Beginning
1 (A)Kuno kwe kwolesebwa kwa Obadiya.
Mukama Ayinzabyonna kwe yamuwa ku bikwata ku nsi ya Edomu.
Tuwulidde obubaka obuva eri Katonda,
Katonda yaweereza omubaka eri amawanga n’obubaka buno nti,
“Mugolokoke tulumbe Edomu tumulwanyise.”
2 “Laba, ndibafuula aba wansi ennyo mu mawanga,
era olinyoomererwa ddala.
3 (B)Mwelimbye n’amalala agali mu mitima gyammwe,
mmwe abasula mu mpuku ez’omu njazi,
era ne muzimba amaka gammwe waggulu ku njazi.
Mmwe aboogera nti,
‘Ani alituwanulayo n’atussa wansi?’
4 (C)Wadde nga mwewanika waggulu ng’empungu
era ne muzimba ebisu byammwe wakati w’emmunyeenye,
ndibawanulayo ne mbasuula wansi,”
bw’ayogera Mukama.
5 (D)“Singa ababbi babajjira,
n’abanyazi ne babalumba ekiro,
akabi nga kaba kabatuuseeko.
Tebandibabbyeko byonna bye baagala?
Oba singa abanozi b’emizabbibu bakujjiridde,
tebandireseeko obuzabbibu butono nnyo?
6 Esawu alinyagulurwa,
eby’obugagga bye ebikusike birinyagibwa.
7 (E)Abaalagaana naawe balikusindiikiriza ku nsalo,
Mikwano gyo balikulimbalimba ne bakuwangula;
abo abalya emmere yo balikutega omutego,
balikutega omutego kyokka toliguvumbula.
8 (F)“Ku lunaku olwo,
sirizikiriza bagezi b’e Edomu,
abantu ab’amagezi ababeera mu nsozi za Esawu?” bw’ayogera Mukama.
9 (G)“Abalwanyi bo abazira ggwe, Temani, balitya,
era na buli muntu mu nsozi za Esawu
alittibwa.
10 (H)Olw’ebikolwa eby’obukambwe ebyo bye wakola muganda wo Yakobo,
oliswazibwa.
Olizikirizibwa n’otaddayo kuwulirwa.
11 (I)Ku lunaku lwe wayimirira ku bbali n’otofaayo,
nga banyaga obugagga bwa Isirayiri,
ne bannaggwanga ne bayingira mu miryango gye,
ne bakuba obululu okulaba atwala Yerusaalemi,
wali omu ku bo.
12 (J)Tosaanye kusekerera muganda wo
mu biseera bye eby’okulaba ennaku,
wadde okusanyuka ku lunaku
olw’okuzikirira kw’abantu ba Yuda,
newaakubadde okwewaana ennyo
ku lunaku lwe baatawaanyizibwa ennyo.
13 (K)Temukumba nga muyita mu miryango gy’abantu bange
ku lunaku kwe baalabira obuyinike,
wadde okubasekerera
ku lunaku kwe baabonaabonera,
newaakubadde okutwala obugagga bwabwe
ku lunaku lwe baatuukibwako akabi.
14 Temulindira mu masaŋŋanzira
okutta abo abadduka,
wadde okuwaayo abawonyeewo
mu biro eby’okulabiramu ennaku.
15 (L)“Olunaku luli kumpi kwe ndisalira
amawanga gonna omusango.
Nga bwe mwakola abalala, nammwe bwe mulikolebwa.
Ebikolwa byammwe biribaddira.
16 (M)Ng’abantu bange bwe baanywa ekikompe eky’ekibonerezo ku lusozi lwange olutukuvu
n’amawanga ageetooloddewo bwe galikinywa obutakoma;
balikinywa,
babe ng’abataganywangako.
17 (N)Naye ku Lusozi Sayuuni baliwona,
kubanga lutukuvu,
n’ennyumba ya Yakobo
eritwala omugabo gwabwe.
