Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 55

Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa n’ebivuga eby’enkoba. Zabbuli ya Dawudi.

55 (A)Owulirize okusaba kwange, Ayi Katonda,
    togaya kwegayirira kwange.
    (B)Ompulire era onziremu,
kubanga ndi mu buzibu, nga nsinda olw’okweraliikirira okunene.
    (C)Mpulira amaloboozi g’abalabe bange;
    ababi bankanulidde amaaso
ne banvuma nga bajjudde obusungu.

(D)Omutima gwange gulumwa nnyo munda yange;
    entiisa y’okufa entuukiridde.
(E)Okutya n’okukankana binnumbye;
    entiisa empitiridde.
Ne njogera nti, Singa nnina ebiwaawaatiro ng’ejjiba,
    nandibuuse ne ŋŋenda mpummulako.
“Nandiraze wala nnyo,
    ne mbeera eyo mu ddungu;
(F)nandiyanguye ne ntuuka mu kifo kyange eky’okuwummuliramu,
    eteri kibuyaga na mpewo ekunta n’amaanyi.”

(G)Mukama tabulatabula ennimi z’ababi, ozikirize enkwe zaabwe;
    kubanga ndaba obukambwe n’okulwanagana mu kibuga.
10 Beetooloola bbugwe waakyo emisana n’ekiro,
    ne munda mu kyo mujjudde ettima n’ebikolwa ebibi.
11 (H)Obutemu n’obussi obwa buli ngeri biri mu kibuga omwo.
    Buli lw’oyita mu nguudo zaakyo osanga bulimba bwereere na kutiisibwatiisibwa.

12 Singa omulabe wange y’abadde anvuma,
    nandikigumiikirizza;
singa oyo atakkiriziganya nange y’annumbaganye n’anduulira,
    nandimwekwese.
13 (I)Naye ggwe munnange,
    bwe tuyita, era mukwano gwange ddala!
14 (J)Gwe twabanga naye mu ssanyu ng’abooluganda,
    nga tutambulira mu kibiina ekinene mu nnyumba ya Katonda.

15 (K)Okufa kubatuukirire,
    bakke emagombe nga bakyali balamu;
    kubanga bajjudde okukola ebibi.

16 Naye nze nkoowoola Mukama Katonda,
    n’andokola.
17 (L)Ekiro, ne mu makya ne mu ttuntu,
    ndaajana nga bwe nsinda;
    n’awulira eddoboozi lyange.
18 Amponyezza mu lutalo
    nga siriiko kintuseeko
    newaakubadde ng’abannwanyisizza babadde bangi.
19 (M)Katonda oyo atudde ku ntebe ye ebbanga lyonna,
    aliwulira n’ababonereza
abo abatakyusa makubo gaabwe
    era abatatya Katonda.

20 (N)Agololera emikono gye ku mikwano gye;
    n’amenya endagaano ye.
21 (O)By’ayogera bigonvu okusinga omuzigo,
    so nga mu mutima gwe alowooza lutalo;
ebigambo bye biweweera okusinga amafuta,
    so nga munda mu mutima gwe asowodde bitala byennyini.

22 (P)Ebizibu byo byonna bireete eri Mukama,
    ajja kukuwanirira;
    kubanga talireka mutuukirivu kugwa.
23 (Q)Naye ggwe, Ayi Katonda,
    olisuula abakola ebibi mu kinnya eky’okuzikirira;
era abatemu n’abalimba bonna
    tebagenda kuwangaala kimu kyakubiri eky’obulamu bwabwe.

Naye nze, neesiga ggwe.

Zabbuli 138:1-139:23

Zabbuli Ya Dawudi.

138 (A)Nnaakutenderezanga Ayi Mukama, n’omutima gwange gwonna;
    ne mu maaso ga bakatonda abalala nnaayimbanga okukutendereza.
(B)Nvuunama nga njolekedde Yeekaalu yo Entukuvu,
    ne ntendereza erinnya lyo
    olw’okwagala kwo n’olw’obwesigwa bwo;
kubanga wagulumiza ekigambo kyo
    n’erinnya lyo okusinga ebintu byonna.
Olunaku lwe nakukoowoolerako wannyanukula;
    n’onnyongeramu amaanyi mu mwoyo gwange.

