Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Beginning

Read the Bible from start to finish, from Genesis to Revelation.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zekkaliya 8-14

Mukama Asuubiza Okuzzaawo Yerusaalemi

Ekigambo kya Mukama ow’Eggye ne kinzijira nate nti:

Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Nkwatirwa Sayuuni obuggya, obuggya obungi obw’ekitalo.”

(A)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Ndikomawo mu Sayuuni, ndibeera wakati mu Yerusaalemi era Yerusaalemi kiriyitibwa ekibuga ekyesigwa, olusozi olwa Mukama ow’Eggye, Olusozi Olutukuvu.”

(B)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Abakadde abasajja n’abakazi bajja kuddamu okutuula mu nguudo za Yerusaalemi, nga buli omu akutte omuggo, olw’obukadde. (C)N’enguudo ez’ekibuga zirijjula abalenzi n’abawala nga bazannya.”

(D)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Kirirabika ng’eky’ekitalo mu maaso g’abantu abo abaasigalawo mu nnaku ezo, naye nange gye ndi bwe kiriba?” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

(E)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Laba ndirokola abantu bange abali mu nsi ey’Ebuvanjuba n’abali mu nsi ey’Ebugwanjuba: (F)Ndibakomyawo, babeere mu Yerusaalemi, nange nnaabeeranga Katonda waabwe mu bwesigwa ne mu butuukirivu.”

(G)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Emikono gyammwe gibe n’amaanyi, mmwe, mu nnaku zino ababadde bawulira ebigambo bino ebiva mu kamwa ka bannabbi abaaliwo mu nnaku okuva omusingi gw’ennyumba ya Mukama ow’Eggye lwe gwasimbibwa, yeekaalu ye eryoke ezimbibwe. 10 (H)Ekiseera ekyo nga tekinnatuuka, tewaali asobola kutoola nsimbi okupangisa omuntu wadde okupangisa ensolo. Era tewaali muntu ayinza kukola mirimu gye mu mirembe olw’omulabe we, kubanga buli muntu nnali mufudde mulabe wa muliraanwa we. 11 (I)Naye kaakano abantu bano abaasigalawo sijja kubakola nga mu nnaku ezaayita,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.

12 (J)“Kubanga ensigo erikula bulungi, n’omuzabbibu gubale ekibala kyagwo, n’ettaka lireetenga ekimera kyalyo, n’eggulu lireetenga omusulo gwalyo. Nange abantu bange abaasigalawo ndibawa ebintu ebyo byonna nga gwe mugabo gwabwe. 13 (K)Nga bwe mwali ekikolimo mu baamawanga, ggwe ennyumba ya Yuda, naawe ennyumba ya Isirayiri, bwe ntyo bwe ndibalokola, era mulibeera omukisa eri abalala. Temutya, munywere emikono gyammwe gibe n’amaanyi.”

14 (L)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Nga bwe nasalawo okubabonereza, bajjajjammwe bwe bansunguwaza,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “era ne sibasaasira, 15 (M)bwe ntyo nate bwe nsazeewo kaakano mu nnaku zino okukola obulungi Yerusaalemi n’ennyumba ya Yuda. Temutya. 16 (N)Bino bye bintu bye munaakolanga: buli muntu ayogerenga bya mazima ne muntu munne, musalenga emisango mu bwenkanya mu mpya zammwe; 17 (O)tosaliranga muliraanwa wo lukwe. So tolayiranga bya bulimba, kubanga ebyo byonna mbikyawa,” bw’ayogera Mukama.

18 Ekigambo kya Mukama ow’Eggye ne kinzijira nate nti:

19 (P)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Okusiiba omwezi ogwokuna, n’ogwokutaano, n’ogw’omusanvu, n’ogw’ekkumi kunaabeeranga mbaga ey’essanyu era n’okwesiima mu nnyumba ya Yuda. Noolwekyo mwagalenga amazima n’emirembe.”

