Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 5:1-8

Ya mukulu wa Bayimbi. Ya ndere. Zabbuli ya Dawudi.

Otege okutu eri ebigambo byange, Ayi Mukama;
    olowooze ku kunyolwa kwange.
(A)Wuliriza eddoboozi ly’omulanga gwange,
    Ayi Kabaka wange era Katonda wange:
    kubanga ggwe gwe nsaba.

(B)Ayi Mukama, buli nkya owulira eddoboozi lyange;
    buli nkya ndeeta gy’oli okusaba kwange,
    ne nnindirira onziremu.
(C)Kubanga ggwe Ayi Katonda, tosanyukira bibi:
    n’ebitasaana tobigumiikiriza.
(D)Ab’amalala era abakola ebibi tobeetaaga mu maaso go:
    kubanga okyawa abakola ebibi bonna.
(E)Abalimba bonna obazikiriza;
    Mukama akyawa abatemu
    era n’abalimba.
(F)Naye olw’ekisa kyo ekingi,
    nze nnaayingiranga mu nnyumba yo:
ne nkusinziza mu Yeekaalu yo Entukuvu
    n’okutya okungi.

(G)Onkulembere, Ayi Mukama, mu butuukirivu bwo,
    olw’abalabe bange,
    ondage ekkubo eggolokofu ery’okutambulirangamu.

1 Bassekabaka 20:1-22

Benikadadi Alumba Samaliya

20 (A)Awo Benikadadi kabaka w’e Busuuli n’akuŋŋaanya eggye lye lyonna wamu ne bakabaka amakumi asatu mu babiri n’embalaasi n’amagaali gaabwe, bonna ne bambuka okuzingiza Samaliya n’okulwana nakyo. N’atuma ababaka mu kibuga eri Akabu kabaka wa Isirayiri ng’agamba nti, “Bw’ati bw’ayogera Benikadadi nti, ‘Effeeza yo ne zaabu yo byange ate era ne bakyala bo abasinga obulungi n’abaana bo nabo bange.’ ”

Kabaka wa Isirayiri n’addamu nti, “Nga bw’ogambye, mukama wange kabaka, nze ne bye nnina byonna bibyo.” Ababaka ne baddayo ewa Akabu nate ne bamugamba nti, “Kino Benikadadi ky’agamba nti, ‘Natuma nga njagala ffeeza yo ne zaabu yo, n’abakyala bo n’abaana bo. Naye olunaku lw’enkya essaawa nga zino nzija kuweereza abakungu bange banoonyeemu mu lubiri lwo ne mu nnyumba z’abakungu bo, era bajja kutwala ebibyo byonna eby’omuwendo.’ ”

(B)Awo kabaka wa Isirayiri n’ayita abakadde bonna ab’ensi, n’abagamba nti, “Mulabe omusajja ono bw’anoonya emitawaana! Bwe yatumya bakyala bange n’abaana bange wamu ne ffeeza yange ne zaabu yange, sabimumma.”

Abakadde n’abantu bonna ne bamuddamu nti, “Tomuwuliriza wadde okukkiriziganya naye.”

Awo kabaka n’addamu ababaka ba Benikadadi nti, “Mutegeeze mukama wange kabaka nti, ‘Omuddu wo nzija kukola byonna bye walagidde ku ntandikwa, naye kino eky’oluvannyuma siyinza kukikola.’ ”

10 (C)Awo Benikadadi n’aweereza obubaka obulala eri Akabu nti, “Bakatonda bankole bwe batyo n’okukirawo, enfuufu ya Samaliya bwe teebune mu bibatu by’abasajja bonna abangoberera.”

11 (D)Kabaka wa Isirayiri n’amuddamu nti, “Mumugambe nti, ‘Eyeesiba ebyokulwanyisa aleme okwenyumiriza ng’oyo abyesumulula.’ ”

12 (E)Benikadadi bwe yawulira obubaka obwo, ng’ali mu kutamiira ne bakabaka abalala mu weema zaabwe, n’alagira abasajja be nti, “Mweteeketeeke okulumba.” Ne beeteekateeka okulumba ekibuga.

