Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Book of Common Prayer

Daily Old and New Testament readings based on the Book of Common Prayer.
Duration: 861 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 37

Zabbuli ya Dawudi.

37 (A)Teweeraliikiriranga olw’abantu ababi,
    so tokwatirwanga buggya abo abakola ebitasaana.
(B)Kubanga bagenda kuwotoka ng’omuddo,
    bafiire ddala ng’essubi ekkalu.

(C)Weesigenga Mukama okolenga bulungi,
    onoobeeranga n’emirembe mu nsi n’ofuna ebirungi.
(D)Sanyukiranga mu Mukama,
    anaakuwanga omutima gwo bye gwetaaga.

(E)By’okola byonna byesigamyenga ku Mukama;
    mwesigenga, anaakukoleranga ky’oyagala.
(F)Anaayolekanga obutuukirivu bwo ng’omusana,
    n’obwenkanya bw’ebikolwa byo ne bwakaayakana ng’enjuba ey’omu ttuntu.

(G)Siriikirira awali Mukama,
    ogumiikirize ng’olindirira ky’anaakola.
    Tofangayo ng’abalala bafunye ebirungi nga bayita mu kutetenkanya kwabwe okubi.

(H)Tonyiiganga era weewale ekiruyi;
    teweeraliikiriranga kubanga bivaamu bibi byereere.
(I)Kubanga ababi balisalibwako,
    naye abeesiga Mukama baligabana ensi.

10 (J)Wanaayitawo akabanga katono ababi baggweerewo ddala;
    wadde mulibanoonya temulibalabako.
11 (K)Naye abateefu baligabana ensi
    ne beeyagalira mu ddembe eritatendeka.

12 (L)Ababi basalira abatuukirivu enkwe,
    ne babalumira obujiji.
13 (M)Naye Mukama asekerera ababi,
    kubanga amanyi ng’entuuko zaabwe ziri kumpi.

14 (N)Ababi basowoddeyo ebitala byabwe
    ne baleega emitego gy’obusaale,
batte abaavu n’abali mu kwetaaga
    era basaanyeewo abo abatambulira mu kkubo eggolokofu.
15 (O)Naye ebitala byabwe birifumita mitima gyabwe gyennyini,
    n’emitego gyabwe egy’obusaale girimenyebwa.

16 (P)Ebitono omutuukirivu by’alina
    bisinga obugagga bw’ababi abangi;
17 (Q)kubanga amaanyi g’abakola ebibi galikoma,
    naye Mukama anaawaniriranga abatuukirivu.

18 (R)Ennaku z’abataliiko kya kunenyezebwa, zimanyibwa Mukama,
    era omugabo gwabwe gunaabanga gwa lubeerera.
19 Mu biseera eby’akabi ebyakatyabaga tebaayongoberenga,
    ne mu biro eby’enjala banakkusibwanga.

20 (S)Naye ababi balizikirira;
    abalabe ba Mukama balifaanana ng’obulungi bwe ttale,
    era baliggwaawo, baliggwaawo ng’omukka.

21 (T)Ababi beewola, ne batasasula;
    naye abatuukirivu basaasira era bagaba bingi.
22 (U)Abo Mukama b’awa omukisa baligabana ensi,
    naye abo b’akolimira balizikirizibwa.

23 (V)Mukama bw’asanyukira ekkubo ly’omuntu,
    aluŋŋamya entambula ye.
24 (W)Ne bw’aneesittalanga, taagwenga wansi,
    kubanga omukono gwa Mukama gumuwanirira.

25 (X)Nnali muto kati nkaddiye,
    naye sirabanga batuukirivu nga balekeddwa ttayo,
    wadde abaana baabwe nga basabiriza ekyokulya.
26 (Y)Bagaba bingi bulijjo, era baazika ku byabwe n’essanyu.
    Abaana baabwe banaaweebwanga omukisa.