20 Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Amawanga mangi n’abantu bangi abalijja okuva mu bibuga bingi era n’okuva mu nsi nnyingi; 21 (Q)era ab’ekibuga ekimu baliraga mu kibuga ekirala babagambe nti, ‘Tugende mangu twegayiririre Mukama, tunoonye amaaso ga Mukama ow’Eggye. Nze kennyini ŋŋenda.’ 22 (R)Abantu bangi n’amawanga mangi ag’amaanyi galijja okunoonya Mukama ow’Eggye mu Yerusaalemi n’okwegayirira Mukama.”

23 (S)Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye nti, “Mu nnaku ezo abasajja kkumi okuva mu buli lulimi olwogerwa mu mawanga balyekwata ku kyambalo ky’Omuyudaaya bagambe nti, ‘Muleke tugende nammwe kubanga twawulira nga Katonda ali nammwe.’ ”

(T)Ekigambo kya Katonda kyolekedde ensi ya Kadulaki
    era kirituuka e Ddamasiko.
Kubanga abantu bonna n’ebika byonna ebya Isirayiri
    batunuulidde Mukama,
(U)era ne Kamasi ekiriraanyeewo nakyo bwe kityo,
    ne Ttuulo ne Sidoni wadde nga birina amagezi mangi.
(V)Ttuulo kyezimbira ekigo
    ne kituuma ffeeza n’eba ng’enfuufu,
    ne zaabu n’eba nnyingi ng’ettaka ery’omu kkubo.
(W)Laba, Mukama alikyambulako ebintu byakyo,
    alizikiriza amaanyi gaakyo ag’oku nnyanja,
    era kiryokebwa omuliro.
Asukulooni bino kiribiraba ne kitya;
    ne Gaza bwe kityo kiribeera mu kulumwa okw’amaanyi.
    Era n’essuubi lya Ekuloni liriggwaawo;
Gaza aliggyibwako kabaka we,
    ne Asukulooni tekiribaamu bantu.
Abagwira balitwala Asudodi,
    era n’amalala g’Abafirisuuti ndigamalawo.
Era ndiggya omusaayi mu kamwa ke
    n’emmere ey’omuzizo okuva wakati mu mannyo ge.
N’abo bonna abalisigalawo mu kyo baliba bantu ba Katonda waffe,
    balifuuka bakulembeze mu Yuda,
    ne Ekuloni kiriba nga Abayebusi.
(X)Naye ndirwanirira ennyumba yange
    eri eggye eddumbaganyi,
so tewaliba mulumbaganyi aliddayo kujooga bantu bange
    kubanga kaakano mbalabirira.
(Y)Sanyuka nnyo ggwe omuwala wa Sayuuni:
    leekaana nnyo, ggwe omuwala wa Yerusaalemi;
laba, kabaka wo ajja gy’oli;
    mutuukirivu era muwanguzi;
    muwombeefu era yeebagadde endogoyi,
    endogoyi ento, omwana gw’endogoyi.
10 (Z)Efulayimu ndimuggyako amagaali,
    ne Yerusaalemi muggyeko embalaasi ennwanyi,
    n’omutego gw’obusaale gulimenyebwa
era alireeta emirembe mu mawanga,
    n’obufuzi bwe buliva ku nnyanja emu butuuke ku nnyanja endala
    era buve ku mugga Fulaati butuuke ku nkomerero z’ensi.
11 (AA)Naawe ggwe, olw’omusaayi gw’endagaano gye nakola naawe,
    ndisumulula abasibe bo okuva mu bunnya obutaliimu mazzi.
12 (AB)Mudde mu nkambi yammwe mmwe abasibe abalina essuubi;
    nangirira leero nti ndibadizaawo emirundi ebiri.
13 (AC)Yuda ndigiweta ng’omutego ogw’obusaale
    ngujjuze Efulayimu.
Ndiyimusa batabani ba Sayuuni,
    balwane n’abaana bo, ggwe Buyonaani,
    mbakozese ng’ekitala eky’omutabaazi.

