Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 41

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

41 (A)Alina omukisa asaasira omunaku;
    Mukama amulokola ku lunaku olw’akabi.
(B)Mukama anaamukuumanga anaawonyanga obulamu bwe,
    era anaamuwanga omukisa mu nsi;
    n’atamuwaayo eri okwegomba kw’abalabe be.
Mukama anaamujjanjabanga nga mulwadde;
    n’amuwonya mu bulumi.

(C)Nayogera nti, “Ayi Mukama onsaasire omponye; kubanga nnyonoonye mu maaso go.”
(D)Abalabe bange boogeza obukyayi nti,
    “Alifa ddi n’okwerabirwa ne yeerabirwa?”
(E)Bwe bajja okundaba beefuula mikwano gyange;
    naye munda yaabwe bankyawa era basanyuka okulaba nga ngalamidde awo nnumwa.
    Bwe bansiibula bagenda beesekera nga bwe baduula.

(F)Abalabe bange bonna abo bateesa mu kaama;
    nga banjogerako ebitali birungi.
Boogera nti, “Endwadde emukutte mbi nnyo,
    emukubye wansi tayinza kuwona.”
(G)Era ne mukwano gwange gwe neesiganga
    bwe twalyanga,
    anneefuukidde.

10 (H)Naye ggwe, Ayi Mukama, onsaasire,
    onzizeemu amaanyi ndyoke nneesasuze.
11 (I)Mmanyi ng’onsanyukira,
    kubanga omulabe wange tampangudde.
12 (J)Onnywezezza mu bwesimbu bwange,
    ne mbeera mu maaso go ennaku zonna.

13 (K)Atenderezebwenga Mukama Katonda wa Isirayiri,
    oyo eyabaawo okuva edda n’edda lyonna n’okutuusa emirembe gyonna.
Amiina era Amiina.

Zabbuli 52

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Dowegi Omwedomu bwe yagenda n’abuulira Sawulo nti, “Dawudi alaze mu nnyumba ya Akimereki.”

52 (A)Lwaki weenyumiririza mu kibi ggwe omusajja ow’amaanyi?
    Endagaano ya Katonda ey’obwesigwa ebeerera emirembe n’emirembe.
(B)Oteekateeka enkwe ez’okuzikiriza.
    Olulimi lwo lwogi nga kkirita
    era buli kiseera lwogera bya bulimba.
(C)Oyagala okukola ebibi okusinga okukola ebirungi,
    n’okulimba okusinga okwogera amazima.
(D)Osanyukira nnyo okwogera ebirumya.
    Ggwe olulimi kalimbira!

(E)Kyokka Katonda alikuzikiriza emirembe gyonna;
    alikusikula, akuggye mu maka go;
    alikugoba mu nsi y’abalamu.
(F)Bino abatuukirivu balibiraba, ne babitunuulira nga batidde.
    Naye balikusekerera, nga bwe bagamba nti,
(G)“Mumulabe omusajja
    ateesiga Katonda okuba ekiddukiro kye,
naye ne yeesiganga obugagga bwe obungi,
    ne yeeyongera n’amaanyi ng’azikiriza abalala.”

(H)Naye nze nfaanana ng’omuti omuzeyituuni
    ogukulira mu nnyumba ya Katonda.
Neesiga okwagala kwa Katonda okutaggwaawo
    emirembe n’emirembe.
(I)Nnaakwebazanga emirembe gyonna olw’ekyo ky’okoze.
    Nneesiganga erinnya lyo kubanga erinnya lyo ddungi;
    era nnaakutendererezanga awali abatuukirivu bo.

Zabbuli 44

Ya mukulu wa bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

44 (A)Ayi Katonda, twawulira n’amatu gaffe,
    bajjajjaffe baatubuulira,
ebyo bye wakola mu biro byabwe,
    mu nnaku ez’edda ezaayita.
(B)Nga bwe wagoba amawanga mu nsi
    n’ogiwa bajjajjaffe,
wasaanyaawo amawanga
    n’okulaakulanya bajjajjaffe.
(C)Ekitala kyabwe si kye kyabaleetera okuwangula ensi,
    n’omukono gwabwe si gwe gwabalokola;
wabula baawangula n’omukono gwo ogwa ddyo
    awamu n’obulungi bwo, kubanga wabaagala.