18 (O)Ennyumba ya Yakobo eriba omuliro,
n’ennyumba ya Yusufu olulimi olw’omuliro.
Ennyumba ya Esawu eriba bisusunku,
era baligyokya n’eggwaawo.
Tewaliba muntu wa nnyumba ya Esawu
n’omu alisigalawo,
kubanga Mukama akyogedde.
19 (P)“Abantu b’e Negebu balitwala
olusozi Esawu,
n’abantu ab’omu biwonvu balitwala
ensi y’Abafirisuuti.
Balyetwalira n’ennimiro ez’omu Efulayimu ne Samaliya,
ne Benyamini ne yeetwalira Gireyaadi.
20 (Q)Ekibiina ky’Abayisirayiri abaali mu buwaŋŋanguse e Kanani,
balyetwalira ensi, okutuukira ddala ku Zalefaasi;
abawaŋŋanguse abaava mu Yerusaalemi abali mu Sefalaadi,
balyetwalira ebibuga mu Negebu.
21 (R)Abanunuzi balyambuka ku Lusozi Sayuuni,
okufuga ensozi za Esawu.
Obwakabaka buliba bwa Mukama.”
Yona Ajeemera Katonda
1 (A)Awo Mukama n’ayogera ne Yona omwana wa Amittayi ng’agamba 2 (B)nti, “Situka ogende e Nineeve mu kibuga ekyo ekinene obatuuseeko obubaka buno obubanenya, kubanga ebibi byabwe birinnye eno waggulu ne bintukako.”
3 (C)Naye Yona n’adduka okuva mu maaso ga Mukama, n’aserengeta okulaga e Talusiisi. N’aserengeta e Yopa gye yasanga ekyombo, n’akirinnya okugenda e Talusiisi. Ng’amaze okusasulira etikiti ye, n’asaabala mu kyombo ekiraga e Talusiisi ng’adduka okuva mu maaso ga Mukama.
4 (D)Awo Mukama n’aleeta omuyaga ogw’amaanyi ne gukunta ku nnyanja, n’ekyombo Yona mwe yali ne kyagala okusaanawo. 5 (E)Entiisa ey’amaanyi n’ekwata abalunnyanja bonna, buli omu n’akaabirira katonda we amuyambe, nga bwe basuula n’emigugu egy’ebyamaguzi mu nnyanja bakendeeze ku buzito obwali mu kyombo.
Mu kiseera ekyo, Yona yali mu tulo wansi mu ntobo y’ekyombo. 6 (F)Naye omugoba omukulu ow’ekyombo n’aserengeta gye yali n’amugamba nti, “Oyinza otya okuba nga weebase? Situka okaabirire katonda wo, oboolyawo anaatukwatirwa ekisa n’atulokola.”
7 (G)Awo abalunnyanja ne boogeraganya nti, “Mujje tukube obululu, tuvumbule omuntu yennyini avuddeko omutawaana guno.” Ne bakuba obululu, akalulu ne kagwa ku Yona.
8 Abalunnyanja ne babuuza Yona nti, “Tubuulire, lwaki otuleetedde akabi akafaanana bwe kati, kiki ky’okoze? Okola mulimu ki? Ova wa era oli wa nsi ki, n’abantu bo be b’ani?”
9 (H)Yona n’agamba nti, “Ndi Mwebbulaniya; era nsinza Mukama, Katonda w’eggulu eyakola eggulu n’ensi.”
10 Awo ne batya nnyo ne babuuza nti, “Kiki kino ky’otukoze?” Kubanga baali bategedde nti yali adduka mu maaso ga Katonda nga bwe yali amaze okubategeeza.
11 Awo ne bamugamba nti, “Tukukole tutya ennyanja erongooke?” Kubanga ennyanja yali yeeyongera bweyongezi okufuukuuka.
12 (I)N’abagamba nti, “Munsitule munsuule mu nnyanja ennyanja eneeteeka, kubanga esiikuuse ku lwange.”