(C)Bakabaka bonna ab’omu nsi banaakutenderezanga, Ayi Mukama,
    nga bawulidde ebigambo ebiva mu kamwa ko.
Banaatenderezanga ebikolwa byo Ayi Mukama;
    kubanga ekitiibwa kya Mukama kinene.

(D)Newaakubadde nga Mukama asukkulumye,
    naye afaayo eri abo abeetoowaza; naye abeegulumiza ababeera wala.
(E)Newaakubadde nga neetooloddwa ebizibu,
    naye ggwe okuuma obulamu bwange;
ogolola omukono gwo eri abalabe bange abakambwe,
    era omukono gwo ogwa ddyo ne gumponya.
(F)Mukama alituukiriza ebyo by’anteekeddeteekedde;
    kubanga okwagala kwo, Ayi Mukama, kubeerera emirembe gyonna.
    Tolekulira ebyo bye watonda.

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

139 (G)Ayi Mukama, okebedde omutima gwange,
    n’otegeera byonna ebiri munda yange.
(H)Bwe ntuula omanya, ne bwe ngolokoka omanya;
    era otegeera byonna bye ndowooza, ne bwe mbeera ewala ennyo.
(I)Otegeera okutambula kwange kwonna n’okuwummula kwange.
    Omanyi amakubo gange gonna.
(J)Ekigambo kye nnaayogera, Ayi Mukama,
    okimanya nga sinnaba na kukyogera.
(K)Ondi mu maaso n’emabega,
    era ontaddeko omukono gwo.
(L)Okumanya okw’engeri eyo kunsukkiridde,
    era nkwewuunya nnyo, kunnema okutegeera.

(M)Nnaagenda wa Omwoyo wo gy’atali?
    Oba nnaagenda wa ggwe gy’otoli?
(N)Bwe nnaalinya mu ggulu, nga gy’oli;
    bwe nnakka emagombe, nayo nga gy’oli.
Bwe nneebagala empewo ez’oku makya ne zintwala
    ne mbeera mu bitundu by’ennyanja ebisinga okuba ewala;
10 (O)era n’eyo omukono gwo gunannuŋŋamya,
    omukono gwo ogwa ddyo gunannywezanga.
11 Bwe nnaagamba nti, “Ekizikiza kimbuutikire,
    n’obudde obw’emisana bwe ndimu bufuuke ekiro.”
12 (P)Naye era ekizikiza gy’oli tekiba kizikiza,
    ekiro kyakaayakana ng’emisana;
    kubanga gy’oli ekizikiza n’omusana bifaanana.

13 (Q)Ggwe watonda byonna ebiri munda mu nze;
    ggwe wammumbira mu lubuto lwa mmange.
14 (R)Nkutendereza, kubanga wankola mu ngeri ey’entiisa era ey’ekitalo;
    emirimu gyo gya kyewuunyo;
    era ekyo nkimanyidde ddala bulungi.
15 (S)Wammanya nga ntondebwa,
    bwe nakolerwa mu kyama;
bwe natondebwa mu buziba bw’ensi n’amagezi go amangi.
16     Wandaba nga si natondebwa.
Ennaku zange zonna ze wanteekerateekera
    zawandiikibwa mu kitabo kyo.
17 (T)By’ondowooleza nga bya muwendo munene, Ayi Katonda!
    Omuwendo gwabyo munene!
18 Singa ngezaako okubibala
    bisinga omusenyu obungi.
Ne bwe ngolokoka mu makya
    oba okyandowoozaako.

19 (U)Abakola ebibi batte, Ayi Katonda;
    abasajja abassi b’abantu banveeko.
20 (V)Abantu abo bakwogerako bibi;
    bakwegulumiririzaako mu butategeera bwabwe.
21 (W)Abakukyawa, Ayi Mukama, nange mbakyawa;
    abo abakwegulumiririzaako bansunguwaza.
22 Mbakyayira ddala nnyo,
    era mbayita balabe bange.
23 (X)Nkebera, Ayi Katonda, otegeere omutima gwange.
    Ngezesa omanye ebirowoozo byange.

