Book of Common Prayer
Ya Mukulu wa Bayimbi. Ku ddoboozi, “Tozikiriza.” Zabbuli ya Asafu. Oluyimba.
75 (A)Tukwebaza, Ayi Katonda.
Tukwebaza, kubanga Erinnya lyo liri kumpi.
Abantu boogera ku bikolwa byo eby’ekyewuunyo.
2 Mukama Katonda oyogera nti, “Neerondera ekiseera kye neetegekera
era nsala omusango gwa bwenkanya.
3 (B)Kyokka newaakubadde ng’ensi eyuuguuma abantu ne beeraliikirira,
naye nze nywezezza empagi zaayo.”
4 (C)Nalabula ab’amalala bagaleke,
n’ababi bakomye okuyimusa ejjembe lyabwe ng’ery’embogo.
5 Mukomye okuyimusa ejjembe lyammwe eri eggulu
n’okwogera nga muduula.
6 Kubanga okugulumizibwa tekuva mu ddungu
era n’obuyinza tebuva buvanjuba wadde obugwanjuba bw’ensi,
7 (D)wabula biva eri Katonda;
era ye y’agulumiza omu ate n’atoowaza omulala.
8 (E)Mukama akutte mu mukono gwe ekikompe eky’obusungu bwe
ekijjudde omwenge ogutabuddwamu ebirungo era kijjudde ejjovu;
akifuka, aboonoonyi bonna ku nsi
ne bakinywa ne bakimaliramu ddala.
9 (F)Naye nze nnaatendanga obulungi bwa Mukama;
nnaatenderezanga Katonda wa Yakobo ennaku zonna.
10 (G)Mukama ayogera nti, Ababi ndibamalamu amaanyi,
naye abatuukirivu nnaabongeranga amaanyi.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Asafu.
76 Katonda amanyiddwa mu Yuda;
erinnya lye kkulu mu Isirayiri.
2 (H)Eweema ye eri mu Yerusaalemi;
era abeera mu Sayuuni.
3 (I)Eyo gy’asinziira n’amenyaamenya obusaale bw’omulabe obujja bwesooza;
n’engabo n’ebitala n’ebyokulwanyisa byonna eby’olutalo.
4 Owa ekitangaala,
oli wa kitiibwa okusinga ensozi ennene eziriko ensolo eziyiggibwa.
5 (J)Ab’amaanyi bagalamira nga banyaguluddwa,
beebaka ne batasobola kugolokoka,
ne watabaawo n’omu asobola
okuyimusa omukono gwe.
6 (K)Bw’obaboggolera, Ayi Katonda wa Yakobo,
abeebagala embalaasi ezisika ebigaali bagwiira wamu n’ebigaali ne batagolokoka.
7 (L)Ggwe ayi Katonda, osaanira okutiibwanga.
Ani ayinza okuyimirira mu maaso go ng’osunguwadde?
8 (M)Osalira abantu emisango ng’osinziira mu ggulu,
ensi n’etya n’ekankana n’esirika olw’obusungu bwo,
9 (N)bw’ogolokoka okusala omusango,
okuwonya ababonyaabonyezebwa mu nsi.
10 (O)Bw’osunguwalira omuntu kikuleetera okutenderezebwa,
n’abo b’otasunguwalidde ne beegendereza.
11 (P)Mweyame obweyamo bwammwe eri Mukama Katonda wammwe, era mubutuukirizenga;
bonna abamuli okumpi bamuleetere ebirabo,
kubanga asaanidde okutiibwa.
12 Mukama akkakkanya abalangira,
ne bakabaka b’ensi bamutya.
Zabbuli ya Dawudi.
23 (A)Mukama ye Musumba wange, seetaagenga.
2 (B)Angalamiza ne mpummulira mu ddundiro ly’omuddo omuto.
Antwala awali amazzi amateefu.
3 (C)Akomyawo emmeeme yange.
Annuŋŋamya okukola eby’obutuukirivu
olw’erinnya lye.
4 (D)Newaakubadde nga ntambulira mu kiwonvu eky’ekisiikirize eky’olumbe, siritya kabi konna;
kubanga ggwe oli nange.
Oluga lwo n’omuggo gwo
bye binsanyusa.
Zabbuli ya Dawudi.
27 (A)Mukama gwe musana gwange n’obulokozi bwange;
ani gwe nnaatyanga?
Mukama ge maanyi ag’obulamu bwange;
ani asobola okuntiisa?
2 (B)Abalabe bange n’abantu ababi bonna
bwe banannumba nga baagala okunzita,
baneesittala
ne bagwa.
