Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
16 (A)Bw’ati bw’ayogera Mukama,
oyo eyakola ekkubo mu nnyanja,
n’oluguudo mu mazzi amangi ennyo,
17 (B)eyaleetera amagaali, n’embalaasi n’eggye, n’abaali bazze okubayamba,
byonna awamu okugwa omwo,
ne bitaddamu kusituka, nga bizikiridde,
nga bikomye ng’akatambi akabadde kaaka:
18 “Mwerabire eby’emabega,
so temulowooza ku by’ayita.
19 (C)Laba, nkola ekintu ekiggya!
Kaakano kitandise okulabika, temukiraba?
Nkola oluguudo mu ddungu
ne ndeeta emigga mu lukoola.
20 (D)Ensolo ez’omu nsiko zinzisaamu ekitiibwa,
ebibe n’ebiwuugulu;
kubanga nze ngaba amazzi mu ddungu,
n’emigga mu lukoola,
okunywesa abantu bange, abalonde bange,
21 (E)abantu be nnekolera
balangirire ettendo lyange.
Oluyimba nga balinnya amadaala.
4 Ne bwe kwandibadde okwesiga omubiri, omuntu omulala yenna bw’alowooza okuba n’obwesige mu mubiri, nze musinga. 5 (A)Kubanga nze nakomolebwa ku lunaku olw’omunaana. Ndi Muyisirayiri, ow’omu kika kya Benyamini, Omwebbulaniya wawu, era mu mateeka ndi Mufalisaayo, 6 (B)eyanyiikira okuyigganya ekkanisa, eyali omutuukirivu mu mateeka, nga siriiko kya kunenyezebwa.
7 (C)Naye ebyo byonna ebyali omugabo gye ndi, nabiraba nga butaliimu. 8 (D)Naye okusinga byonna, byonna mbiraba ng’okufiirwa, kubanga okutegeera Kristo Yesu Mukama wange, kusinga ebirala byonna. Olwa Kristo nafiirwa ebintu byonna, era mbiraba ng’ebisasiro, ndyoke ngobolole Kristo, 9 (E)ndabikire mu ye nga sirina butuukirivu bwange ku bwange obuva mu kukwata amateeka, wabula nga nnina obutuukirivu obuva mu kukkiriza Kristo, era obuva eri Katonda obwesigamye ku kukkiriza. 10 (F)Njagala okussa ekimu mu bibonoobono bye, nga mmufaanana mu kufa kwe, mmumanye era ntegeere amaanyi g’okuzuukira kwe, 11 (G)nga nsuubira nga nange ndizuukira.
12 (H)Sigamba nti mmaze okufuna oba nti mmaze okutuukirira, wabula nfuba okufuna ekyo Kristo Yesu kye yagenderera nfune. 13 (I)Abooluganda, mmanyi nti sinnakifuna, naye kye nkola kwe kwerabira ebyo ebiri emabega ne nduubirira ebyo ebiri mu maaso. 14 (J)Nduubirira okutuuka awawakanirwa awali empeera ey’okuyita kwa Katonda okwa waggulu mu Kristo Yesu.
Yesu Asiigibwa Amafuta ag’Akaloosa e Besaniya
12 (A)Bwe waali wakyabulayo ennaku mukaaga emikolo gy’Embaga ejjuukirirwako Okuyitako gitandike, Yesu n’ajja e Besaniya ewa Laazaalo gwe yazuukiza. 2 (B)Ne bamufumbira ekyeggulo, Maliza n’aweereza, Laazaalo nga ye omu ku baali batudde ne Yesu okulya. 3 (C)Awo Maliyamu n’addira eccupa erimu amafuta amalungi ag’akaloosa ag’omugavu, ag’omuwendo omungi, n’agafuka ku bigere bya Yesu n’abisiimuuza enviiri ze. Ennyumba yonna n’ejjula akaloosa k’amafuta ago.
4 (D)Naye Yuda Isukalyoti, omu ku bayigirizwa ba Yesu, eyali ow’okumulyamu olukwe, n’agamba nti, 5 “Lwaki amafuta ago tegatundiddwamu eddinaali ebikumi bisatu ne zigabirwa abaavu?” 6 (E)Yayogera bw’atyo si lwa kuba nti yali alumirwa nnyo abaavu, wabula Lwa kubanga yali mubbi. Yatwalanga ensimbi ezaaterekebwanga mu nsawo y’ensimbi.
7 (F)Yesu n’alyoka abagamba nti, “Omukazi mumuleke, akoze ekyo lwa kunteekerateekera kuziikibwa kwange. 8 (G)Abaavu muli nabo bulijjo, naye Nze sijja kuba nammwe bulijjo.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.