Add parallel Print Page Options

14 (A)Kigambo n’afuuka omubiri, n’abeera mu ffe, ne tulaba ekitiibwa kye, ng’eky’oyo omu yekka eyava eri kitaffe ng’ajjudde ekisa n’amazima.

Read full chapter

54 (A)Omubiri guno oguvunda bwe gulifuuka ogutavunda, ogufa ne gufuuka ogutafa, olwo Ekyawandiikibwa ne kiryoka kituukirira ekigamba nti, “Okufa kuwanguddwa.”

55 (B)“Ggwe kufa, obuwanguzi bwo buluwa?
    Ggwe kufa, amaanyi go agalumya galuwa?”

56 (C)Obuyinza obulumya buva mu kibi, n’amaanyi g’ekibi gava mu mateeka. 57 (D)Kyokka Katonda yeebazibwe atuwanguza ffe ku bwa Mukama waffe Yesu Kristo.

Read full chapter

10 (A)Kaakano ekisa ekyo kyolesebbwa mu kulabika kw’Omulokozi waffe Kristo Yesu eyaggyawo okufa, n’aleeta obulamu obutazikirizibwa ng’ayita mu Njiri,

Read full chapter

(A)naye buli akola ekibi wa Setaani, kubanga okuva olubereberye Setaani akola bibi. Omwana wa Katonda kyeyava ajja mu nsi azikirize ebikolwa bya Setaani.

Read full chapter