3 (C)Newaakubadde ng’eggye linaasiisira okunneebungulula,
omutima gwange teguutyenga;
olutalo ne bwe lunansitukirangako,
nnaabanga mugumu.
4 (D)Ekintu kimu kye nsaba Mukama,
era ekyo kye nnoonya:
okubeeranga mu nnyumba ya Mukama
ennaku zonna ez’obulamu bwange,
ne ndabanga obulungi bwa Mukama,
era ne nsinzizanga mu Yeekaalu ye.
5 (E)Kubanga mu biseera eby’obuzibu
anansuzanga mu nju ye;
anankwekanga mu weema ye,
n’ankuumira ku lwazi olugulumivu.
6 (F)Olwo ononnyimusanga
waggulu w’abalabe bange abanneetoolodde.
Nnaaweerangayo ssaddaaka mu weema ye nga bwe ntendereza n’eddoboozi ery’omwanguka olw’essanyu;
nnaayimbiranga Mukama ennyimba ez’okumutenderezanga.
7 (G)Wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama, nga nkukoowoola;
onkwatirwe ekisa onnyanukule!
8 Omutima gwange guwulidde eddoboozi lyo nga lyogera nti, “Munnoonye, munsinze.”
Omutima gwange ne guddamu nti, “Nnaakunoonyanga, Ayi Mukama.”
9 (H)Tonneekweka,
so tonyiigira muweereza wo,
kubanga ggw’obadde omubeezi wange bulijjo.
Tonneggyaako, so tonsuula,
Ayi Katonda, Omulokozi wange.
10 Kitange ne mmange bwe balindeka,
Mukama anandabiriranga.
11 (I)Njigiriza, Ayi Mukama, by’oyagala nkole,
era onkulembere mu kkubo lyo,
kubanga abalabe bange banneetoolodde.
12 (J)Tompaayo mu balabe bange,
kubanga abajulizi ab’obulimba bansitukiddeko n’enkwe zaabwe,
okunkambuwalira.
3 (A)“Naye mmwe mujje musembere wano batabani b’omukazi omufumu
ezzadde ly’omwenzi omukazi eyeetunda.
4 Muzannyira ku ani?
Ani gwe mukongoola
ne mumusoomooza?
Temuli baana ba bujeemu,
ezzadde eryobulimba?
5 (B)Mwaka ne mwegombera wansi w’emiti
na buli wansi wa buli muti oguyimiridde;
mmwe abasaddaaka abaana bammwe mu biwonvu
ne wansi w’enjatika z’enjazi.
6 (C)Bakatonda bo ge mayinja amaweweevu[a] gosinziza mu biwonvu,
abo be babo, obusika bwo;
abo b’ofukira ekiweebwayo ekyokunywa
era n’ebiweebwayo eby’empeke.
Nga weemalidde mu kukola bino byonna, olowooza nnyinza okusanyuka?
7 (D)Mwambuka ku ntikko z’ensozi okwenda
nga mugenze okuwaayo ssaddaaka.
8 (E)Emabega w’enzigi zammwe
we muteeka ebibumbe eby’obuwemu bye musinza.
Mwandeka ne mukola eby’obuwemu
mu bitanda byammwe ebigazi.
Eyo gye mweyambulira ne mukola endagaano
n’abo be mwagala be muleeta mu bitanda byammwe.
9 (F)Ne weekuba kalifuuwa omuyitirivu
ng’ogenda okutwala amafuta ag’omuzeeyituuni ewa Moleki katonda wo,
n’otuma ababaka bo ewala ennyo banoonye bakatonda,
kumpi batuuke n’emagombe.
10 (G)Amakubo go gonna gakuteganya ne gakukooya nnyo
naye teweegamba nako nti,
‘Nteganira ki atalina kyeŋŋanyurwa?’
Singa tewanoonya bikuzaamu maanyi, wandizirise.
11 (H)“B’ani abo be watya n’otekemuka n’obawuliriza,
n’olyoka olimba,
nze n’otonzijukira n’akatono
wadde okundowoozaako?
Olw’okubanga nsirise n’esikunyega
ky’ekikuyinudde n’onneerabira n’ompisaamu amaaso.
12 (I)Nnaayolesa obutuukirivu bwo ne by’okola,
naye tebigenda kukugasa.
13 (J)Bw’okaabanga nga weetaaga obuyambi,
leka bakatonda bo be wakuŋŋaanya bakununule;
naye empewo eribatwala,
omukka obukka abantu gwe bassa gulibaggirawo ddala bonna.
Naye oyo anfuula ekiddukiro kye
alirya ensi
era alitwala olusozi lwange olutukuvu.”