14 (AD)Era Mukama alirabika ng’ali waggulu waabwe,
    akasaale ke kamyanse ng’okumyansa kw’eggulu.
Mukama Katonda alifuuwa ekkondeere,
    n’akumbira mu muyaga ogw’omu bukiikaddyo.
15     (AE)Mukama ow’Eggye alibakuuma.
Balirinnyirira ne bawangula envuumuulo,
    balinywa ne baleekaana ng’abatamiivu.
    Balijjula ng’ekibya ekikozesebwa okumansira ku nsonda z’ekyoto.
16 (AF)Ku lunaku olwo Mukama Katonda alirokola abantu be
    ng’omusumba bw’alokola ekisibo ky’endiga ze.
Balitangalijja mu nsi ye,
    ng’amayinja ag’omuwendo bwe gatemagana mu ngule.
17 Nga baliba balungi era abatuukirivu!
    Emmere ey’empeke erireetera abavubuka abalenzi obulamu obweyagaza,
    n’abawala nabo beeyagale olwa wayini omuggya.

Mukama Alirabirira Yuda

10 Musabe Mukama enkuba mu biseera byayo;
    kubanga Mukama y’akola ebire
enkuba n’etonnya,
    olwo buli muntu n’afuna ebirime.
(AG)Kubanga bakatonda abalala
    n’abalaguzi balaba okwolesebwa okw’obulimba;
ne baloota ebirooto eby’obulimba,
    ne bagumya abantu eby’obulimba.
Abantu kyebava bazuŋŋana ng’endiga,
    nga banyigirizibwa olw’obutaba na musumba.
(AH)“Obusungu bwange bubuubuukidde ku basumba
    era nzija kubonereza abakulembeze ba Yuda,
kubanga Mukama ow’Eggye ajja
    kulabirira endiga ze, ennyumba ya Yuda,
    era alibafuula ng’embalaasi ye emwenyumiririzaamu ennyo mu lutalo.
(AI)Mu Yuda mulivaamu ejjinja ery’oku nsonda,
    muveemu n’enkondo enyweza weema,
    muveemu n’omutego ogw’akasaale
    era muveemu na buli mufuzi yenna.
(AJ)Bonna awamu balyoke babe ng’abasajja abazira ennyo mu lutalo
    abatambulira mu bitoomi by’omu nguudo mu biseera eby’entalo.
Kubanga Mukama ali nabo,
    balirwana ne bawangula eggye eryebagadde embalaasi.

(AK)“Ndiwa ennyumba ya Yuda amaanyi
    era ndiwonya ennyumba ya Yusufu,
ndibakomyawo
    kubanga mbakwatiddwa ekisa.
Balibeera
    nga be sseegaanangako
era ndibawulira
    kubanga nze Mukama Katonda waabwe.
(AL)Olwo aba Efulayimu baliba ng’abasajja ab’amaanyi,
    emitima gyabwe ne gisanyuka nnyo ng’abanywedde wayini.
Abaana baabwe balikiraba ne basanyuka,
    omutima gwabwe gulisanyukira mu Mukama.
(AM)Ddala ndibawonya
    ne mbakuŋŋaanya.
Ddala ndibanunula,
    baddeyo babeere bangi nga bwe baabanga.
(AN)Newaakubadde nga nabasaasaanyiza mu mawanga,
    naye balisinzira eyo mu nsi ezeewala ne banzijukira.
Bo n’abaana baabwe baliba balamu
    era ne bakomawo gye ndi.
10 (AO)Ndibakomyawo okuva mu Misiri,
    mbakuŋŋaanye okuva mu Bwasuli.
Ndibaleeta mu Gireyaadi ne Lebanooni
    ne bajjula ensi ezo ne watasigalawo kabanga ka kubeeramu.
11 (AP)Baliyita mu nnyanja ey’okubonaabona;
    ennyanja ewuluguma erikkakkanyizibwa,
    n’obuziba bwa Kiyira bwonna bulikala.
Amalala ga Bwasuli galibaggwaamu
    n’omugo ogw’obufuzi bwa Misiri gulimenyebwa.
12 (AQ)Ndibafuula ba maanyi mu Mukama
    era nabo balitambulira mu linnya lyange,”
    bw’ayogera Mukama.
11 (AR)Ggulawo enzigi zo ggwe Lebanooni,
    omuliro gwokye emivule gyo.
(AS)Kaaba ggwe omuberosi, kubanga emivule gigudde!
    Emiti emirungi ennyo gyonoonese.
Mukube ebiwoobe mmwe emyera gya Basani,
    kubanga ekibira ekikwafu kigudde.
(AT)Wuliriza ebiwoobe by’abasumba,
    amalundiro gaabwe amalungi gazikirizibbwa.
Wuliriza okuwuluguma kw’empologoma.
    Omuddo omulungi oguli ku Yoludaani guzikirizibbwa.

