Beginning
Okutendekebwa kwa Danyeri mu Babulooni
1 (A)Mu mwaka ogwokusatu ogw’obufuzi bwa Yekoyakimu kabaka wa Yuda, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’alumba Yerusaalemi. 2 (B)Mukama n’awaayo Yekoyakimu kabaka wa Yuda, mu mukono gwa Nebukadduneeza, era n’ebintu ebimu eby’omu yeekaalu ya Katonda, Nebukadduneeza n’abiggyamu n’abitwala e Babulooni n’abiteeka mu ggwanika ery’omu ssabo lya lubaale we.
3 (C)Nebukadduneeza n’alagira Asupenaazi omukulu w’abalaawe be alonde mu Bayisirayiri ab’omu lulyo olulangira, ne mu bakungu, 4 abavubuka abataliiko kamogo, abalabika obulungi mu maaso, nga bategeevu mu nsonga zonna ne mu by’amagezi byonna, era abakalabakalaba mu kutegeera, era abasaanira okuweereza mu lubiri lwa kabaka. Asupenaazi yalina obuvunaanyizibwa obw’okubayigirizanga amagezi g’Abakaludaaya, n’olulimi lwabwe. 5 (D)Kabaka n’alagira baweebwenga ku mmere ne ku wayini ebyagabulwanga ku mmeeza ya kabaka. Baali baakutendekebwa okumala emyaka esatu, n’oluvannyuma bagende baweereze kabaka.
6 (E)Mu abo abaalondebwa mwe mwali abaava mu Yuda, era n’amannya gaabwe baali Danyeri, ne Kananiya, ne Misayeri, ne Azaliya. 7 (F)Asupenaazi n’abawa amannya amaggya: Danyeri n’amutuuma Berutesazza, Kananiya n’amutuuma Saddulaaki, Misayeri n’amutuuma Mesaki, ne Azaliya n’amutuuma Abeduneego.
8 (G)Naye Danyeri n’amalirira mu mutima gwe obuteeyonoonyesa na mmere na wayini ebyavanga ku mmeeza ya kabaka, n’asaba Asupenaazi amukkirize aleme kweyonoonyesa. 9 (H)Mu biro ebyo Katonda n’akozesa Asupenaazi okulaga ekisa n’okusaasira eri Danyeri. 10 Asupenaazi n’agamba Danyeri nti, “Ntidde mukama wange kabaka, eyalagidde mulye emmere eyo n’ebyokunywa ebyo. Singa anaabalaba nga mukozze okusinga abavubuka abalala ab’emyaka gyammwe, kabaka ajja kunzita.” 11 Awo Danyeri n’agamba omusigire wa Asupenaazi, Asupenaazi gwe yassaawo okulabiriranga Danyeri, ne Kananiya, ne Misayeri ne Azaliya nti, 12 “Nkwegayiridde ogezese abaddu bo okumala ennaku kkumi, oleme kubawa kintu kirala kyonna okuggyako enva endiirwa n’amazzi ag’okunywa. 13 N’oluvannyuma otugeraageranye n’abavubuka abalala abalya ku mmere ya kabaka, olyoke okole nga bw’onoolaba.” 14 N’akkiriziganya nabo ku nsonga eyo, n’abagezesa okumala ennaku kkumi. 15 (I)Awo ennaku ekkumi bwe zaggwaako, bo baali banyiridde era nga bafaanana bulungi okusinga abavubuka abaalyanga ku mmere ya kabaka. 16 (J)Awo omusigire n’alekayo okubawa emmere yaabwe ey’enjawulo ne wayini gwe baali bateekwa okunywa, n’abawa enva endiirwa.
17 (K)Abavubuka abo abana, Katonda n’abawa amagezi n’okutegeera eby’okuyiga eby’engeri zonna; Danyeri n’asukkirira mu kutegeera okw’okuvvuunula okwolesebwa okw’engeri zonna, n’ebirooto.
