Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 26

Zabbuli ya Dawudi.

26 (A)Onnejjeereze, Ayi Mukama,
    kubanga obulamu bwange tebuliiko kya kunenyezebwa;
nneesiga ggwe, Ayi Mukama,
    nga sibuusabuusa.
(B)Neetegereza, Ayi Mukama, ongezese;
    weekalirize ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange.
(C)Kubanga okwagala kwo kwe kunkulembera,
    era mu mazima go mwe ntambulira.

(D)Situula na bantu balimba,
    so siteesaganya na bakuusa.
(E)Nkyawa ekibiina ky’aboonoonyi;
    so situula na bakozi ba bibi.
(F)Naaba mu ngalo zange okulaga nga bwe sirina misango;[a]
    ne ndyoka nzija ku Kyoto kyo, Ayi Mukama;
(G)ne nnyimba oluyimba olw’okwebaza,
    olwogera ku bikolwa byo ebyewuunyisa.

(H)Ennyumba yo mw’obeera njagala, Ayi Mukama,
    kye kifo ekijjudde ekitiibwa kyo.
(I)Tombalira mu boonoonyi,
    wadde mu batemu,
10 (J)abakozesa emikono gyabwe okutegeka ebikolwa ebibi,
    era abali b’enguzi.
11 (K)Naye nze ntambula nga siriiko kye nnenyezebwa;
    nkwatirwa ekisa, Ayi Mukama, ondokole.

12 (L)Nnyimiridde watereevu.
    Nnaatenderezanga Mukama mu kibiina ky’abantu ekinene.

Zabbuli 28

Zabbuli ya Dawudi.

28 (A)Nkukoowoola ggwe, Ayi Mukama, Olwazi lwange,
    tolema kumpuliriza;
kubanga bw’onoonsiriikirira
    nzija kuba nga bali abakkirira mu kinnya.
(B)Owulire eddoboozi ery’okwegayirira kwange,
    nga mpanise emikono gyange
okwolekera ekifo kyo ekisinga byonna obutukuvu,
    nga nkukaabirira okunnyamba.

(C)Tontwalira mu boonoonyi,
    abakola ebibi;
abanyumya obulungi ne bannaabwe,
    so ng’emitima gyabwe gijjudde bukyayi bwerere.
(D)Basasule ng’ebikolwa byabwe bwe biri,
    n’olw’ebyambyone bye bakoze.
Basasule olwa byonna emikono gyabwe gye bisobezza,
    obabonereze nga bwe basaanidde.

(E)Olwokubanga tebafaayo ku mirimu gya Mukama,
    oba ku ebyo bye yakola n’emikono gye,
alibazikiririza ddala,
    era talibaddiramu.

Atenderezebwe Mukama,
    kubanga awulidde eddoboozi ly’okwegayirira kwange.
(F)Mukama ge maanyi gange,
    era ye ngabo yange, ye gwe neesiga.
Bwe ntyo ne nyambibwa.
    Omutima gwange gunaajaguzanga, ne mmuyimbira ennyimba ez’okumwebazanga.

(G)Mukama y’awa abantu be amaanyi,
    era kye kiddukiro eky’obulokozi bw’oyo gwe yafukako amafuta.
(H)Olokole abantu bo, obawe omukisa abalonde bo.
    Obakulemberenga ng’omusumba, era obawanirirenga emirembe gyonna.

Zabbuli 36

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

36 (A)Nnina obubaka mu mutima gwange
    obukwata ku bwonoonyi bw’omukozi w’ebibi.
N’okutya
    tatya Katonda.

Ye nga bw’alaba yeewaanawaana n’atasobola kutegeera
    oba okukyawa ekibi kye.
(B)Ebigambo ebiva mu kamwa ke biba bibi era nga bya bulimba;
    takyalina magezi era takyakola birungi.
(C)Ne ku kitanda kye afumiitiriza ebibi by’anaakola;
    amalirira okutambuliranga mu kkubo ekyamu,
    era ebitali bituufu tabyewala.

Okwagala kwo, Ayi Mukama, kutuuka ne ku ggulu;
    obwesigwa bwo butuuka ku bire.
(D)Obutuukirivu bwo bugulumivu ng’agasozi aganene,
    n’obwenkanya bwo buwanvu nnyo ng’ennyanja ennene ennyo.
Ayi Mukama, olabirira abantu n’ebisolo.
    (E)Okwagala kwo okutaggwaawo nga tekugeraageranyizika.
Ab’ebitiibwa n’abatali ba bitiibwa
    baddukira mu biwaawaatiro byo.
(F)Balya ku bingi eby’omu nnyumba yo ne bakkuta;
    obawa ebyokunywa by’omugga gwo ogwesiimisa.
(G)Kubanga gw’olina ensulo ey’obulamu,
    era gw’otwakiza omusana.