13 (J)Naye abalunnyanja ne bagezaako nnyo okugoba ku ttale, kyokka ne batayinza, kubanga omuyaga gwagenda gweyongera bweyongezi. 14 (K)Kyebaava bakaabirira Mukama ng’abagamba nti, “Tukwegayiridde Ayi Mukama, totuleka kufa olw’obulamu bw’omusajja ono, era totuteekako musango olw’omusaayi gwe n’okufa kwe, kubanga oleese omuyaga olw’esonga.” 15 (L)Awo ne basitula Yona ne bamusuula mu nnyanja eyali eyira. Amangwago omuyaga ne gusirika. 16 (M)Abasajja ne batya nnyo Mukama, ne bawaayo ekiweebwayo gy’ali ne beeyama obweyamo.
17 (N)Mukama yateekateeka ekyennyanja ekinene ennyo ne kimira Yona; Yona n’amala mu kyennyanja ekyo ennaku ssatu emisana n’ekiro.
Okusaba Kwa Yona
2 Awo Yona n’asinziira mu kyennyanja n’asaba Mukama Katonda we, ng’agamba 2 (O)nti,
“Mu nnaku yange ennyingi
nakaabirira Mukama n’anziramu;
mu buziba ewala mu magombe nakukoowoola,
era n’owulira eddoboozi lyange!
3 (P)Kubanga wansuula ewala mu buziba mu nnyanja,
ne nzika, amayengo gonna,
ensozi n’ensozi z’amazzi ebikunta
ne bimbikka
ne binneetooloola.
4 (Q)Ne ndyoka njogera nti, ‘Ngobeddwa
mu maaso go;
Ddala ndiddayo nate
okulaba yeekaalu yo entukuvu?’
5 (R)Nakkira ddala ku ntobo wansi w’amayengo, okufa ne kumbeerera ddala kumpi;
Amazzi nga ganneetoolodde
era ng’omuddo gw’omu nnyanja gunneezingiridde ku mutwe.
6 Ne ŋŋendera ddala ku ntobo, ensozi z’omu nnyanja gye zisibuka, eyo,
ensi n’ensibirayo emirembe n’emirembe.
Naye ggwe Mukama Katonda wange, onzigye mu bunnya,
Ayi Mukama Katonda wange.
7 (S)“Bwe nnali nga mpweddemu essuubi, emmeeme yange ng’ezirika
ne nkujjukira, Ayi Mukama Katonda.
Awo okusaba kwange entakeera ne kutuuka
mu yeekaalu yo entukuvu.
8 (T)“Abo abassaayo omwoyo ku balubaale ne bakatonda abataliimu ne babasinza,
beefiiriza okusaasirwa kwa Katonda okubalindiridde!
9 (U)Naye nze, n’oluyimba olw’okukutendereza,
ndikuwa ssaddaaka.
Ddala ndituukiriza obweyamo bwange
kubanga obulokozi buva eri Mukama Katonda.”
10 Awo Mukama Katonda n’alagira ekyennyanja ne kiwandula Yona n’agwa ettale ku lukalu.
Yona Agondera Mukama
3 (V)Awo ekigambo kya Mukama ne kijjira Yona omulundi ogwokubiri, n’amugamba nti, 2 “Genda mu kibuga ekinene Nineeve obalabule n’obubaka buno bwe nkuwa.”
3 Awo Yona n’agondera Mukama n’agenda e Nineeve. Nineeve kyali kibuga kya kitiibwa nnyo era nga kitwala ennaku ssatu okukibuna kyonna. 4 Ku lunaku olwasooka Yona yatambula olunaku lwonna ng’agenda alangirira nti, “Bwe waliyitawo ennaku amakumi ana, Nineeve kirizikirira.” 5 (W)Abantu b’omu Nineeve ne bakkiriza Katonda, ne balangirira okusiiba ne beesiba ebibukutu, bonna okuva ku asinga ekitiibwa okutuuka ku asembayo okuba owa wansi.