(D)Ggwe oli Kabaka wange, era Katonda wange;
    awa Yakobo obuwanguzi.
(E)Ku lulwo tunaawangulanga abalabe baffe;
    ku lw’erinnya lyo tunaalinnyiriranga abalabe baffe.
(F)Ddala ddala omutego gwange ogw’obusaale si gwe neesiga,
    n’ekitala kyange si kye kimpa obuwanguzi.
(G)Wabula ggwe otulokola mu balabe baffe,
    n’oswaza abo abatuyigganya.
(H)Twenyumiririza mu Katonda olunaku lwonna.
    Era tunaatenderezanga erinnya lyo emirembe gyonna.

(I)Naye kaakano otusudde ne tuswala;
    era tokyatabaala na magye gaffe.
10 (J)Watuzza emabega okuva mu bifo mwe twali ng’abalabe baffe balaba,
    abatuyigganya ne batunyaga.
11 (K)Watuwaayo okuliibwa ng’endiga;
    n’otusaasaanya mu mawanga.
12 (L)Watunda abantu bo omuwendo mutono nnyo,
    n’otobaako ky’oganyulwa.

13 (M)Watufuula ekivume eri baliraanwa baffe,
    ekinyoomebwa era ekisekererwa abo abatwetoolodde.
14 (N)Otufudde ekinyoomebwa mu mawanga gonna;
    era abantu banyeenya emitwe gyabwe.
15 Nswazibwa obudde okuziba,
    amaaso gange ne gajjula ensonyi,
16 (O)olw’abo abangigganya, abanvuma nga tebandabamu ka buntu,
    olw’omulabe amaliridde okuwoolera eggwanga.

17 (P)Ebyo byonna bitutuseeko,
    newaakubadde nga tetukwerabidde,
    wadde obutagondera ndagaano yo.
18 (Q)Omutima gwaffe tegukuvuddeeko,
    so tetugaanyi kutambulira mu kkubo lyo.
19 (R)Naye ggwe otubonerezza n’otulekera emisege,
    n’otuleka mu kizikiza ekikutte.

20 (S)Ddala singa twerabira erinnya lya Katonda waffe,
    ne tusinza katonda omulala,
21 (T)ekyo Katonda waffe teyandikizudde?
    Kubanga ye amanyi n’ebikisibwa mu mutima.
22 (U)Katonda waffe, tetukuvuddeeko, kubanga ku lulwo tuttibwa obudde okuziba,
    era tuli ng’endiga ez’okusalibwa.

23 (V)Golokoka Ayi Mukama, lwaki weebase?
    Zuukuka! Totusuula Ayi Mukama!
24 (W)Lwaki otwekwese?
    Lwaki tofaayo ku kulumwa kwaffe n’okujoogebwa?

25 (X)Ddala ddala tusuuliddwa mu nfuufu;
    tuli ku ttaka.
26 (Y)Golokoka otuyambe;
    tulokole olw’okwagala kwo okutaggwaawo.

Ekyamateeka Olwokubiri 8:11-20

Okulabulwa Obutaba b’Amalala

11 “Weegenderezenga nnyo olemenga kwerabiranga Mukama Katonda wo, ng’ogaananga okukwatanga amateeka ge, n’ebiragiro bye, bye nkulagira leero. 12 (A)Si kulwa ng’onoolyanga n’okkuta, ne weezimbiranga amayumba amalungi, n’otereera; 13 amagana go n’ebisibo byo nga bigezze, ne zaabu yo ne ffeeza yo nga byaze, nga ne buli kintu ky’onoobanga nakyo nga kyeyongedde okwala, 14 (B)kale olwo omutima gwo ne gujjangamu amalala, ne weerabiranga Mukama Katonda wo eyakuggya mu nsi ey’e Misiri mu nnyumba ey’obuddu. 15 (C)Eyakukulemberanga n’akuyisanga mu ddungu eddene era ezzibu ennyo eritiisa, ekkalu omutali tuzzi, nga libunye emisota emikambwe egy’obusagwa, n’enjaba. Eyakuggyira amazzi mu lwazi. 16 (D)Yakuliisanga emmaanu mu ddungu, emmere bajjajjaabo gye baali batalabangako. Yali ng’akwetoowazisa era nga bw’akugezesa, ku nkomerero biryoke bikugendere bulungi. 17 (E)Weekuumenga, olemenga okulowoozanga mu mutima gwo nti, ‘Obugagga buno bwonna mbufunye olw’obuyinza bwange n’amaanyi g’emikono gyange.’ 18 (F)Naye ojjukiranga Mukama Katonda wo, kubanga y’akuwa obuyinza okufuna obugagga, alyoke atuukirize endagaano ye gye yalayirira bajjajjaabo, nga bwe kiri leero.