Abasumba Ababiri

Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wange nti, “Lunda endiga zigejje ezinaatwalibwa okuttibwa. (AU)Abo abazigula bazitta ne batabaako musango. N’abo abazitunda ne bagamba nti, ‘Mukama atenderezebwe ngaggawadde!’ Abasumba baazo bennyini tebazikwatirwa kisa. (AV)Kubanga sikyaddayo kukwatirwa bantu ba nsi eno kisa,” bw’ayogera Mukama. “Ndiwaayo buli muntu okugwa mu mikono gya muliraanwa we, ne mu mikono gya kabaka we. Nabo balijooga ensi era sirigiwonya kuva mu mikono gwabwe.”

Awo ne nunda ekisibo ekyateekebwateekebwa okuttibwa, okusingira ddala ezaali zijoogebwa. Ne ntwala emiggo gy’abasumba ebiri, ogumu ne ngutuuma erinnya Kisa, omulala ne ngutuuma Kwegatta era ne ndiisa endiga. Mu mwezi gumu ne neegobako abasumba basatu, emmeeme yange ng’ebakyaye era nabo nga bankyaye. (AW)Awo ne ndyoka ŋŋamba nti, “Siibeere musumba wammwe, ekinaafa leka kife, ekyokwonooneka kyonooneke, era leka ebyo ebisigaddewo biryaŋŋane, buli kimu kirye kinnaakyo.”

10 (AX)Ne ndyoka nkwata omuggo gwange Kisa ne ngumenya, ne mmenya endagaano gye nnali nkoze n’abantu bonna. 11 Endagaano n’agikomya ku lunaku olwo era abasuubuzi b’endiga abaali bandaba ne bamanya nti ekyo kyali kigambo kya Katonda.

12 (AY)Ne ndyoka mbagamba nti, “Bwe kiba nga kisaanidde mu maaso gammwe mumpe empeera yange; naye obanga temusiimye mulekeeyo.” Awo ne bambalira ensimbi eza ffeeza amakumi asatu.

13 (AZ)Awo Mukama n’aŋŋamba nti, “Zisuulire omubumbi,” omuwendo guno ogw’ekitalo gwe bansasula! Kale ne ntwala ensimbi amakumi asatu eza ffeeza ne nzisuulira omubumbi mu nnyumba ya Mukama.

14 Awo ne mmenya omuggo gwange ogwokubiri Kwegatta, okulaga nti obumu obwali wakati wa Yuda ne Isirayiri bwali bukomye. 15 Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Twala nate ebintu eby’omusumba omusirusiru bye yandikozesezza. 16 Kubanga laba, nze nyimusizza omusumba mu nsi atafaayo ku ndiga ezizikirira era atanoonya zisaasaanye, era atayunga zimenyese wadde okuliisa ennamu, naye alya ensolo ensava ng’aziyuzaako ebinuulo.

