Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 30

Zabbuli n’Oluyimba. Okuwaayo Yeekaalu. Zabbuli ya Dawudi.

30 (A)Nnaakugulumizanga, Ayi Mukama,
    kubanga wannyimusa;
    n’otoganya balabe bange kunneeyagalirako.
(B)Ayi Mukama, nakukaabirira onnyambe,
    n’omponya.
(C)Ayi Mukama, omwoyo gwange waguggya emagombe,
    n’omponya ekinnya.

(D)Muyimbire Mukama nga mumutendereza, mmwe abatukuvu be;
    mutendereze erinnya lye ettukuvu.
(E)Kubanga obusungu bwe bwa kiseera buseera,
    naye obulungi bwe bwa mirembe gyonna.
Amaziga gayinza okubaawo ekiro kyokka
    essanyu ne lijja nga bukedde.

Bwe namala okunywera
    ne njogera nti, “Sigenda kusiguukululwa.”
(F)Ayi Mukama, bwe wanjagala,
    wanyweza olusozi lwange;
naye bwe wankweka amaaso go
    ne neeraliikirira.
Ggwe gwe nakoowoola, Ayi Mukama;
    ne nkukaabirira Mukama, onsaasire.
(G)“Kingasa ki bwe nzika mu kinnya
    ne nzikirira?
Enfuufu eneekutenderezanga
    n’etegeeza abantu obwesigwa bwo?
10 Mpuliriza, Ayi Mukama, onsaasire;
    Ayi Mukama, onnyambe.”

11 (H)Ofudde okwaziirana kwange amazina;
    onnyambuddemu ebibukutu, n’onnyambaza essanyu.
12 (I)Omutima gwange gulemenga kusirika busirisi, wabula gukuyimbirenga ennyimba ez’okukutenderezanga.
    Ayi Mukama, Katonda wange, nnaakwebazanga emirembe gyonna.

Zabbuli 32

Zabbuli ya Dawudi.

32 (A)Alina omukisa oyo
    asonyiyiddwa ebyonoono bye
    ekibi ne kiggyibwawo.
(B)Alina omukisa omuntu oyo
    Mukama gw’atakyabalira kibi kye,
    ne mu mutima gwe nga temuli bukuusa.

(C)Bwe nasirikiranga ekibi kyange,
    ne nkogga,
    kubanga nasindanga olunaku lwonna.
(D)Wambonerezanga
    emisana n’ekiro,
amaanyi ne ganzigwamu
    ng’amazzi bwe gakalira mu kyeya.

(E)Awo ne nkwatulira ekibi kyange,
    ne sibikkirira kwonoona kwange.
Ne njogera nti,
    “Leka neenenyeze Mukama ebibi byange.”
Bw’otyo n’onsonyiwa,
    n’onziggyako omusango gw’ebibi byange.

(F)Noolwekyo abaweereza bo bonna abeesigwa
    bakwegayirire ng’okyalabika;
oluvannyuma ebizibu bwe birijja,
    ng’amazzi ag’amaanyi amangi tebiribatuukako.
(G)Oli kifo kyange mwe nneekweka,
    ononkuumanga ne situukwako kabi
    era ononneetooloozanga ennyimba ez’obulokozi.

(H)Nnaakulagiranga era ne nkuyigiriza ekkubo mw’onootambuliranga;
    nnaakuwanga amagezi nga bwe nkulabirira.
(I)Temubeeranga ng’embalaasi
    oba ennyumbu ezitategeera,
ze bateekwa okussa ekyuma mu kamwa ekisibwa ku lukoba,
    ziryoke zifugibwe zijje gy’oli.
10 (J)Ababi balaba ennaku nnyingi;
    naye abeesiga Mukama bakuumirwa
    mu kwagala kwe okutaggwaawo.

11 (K)Musanyukire mu Mukama era mujaguze mmwe abatuukirivu,
    era muyimbire waggulu n’essanyu mmwe abalina omutima omulongoofu.

Zabbuli 42-43

EKITABO II

Zabbuli 42–72

Ya Mukulu wa Bayimbi: Zabbuli ya Batabani ba Koola.

42 (A)Ng’empeewo bw’ewejjawejja olw’amazzi,
    n’emmeeme yange bw’etyo bwe wejjawejja ku lulwo, Ayi Katonda.
(B)Emmeeme yange eyaayaanira Katonda, Katonda omulamu.
    Ndigenda ddi ne nsisinkana Katonda?
(C)Nkaabirira Mukama
    emisana n’ekiro.
Amaziga gange gabadde emmere yange emisana n’ekiro,
    abantu ne baŋŋamba nti, “Katonda wo ali ludda wa?”
(D)Bino mbijjukira nga nfuka emmeeme yange
    nga bwe nagendanga n’ekibiina ekinene,
ne nkulembera ennyiriri z’abantu empanvu,
    nga tugenda mu nnyumba ya Katonda,
nga tuyimba mu ddoboozi ery’omwanguka
    n’okwebaza mu kibiina ekijaguza.