10 Yongeranga okwagala abo abakutegeera,
    era n’obutuukirivu bwo eri abo abalina emitima emirongoofu.
11 Ab’amalala baleme okunninnyirira,
    wadde ababi okunsindiikiriza.
12 (H)Laba, ababi nga bwe bagudde!
    Basuuliddwa wansi era tebasobola na ku golokokawo.

Zabbuli 39

Ya Mukulu wa Bayimbi: Ya Yedusuni. Zabbuli ya Dawudi.

39 (A)Nagamba nti, “Nneekuumanga mu bye nkola,
    n’olulimi lwange lulemenga okwogera ebitali birongoofu.
Abakola ebitali bya butuukirivu bwe banaabanga awamu nange
    nnaabuniranga bubunizi ne soogera.”
(B)Naye bwe nasirika
    ne sibaako kye njogedde wadde ekirungi,
    ate obuyinike bwange ne bweyongera.
Omutima gwange ne gumbabuukirira munda yange.
    Bwe nnali nkyakifumiitirizaako, omuliro ne gukoleera munda yange;
    kyenava njogera nti:

(C)“Ayi Mukama, ntegeeza entuuko zange nga bwe ziriba,
    n’ennaku ze nsigazza;
    ommanyise ebiseera byange mu bulamu buno bwe biri ebimpi ennyo.”
(D)Ennaku z’obulamu bwange wazitegeka ziri ng’oluta.
    Obungi bw’emyaka gyange tobulabamu kantu.
    Buli muntu, mukka bukka.

(E)Ddala ddala omuntu ku nsi ali ng’ekisiikirize.
    Atawaana mu kino ne mu kiri, naye byonna butaliimu.
    Akuŋŋaanya obugagga, so nga tamanyi agenda kubutwala.

(F)Naye kaakano, Ayi Mukama, nnoonya ki? Essuubi lyange liri mu ggwe.
(G)Ondokole mu bibi byange byonna,
    abasirusiru baleme okunsekerera.
(H)Nasirika busirisi, saayasamya kamwa kange;
    kubanga kino ggwe wakikola.
10 (I)Olekere awo okunkuba,
    emiggo gy’onkubye giyitiridde!
11 (J)Onenya omuntu ng’omukangavvula olw’ekibi kye ky’akola,
    omumaliramu ddala ensa, ng’ennyenje bw’ekola olugoye.
    Ddala omuntu mukka bukka.

12 (K)Ayi Mukama, wulira okusaba kwange,
    owulire okukaaba kwange onnyambe.
    Tonsiriikirira nga nkukaabirira.
Kubanga ndi mugenyi bugenyi, omutambuze,
    nga bajjajjange bonna bwe baali.
13 (L)Ndeka nsanyukemu, nga sinnava mu nsi muno,
    ne mbulirawo ddala.

Ekyamateeka Olwokubiri 6:16-25

16 (A)Temugezesanga Mukama Katonda wammwe, nga bwe mwakola nga muli e Masa. 17 (B)Munyiikirenga okukuumanga n’okugonderanga amateeka n’ebiragiro Mukama Katonda wammwe by’akuwadde. 18 (C)Okolanga ebyo Mukama by’akkiriza ebituufu era ebirungi; olwo olyoke obe bulungi ng’oyingidde mu nsi eyo ennungi Mukama gye yalayirira bajjajjaabo okugibawa, 19 ng’agobyemu abalabe bo bonna, nga Mukama Katonda bwe yasuubiza.

Okunnyonnyolanga Abaana Amateeka

20 (D)“Mu biseera ebirijja, omwana wo bw’akubuuzanga nti, Ebyo byonna ebinnyonnyola buli kalonda, n’amateeka, n’ebiragiro Mukama Katonda waffe bye yabalagira, bitegeeza ki? 21 Omuddangamu nti, ‘Twali baddu ba Falaawo mu nsi ey’e Misiri, naye Mukama Katonda n’atuggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi. 22 Mukama Katonda n’alaga obubonero obw’ekitalo, n’akola ebyamagero ebinene era ebitatendeka ku Misiri ne ku Falaawo n’ab’omu maka ge bonna, nga naffe tulaba. 23 N’atuggyayo n’atuyingiza muno alyoke atuwe ensi eno gye yalayirira bajjajjaffe okugibawa. 24 (E)Mukama n’atulagira okukwatanga amateeka gano gonna n’okugagonderanga, n’okutyanga Mukama Katonda waffe ennaku zonna, alyoke atukuumenga nga tuli mu mbeera ennungi, era nga tuli balamu, nga bwe tuli leero. 25 (F)Era singa tuneegenderezanga ne tukwata amateeka gano gonna ne tugagonderanga, mu maaso ga Mukama Katonda waffe, nga bwe yatulagira, tunaabanga tutuukirizza ebyo by’ayagala.’ ”