17 (BA)“ ‘Zimusanze omusumba wange ataliiko ky’agasa
    agayaalirira ekisibo!
Ekitala kifumite omukono gwe ogwa ddyo, kiggyemu n’eriiso lye erya ddyo!
    Omukono gwe gukalire ddala,
    n’eriiso lye erya ddyo lizibire ddala!’ ”

Okununulibwa kwa Yerusaalemi Okujja

12 (BB)Kino ky’ekigambo kya Katonda ekikwata ku Isirayiri. Bw’ati bw’ayogera Mukama eyabamba eggulu era n’assaawo emisingi gy’ensi, era n’akola n’omwoyo gw’omuntu ogumulimu. (BC)“Laba ŋŋenda okufuula Yerusaalemi ekikompe ekitagaza amawanga gonna ageetoolodde enjuuyi zonna. Yuda awamu ne Yerusaalemi birizingizibwa. (BD)Awo ku lunaku olwo ndifuula Yerusaalemi ejjinja erizitowa eri amawanga gonna, ag’ensi agalikuŋŋaana okukizingiza. Abo bonna abaligezaako okuliggyawo, balyetusaako ebisago. (BE)Ku lunaku olwo, bw’ayogera Mukama, ndikuba buli mbalaasi na buli muvuzi waayo ndimusuula eddalu. Ndikuuma ennyumba ya Yuda kyokka amaaso g’embalaasi za bannaggwanga ndigaziba. Awo abakulembeze ba Yuda baligamba mu mitima gyabwe nti, ‘Abantu b’omu Yerusaalemi ba maanyi, kubanga Mukama Katonda ow’Eggye ye Katonda waabwe.’

(BF)“Ku lunaku olwo ndifuula abakulembeze ya Yuda ng’ogusigiri ogwaka ogwetooloddwa enku, ng’olumuli olw’omuliro mu makkati g’ebinywa. Balimalawo amawanga gonna ag’oku njuyi zonna, olw’oku kkono n’olw’oku ddyo; naye Yerusaalemi kirisigalawo, n’abantu baakyo mu kifo kyakyo awatali kunyeenyezebwa.

(BG)Mukama alisooka kununula weema za Yuda, ekitiibwa ky’ennyumba ya Dawudi, n’ekitiibwa ky’abatuuze b’omu Yerusaalemi kireme kusukka ku kya Yuda. (BH)Ku lunaku olwo Mukama aliteeka obukuumi ku batuuze b’omu Yerusaalemi; abo abasembayo obunafu ku lunaku olwo babeere nga Dawudi, era ennyumba ya Dawudi ebeere ng’ennyumba ya Katonda, nga malayika wa Mukama abakulembeddemu. (BI)Ku lunaku olwo ndizikiriza amawanga gonna agalumba Yerusaalemi.

10 (BJ)“Era ndifuka ku nnyumba ya Dawudi era ku batuuze ba Yerusaalemi Omwoyo ow’ekisa n’okwegayirira. Balintunuulira nze gwe baafumita: era balimukungubagira ng’omuntu bw’akungubagira omwana we omu yekka, era balimulumirwa nnyo omwoyo ng’omuntu bw’alumirwa mutabani we omubereberye. 11 (BK)Ku lunaku olwo okukuba ebiwoobe kuliyitirira mu Yerusaalemi okwenkana ng’okwa Kadadulimmoni mu kiwonvu Megiddoni. 12 (BL)Ensi erikungubaga, buli kika kyokka; ekika eky’ennyumba ya Dawudi ne bakazi baabwe kyokka, n’ekika ky’ennyumba ya Nasani ne bakazi baabwe bokka; 13 Ekika eky’ennyumba ya Leevi ne bakazi baabwe, n’ekika kya Simeeyi ne bakazi baabwe; 14 n’ebika byonna ebirala ebisigaddeyo ne bakazi baabwe.