6 (X)Amawulire gano bwe gaatuuka ku kabaka w’e Nineeve, n’ayimuka ku ntebe ye ey’obwakabaka, ne yeeyambulamu ekyambalo kye, ne yeesiba ekibukutu, n’atuula mu nfuufu. 7 (Y)Kabaka teyakoma awo, wabula n’ayisa n’etteeka n’alibunya Nineeve yonna nga ligamba nti,
Olw’ekiragiro kya kabaka n’abakungu be:
“Tewaba muntu yenna, wadde ensolo oba eggana n’ekisibo, okukomba ku mmere wadde amazzi; 8 (Z)naye buli muntu n’ekisibo bibikkibwe n’ebibukutu, era bikaabirire nnyo Katonda, era birekeraawo okwonoona n’okukola eby’obukambwe. 9 (AA)Ani amanyi? Oboolyawo Katonda anaakyusa ku kibonerezo kye, kye yatusalira n’akkakkanya obusungu bwe n’atatuzikiriza.”
10 (AB)Awo Katonda bwe yalaba kye bakoze, ne baleka n’ebibi byabwe, n’abasonyiwa n’atabatuusaako kibonerezo, kye yali agambye okubatuusaako.
Obusungu bwa Yona n’Ekisa Kya Katonda
4 (AC)Naye Yona n’anyiiga nnyo. 2 (AD)N’alyoka yeemulugunyiza Katonda n’amugamba nti, “Kino ddala kye nalowooza, Mukama, bwe nnali mu nsi ye waffe, lwe wasooka okuŋŋamba okujja eno. Kye kyanzirusa n’okunzirusa okugenda e Talusiisi; kubanga namanya nti ggwe oli Katonda ajjudde obulungi, alwawo okusunguwala, alina ekisa ekingi, era namanya nti ojja kwanguwa okukyusa entegeka zo ez’okuzikiriza abantu bano. 3 (AE)Kale nno nkwegayiridde Mukama nzita; okufa kisinga okuba omulamu.”
4 (AF)Awo Mukama n’agamba nti, “Olina ekituufu kw’osinziira okunyiiga?”
5 Awo Yona n’afuluma ebweru w’ekibuga n’abeera ku luuyi lwakyo olw’ebuvanjuba, era ne yeekolerawo akasiisira mu makoola, n’alinda alabe ekinatuuka ku kibuga. 6 Ebikoola by’akasiisira bwe by’awotoka olw’omusana, Mukama Katonda n’ategeka ekiryo ne kimera mangu amakoola gaakyo ne gabikka ku mutwe gwa Yona ne gakendeeza ku musana. Yona n’asanyuka nnyo olw’ekiryo. 7 (AG)Naye ate enkeera Katonda n’aleeta ekiwuka, ne kirya ekiryo ne kikala ne kifa. 8 Ng’enjuba yeewanise, Katonda n’alyoka alagira embuyaga ey’Ebuvanjuba ey’olubugumu okufuuwa Yona, omusana ne gumwokya nnyo mu mutwe okutuusa lwe yazirika. N’ayagala afe. N’ayogera nti, “Okufa kusinga okuba omulamu.”
9 Mukama n’alyoka amubuuza nti, “Olina ekituufu kw’osinziira okunyiiga olw’ekiryo ekikaze ne kifa?”
Yona n’addamu nti, “Yee, kituufu nze okunyiiga ennyo n’okwegomba okufa.”
10 Mukama n’amugamba nti, “Osaalirwa olw’ekibikka kyo ekyonoonese songa si ggwe wakimeza, ate nga kyo kyali kya kiseera buseera. 11 (AH)Kale lwaki nange sandisaasidde Nineeve, ekibuga ekyo ekinene n’abantu baamu emitwalo ekkumi n’ebiri n’okusingawo, n’ente zaakyo ennyingi bwe zityo, abantu abatasobola kwawula kirungi na kibi?”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.