27 (Z)Muve mu bibi, mukolenga ebirungi,
    munaabanga balamu emirembe gyonna.
28 (AA)Kubanga Mukama ayagala ab’amazima,
    n’abeesigwa be taabaabulirenga.
Banaalabirirwanga emirembe gyonna;
    naye ezzadde ly’ababi lirizikirizibwa.
29 (AB)Abatuukirivu baligabana ensi
    ne babeeranga omwo emirembe gyonna.

30 Akamwa k’omutuukirivu koogera bya magezi,
    n’olulimi lwe lwogera bya mazima.
31 (AC)Amateeka ga Katonda we gali mu mutima gwe,
    era ebigere bye tebiseerera.

32 (AD)Omubi ateega omutuukirivu
    ng’anoonya okumutta,
33 (AE)naye Mukama taliganya babi kuwangula,
    wadde okukkiriza abatuukirivu okusingibwa omusango.

34 (AF)Lindirira Mukama n’okugumiikiriza,
    otambulirenga mu makubo ge;
naye alikugulumiza n’akuwa ensi;
    ababi bwe balisalirwako olikitegeera.

35 (AG)Nalaba omuntu omubi era omukambwe ennyo, naye nga buli ky’akola kimugendera bulungi,
    ng’agimuse ng’omuti ogukulidde mu ttaka eggimu,
36 (AH)naye teyalwawo n’abula,
    ne mmumagamaga buli wantu, nga talabikako.

37 (AI)Tunuulira omuntu ataliiko kya kunenyezebwa, wekkaanye oyo omulongoofu;
    obulamu bwe bunajjulanga emirembe.
38 (AJ)Naye aboonoonyi bonna balizikirizibwa;
    ezzadde ly’ababi lirisaanyizibwawo.

39 (AK)Obulokozi bw’abatuukirivu buva eri Mukama;
    ye ky’ekigo kyabwe ekinywevu gye baddukira mu kiseera eky’emitawaana.
40 (AL)Mukama abayamba n’abalokola;
    abaggya mu mikono gy’ababi n’abalokola,
    kubanga gy’ali gye baddukira.

Ekyamateeka Olwokubiri 7:6-11

(A)Kubanga oli ggwanga ttukuvu eri Mukama. Mukama Katonda wo yakulonda okuva mu mawanga gonna agali ku nsi okubeeranga eggwanga lye, lye yeefunira ly’asuuta ennyo.

(B)Mukama okugenda okubalonda n’okubaagala ennyo bw’atyo; si lwa kubanga mwe mwali musinga amawanga amalala gonna obungi; nedda, mwe mwali musinga obutono mu mawanga gonna. (C)Naye lwa kubanga Mukama Katonda yabaagala, n’akuuma endagaano gye yakola ne bajjajjammwe, n’abanunula n’omukono gwe ogw’amaanyi ng’abaggya mu nsi ey’obuddu, n’abawonya obuyinza bwa Falaawo, ye kabaka w’e Misiri. (D)Noolwekyo osaananga okukitegeeranga nga Mukama Katonda wo ye Katonda; Katonda omwesigwa akuuma endagaano ye ey’okwagala okutaggwaawo eri abamwagala era abagondera ebiragiro bye okutuuka ku mirembe olukumi. 10 Naye

abo abamukyawa alibeesasuza n’okuzikirizibwa;
    tagenda kulwawo kwesasuza oyo amukyawa.

11 Noolwekyo weegenderezenga nnyo ogonderenga amateeka n’ebiragiro bye nkugamba olunaku lwa leero.

Tito 1

(A)Pawulo omuweereza wa Katonda, era omutume wa Yesu Kristo ng’okukkiriza kw’abalonde ba Katonda bwe kuli n’okutegeera amazima agali mu kutya Katonda, (B)ebyesigamye ku kusuubira okw’obulamu obutaggwaawo, Katonda ow’amazima kwe yasuubiza ng’ebiro eby’emirembe n’emirembe tebinnabaawo, (C)naye mu ntuuko zaabyo, yayolesa ekigambo kye mu kubuulira Enjiri, kwe nateresebwa ng’ekiragiro kya Katonda Omulokozi waffe bwe kiri, (D)eri Tito omwana wange ddala ng’okukkiriza kwaffe ffenna okwa awamu bwe kuli, n’ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Kristo Yesu omulokozi waffe.

