Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
4 (A)Mukama Ayinzabyonna ampadde olulimi
oluyigirizibbwa, mmanye ebigambo ebigumya abo abakooye.
Anzukusa buli nkya,
buli nkya anzukusa okuwulira by’anjigiriza.
5 (B)Mukama Ayinzabyonna azibudde okutu kwange
ne siba mujeemu.
Sizzeeyo mabega.
6 (C)N’awaayo omugongo gwange eri abankuba,
n’amatama gange eri abo abankunyuulako ekirevu.
Saakweka maaso gange eri abo abansekerera
n’eri abo abanfujjira amalusu.
7 (D)Kubanga Mukama Ayinzabyonna anyamba
kyennaava siswazibwa.
Noolwekyo kyenvudde n’egumya
era mmanyi nti siriswazibwa.
8 (E)Kubanga oyo ampolereza ali kumpi.
Ani alinnumiriza omusango?
Twolekagane obwenyi.
Ani annumiriza?
Ajje annumbe.
9 (F)Mukama Ayinzabyonna y’anyamba.
Ani alinsalira omusango?
Bonna balikaddiwa bayulike ng’ekyambalo;
ennyenje ziribalya.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi, ey’okujjukiza.
70 (A)Ayi Katonda oyanguwa okundokole.
Ayi Mukama oyanguwe okumbeera.
2 (B)Abo abannoonya okunzita
batabulwetabulwe;
abo abannoonya okunzikiriza,
bagobebwe nga baswadde.
3 Abagamba nti, “Kasonso,”
badduke nga bajjudde ensonyi.
4 Naye bonna abakunoonya
basanyukenga bajagulizenga mu ggwe.
Abo abaagala obulokozi bwo boogerenga bulijjo nti,
“Katonda agulumizibwenga!”
5 (C)Naye nze ndi mwavu era ndi mu kwetaaga;
oyanguwe okujja gye ndi, Ayi Katonda.
Ggwe onnyamba era ggwe ondokola,
Ayi Mukama, tolwa!
Katonda akangavvula abaana be
12 (A)Kale nga bwe tulina ekibiina ekinene eky’abajulirwa ekyenkana awo, twambulengamu buli ekizitowa, awamu n’ekibi ekitwesibako amangu, tuddukenga n’okugumiikiriza embiro ez’empaka ezatutegekerwa, 2 (B)nga tutunuulira Yesu eyatandika okukkiriza era y’akutuukiriza, olw’essanyu lye yali alindirira bwe yagumiikiriza omusaalaba, ng’anyooma ensonyi, n’atuula ku luuyi olwa ddyo olw’entebe ya Katonda. 3 (C)Kale mulowooze oyo eyagumiikiriza okuwakanyizibwa okw’abakozi b’ebibi bwe kutyo, mulemenga okukoowa mu mmeeme zammwe nga mutendewererwa ne mu mutima.
21 (A)Yesu bwe yamala okwogera ebyo n’alumwa nnyo mu mwoyo, n’agamba nti, “Ddala ddala mbagamba, omu ku mmwe anandyamu olukwe.”
22 Abayigirizwa ne batunulaganako, nga tebamanyidde ddala gw’ayogerako. 23 (B)Omu ku bayigirizwa, Yesu gwe yayagalanga, yali agalamidde okumpi n’ekifuba kya Yesu, 24 Simooni Peetero n’amutemyako ng’amugamba nti, “Mutubuulize gw’ayogerako.”
25 (C)Kale bwe yaddayo okugalamira ng’aliraanye ekifuba kya Yesu, n’amubuuza nti, “Mukama waffe, gw’oyogerako ye ani?” 26 Yesu n’addamu nti, “Gwe nnaakoleza ekitole ne nkimuwa nga ye wuuyo.” Awo n’akwata ekitole, n’akikoza n’akiwa Yuda Isukalyoti omwana wa Simooni. 27 (D)Yuda bwe yamala okuweebwa ekitole ekyo, Setaani n’amuyingiramu.
Awo Yesu n’amugamba nti, “Ky’okola kikole mangu!” 28 Ku baali balya tewaali n’omu eyategeera kyeyava amugamba bw’atyo. 29 (E)Abamu baalowooza nti nga Yuda bwe yali atereka ensimbi, Yesu amugambye agende agule bye beetaaga ku mbaga, oba nti abeeko by’agabira abaavu. 30 (F)Yuda olwafuna ekitole, amangwago n’afuluma ebweru; obudde bwali kiro.
31 (G)Yuda olwafuluma, Yesu n’agamba nti, “Kaakano Omwana w’Omuntu agulumizibbwa ne Katonda agulumizibbwa mu ye. 32 (H)Era obanga Katonda agulumizibbwa mu ye, Katonda yeegulumiza ye yennyini, era amangwago ajja kumugulumiza.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.