Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 118:1-2

118 (A)Mwebaze Mukama, kubanga mulungi;
    okwagala kwe kubeerera emirembe gyonna.

(B)Kale Isirayiri ayogere nti,
    “Okwagala kwa Mukama kubeerera emirembe gyonna.”

Zabbuli 118:14-24

14 (A)Mukama ge maanyi gange, era lwe luyimba lwange,
    afuuse obulokozi bwange.

15 (B)Muwulire ennyimba ez’essanyu ez’obuwanguzi,
    nga ziyimbirwa mu weema z’abatuukirivu nti,
    “Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!
16 Omukono gwa Mukama ogwa ddyo gugulumizibbwa;
    omukono gwa Mukama ogwa ddyo gutukoledde ebikulu!”
17 (C)Sijja kufa, wabula nzija kuba mulamu,
    ndyoke ntegeeze ebyo byonna Mukama by’akoze.
18 (D)Mukama ambonerezza nnyo,
    naye tandese kufa.
19 (E)Munzigulirewo emiryango egy’obutuukirivu,
    nnyingire, neebaze Mukama.
20 (F)Guno gwe mulyango omunene ogwa Mukama,
    abatuukirivu mmwe banaayingiriranga.
21 (G)Nkwebaza kubanga onnyanukudde
    n’ofuuka obulokozi bwange.

22 (H)Ejjinja abazimbi lye baagaana lye
    lifuuse ejjinja ekkulu ery’oku nsonda.
23 Kino Mukama ye yakikola;
    era ffe tukiraba nga kya kitalo mu maaso gaffe.
24 Luno lwe lunaku Mukama lw’akoze;
    tusanyuke tulujagulizeeko.

2 Samwiri 6:1-15

Essanduuko Ereetebwa e Yerusaalemi

Dawudi n’akuŋŋaanya nate abasajja abaawera emitwalo esatu be yalonda mu Isirayiri. (A)N’agolokoka n’agenda n’abantu bonna abaali naye, okuva e Baale, Yuda, okuggyayo essanduuko ya Katonda eyitibwa Erinnya lya Mukama ow’Eggye atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka wakati wa bakerubi. (B)Ne bateeka essanduuko ya Katonda ku ggaali empya ne bagiggya mu nnyumba ya Abinadaabu eyali ku lusozi, Uzza ne Akiyo batabani be ne bagikulembera ng’essanduuko ya Katonda kweri, Akiyo ng’agikulembeddemu. (C)Dawudi n’ennyumba yonna eya Isirayiri ne bajaguliza mu maaso ga Mukama n’amaanyi gaabwe gonna, nga bayimba ennyimba nga bakuba ennanga, n’entongooli, n’ebitaasa, n’ensaasi, n’ebirala.

(D)Awo bwe baatuuka mu gguuliro lya Nakoni, ente bwe zeesittala, Uzza n’agolola omukono gwe n’akwata ku ssanduuko ya Katonda. (E)Obusungu bwa Mukama ne bubuubuukira ku Uzza olw’ekikolwa ekyo, Katonda n’amuttira awo okumpi n’essanduuko ya Katonda. (F)Awo Dawudi n’anyiiga kubanga obusungu bwa Mukama bwagwa ku Uzza, n’atuuma ekifo ekyo Peruzuzza, ne leero.

(G)Olunaku olwo Dawudi n’atya Mukama, n’ayogera nti, “Essanduuko ya Mukama eyinza etya okuleetebwa gye ndi?” 10 (H)Dawudi n’atayagala kutwala ssanduuko ya Mukama mu kibuga kya Dawudi, era n’asalawo okugitwala mu nnyumba ya Obededomu Omugitti. 11 (I)Essanduuko ya Mukama n’ebeera mu nnyumba ya Obededomu Omugitti emyezi esatu, era Mukama n’amuwa omukisa ye n’ennyumba ye yonna.

12 (J)Awo Dawudi n’ategeezebwa nti, “Ennyumba ya Obededomu n’ebintu bye byonna biweereddwa omukisa olw’essanduuko ya Katonda.” Dawudi n’agenda n’aggyayo essanduuko ya Katonda mu nnyumba ya Obededomu n’agireeta mu kibuga kya Dawudi ng’ajaguza. 13 (K)Abaasitula essanduuko ya Mukama bwe baatambula ebigere mukaaga n’awaayo ente ennume n’ennyana ensava nga ssaddaaka. 14 (L)Dawudi ng’ayambadde olugoye olwa linena, n’azinira mu maaso ga Mukama n’amaanyi ge gonna. 15 (M)Dawudi n’ennyumba ya Isirayiri yonna ne baleeta essanduuko ya Mukama nga boogerera waggulu, era nga bafuuwa n’amakondeere.

Lukka 24:1-12

Okuzuukira kwa Mukama Waffe

24 (A)Awo ku lunaku Lwassande[a], lwe lusooka mu wiiki, mu makya ennyo, abakazi ne baddira ebyakaloosa n’amafuta, bye baali bategese, ne bagenda ku ntaana. Ne basanga ejjinja eryali liggadde omulyango oguyingira mu ntaana, nga liyiringisibbwa okudda wabbali. (B)Bwe batyo ne bayingira mu ntaana, naye omulambo gwa Mukama waffe Yesu tebaagusangamu. (C)Ne bayimirira awo nga babuliddwa eky’okukola. Amangwago, abasajja babiri ne balabika mu maaso gaabwe nga bambadde engoye ezimasamasa ng’okumyansa kw’eraddu. Abakazi ne batya nnyo, ne bakutama ne batunula wansi, abasajja ne babagamba nti, “Lwaki omuntu omulamu mumunoonyeza mu ntaana? (D)Taliiwo wano, azuukidde! Mujjukire bye yabagamba nga muli e Ggaliraaya nti, (E)‘Omwana w’Omuntu, ateekwa okuweebwayo mu mikono gy’abantu ababi, bamukomerere ku musaalaba, naye nga ku lunaku olwokusatu alizuukira.’ ” (F)Ne bajjukira ebigambo bye ebyo.

Awo ne bayanguwa mangu ne bagenda, ne bategeeza abayigirizwa ekkumi n’omu n’abalala bonna, ebintu ebyo byonna. Bano be bakazi abaalaga ku ntaana, era ne bategeeza abayigirizwa ebintu ebyo: 10 (G)Maliyamu Magudaleene, ne Jowaana, ne Maliyamu nnyina Yakobo, n’abalala. Ne bategeeza abatume ebintu ebyo. 11 (H)Naye bye baababuulira nga biwulikika ng’ebitaliimu makulu, era tebaabikkiriza. 12 (I)Kyokka Peetero n’adduka n’alaga ku ntaana, n’akutama n’alingiza n’alaba ng’engoye za linena Yesu mwe yali azingiddwa ziri wabbali zokka nga njereere, n’addayo eka nga yeewuunya.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.