ebiteekwa okubaawo oluvannyuma lwa biri.” 2 (B)Amangwago, nga ndi mu mwoyo, laba, ne ndaba entebe ey’obwakabaka ng’etegekeddwa mu ggulu, ne ku ntebe eyo nga kuliko atuddeko. 3 (C)Eyali agituddeko yali ayakaayakana ng’amayinja ag’omuwendo omungi aga yasepi ne sadio; era ng’entebe eyo yeetooloddwa musoke ng’ayakaayakana nga zumaliidi. 4 (D)Entebe ey’obwakabaka yali yeetooloddwa entebe endala amakumi abiri mu nnya nga zituuliddwako abakadde amakumi abiri mu bana, bonna nga bambadde engoye enjeru nga balina engule eza zaabu ku mitwe gyabwe. 5 (E)Mu ntebe eyo ey’obwakabaka ne muvaamu okumyansa n’amaloboozi n’okubwatuka. Mu maaso g’entebe eyo waaliwo ettabaaza ezaaka musanvu, nga gy’emyoyo omusanvu egya Katonda. 6 (F)Ne mu maaso g’entebe eyo waaliwo ekiri ng’ennyanja ey’endabirwamu, ekifaanana nga kulusitalo. Waaliwo ebiramu bina ebijjudde amaaso mu bwenyi n’emabega waabyo nga biri wakati w’entebe ey’obwakabaka n’okugyetooloola.
7 (G)Ekisooka ku biramu bino kyali ng’empologoma, ekyokubiri nga kifaanana ng’ennyana, n’ekyokusatu kyalina amaaso ng’ag’omuntu, n’ekyokuna kyali ng’empungu, ebuuka. 8 (H)Buli kimu ku biramu bino ebina kyalina ebiwaawaatiro mukaaga nga bijjudde amaaso enjuuyi zonna ne wansi. Era buli lunaku emisana n’ekiro, awatali kuwummula, nga bigamba nti,
“Mutukuvu, Mutukuvu, Mutukuvu,
Mukama Katonda Ayinzabyonna,
Oyo eyaliwo, aliwo, era ajja okubaawo.”
9 (I)Era ebiramu ebyo ebina, buli lwe byawanga ekitiibwa n’ettendo n’okwebaza, Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka, abeera omulamu emirembe gyonna, 10 (J)abakadde amakumi abiri mu abana ne bavuunama mu maaso g’Oyo atudde ku ntebe ey’obwakabaka, omulamu emirembe n’emirembe, ne bamusinza. Ne bateeka engule zaabwe mu maaso g’entebe eyo, nga bwe bagamba nti,
11 (K)“Mukama waffe era Katonda waffe,
osaanidde okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo n’obuyinza,
kubanga gwe watonda ebintu byonna
era byonna byatondebwa ku lulwo
era gwe wasiima okubiteekawo.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.