(E)Lwaki oweddemu amaanyi ggwe emmeeme yange?
    Lwaki otabusetabuse mu nda yange?
Essuubi lyo liteeke mu Katonda,
    kubanga natenderezanga omulokozi wange era Katonda wange;
    ye mubeezi wange.

Ayi Katonda wange, emmeeme yange yennyise,
    yeeraliikiridde;
naye nkujjukira olw’ebyo bye wakola mu nsi ya Yoludaani
    ne ku nsozi engulumivu eza Kalumooni[a] ne ku Lusozi Mizali.
(F)Obuziba bukoowoola obuziba,
    olw’okuwuluguma kw’ebiyiriro
amayengo n’amasingisira go
    bimpiseeko.

(G)Mukama alaga okwagala kwe emisana n’ekiro
    ne muyimbira oluyimba lwe;
    y’essaala eri Katonda w’obulamu bwange.

(H)Ŋŋamba Katonda, olwazi lwange nti,
    “Lwaki onneerabidde?
Lwaki ŋŋenda nkungubaga
    olw’okujoogebwa abalabe bange?”
10 Mbonyaabonyezebwa ng’abalabe bange
    bancocca,
nga bwe bagamba buli kiseera nti,
    “Katonda wo ali ludda wa?”

11 (I)Lwaki wennyise Ayi ggwe emmeeme yange?
    Lwaki otabusetabuse mu nda yange?
Weesigenga Katonda,
    kubanga nnaamutenderezanga,
    Omulokozi wange era ye Katonda wange.
43 (J)Ayi Katonda, onnejjeereze
    omponye eggwanga eritatya Katonda
    ondokole mu mikono gy’abantu abalimba, abakola ebibi.
(K)Ddala ddala ggwe Katonda, ekigo kyange eky’amaanyi.
    Lwaki ondese?
Lwaki ŋŋenda nkaaba
    nga nnyigirizibwa omulabe?
(L)Kale tuma omusana gwo n’amazima
    binnuŋŋamye;
bindeete ku lusozi lwo olutukuvu,
    mu kifo mw’obeera.
(M)Ne ndyoka ndaga ku kyoto kya Katonda,
    eri Katonda wange era essanyu lyange eritasingika.
Weewaawo nnaakutenderezanga n’ennanga,
    Ayi Katonda, Katonda wange.

(N)Lwaki wennyise ggwe emmeeme yange?
    Lwaki otabusetabuse munda yange?
Weesige Katonda; kubanga nnaamutenderezanga,
    Omulokozi wange era Katonda wange.

Ekyamateeka Olwokubiri 7:17-26

Katonda Aliwangula Amawanga

17 (A)Oyinza okwebuuza mu mutima gwo nti, “Amawanga ag’amaanyi gatyo okutusinga, tulisobola tutya okugagoba mu nsi zaago?” 18 (B)Naye amawanga ago togatyanga; ojjukiranga Mukama Katonda wo kye yakola Falaawo ne Misiri yonna. 19 (C)Weerabirako n’amaaso go gennyini ebibonoobono, n’obubonero obw’ebyamagero, n’eby’ekyewuunyo, Mukama bye yakozesa okukuggya mu nsi y’e Misiri n’omukono gwe omuwanvu ogw’amaanyi. Mukama Katonda wo bw’atyo bw’anaakolanga amawanga ago gonna g’otya. 20 (D)Ate Mukama Katonda wo anaaweerezanga ennumba mu balabe bo ne zibaluma, okutuusa n’abo abanaabanga basigaddewo mu lutalo, nga beekwese, lwe ziribazikiririza ddala. 21 (E)Tobatyanga, kubanga Mukama Katonda wo abeera wakati mu mmwe, mukulu era wa ntiisa. 22 (F)Mukama Katonda wo amawanga ago anaagendanga agaggyawo linnalimu, mpola mpola. Toligazikiriza gonna mulundi gumu, si kulwa ng’ensolo ez’omu nsiko zaala ne zikuyitirira obungi. 23 Naye Mukama Katonda wo anaagagabulanga mu mukono gwo n’ageeraliikirizanga ng’agatabuddetabudde, okutuusa lwe ganaazikirizibwanga. 24 (G)Anaagabulanga bakabaka baago mu mukono gwo n’osangulira ddala amannya gaabwe okuva wansi w’eggulu. Tewaabengawo muntu n’omu anaayimiriranga mu maaso go okukwaŋŋanga, ojjanga kubazikiriza. 25 (H)Ebifaananyi ebyole ebya bakatonda baabwe munaabyokyanga mu muliro. Teweegombanga zaabu na ffeeza anaabibeerangako. So tomwetwaliranga alemenga kukufuukira mutego; kubanga ekikolwa ekyo kya muzizo eri Mukama Katonda wo. 26 (I)Toyingizanga mu nnyumba yo kintu kyonna ekyomuzizo, olemenga kuba mukolimire ng’ekintu ekyo bwe kiri. Onookikyayiranga ddala era onookitamirwanga ddala, kubanga kyakolimirwa.