(E)Kyennava nkuleka mu Kuleete, olyoke otereeze ebyo ebyetaaga okutereeza, era otekewo n’abakadde[a] b’ekkanisa mu buli kibuga, nga bwe nakulagira. (F)Omuntu ateekwa okuba nga taliiko kya kunenyezebwa, nga musajja alina omukazi omu, era nga n’abaana baabwe bakkiriza, nga tebalina kibi kiyinza kuboogerwako era nga tebeenyigira mu bikolwa bya buseegu oba mu bujeemu. (G)Omulabirizi kimugwanira okuba nga taliiko kya kunenyezebwa ng’omuwanika wa Katonda, nga si mukakanyavu, nga si wa busungu, nga si mutamiivu, nga si mukambwe, nga teyeegomba kufuna magoba mu bukuusa (H)naye ayaniriza abagenyi, ayagala okukola obulungi, omutegeevu, nga mwenkanya, nga mutukuvu, era ng’amanyi okwefuga. (I)Ateekwa okuba omuntu anywerera ku kigambo ekyesigwa, alyoke asobole okunnyonnyola abantu enjigiriza entuufu, n’okulaga obukyamu bw’abo abagiwakanya.

10 (J)Kubanga waliwo bangi abawakana, aboogera ebitaliimu era abalimba, n’okusingira ddala abo ab’omu bakomole. 11 (K)Basaanye okusirisibwa, kubanga boonoona buli maka, nga bayigiriza ebitabagwanidde, balyoke beefunire amagoba ag’obukuusa. 12 (L)Omu ku bo, nnabbi waabwe bo kyeyava agamba nti, “Abakuleete balimba bulijjo, z’ensolo enkambwe, era ba mululu ate bagayaavu.” 13 (M)Kye yagamba kya mazima. Noolwekyo oteekwa okubanenya n’amaanyi kiryoke kibaleetere okukkiriza okutuufu, 14 (N)balekeraawo okuwuliriza enfumo ez’Ekiyudaaya, n’ebiragiro abantu abakyama okuva ku mazima bye bagunja. 15 (O)Eri abalongoofu, ebintu byonna biba birongoofu, naye eri abo abatali balongoofu n’abatakkiriza, tewaba kirongoofu na kimu. Kubanga amagezi gaabwe n’ebirowoozo byabwe byayonooneka. 16 (P)Bagamba nti bamanyi Katonda, naye mu bikolwa byabwe bamwegaana. Bagwenyufu era bajeemu, tebasaanira kuweebwa mulimu mulungi n’akatono.

Yokaana 1:29-34

Yesu Omwana gw’Endiga owa Katonda

29 (A)Ku lunaku olwaddirira, Yokaana Omubatiza n’alaba Yesu ng’ajja, n’agamba nti, “Mulabe Omwana gw’Endiga owa Katonda aggyawo ebibi by’ensi. 30 (B)Ye wuuyo gwe nayogerako, bwe nagamba nti, ‘Waliwo omuntu anvaako emabega ye ansinga obuyinza, kubanga ye yaliwo nga nze sinnabaawo.’ 31 Nange nnali simumanyi, wabula nze najja okubatiza n’amazzi, ndyoke mulage eri abantu ba Isirayiri.”

32 (C)Awo Yokaana Omubatiza n’abategeeza nga bwe yalaba Mwoyo Mutukuvu ng’akka okuva mu ggulu ng’ali ng’ejjiba n’abeera ku Yesu, 33 (D)n’abagamba nti, “Nze saamutegeera, kyokka Katonda bwe yantuma okubatiza yaŋŋamba nti, ‘Bw’olabanga Mwoyo Mutukuvu ng’akka n’abeera ku muntu, nga oyo, ye Kristo abatiza ne Mwoyo Mutukuvu.’ 34 (E)Ekyo nkirabye era nkiweerako obujulirwa nti Ye Mwana wa Katonda.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.