18 (L)Awo ekiseera kabaka kye yalagira abavubuka bonna baleetebwe, bwe kyatuuka, Asupenaazi n’abaleeta n’abalaga eri Nebukadduneeza. 19 (M)Kabaka n’ayogera nabo, ne mutalabika mu bo bonna eyenkanaankana nga Danyeri, ne Kananiya, ne Misayeri ne Azaliya mu kutegeera; kyebaava baweebwa emirimu egy’obuvunaanyizibwa mu lubiri lwa kabaka. 20 (N)Buli nsonga ey’amagezi n’ey’okutegeera kabaka gye yababuuzanga, baali bagitegeera emirundi kkumi okusinga abasawo n’abafumu bonna, mu bwakabaka bwe bwonna.
21 (O)Awo Danyeri n’aba muweereza mukulu mu bwakabaka okutuusa ku mwaka ogw’olubereberye ogwa Kabaka Kuulo.
Ekirooto kya Nebukadduneeza
2 (P)Mu mwaka ogwokubiri ogw’obufuzi bwa kabaka Nebukadduneeza, Nebukadduneeza n’aloota ekirooto; ne yeeraliikirira nnyo, n’otulo ne tumubula. 2 (Q)Awo kabaka n’atumya abasawo, n’abafumu, n’abalaguzi n’Abakaludaaya okumutegeeza ekirooto kye yaloota. Ne bajja ne bayimirira mu maaso ga kabaka. 3 (R)N’abagamba nti, “Naloota ekirooto ekimbuzizza otulo, njagala mukintegeeze n’amakulu gaakyo.”
4 (S)Awo Abakaludaaya ne baddamu kabaka mu lulimi Olusuuli nti, “Ayi kabaka, owangaale emirembe gyonna! Buulira abaddu bo ekirooto, nabo banaakunnyonnyola amakulu gaakyo.”
5 (T)Kabaka n’addamu Abakaludaaya nti, “Kino kye nsazeewo; bwe mutantegeeze kirooto ekyo, n’amakulu gaakyo, nzija kulagira mutemebwetemebwe, era n’amayumba gammwe gamenyebwemenyebwe. 6 (U)Kyokka bwe munaantegeeza ekirooto n’amakulu gaakyo, nnaabawa ebirabo, n’empeera, n’ekitiibwa kinene. Noolwekyo mumbuulire ekirooto n’amakulu gaakyo.”
7 Ne bamuddamu nate nti, “Tubuulire ekirooto kyo, tusobole okukubuulira amakulu gaakyo.”
8 Awo kabaka n’addamu nti, “Ntegeeredde ddala nga mwagala kufuna bbanga ddene, kubanga mutegedde nga kye nsazeewo mmaliridde okukikola, 9 (V)era bwe mutantegeeze kirooto, ekibonerezo kiri kimu kyokka. Mwekobaanye okunnimba n’okumbuulira ebigambo ebikyamu, nga munsuubira okukyusa ku ndowooza yange. Kale nno, muntegeeze ekirooto, munnyinnyonnyole n’amakulu gaakyo.”
10 (W)Abakaludaaya ne baddamu kabaka nti, “Tewali muntu n’omu ku nsi ayinza okukola kabaka ky’asaba. Ate era tewabangawo kabaka ne bw’aba w’amaanyi atya oba wa buyinza atya, eyali asabye omulaguzi yenna newaakubadde omufumu yenna newaakubadde Omukaludaaya yenna ekintu ng’ekyo. 11 (X)Kabaka ky’asaba kizibu nnyo. Tewali n’omu ayinza kukibikkulira kabaka, wabula bakatonda abatalina mubiri ogwa bulijjo.”
12 (Y)Ekigambo ekyo ne kisunguwaza nnyo kabaka, kyeyava alagira abagezigezi bonna mu Babulooni okuttibwa. 13 (Z)Ekiragiro ne kiyita okutta abagezigezi bonna, era ne wabaawo abasajja abaatumibwa okunoonya Danyeri ne mikwano gye okubatta.
14 Awo Danyeri n’asisinkana Aliyooki omuduumizi w’abakuumi ba kabaka, bwe yali ng’agenda okutta abagezigezi ab’e Babulooni; n’ayogera naye mu magezi n’obukalabakalaba, 15 n’amubuuza nti, “Kyavudde ku ki kabaka okuwa ekiragiro eky’obukambwe bwe kityo?” Aliyooki n’annyonnyola Danyeri ensonga eyavaako ekyo. 16 Awo Danyeri n’alaga eri kabaka, n’asaba aweebwe ekiseera okwogera ne kabaka, alyoke amutegeeze amakulu g’ekirooto.