Abaebbulaniya 2:1-10

Okulabula okussaayo Omwoyo

Kyekivudde kitusaanira okussaayo ennyo omwoyo ku bintu bye twawulira, si kulwa nga tuwaba ne tubivaako. (A)Obanga ekigambo ekyayogerwa bamalayika kyakola, na buli eyayonoona era n’ajeemera ekigambo ekyo, yaweebwa ekibonerezo ekimusaanira, (B)ffe tuliwona tutya bwe tuliragajjalira obulokozi obukulu obwenkana awo? Obulokozi obwo bwasooka okwogerwa Mukama waffe, ne bulyoka bukakasibwa abo abaabuwulira. (C)Katonda yakikakasiza mu bubonero ne mu by’ekitalo ne mu byamagero abitali bimu, era ne mu birabo ebya Mwoyo Mutukuvu bye yagaba nga bwe yayagala.

Ensi empya gye twogerako si yakufugibwa bamalayika. (D)Waliwo mu byawandiikibwa, omuntu we yagambira Katonda nti,

“Omuntu kye ki ggwe okumujjukira?
    Oba Omwana w’Omuntu ye ani ggwe okumussaako omwoyo?
Wamussa obuteenkana nga bamalayika, okumala akaseera katono,
    wamutikkira engule ey’ekitiibwa n’ettendo,
    (E)n’oteeka ebintu byonna wansi w’ebigere bye.”

Katonda atadde buli kintu wansi we. Kyokka kaakano tetulaba bintu byonna nga biteekeddwa wansi we. (F)Naye tulaba Yesu eyassibwa wansi wa bamalayika okumala akaseera akatono. Olw’ekisa kya Katonda, yabonaabona n’afa, alyoke alege ku kufa ku lwa buli muntu, n’atikkirwa engule ey’ekitiibwa n’ettendo.

10 (G)Katonda oyo eyatonderwa ebintu byonna, era mu oyo Yesu Kristo ebintu byonna mwe byatonderwa, eyalondebwa okuleeta abaana abangi mu kitiibwa. Era kyasaanira Yesu okubonyaabonyezebwa, ng’omukulembeze omutuukirivu, okubaleetera obulokozi.

Yokaana 1:19-28

Yokaana Omubatiza ategeeza nga bw’atali Kristo

19 (A)Bino bye bigambo Yokaana Omubatiza bye yategeeza abakulembeze b’Abayudaaya bwe baamutumira bakabona n’Abaleevi okuva mu Yerusaalemi ne bamubuuza nti, “Ggwe ani?” 20 (B)Teyagaana kubaddamu, wabula yayatulira ddala nti, “Si nze Kristo.”

21 (C)Ne bamubuuza nti, “Kale ggwe ani? Ggwe Eriya?”

Yokaana Omubatiza n’addamu nti, “Nedda, si nze ye.”

Ne bongera okumubuuza nti, “Ggwe Nnabbi ayogerwako?”

N’addamu nti, “Nedda.”

22 Awo ne bamugamba nti, “Abatutumye tunaabagamba nti, Ggwe ani? Weeyita otya?” 23 (D)N’abaddamu nti,

“Nze ndi ddoboozi ly’oyo ayogerera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’asinziira mu ddungu nti,
‘Mutereeze ekkubo lya Mukama mweteekereteekere okujja kwe, nga nnabbi Isaaya bwe yayogera.’ ”

24 Abaatumibwa baava eri Abafalisaayo. 25 Awo ne babuuza Yokaana nti, “Kale lwaki obatiza, obanga si ggwe Kristo oba Eriya oba nnabbi oli?”

26 Yokaana n’addamu nti, “Nze mbatiza na mazzi, naye waliwo ayimiridde wakati mu mmwe gwe mutamanyi, 27 (E)anvaako emabega, nze sisaanira na kusumulula buguwa bwa ngatto ze.” 28 (F)Ebyo byali Besaniya, emitala w’omugga Yoludaani, Yokaana Omubatiza gye yabatirizanga.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.