Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Dawudi.
122 Nasanyuka bwe baŋŋamba nti,
“Tugende mu nnyumba ya Mukama!”
2 Ebigere byaffe biyimiridde
mu miryango gyo, Ayi Yerusaalemi.
3 Yerusaalemi yazimbibwa okuba
ekibuga ekinywevu ekiyimiridde awamu.
4 Eyo ebika byonna gye biraga,
ebika bya Mukama,
okutendereza erinnya lya Mukama
ng’ebiragiro ebyaweebwa Isirayiri bwe biri.
5 Eyo entebe ez’okusalirako emisango gye zaateekebwa;
z’entebe ez’obwakabaka ez’ennyumba ya Dawudi.
6 (A)Musabirenga Yerusaalemi emirembe:
“Abo abakwagala bafune ebirungi.
7 Emirembe gibeerenga munda w’ebisenge byo;
n’amayumba go amanene gabeerenga n’omukisa era nga manywevu.”
8 Olwa baganda bange ne mikwano gyange
nnaayogeranga nti, “Emirembe gibeerenga mu ggwe.”
9 (B)Olw’obulungi bw’ennyumba ya Mukama Katonda waffe, nnaanoonyanga okukulaakulana kwa Yerusaalemi.
9 (A)Ku lunaku olw’ekkumi n’ebiri gwe mwezi Adali, ekiragiro kya Kabaka lwe kyali kigenda okutuukirizibwa. Ku lunaku olwo abalabe b’Abayudaaya kwe baasuubirira okubafuga, naye ate Abayudaaya ne bafuga abo abaabakyawa. 2 (B)Abayudaaya ne bakuŋŋaana mu bibuga byabwe okubuna ebitundu byonna ebya Kabaka Akaswero, okukwata abo abaali baagala okubaleetako obulabe, so tewaali muntu eyayaŋŋanga okubayinza, kubanga entiisa yali egudde ku bantu bonna abamawanga gonna. 3 (C)Awo abakungu bonna ab’ebitundu, n’abaamasaza, ne bagavana n’abasigire ba kabaka abaafuganga ne bayamba Abayudaaya, kubanga entiisa yali ebakutte olwa Moluddekaayi. 4 (D)Moluddekaayi yali akulaakulanye mu lubiri, era n’ettutumu lye ne lyatiikirira okubuna ebitundu byonna, ate era ne yeeyongera amaanyi n’obuyinza.
5 (E)Awo Abayudaaya ne batta era ne bazikiriza abalabe baabwe bonna n’ekitala, era ne bakola nga bwe baayagala abo abaabakyawa.
Entandikwa y’Embaga Eyitibwa Pulimu
18 Abayudaaya ab’omu Susani ne bakuŋŋaananga ku lunaku olw’ekkumi n’essatu ne ku lunaku olw’ekkumi n’ennya, ate ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano ne bawummula, era ne balufuula olunaku olw’okuliirangako embaga n’okusanyukirangako.
19 (A)Abayudaaya ab’omu byalo abaabeeranga mu bibuga ebitaaliiko bbugwe kyebaava bafuula olunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi Adali okuba olunaku okuliirangako embaga n’olw’okusanyukirangako, era olunaku olw’okuweerazaganirako ebirabo.
20 Awo Moluddekaayi n’awandiika ebyabaawo byonna, era n’aweereza Abayudaaya bonna abaali mu bitundu byonna ebya Kabaka Akaswero ebbaluwa, mu matwale ag’okumpi n’agewala, 21 ng’abalagira okukuumanga olunaku olw’ekkumi n’ennya n’olw’ekkumi n’ettaano mu mwezi ogwa Adali nga lwa mbaga, 22 (B)era nga kye kiseera Abayudaaya kye baafunirako eddembe eri abalabe baabwe, ate era nga gwe mwezi obuyinike bwabwe lwe bwafuulibwa essanyu, n’okunakuwala kwabwe ne kukoma. Moluddekaayi n’abiwandiika okujjukira ennaku ezo ng’ennaku ez’okuliirangako embaga n’okusanyukirangako, ate era n’okuweerezaganya ebyokulya ebirungi, era n’okugabiranga abaavu ebirabo.
23 Awo Abayudaaya ne basuubiza okukola nga bwe baatandika, nga Moluddekaayi bwe yabawandiikira.
4 (A)“Kaakano mikwano gyange, temubatyanga abo abatta omubiri, naye ne batabaako kirala kye bayinza kukola. 5 (B)Naye nzija kubalaga gwe musaanidde okutya. Mutyenga oyo alina obuyinza okutta ate n’okusuula mu ggeyeena. Weewaawo mbagamba nti oyo gwe musaanye okutyanga. 6 Enkazaluggya ettaano tezigula sente bbiri zokka? Naye Katonda tazeerabira wadde emu bw’eti. 7 (C)Era amanyi enviiri eziri ku mutwe gwo nga bwe zenkana obungi. Temutya kubanga mmwe muli ba muwendo nnyo okusinga enkazaluggya ennyingi.
8 (D)“Era mbategeeza nti buli anjatula mu maaso g’abantu, n’Omwana w’Omuntu, alimwatula mu maaso ga bamalayika ba Katonda. 9 (E)Naye oyo anneegaanira mu maaso g’abantu, n’Omwana w’Omuntu alimwegaanira mu maaso ga bamalayika ba Katonda. 10 (F)Na buli muntu alyogera ekigambo ku Mwana w’Omuntu alisonyiyibwa, naye oyo alivvoola Mwoyo Mutukuvu tagenda kusonyiyibwa.
11 (G)“Bwe banaabatwalanga mu makuŋŋaaniro, ne mu maaso g’abafuzi ne mu b’obuyinza temweraliikiriranga kye mulyogera mu kuwoza, 12 (H)kubanga Mwoyo Mutukuvu agenda kubawa eky’okwogera mu kiseera ekyo kyennyini.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.