Akabu Awangula Benikadadi

13 (F)Mu kiseera ekyo ne wabaawo nnabbi eyajja eri Akabu kabaka wa Isirayiri n’alangirira nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Olaba eggye lino eddene? Nzija kulikuwa mu mukono gwo leero, otegeere nga nze Mukama.’ ”

14 (G)Akabu n’abuuza nti, “Anakikola atya?” Nnabbi n’addamu nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Abavubuka bo ab’abaduumizi b’amasaza, bajja kukubeera.’ ”

Akabu ne yeeyongera okubuuza nti, “Ani anasooka okulumba?”

Nnabbi n’addamu nti, “Ggwe.”

15 Awo Akabu n’ayita abavubuka ab’abaduumizi b’amasaza, ne bawera ebikumi bibiri mu asatu mu babiri (232). Era n’akuŋŋaanya ne Isirayiri yenna, bonna awamu ne baba kasanvu (7,000). 16 (H)Ne batabaala mu ttuntu nga Benikadadi ne bakabaka amakumi asatu mu ababiri be yali alagaanye nabo bali mu kutamiira. 17 Abavubuka b’abaduumizi b’amasaza be baasooka okulumba.

Naye Benikadadi yali atumye ababaka okuketta, ne bamutegeeza nti, “Waliwo abasajja abajja nga bava Samaliya.”

18 N’ayogera nti, “Bwe baba bazze na mirembe, mubawambe, ne bwe baba nga baze ku lutalo, era mubawambe.” 19 Abavubuka b’abaduumizi b’amasaza ne bafuluma ne balumba okuva mu kibuga, nga n’eggye libagoberera. 20 Buli omu ku bo n’atta gwe yayolekera. Abasuuli ne badduka, nga n’Abayisirayiri bwe babagoba, naye Benikadadi kabaka w’e Busuuli n’awonera ku mbalaasi n’abamu ku basajjabe abeebagala embalaasi. 21 Awo kabaka wa Isirayiri n’abagobera ddala era n’awamba embalaasi n’amagaali, era Abasuuli bangi ne bafa.

22 (I)Awo ebyo nga biwedde, nnabbi n’agenda eri kabaka wa Isirayiri n’amugamba nti, “Weenyweze, olabe ekiteekwa okukolebwa, kubanga omwaka ogunaddirira kabaka w’e Busuuli ajja kukulumba nate.”

Yakobo 4:1-7

Mweweeyo eri Katonda

(A)Kiki ekireeta entalo n’okulwanagana mu mmwe? Si lwa kubanga mu mitima gyammwe mujjudde ebintu bingi nnyo ebibi bye mwagala? Mwagala ebintu ne mutabifuna ne muba n’obuggya, ne mulyoka muttiŋŋana so ne mutasobola kubifuna, nga mulwana era nga muyomba kubanga mulemeddwa okubisaba. (B)Era ne bwe mubisaba, temubifuna kubanga ekigendererwa kyammwe kikyamu; mugenderera kubikozesa ku masanyu gokka.

(C)Mmwe abenzi temumanyi ng’okuba mikwano gy’ensi bulabe eri Katonda? Noolwekyo omuntu yenna bw’alondawo okuba mukwano gw’ensi afuuka mulabe wa Katonda. Oba mulowooza nti Ekyawandiikibwa tekiba na makulu bwe kigamba nti, “Omwoyo gwe yassa mu ffe, atulabirira n’okwagala okujjudde obuggya”? (D)Kyokka Omwoyo omukulu oyo era agaba ekisa kingi. Kyekiva kigamba nti,

“Katonda alwana n’ab’amalala
    naye abawombeefu abawa ekisa.”

(E)Kale, mugondere Katonda era mulwanyisenga Setaani, ajja kubaddukanga.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.