17 (AA)Awo Danyeri n’addayo ewuwe, n’ategeeza mikwano gye Kananiya, ne Misayeri ne Azaliya, 18 (AB)n’abagamba basabe Katonda ow’eggulu abalage ekisa ababikkulire amakulu ag’ekyama ekyo, ye ne banne baleme kuzikirizibwa wamu n’abagezigezi abalala ab’e Babulooni. 19 (AC)Mu kiro ekyo Danyeri n’afuna okwolesebwa ku kigambo ekyo, n’atendereza Katonda ow’eggulu. 20 (AD)N’ayogera nti,
“Erinnya lya Katonda litenderezebwenga emirembe n’emirembe,
kubanga amagezi n’obuyinza bibye.
21 (AE)Ategeera ebiseera n’ebiro;
assaawo bakabaka era aggyawo bakabaka;
awa amagezi abagezigezi,
era n’okumanyisa abo abategeevu.
22 (AF)Abikkula ebyama ebyakisibwa edda;
amanyi ebifa mu nzikiza,
n’ekitangaala kibeera naye.
23 (AG)Nkwebaza era nkutendereza, Ayi Katonda wa bajjajjange
ompadde amagezi n’amaanyi,
ombikkulidde ekyo kye twakusabye,
otutegeezezza ekirooto kya kabaka.”
Danyeri Ategeeza Amakulu ag’Ekirooto
24 (AH)Awo Danyeri n’alaga eri Aliyooki, kabaka gwe yali alonze okuzikiriza abasajja abagezigezi aba Babulooni, n’amugamba nti, “Tozikiriza basajja bagezigezi ba Babulooni. Ntwala eri kabaka mmutegeeze amakulu g’ekirooto kye.”
25 (AI)Amangwago, Aliyooki n’atwala Danyeri eri kabaka, n’ategeeza kabaka nti, “Nsanze omusajja, omu ku baawaŋŋangusibwa okuva mu Yuda, asobola okutegeeza kabaka amakulu g’ekirooto kye.”
26 (AJ)Kabaka n’abuuza Danyeri eyayitibwanga Berutesazza nti, “Oyinza okuntegeeza ekirooto kye nalabye, n’amakulu gaakyo?”
27 (AK)Danyeri n’addamu kabaka nti, “Tewali muntu mugezigezi, newaakubadde omufumu, newaakubadde omulaguzi, newaakubadde omulogo asobola okutegeeza kabaka ekigambo kye yasabye. 28 (AL)Waliwo Katonda ow’omu ggulu annyonnyola abantu ebitategeerekeka. Abikkulidde Kabaka Nebukadduneeza ebigenda okubaawo mu nnaku ez’enkomerero. Ekirooto n’okwolesebwa bye wafuna nga weebase bye bino.
29 “Bwe wali ng’ogalamidde mu kitanda kyo, ayi kabaka omutima gwo ne gutandika okulowooza ku bintu ebiribaawo, era oyo abikkula ebigambo ebitategeerekeka bantu abaabulijjo, yakulaze ebigenda okubaawo. 30 (AM)Naye ekigambo kino ekitategeerekeka bantu abaabulijjo kimbikkuliddwa, si lwa kuba nga ndi mugezi okusinga abantu abalala bonna, naye nkifunye bwe ntyo, kabaka ategeere amakulu gaakyo, era otegeere ebirowoozo bye wafuna mu mutima gwo.