Ekyamateeka Olwokubiri 11:18-28

Abaana Abato Okuyigirizibwanga Amateeka

18 (A)Kale muterekenga ebigambo byange bino mu mutima gwammwe ne mu mmeeme yammwe; munaabisibanga ku mikono gyammwe ng’akabonero ak’okubibajjukizanga, era mubitekanga ne ku byenyi byammwe. 19 (B)Mubiyigirizenga abaana bammwe, ng’obinyumyako bw’onoobanga otudde mu nnyumba yo, ne bw’onoobanga otambula mu nguudo; ne bw’onoogalamirangako, era ne bw’onoositukanga. 20 (C)Era onoobiwandiikanga ku myango ne ku nzigi, 21 (D)mmwe n’abaana bammwe mulyoke muwangaalenga nnyo, mumale ennaku nnyingi nga ebbanga eggulu lye lirimala nga liri waggulu w’ensi, nga muli mu nsi Mukama gye yasuubiza bajjajjammwe okugibawa.

22 (E)Bwe muneegenderezanga, ne mugonderanga ebiragiro bino byonna bye mbawa okubikolanga: kwe kwagalanga Mukama Katonda wammwe, n’okutambuliranga mu makubo ge gonna, n’okumunywererangako; 23 (F)kale, Mukama anaagobangamu amawanga ago gonna aganaabanga mu maaso gammwe, ne mwefunira ensi z’amawanga ago agabasinga mmwe obunene era n’amaanyi. 24 (G)Buli we munaalinnyanga ekigere kyammwe, ekifo ekyo kinaabeeranga kyammwe; okuva ku ddungu okutuuka ku Lebanooni, n’okuva ku Mugga Fulaati okutuuka ku nnyanja ey’ebugwanjuba. 25 (H)Tewaabengawo muntu n’omu anaasobolanga okubaziyiza. Mukama Katonda wammwe aliteeka entiisa n’ekikangabwa mu bannansi bonna, buli we munaagendanga, nga bwe yabasuubiza.

Omukisa n’Ekikolimo

26 (I)Mulabe, ku lunaku lwa leero nteeka mu maaso gammwe omukisa n’ekikolimo. 27 (J)Omukisa, bwe munaagonderanga amateeka ga Mukama Katonda wammwe ge mbalagira leero; 28 (K)ekikolimo, bwe mutaagonderenga mateeka ga Mukama Katonda wammwe, ne mukyamanga okuva mu kkubo lye mbalagira leero, ne mugobereranga bakatonda abalala be mwali mutamanyi.

Abaebbulaniya 5:1-10

(A)Buli Kabona Asinga Obukulu alondebwa mu bantu n’ateekebwawo okuweereza Katonda ku lwabwe, alyoke awengayo ebirabo n’essaddaaka olw’ebibi byabwe. (B)Asobola okukwata empola abantu abatamanyi era n’abo abakyama, kubanga naye yennyini muntu eyeetooloddwa obunafu. (C)Olw’obunafu obwo, kimugwanira okuwangayo ssaddaaka ku lulwe yennyini ne ku lw’abantu.

(D)Tewali muntu yenna ayinza okwefuula kabona wabula ng’ayitiddwa Katonda okukola omulimu, nga bwe yayita Alooni. (E)Ne Kristo bw’atyo teyeegulumiza yekka, okufuuka Kabona Asinga Obukulu. Katonda yamwogerako nti,

“Ggwe oli Mwana wange,
    leero nkuzadde ggwe.”

(F)Era n’awalala agamba nti,

“Ggwe walondebwa okuba Kabona emirembe n’emirembe,
    ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.”

(G)Mu kiseera Yesu kye yabeerera ku nsi mu mubiri ogw’obuntu, yasaba ne yeegayirira oyo ayinza okumulokola mu kufa nga bw’akaaba amaziga mu ddoboozi ery’omwanguka. Yesu yasinza Katonda mu mazima, Katonda n’awulira okusaba kwe. (H)Newaakubadde yali Mwana wa Katonda, yayiga okumugondera ne bwe kwamutuusanga mu kubonaabona. (I)Era bwe yamala okutuukirizibwa, n’afuuka obulokozi obutaggwaawo eri abo bonna abagondera Katonda. 10 (J)Katonda yamuyita okuba Kabona Asinga Obukulu ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.

