Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 53

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

53 (A)Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti,
    “Tewali Katonda.”
Boonoonefu, n’empisa zaabwe mbi nnyo;
    tewali n’omu akola kirungi.
(B)Katonda atunuulira abaana b’abantu
    ng’asinziira mu ggulu,
alabe obanga mulimu mu bo abamutegeera
    era abamunoonya.
(C)Bonna bamukubye amabega
    ne boonooneka;
tewali akola kirungi,
    tewali n’omu.

Aboonoonyi tebaliyiga?

Basaanyaawo abantu bange, ng’abalya emmere;
    so tebakoowoola Katonda.
(D)Balitya okutya okutagambika;
    kubanga Katonda alisaasaanya amagumba g’abalabe be.
Baliswazibwa
    kubanga Katonda yabanyooma.

Singa obulokozi bwa Isirayiri bufuluma mu Sayuuni,
    Katonda n’akomyawo emirembe eri abantu be,
    Yakobo asanyuka ne Isirayiri n’ajaguza.

Ebyabaleevi 25:1-19

Omwaka gwa Ssabbiiti

25 Mukama Katonda yagamba Musa ku lusozi Sinaayi nti, “Tegeeza abaana ba Isirayiri nti bwe mutuukanga mu nsi gye mbawa, ensi yennyini eneekuumiranga Mukama Katonda ssabbiiti. (A)Okumala emyaka mukaaga ennimiro zammwe munaazisigangamu emmere, era mu myaka egyo omukaaga munaasaliranga emizabbibu gyammwe n’ebibala ne mubikungula. Naye mu mwaka ogw’omusanvu ettaka ly’ensi eyo linaabanga ne ssabbiiti ey’okuwummula eri Mukama Katonda. Temusiganga mmere mu nnimiro zammwe wadde okusalira emizabbibu gyammwe. Ebimera ebyekuzizza byokka, ebimererezi, temubikungulanga wadde okunoga ebibala ku mizabbibu gyammwe egitaasalirwa. Omwaka ogwo ettaka ly’ensi linaaguwummulanga. (B)Ebyo byonna ebyokulya ebinaavanga mu ttaka mu mwaka ogwa ssabbiiti yaalyo binaabanga mmere yammwe, mmwe bennyini, n’eri abaddu bammwe abasajja, n’abakazi, era n’abaweereza bammwe ab’empeera, n’abagenyi abanaabanga basula mu maka gammwe; era n’ente zammwe n’ensolo ez’omu nsiko ezinaabanga ku ttaka lyammwe. Buli ekyokulya ekinaakuliranga ku ttaka eryo kinaabanga mmere.

Omwaka ogw’Okujaguza Jjubiri

“Munaabaliriranga essabbiiti musanvu ez’omu myaka, kwe kugamba nti musanvu emirundi emyaka musanvu. Bwe kityo ekiseera kyonna ekya ssabbiiti ezo ne kiba emyaka amakumi ana mu mwenda. (C)Ekkondeere ery’okujaguza munaalifuuyiranga wonna wonna ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’omusanvu ku Lunaku olw’Okutangiririrwa, ekkondeere munaalifuuyiranga mu nsi yammwe yonna. 10 (D)Munaatukuzanga omwaka ogw’amakumi ataano, era munaalangiriranga ebiseera eby’eddembe eri abatuuze bonna mu ggwanga lyammwe. Omwaka ogwo gunaabanga gwa kujaguza gwa Jjubiri[a] gye muli; buli omu anaddangayo mu kifo kye eky’obwannannyini, era buli omu anaddangayo mu kika kye. 11 Omwaka ogw’amakumi ataano gunaabanga gwa kujaguza gwa Jjubiri gye muli; mu mwaka ogwo temuusigenga era temuukungulenga bikuze ku bimererezi newaakubadde okukuŋŋaanya ebibala eby’oku mizabbibu egitali misalire. 12 Kubanga ekiseera ekyo kya kujaguza kya Jjubiri era kinaabanga kitukuvu gye muli; mulyenga ebyo byokka bye munaggyanga mu nnimiro.

13 (E)“Mu mwaka ogwo ogw’okujaguza ogwa Jjubiri buli omu anaddangayo mu kifo kye eky’obwannannyini. 14 (F)Era bwe munaatunzanga bannammwe ekintu kyonna oba bwe munaagulanga ku bannammwe ekintu kyonna, temuseeragananga. 15 (G)Munnansi munno onoomugulangako ng’osinziira ku myaka egyakayitawo okuva ku kujaguza ku Jjubiri. Era naye anaakutunzanga ng’asinziira ku myaka egibulayo okutuuka ku makungula g’ebibala. 16 (H)Emyaka bwe ginaabanga emingi, omuwendo ogulamulwa munaagwongezanga, naye emyaka bwe ginaabanga emitono munaagukendeezanga, kubanga obungi bw’ebikungulwa, bw’ogula ku mutunzi. 17 (I)Temuseeragananga; mutyanga Katonda wammwe, kubanga Nze Mukama Katonda wammwe.

18 (J)“Mugonderenga ebiragiro byange, era mukwatenga amateeka gange, bwe mutyo munaatuulanga n’emirembe mu nsi yammwe. 19 (K)Ensi eneebaleeteranga ebibala byayo, ne mulya ne mukkuta ne mutuulamu n’emirembe.

Okubikkulirwa 19:9-10

(A)Malayika n’aŋŋamba nti, “Wandiika nti balina omukisa abo abayitiddwa ku kijjulo ky’embaga ey’obugole ey’Omwana gw’Endiga.” N’ayongerako na kino nti, “Katonda yennyini ye yakyogera.”

10 (B)Ne ndyoka ngwa wansi ku bigere bye okumusinza naye ye n’aŋŋamba nti, “Tokikola! Kubanga nange ndi muddu wa Katonda nga ggwe era ng’abooluganda abalala abanywerera ku ebyo Yesu bye yatumanyisa! Ssinza Katonda. Okutegeeza kwa Yesu gwe mwoyo gw’obunnabbi.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.