31 (AN)“Watunula, ayi kabaka, era laba, mu maaso go nga wayimiriddewo ekifaananyi ekinene. Ekifaananyi ekyo kyali kinene nnyo, nga kimasamasa nnyo nnyini era nga kya ntiisa. 32 Omutwe gwakyo gwali gwa zaabu ennongoose, ekifuba kyakyo n’emikono gyakyo nga bya ffeeza, n’olubuto lwakyo n’ebisambi byakyo nga bya kikomo, 33 n’amagulu gaakyo nga ga kyuma. N’ebigere byakyo ekitundu ekimu kyali kya kyuma, n’ekitundu ekirala nga kya bbumba. 34 (AO)Awo bwe wali ng’okyakitunuulira, olwazi ne lutemebwa, naye si na ngalo, ejjinja ne livaako ne likuba ekifaananyi ku bigere byakyo eby’ekyuma n’ebbumba, ne libyasaayasa. 35 (AP)Ekyuma n’ebbumba, n’ekikomo, ne zaabu, byonna ne biyasibwayasibwa wamu, ne bifuuka ng’ebisusunku eby’omu gguuliro mu biro eby’omusana omungi; kibuyaga n’abifuuwa obutalekaawo na kimu. Naye ejjinja eryakuba ekifaananyi ne lifuuka olusozi olunene, ne lujjula ensi yonna.
36 “Ekyo kye kyali ekirooto; kaakano tunaategeeza kabaka amakulu gaakyo. 37 (AQ)Ggwe, ayi kabaka, ggwe kabaka wa bakabaka, Katonda ow’eggulu gwe yawa obwakabaka, n’obuyinza, n’amaanyi, n’ekitiibwa; 38 (AR)era akukwasizza abantu n’ensolo ez’omu nsiko, n’ennyonyi ez’omu bbanga. Buli we bibeera, akuwadde okubifuga, era ggwe mutwe ogwa zaabu.
39 “Bw’olivaawo, obwakabaka obulala buliddawo, obutenkanankana bubwo. N’oluvannyuma waliddawo obwakabaka obwokusatu nga bwa kikomo obulifuga ensi yonna. 40 (AS)Oluvannyuma lw’ebyo byonna waliddawo obwakabaka obwokuna obuliba obw’amaanyi ng’ekyuma; era ng’ekyuma ekimenyaamenya ne kibetentabetenta buli kintu, era ng’ekyuma bwe kimenyaamenya obutundutundu, bwe kityo bwe kiribetentabetenta ne kimenyaamenya obwakabaka obulala bwonna. 41 Nga bwe walaba ebigere n’obugere ekitundu nga kya bbumba ery’omubumbi, n’ekitundu nga kya kyuma, bwe butyo obwakabaka bwe buligabanyizibwamu; ate nga bulisigala n’amaanyi ag’ekyuma, nga bwe walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba. 42 Ng’obugere bwe bwali, ekitundu nga kya kyuma n’ekitundu ekirala nga kya bbumba, n’obwakabaka buno buliba bwe butyo, ekitundu ekimu nga ky’amaanyi n’ekitundu ekirala nga kinafu. 43 Era nga bwe walaba ekyuma nga kitabuddwamu ebbumba bwe batyo n’abantu bwe baliba so tebalisigala bumu, ng’ekyuma bwe kitasobola kwetabula bulungi na bbumba.
44 (AT)“Mu biro ebya bakabaka abo, Katonda w’eggulu alissaawo obwakabaka obutalizikirizibwa, so tebuliweebwa bantu balala. Bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, ne bubumalawo, naye bwo bulibeerera emirembe gyonna. 45 (AU)Gano ge makulu ag’okwolesebwa okukwata ku jjinja eryatemebwa mu lusozi, eritatemebwa na ngalo za muntu; eryabetentabetenta ekyuma, n’ekikomo, n’ebbumba, ne ffeeza, ne zaabu.
“Katonda omukulu abikkulidde kabaka ebigenda okubaawo mu biro eby’omu maaso. Ekirooto kituufu n’amakulu gaakyo tegabuusibwabuusibwa.”
46 (AV)Awo Kabaka Nebukadduneeza ne yeeyaliira ku lubuto lwe mu maaso ga Danyeri n’amuwa ekitiibwa, n’alagira okuwaayo obubaane n’ebiweebwayo eri Danyeri. 47 (AW)Kabaka n’agamba Danyeri nti, “Mazima Katonda wo ye Katonda wa bakatonda era ye Mukama wa bakabaka, era omubikkuzi w’ebyama ebyakisibwa, kubanga osobozebbwa okututegeeza ekyama ekyakisibwa.”