Yokaana 4:1-26

Yesu n’Omukazi Omusamaliya

(A)Awo Yesu bwe yamanya nti Abafalisaayo bategedde nti abantu bangi bafuuse bayigirizwa be, era ng’abatiza bangi okusinga Yokaana, newaakubadde nga Yesu yennyini teyabatiza wabula abayigirizwa be, be baabatizanga, (B)n’ava e Buyudaaya n’addayo e Ggaliraaya.

Kyali kimugwanira okuyita mu Samaliya. (C)Awo n’atuuka mu kibuga ky’e Samaliya ekiyitibwa Sukali, nga kiri kumpi n’ekibanja Yakobo kye yawa mutabani we Yusufu. Awo we waali oluzzi lwa Yakobo. Yesu yali akooye olw’olugendo lwe yatambula, n’atuula awo ku luzzi. Obudde bwali ng’essaawa mukaaga ez’omu ttuntu.

Awo omukazi Omusamaliya bwe yajja okukima amazzi, Yesu n’amugamba nti, “Mpa ku mazzi nnyweko.” (D)Mu kiseera ekyo abayigirizwa be baali bagenze mu kibuga okugulayo ku mmere. (E)Awo omukazi Omusamaliya n’amugamba nti, “Ggwe Omuyudaaya oyinza otya okusaba nze Omusamaliya amazzi okunywa?” Kubanga Abayudaaya nga tebakolagana na Basamaliya. 10 (F)Yesu n’amuddamu nti, “Singa obadde omanyi ekirabo kya Katonda, n’oyo akugamba nti mpa nnywe ku mazzi bw’ali ggwe wandimusabye, naye yandikuwadde amazzi amalamu.”

11 Omukazi n’amugamba nti, “Ssebo, tolina kalobo, n’oluzzi luwanvu nnyo. 12 (G)Ate n’ekirala, ggwe oli mukulu okusinga jjajjaffe Yakobo eyatuwa oluzzi luno ate nga yanywangamu ye n’abaana be n’ensolo ze?”

13 Yesu n’amuddamu nti, “Buli muntu yenna anywa ku mazzi gano ennyonta eriddamu okumuluma. 14 (H)Naye buli anywa ku mazzi nze ge ndimuwa, talirumwa nnyonta emirembe gyonna era galifuuka mu ye ensulo etekalira, ne gakulukuta okutuuka ku bulamu obutaggwaawo.”

15 (I)Omukazi n’amugamba nti, “Ssebo, mpa ku mazzi ago, ennyonta eremenga kunnuma era nneme kujjanga wano kukima mazzi.”

16 Yesu n’amugamba nti, “Genda oyite balo, okomewo.”

17 Omukazi n’amuddamu nti, “Sirina baze!”

Yesu n’amugamba nti, “Oyogedde kituufu nti tolina balo. 18 Kubanga walina babalo bataano, naye oyo gw’olina kaakano si balo. Ekyo oyogedde mazima.”

19 (J)Omukazi n’agamba Yesu nti, “Ssebo, ndaba ng’oli nnabbi. 20 (K)Ku lusozi luno bajjajjaffe kwe baasinzizanga. Naye mmwe mugamba nti, Yerusaalemi kye kifo ekigwana okusinzizangamu.”

21 (L)Yesu n’amugamba nti, “Mukazi wattu nzikiriza, kubanga ekiseera kijja kye mutalisinzizangamu Kitaffe ku lusozi luno wadde mu Yerusaalemi. 22 (M)Mmwe musinza kye mutamanyi; ffe tusinza kye tumanyi kubanga obulokozi buva mu Buyudaaya. 23 (N)Naye ekiseera kijja, era kituuse, abo abasinziza mu mazima bwe banaasinzizanga Kitaffe mu mwoyo ne mu mazima. Kubanga Kitaffe anoonya abo abamusinza era n’abo abamusinza kibagwanira okumusinzanga mu mwoyo ne mu mazima. 24 (O)Kubanga Katonda Mwoyo n’abo abamusinza kibagwanira okumusinza mu mwoyo ne mu mazima.” 25 (P)Omukazi n’amugamba nti, “Weewaawo, mmanyi nti Masiya, gwe bayita Kristo, ajja. Ye bw’alijja, alitutegeeza ebintu byonna.” 26 (Q)Yesu n’amugamba nti, “Nze nzuuno ayogera naawe.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.