Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Oluyimba. Zabbuli ya Asafu.
83 (A)Ayi Katonda, tosirika busirisi n’etebaayo kanyego.
Tosirika, Ayi Katonda, n’otobaako ky’okola.
2 (B)Wuliriza oluyoogaano oluva mu balabe bo;
abo abaagala okukulwanyisa bali mu keetalo.
3 (C)Bateesa n’obujagujagu okulumba abantu bo;
basalira enkwe abo b’oyagala ennyo.
4 (D)Bagamba nti, “Mujje eggwanga lyabwe tulizikirize,
n’erinnya lya Isirayiri lireme okujjukirwanga emirembe gyonna!”
5 (E)Basala olukwe n’omwoyo gumu;
beegasse wamu bakulwanyise.
6 (F)Abantu b’omu weema za Edomu, n’ez’Abayisimayiri,
n’eza Mowaabu, n’Abakagale;
7 (G)Gebali ne Amoni, ne Amaleki,
n’Abafirisuuti n’abantu b’omu Ttuulo.
8 (H)Era ne Asiriya yeegasse nabo,
okuyamba bazzukulu ba Lutti.
9 (I)Bakoleko nga bwe wakola Midiyaani,
era nga bwe wakola Sisera ne Yabini[a] ku mugga Kisoni,
10 (J)abaazikiririra mu Endoli
ne bafuuka ng’obusa ku ttaka.
11 (K)Abakungu baabwe bafuule nga Olebu ne Zeebu,[b]
n’abalangira baabwe bonna bafuuke nga Zeba ne Zalumunna,
12 (L)abaagamba nti, “Ka tutwale
amalundiro ga Katonda, tugeefunire.”
13 (M)Ayi Katonda wange, bafuumuule ng’enfuufu,
obasaasaanye ng’ebisusunku mu mbuyaga.
14 (N)Ng’omuliro bwe gwokya ekibira;
n’ennimi z’omuliro ne zikoleeza ensozi,
15 (O)naawe bw’otyo bw’oba obawondera n’omuyaga gwo,
obatiise ne kibuyaga wo ow’amaanyi.
16 (P)Baswaze nnyo,
balyoke banoonyenga erinnya lyo, Ayi Mukama.
5 (A)“Era mu kiseera ekyo awatali kulonzalonza ndibasemberera nsale omusango. Ndiyanguwa okuwa obujulizi ku baloga ne ku benzi ne ku abo abalayira eby’obulimba, ne ku abo abalyazaamaanya omupakasi empeera ye; abanyigiriza nnamwandu ne mulekwa, era abajoogereza munnaggwanga, abatatya Mukama,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
6 (B)“Kubanga nze Mukama sijjulukuka: mmwe, batabani ba Yakobo, noolwekyo siribazikiriza. 7 (C)Okuva mu nnaku za bajjajjammwe mwakyuka ne mukyama okuva ku biragiro byange ne mutabikwata. Mudde gye ndi, nange nadda gye muli era nnaabasonyiwa,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
“Naye mwebuuza nti, ‘Tunadda tutya?’
8 (D)“Omuntu alinyaga Katonda?
“Naye mmwe munnyaga. Kyokka mugamba nti, ‘Tukunyaga tutya?’
“Mu biweebwayo ne mu kimu eky’ekkumi. 9 Mukolimiddwa ekikolimo ekyo, kubanga mmwe, eggwanga lyonna munnyaga nze. 10 (E)Muleete ekimu eky’ekkumi ekijjuvu mu nnyumba yange, ennyumba yange ebeeremu emmere, era mungezese,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “obanga siribaggulirawo ebituli eby’omu ggulu, ne mbawa omukisa ne gutabaako ne we guligya. 11 Kale ndikuuma ennimiro zammwe ne zitazikirizibwa balabe; so n’omuzabbibu gwammwe ne gutakunkumula bibala byagwo ebitannatuuka kwengera,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye. 12 (F)“Era amawanga gonna galibayita ba mukisa: kubanga muliba nsi esanyusa, kino ky’ekisuubizo,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
Yesu Awonya Omulwadde w’Olukonvuba
2 Awo bwe waayitawo ennaku nnyingi Yesu n’akomawo mu kibuga Kaperunawumu, ne kiwulirwa nti ali ka. 2 (A)Abantu bangi ne bakuŋŋaana, ne wataba kafo wayinzika kuyisibwa kigere ku mulyango; n’ababuulira Enjiri. 3 (B)Omulwadde eyali akoozimbye ne bamuleeta eri Yesu ng’asituliddwa abasajja bana. 4 Naye bwe balemwa okuyingiza omulwadde eyali akoozimbye olw’ekibiina ekinene ne baseluukulula ku kasolya ne bassa omulwadde ng’ali ku katanda ke. 5 (C)Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n’agamba omulwadde eyali akoozimbye nti, “Mwana wange ebibi byo bikusonyiyiddwa.” 6 Naye abamu ku bannyonnyozi b’amateeka abaali batudde awo nga balowooza ku bintu bino mu mitima gyabwe ne boogera nti, 7 (D)“Ono ayinza atya okwogera bw’atyo? Avvodde! Ani ayinza okusonyiwa ebibi okuggyako Katonda?” 8 Amangwago Yesu n’amanya mu mutima gwe bye baali boogerako bokka ne bokka n’ababuuza nti, “Lwaki mwebuuzaganya ebintu bino mu mitima gyammwe? 9 Ekyangu kye kiruwa, okugamba akoozimbye nti ebibi byo bikusonyiyiddwa oba nti yimirira ositule akatanda ko otambule? 10 (E)Naye mmwe okusobola okutegeera ng’Omwana w’Omuntu alina obuyinza okusonyiwa ebibi ku nsi;” n’agamba eyali akoozimbye nti, 11 “Yimirira ositule akatanda ko oddeyo ewuwo.” 12 (F)Awo omusajja n’asituka, amangwago n’asitula akatanda ke n’afuluma nga bonna balaba. Bonna ne bawuniikirira era ne bagulumiza Katonda, nga bagamba nti, “Kino tetukirabangako.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.