Tito 3

Okuwabula abakkiriza

(A)Ebintu ebyo bijjukizenga abafuzi n’ab’obuyinza, babiwulirenga, era babigonderenga, era babenga beetegefu okukola buli mulimu omulungi. (B)Bakuutire baleme kwogerebwako bubi, era beewalenga okuyomba, babenga bakkakkamu era babeerenga bawombeefu eri abantu bonna.

Kubanga naffe ffennyini twali basirusiru era abajeemu, nga tuwabye, era nga tufugibwa okwegomba kwaffe okubi, n’amasanyu aga buli ngeri, nga tuli ba ttima era ab’obuggya, nga tukyayibwa era nga tukyawagana. (C)Naye ekisa kya Katonda Omulokozi waffe n’okwagala kwe bwe byalabika, (D)n’atulokola, si lwa bikolwa eby’omu butuukirivu bye twakola, wabula olw’okusaasira kwe mu kunaazibwa okw’okuzaalibwa okw’omulundi ogwokubiri n’okufuulibwa abaggya olwa Mwoyo Mutukuvu, (E)gwe yatuyiwako mu bungi ku lwa Yesu Kristo Omulokozi waffe. (F)Bwe tulimala okutukuzibwa olw’ekisa kye, tulyoke tufune omugabo mu kusuubira obulamu obutaggwaawo. (G)Ekigambo ekyo kyesigwa, era nkukuutira ebyo obinywezenga abakkiriza Katonda bajjukirenga okukola ebikolwa ebirungi; ebintu ebyo birungi era bigasa abantu.

(H)Naye weewalenga empaka ez’obusirusiru, n’okukaayana ku nkalala eziraga obuzaale bw’abantu, n’ennyombo, n’entalo ebikwata ku mateeka; kubanga tebiriiko kye bigasa era tebiriimu nsa. 10 (I)Omuntu ayawulayawula mu bantu bw’omalanga okumulabula omulundi ogusooka, era n’ogwokubiri, omwewalanga, 11 kubanga omuntu ng’oyo aba amaze okukyamizibwa mu kibi, era nga yeesalira yekka omusango.

12 (J)Bwe nkutumiranga Atema oba Tukiko, oyanguwanga okujja gye ndi mu Nikopoli, kubanga nsazeewo okubeera eyo mu biseera eby’obutiti. 13 (K)Fuba okusibirira Zeena munnamateeka ne Apolo obatume babe nga tebaliiko kye beetaaga.

14 (L)Era kubiriza abantu baffe bayige okukolanga emirimu omuva ebyetaagibwa, balemenga kubeera awo nga tebaliiko kye bagasa.

15 (M)Bonna abali nange bakulamusizza.

Olamuse abo bonna abatwagala mu kukkiriza.

Ekisa kibeerenga nammwe mwenna.

Yokaana 1:43-51

Yesu Ayita Firipo ne Nassanayiri

43 (A)Ku lunaku olwaddirira, Yesu n’agenda e Ggaliraaya, bwe yasanga Firipo n’amugamba nti, “Ngoberera.”

44 (B)Firipo yali wa mu kibuga Besusayida ewaabwe wa Andereya ne Peetero. 45 (C)Firipo bwe yalaba Nassanayiri, n’amugamba nti, “Tulabye Yesu mutabani wa Yusufu ow’e Nazaaleesi, Musa ne bannabbi gwe baawandiikako.”

46 (D)Nassanayiri n’amuddamu nti, “Mu Nazaaleesi musobola okuvaamu ekintu ekirungi?”

Firipo kwe kumuddamu nti, “Jjangu weerabireko.”

47 (E)Nassanayiri bwe yali asemberera Yesu, Yesu n’agamba nti, “Laba, Omuyisirayiri wawu ataliimu bukuusa.”

48 Nassanayiri kwe kumuddamu nti, “Ontegedde otya?”

Yesu n’amugamba nti, “Firipo bw’abadde tannakutuukako, nkulabye ng’oli wansi w’omutiini.”

49 (F)Nassanayiri n’amuddamu nti, “Labbi, oli Mwana wa Katonda, gwe Kabaka wa Isirayiri!”

50 Awo Yesu n’amugamba nti, “Okkiriza kubanga nkugambye nti nkulabye ng’oli wansi w’omutiini? Oliraba n’ebisinga awo obukulu. 51 (G)Ddala ddala nkugamba nti oliraba eggulu nga libikkuse ne bamalayika ba Katonda nga balinnya era nga bakkira ku Mwana w’Omuntu.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.