25 Kale bwe tuba abalamu ku bw’Omwoyo, tugobererenga okuluŋŋamizibwa kw’Omwoyo. 26 (A)Tulemenga okwemanya, n’okunyizaganya, n’okukwatiragananga obuggya.
6 (B)Abooluganda omuntu bw’abanga alina ekibi ky’akoze, mmwe ab’omwoyo mumuluŋŋamyenga mu buwombeefu nga mwegendereza si kulwa nga nammwe mugwa mu kukemebwa. 2 (C)Muyambaganenga, bwe mutyo bwe munaatuukirizanga etteeka lya Kristo. 3 (D)Kubanga omuntu yenna bwe yeerowooza okuba owa waggulu so nga si bw’ali, yeerimbarimba. 4 Naye buli muntu yeekebere akakase omulimu ggwe, yenyumirize ye yekka so si mu muntu omulala. 5 Kubanga buli muntu aneetikkanga obuvunaanyizibwa bwe. 6 (E)Oyo ayigirizibwa ekigambo kya Katonda, agabanirenga wamu n’amuyigiriza ku birungi byonna by’alina.
7 (F)Temubuzibwabuzibwanga, Katonda tasekererwa, kubanga omuntu ky’asiga era ky’alikungula. 8 (G)Kubanga oyo asiga eri omubiri gwe, alikungula ebiggwaawo. Naye oyo asiga eri omwoyo, alikungula obulamu obutaggwaawo. 9 (H)Kale tulemenga okuterebuka mu kukola obulungi, kubanga oluvannyuma tulikungula emikisa, bwe tutaggwaamu maanyi. 10 (I)Noolwekyo, buli lwe kinaabanga kisobose tukolerenga abantu bonna ebirungi, na ddala ab’omu nnyumba ey’okukkiriza.
Yesu Awonya Omulenzi Eyaliko Dayimooni
14 Yesu n’abayigirizwa bali abasatu bwe bakka eri bannaabwe okuva ku lusozi, ne basanga ekibiina kinene nga kyetoolodde bannaabwe, abannyonnyozi b’amateeka nga bawakana nabo. 15 Amangwago ekibiina kyonna bwe kyamulaba, ne badduka ne bagenda gy’ali ne bamwaniriza.
16 Yesu n’ababuuza nti, “Kiki kye muwakana nabo?” 17 Omu ku basajja abaali mu kibiina ne yeesowolayo n’agamba nti, “Omuyigiriza, naleese wano omwana wange omuwonye. Tayinza kwogera aliko omwoyo omubi. 18 Era buli lwe gumulumba gumusuula wansi, n’abimba ejjovu ku mimwa n’aluma amannyo, olwo yenna n’akakanyala. Nsabye abayigirizwa bo bagumugobeko, naye ne balemwa.”
19 Yesu n’agamba nti, “Mmwe, omulembe ogutakkiriza ndituusa ddi okubeera nammwe? Mbagumiikirize kutuusa ddi? Mumundeetere wano.”
20 (A)Ne bamumuleetera. Omwoyo bwe gwamulaba ne gusikambula omulenzi, ne gumusuula wansi, nga bwe yeevulungula nga bw’abimba n’ejjovu ku mimwa.
21 Yesu n’abuuza kitaawe w’omwana nti, “Kino kimaze bbanga ki?” Kitaawe n’addamu nti, “Okuviira ddala mu buto. 22 Oluusi gumusuula mu muliro oluusi mu mazzi nga gwagala okumutta. Obanga olina ky’osobola okutukolera, tusaasire.”
23 (B)Yesu n’amuddamu nti, “Obanga osobola! Buli kimu kisoboka eri oyo akkiriza.”
24 Amangwago Kitaawe w’omwana n’ayogerera waggulu nti, “Nzikiriza, naye nnyamba okukkiriza kwange kweyogereko!”
25 (C)Yesu bwe yalaba ng’ekibiina kyeyongera obunene, n’aboggolera dayimooni nti, “Ggwe omwoyo omubi ogutayogera era omuggavu gw’amatu nkulagira muveeko, era tomuddiranga.”
26 Awo omwoyo ne guwowoggana nnyo, ne gumusikambula nnyo, ne gumuvaako n’aba ng’afudde, bangi ne balowooza nti afudde. 27 Naye Yesu n’amukwata ku mukono n’amuyimiriza.
28 (D)Awo Yesu bwe yayingira mu nnyumba abayigirizwa be, ne bamubuuza mu kyama nti, “Lwaki ffe tetwasobodde kumugoba?”
29 N’addamu nti, “Ogw’engeri eno teguyinza kugenda awatali kusaba.”[a]
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.