13 (BM)“Ku lunaku olwo ensulo z’amazzi ziriggulirwa ennyumba ya Dawudi n’abatuuze b’omu Yerusaalemi okubatukuza okuva mu kibi n’obutali bulongoofu.

(BN)“Ku lunaku olwo, ndiggya amannya ga bakatonda abalala okuva mu nsi, galeme kuddayo kujjukirwa, era nzigye bannabbi n’omwoyo ogutali mulongoofu mu nsi,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. (BO)Era singa omuntu yenna awa obunnabbi, kitaawe ne nnyina abamuzaala bennyini balimugamba nti, “Oteekwa kufa kubanga oyogedde eby’obulimba mu linnya lya Mukama.” Bw’aliwa obunnabbi, bakadde be bennyini bamufumitanga.

(BP)“Ku lunaku olwo buli nnabbi alikwatibwa ensonyi olw’okwolesebwa kwe okw’obulimba; era tebalyambala kyambalo kyabwe eky’ebyoya okulimba abantu. (BQ)Aligamba nti, ‘Siri nnabbi nze, ndi mulimi bulimi; era mu nnimiro mwe nkoledde emirimu gyange obulamu bwange bwonna.’ Era singa omuntu bamubuuza nti, ‘Ate bino ebiwundu ebiri ku mubiri gwo bya ki?’ Aliddamu nti, ‘Ebiwundu n’abifunira mu nnyumba ya mikwano gyange.’ ”

Isirayiri Ebonerezebwa

(BR)“Zuukuka, ggwe ekitala olwanyise omusumba wange,
    olwane n’omusajja annyimirira ku lusegere,”
    bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
“Kuba omusumba
    endiga zisaasaane
    nange ndiyimusa omukono gwange ku baana abato.
(BS)Mu nsi yonna,” bw’ayogera Mukama,
    “bibiri bya kusatu bye birikubwa bisaanewo,
    naye kimu kya kusatu kye kirisigalamu.
(BT)Ekitundu kino eky’ekimu ekyokusatu ndikireeta mu muliro,
    ne mbalongoosa ng’effeeza bw’erongoosebwa
    mbagezese nga zaabu bw’egezesebwa.
Balikoowoola erinnya lyange
    nange ndibaanukula.
Ndigamba nti, ‘Bantu bange,’
    era nabo baliddamu nti, ‘Mukama ye Katonda waffe.’ ”

Yerusaalemi enunulibwa Mukama

14 (BU)Olunaku lwa Mukama lujja, lwe muligabana bye mwanyaga.

(BV)Ndikuŋŋaanyiza amawanga gonna mu Yerusaalemi mu lutalo okukirwanyisa; ekibuga kiritwalibwa, enju zinyagibwe n’abakazi bakwatibwe. Kimu kyakubiri eky’ekibuga kiritwalibwa mu buwaŋŋanguse; naye abalala abalisigalawo tebaliggibwa mu kibuga.

(BW)Awo Mukama alivaayo n’alwanyisa amawanga gali nga bwe yalwana ku lunaku olw’olutalo. (BX)Ku lunaku olwo ebigere bye biriyimirira ku lusozi olwa Zeyituuni olwolekedde obuvanjuba bwa Yerusaalemi, era olusozi lwa Zeyituuni lulyabuluzibwamu ebitundu bibiri okuva Ebuvanjuba okudda Ebugwanjuba era lujjemu oguwonvu oguwanvu ennyo. Ekitundu ekimu eky’olusozi kidde mu Bukiikakkono ekirala mu Bukiikaddyo. (BY)Nammwe muliddukira mu kkubo ery’omu kiwonvu eky’olusozi lwange kubanga ekiwonvu kirisitulirwa waggulu era muddukanga nga bwe mwadduka musisi eyayita mu mirembe gya Uzziya, kabaka wa Yuda. Awo Mukama Katonda wange alijja n’abatukuvu be bonna.