48 (AX)Awo kabaka n’akuza Danyeri n’amufuula omuntu omukulu ennyo, n’amuwa n’ebirabo bingi. N’amufuula mufuzi w’essaza lyonna erya Babulooni, n’amuwa n’obuvunaanyizibwa obw’okukulira abasajja abagezigezi bonna ab’e Babulooni. 49 (AY)Awo Danyeri n’asaba kabaka akuze ne Saddulaaki, ne Mesaki, ne Abeduneego; kabaka n’abafuula abakulembeze n’abawa ebifo eby’obuvunaanyizibwa mu ssaza ery’e Babulooni, Danyeri ye n’asigala awali kabaka.
Ekibumbe kya Zaabu n’Ekikoomi ky’Omuliro
3 (AZ)Kabaka Nebukadduneeza n’abumbisa ekifaananyi ekya zaabu, obugulumivu mita amakumi abiri mu musanvu n’obugazi mita bbiri ne sentimita nsanvu, n’alagira kiteekebwe mu lusenyi lwa Dduula, mu ssaza ly’e Babulooni. 2 (BA)N’atumya abaamasaza, n’abaamagombolola, n’abemiruka, n’abawi b’amagezi, n’abawanika, n’abalamuzi, n’abakungu bonna ab’omu masaza, bajje ku mukolo ogw’okuwongera ekibumbe Kabaka Nebukadduneeza kye yabumbisa. 3 Awo abaamasaza, n’abafuzi, n’abamateeka, n’abawi b’amagezi n’abawanika, n’abalamuzi, n’abakungu bonna ab’omu masaza, ne bakuŋŋaana ku mukolo ogw’okuwonga ekibumbe Kabaka Nebukadduneeza kye yabumbisa.
4 (BB)Awo omulanzi n’ayogerera waggulu mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Mulagiddwa, mmwe abantu, n’amawanga, n’abantu ab’ennimi eza buli ngeri, 5 (BC)bwe munaawulira eddoboozi ly’akagombe, n’endere, n’ennanga, n’amadinda, n’ekidongo, n’ekkondeere, na buli ngeri yonna ey’ebivuga eby’amaloboozi, muteekwa okuvuunama musinze ekibumbe ekya zaabu Kabaka Nebukadduneeza kye yabumbisa. 6 (BD)Omuntu yenna atalivuunama n’akisinza, alisuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro.”
7 (BE)Awo amawanga gonna bwe baawulira eddoboozi ly’akagombe, n’endere, n’ennanga, n’amadinda, n’ekidongo, n’ekkondeere na buli ngeri yonna ey’ebivuga eby’amaloboozi, amawanga gonna n’ensi n’abantu ab’ennimi eza buli ngeri ne bavuunama ne basinza ekibumbe ekya zaabu Kabaka Nebukadduneeza kye yabumbisa.
8 (BF)Awo mu biro ebyo Abakaludaaya abamu ne bawawaabira Abayudaaya. 9 (BG)Ne bagenda eri Kabaka Nebukadduneeza ne bamugamba nti, “Wangaala, ayi kabaka! 10 (BH)Ggwe ayi kabaka otaddewo etteeka, nti omuntu yenna anaawulira eddoboozi ly’akagombe, n’endere, n’ennanga, n’amadinda, n’ekidongo, n’ekkondeere na buli ngeri yonna ey’ebivuga eby’amaloboozi, ateekwa okuvuunama n’asinza ekifaananyi kya zaabu, 11 era buli atalivuunama n’akisinza alisuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro. 12 (BI)Naye waliwo abamu ku Bayudaaya be walonda okuvunaanyizibwa ensonga ez’essaza ery’e Babulooni, era be ba Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego abatakuwulirirako ddala ayi kabaka. Tebaweereza bakatonda bo newaakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye wabumbisa.”