19 (G)“Bwe kanaakutandanga ne weerabiranga Mukama Katonda wo, n’ogobereranga bakatonda abalala, n’obasinzanga n’obavuunamiranga, mbategeeza mmwe leero nti ddala ddala mugenda kuzikirira. 20 Nga bwe mulaba amawanga Mukama g’azikiriza mu maaso gammwe, nammwe bwe mulizikirira bwe mutyo, bwe mutaligonderanga ddoboozi lya Mukama Katonda wammwe.”

Abaebbulaniya 2:11-18

11 (A)Oyo atukuza era n’abo abatukuzibwa bava mu omu bonna. Noolwekyo takwatibwa nsonyi kubayita baganda be. 12 (B)Agamba nti,

“Nditegeeza baganda bange erinnya lyo,
    era nnaakuyimbiranga ennyimba wakati mu kkuŋŋaaniro.”

13 (C)Era awalala agamba nti,

“Nze nnaamwesiganga oyo.”

Ate ne yeeyongera n’agamba nti,

“Laba nze n’abaana Katonda be yampa.”

14 (D)Olw’okubanga abaana balina omubiri n’omusaayi, naye yalina omubiri n’omusaayi, alyoke azikirize oyo alina amaanyi ag’okufa, ye Setaani. 15 (E)Yakikola alyoke awe eddembe abo bonna abaali bamaze obulamu bwabwe bwonna mu buddu olw’entiisa y’okufa. 16 Kubanga eky’amazima kiri nti tayamba bamalayika, ayamba zzadde lya Ibulayimu. 17 (F)Kyekyava kimugwanira mu byonna okufaananyizibwa baganda be, alyoke abeerenga Kabona Asinga Obukulu asaasira era omwesigwa mu kuweereza Katonda. Ekyo yakikola alyoke atangirire ebibi by’abantu. 18 (G)Yabonaabona, ye yennyini ng’akemebwa, alyoke ayambe abo abakemebwa.

Yokaana 2:1-12

(A)Awo bwe waayitawo ennaku bbiri ne wabaawo embaga ey’obugole mu Kaana eky’e Ggaliraaya ne nnyina Yesu yaliyo. Yesu awamu n’abayigirizwa be nabo baayitibwa. Wayini bwe yaggwaawo, nnyina Yesu n’ajja gy’ali n’amugamba nti, “Tebakyalina wayini.”

(B)Yesu n’amuddamu nti, “Maama ndeka, kubanga ekiseera kyange tekinnatuuka.”

(C)Nnyina Yesu n’agamba abaweereza nti, “Kyonna ky’abagamba kye muba mukola.”

(D)Waaliwo amasuwa amanene mukaaga agaategekebwa olw’omukolo gw’Abayudaaya ogw’okwetukuza, buli limu nga lirimu lita kikumi oba kikumi mu ataano.

Yesu n’agamba abaweereza nti, “Amasuwa mugajjuze amazzi.” Ne bagajjuza okutuuka ku migo. Awo n’abagamba nti, “Kale musene mutwalire omukulu w’abagabuzi.”

Ne basena ne bamutwalira. (E)Omukulu w’abagabuzi bwe yalega ku mazzi agafuuse wayini, nga tamanyi gy’avudde, so nga bo abaweereza baali bamanyi, n’ayita omugole omusajja 10 n’amugamba nti, “Bulijjo omuntu asooka kugabula wayini omuka, n’oluvannyuma ng’abagenyi be banywedde nnyo, tebakyafaayo olwo n’alyoka agabula ogutali muka nnyo. Naye ggwe wayini omuka gw’osembezzaayo!”

11 (F)Ekyamagero kino, Yesu kye yasookerako okukola mu lwatu mu Kaana eky’e Ggaliraaya, ng’alaga ekitiibwa kye. Abayigirizwa be bwe baakiraba ne bamukkiriza. 12 (G)Embaga bwe yaggwa Yesu n’adda e Kaperunawumu n’abayigirizwa be n’amalayo ennaku ntono ng’ali eyo ne nnyina ne baganda be.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.