(BZ)Ku lunaku olwo teriba kitangaala, newaakubadde obunnyogovu wadde obutiti. (CA)Naye luliba lunaku lwa njawulo, awataliba misana wadde kiro: olunaku olumanyiddwa Mukama. Obudde bwe buliwungeera walibaawo ekitangaala.

(CB)Ku lunaku olwo amazzi amalamu galikulukuta okuva mu Yerusaalemi; agamu gagende mu nnyanja ey’Ebuvanjuba n’amalala mu nnyanja ey’Ebugwanjuba; mu kyeya ne mu ttoggo.

Yuda Kabaka w’Ensi ow’Oku Ntikko

(CC)Mukama alibeera kabaka ow’ensi zonna: ku lunaku olwo Mukama alibeera omu yekka n’erinnya lye liribeera erinnya lyokka.

10 (CD)Ensi yonna okuva e Geba okutuuka e Limmoni ku luuyi olw’obukiikaddyo obwa Yerusaalemi; erifuuka nga Alaba naye Yerusaalemi kiriyimusibwa ne kisigala mu kifo kyakyo okuva ku mulongooti gwe Kananeri okutuuka ku masogolero ga kabaka. 11 (CE)Abantu balikibeeramu, tekigenda kuddayo kuzikirizibwa. Yerusaalemi kiriba kinywevu.

12 (CF)Ono ye kawumpuli Mukama gw’alikubisa amawanga gonna agaalwanyisa Yerusaalemi. Emibiri gyabwe girivunda nga bakyali balamu. Amaaso gabavundire mu biwanga, n’ennimi zibavundire mu kamwa. 13 (CG)Ku lunaku olwo Mukama alireetera abantu ekyekango eky’amaanyi. Buli muntu alikwata omukono gwa munne nga balwanagana. 14 (CH)Ne Yuda alirwanira mu Yerusaalemi era obugagga bw’ensi zonna eziriraanyeewo bukuŋŋaanyizibwe, zaabu n’effeeza n’ebyambalo bingi nnyo nga nabyo bikuŋŋaanyizibbwa. 15 (CI)Era kawumpuli ng’oli aligwa ku mbalaasi, ne ku nnyumbu, ne ku ŋŋamira, n’endogoyi, ne ku nsolo zonna eziriba mu bisulo ebyo.

16 (CJ)Abo abalisigalawo ku mawanga agaalumba Yerusaalemi banaayambukanga buli mwaka okusinza Mukama kabaka ow’Eggye era n’okukwatanga embaga ey’ensiisira. 17 (CK)Omuntu yenna mu nsi bw’ataagendenga Yerusaalemi kusinza Mukama Kabaka ow’Eggye, taafunenga nkuba. 18 (CL)Abamisiri bwe bataagendenga kwetabamu, tebaafunenga nkuba. Mukama anaabareeteranga kawumpuli, gwakubisa amawanga agatagenda kukwata mbaga ey’ensiisira. 19 Ekyo kye kinaabanga ekibonerezo kya Misiri n’amawanga gonna agataayambukenga kukwata mbaga ya nsiisira.

20 (CM)Ku lunaku olwo ekigambo kino, “kitukuvu eri Mukama Katonda,” kinaawandikibwa ku bide by’embalaasi era n’entamu ezifuumbirwamu mu nnyumba ya Mukama zinaabeeranga ng’ebibya ebitukuvu mu maaso g’ekyoto. 21 (CN)Weewaawo, buli nsuwa mu Yerusaalemi ne mu Yuda eneebanga ntukuvu mu maaso ga Mukama ow’Eggye; n’abo bonna abanajjanga okuwaayo ssaddaaka banaafumbiranga mu zimu ku ntamu ezo. Era ku lunaku olwo, waliba tewakyali Mukanani mu nnyumba ya Mukama ow’Eggye.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.