13 (BJ)Awo Nebukadduneeza n’asunguwala nnyo n’alagira baleete Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego gy’ali; ne baleetebwa mu maaso ga kabaka. 14 (BK)Nebukadduneeza n’ababuuza nti, “Ebigambo bye mpulira bituufu nti mmwe Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego temuweereza bakatonda bange, newaakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye nabumbisa? 15 (BL)Kaakano, bwe munaawulira eddoboozi ly’akagombe, n’endere, n’ennanga, n’amadinda, n’ekidongo, n’ekkondeere na buli ngeri yonna ey’ebivuga eby’amaloboozi, mwetegeke okuvuunama n’okusinza ekifaananyi kye nabumbisa. Naye bwe mutaakisinze, ku ssaawa eyo yennyini munaasuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro, kale tulyoke tulabe katonda oyo anaayinza okubawonya mu mukono gwange.” 16 (BM)Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego ne baddamu kabaka nti, “Ayi Nebukadduneeza, tekitugwanira kwewolereza mu maaso go ku nsonga eyo. 17 (BN)Bwe tunaasuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro, Katonda gwe tuweereza anaatuwonya ekikoomi ekyaka omuliro era anaatulokola mu mukono gwo, ayi kabaka. 18 (BO)Naye ne bwe kitaabe bwe kityo, twagala okimanye, ayi kabaka nga tetugenda kuweereza bakatonda bo, newaakubadde okusinza ekifaananyi ekya zaabu kye wabumbisa.”
19 (BP)Awo Nebukadduneeza ne yeeyongera okusunguwalira Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, n’amaaso ge ne gaba masunguwavu nnyo ng’ajjudde obuswandi. N’alagira ekikoomi kyake emirundi musanvu okusinga ne bwe kyali kyase. 20 N’alagira abamu ku baserikale be ab’amaanyi okusiba Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, n’oluvannyuma basuulibwe mu kikoomi ekyaka omuliro. 21 Amangwago ne basiba Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, nga bambadde ebyambalo byabwe eby’ekitiibwa, ne seruwale zaabwe, n’eminagiro gyabwe n’engoye zaabwe endala, ne basuulibwa mu kikoomi ekyaka omuliro. 22 (BQ)Olw’okubanga ekiragiro kya kabaka kyali kya mbagirawo nga n’ekyoto kyaka nnyo nnyini, ennimi ez’omuliro ne zitta abasajja abaasitula Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego. 23 Awo abasajja abo abasatu Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego ne basuulibwa wakati mu kikoomi ekyaka omuliro nga basibiddwa.
24 Awo Kabaka Nebukadduneeza, mu kwewuunya n’agolokoka mangu n’abuuza abakungu be nti, “Mu muliro tetwasuddemu abasajja basatu nga basibiddwa?”
Ne bamuddamu nti, “Bwe kyabadde, ayi kabaka.”
25 N’ayogera nti, “Naye nga ndaba abasajja bana nga basumuluddwa nga batambulira wakati mu muliro, nga tebaliiko kabi ke bakolebbwako, so n’owookuna ng’afaanana ng’omwana wa bakatonda.”
26 (BR)Nebukadduneeza n’alyoka asembera ku mulyango gw’ekikoomi ekyaka omuliro, n’ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Saddulaaki, ne Mesaki, ne Abeduneego, abaddu ba Katonda Ali Waggulu Ennyo, mufulume mujje wano.”
Awo Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego ne bava mu muliro. 27 (BS)Abaamasaza, n’abemiruka, n’abafuzi ab’ebitundu, n’abakungu ba kabaka ne bakuŋŋaana ne babeetegereza. Ne balaba ng’omuliro tegubookezza, so n’enviiri zaabwe nga tezisiridde, so n’engoye zaabwe nga tezookeddwa, so n’olusu lw’omuliro nga terubawunyako.
28 (BT)Nebukadduneeza n’ayogera nti, “Katonda wa Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego atenderezebwe, aweerezza malayika we n’alokola abaddu be, abaamwesize, ne bajeemera ekiragiro kya kabaka, ne bawaayo obulamu bwabwe baleme okuweereza newaakubadde okusinza katonda yenna wabula Katonda waabwe bo. 29 (BU)Noolwekyo nteeka etteeka nga buli muntu ow’eggwanga lyonna, na buli muntu ow’olulimi lwonna olwa buli ngeri alyogera obubi ku Katonda wa Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego, alitemebwatemebwa, n’ennyumba ye erimenyebwamenyebwa, kubanga tewali katonda mulala ayinza okuwonya mu ngeri eyo.”
30 (BV)Awo kabaka n’akuza Saddulaaki, ne Mesaki ne Abeduneego mu ssaza ery’e Babulooni.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.