Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 104:24-34

24 (A)Ayi Mukama, ebintu bye wakola nga bingi nnyo!
    Byonna wabikola n’amagezi ag’ekitalo;
    ensi ejjudde ebitonde byo.
25 (B)Waliwo ennyanja, nnene era ngazi,
    ejjudde ebitonde ebitabalika,
    ebintu ebirina obulamu ebinene era n’ebitono.
26 (C)Okwo amaato kwe gaseeyeeyera nga galaga eno n’eri;
    ne galukwata ge wakola mwe gabeera okuzannyiranga omwo.

27 (D)Ebyo byonna bitunuulira ggwe
    okubiwa emmere yaabyo ng’ekiseera kituuse.
28 (E)Bw’ogibiwa,
    nga bigikuŋŋaanya;
bw’oyanjuluza engalo zo n’obigabira ebintu ebirungi
    ne bikkusibwa.
29 (F)Bw’okweka amaaso go
    ne byeraliikirira nnyo;
bw’obiggyamu omukka nga bifa,
    nga biddayo mu nfuufu.
30 Bw’oweereza Omwoyo wo,
    ne bifuna obulamu obuggya;
    olwo ensi n’ogizza buggya.

31 (G)Ekitiibwa kya Katonda kibeerengawo emirembe gyonna;
    era Mukama asanyukirenga ebyo bye yakola.
32 (H)Atunuulira ensi, n’ekankana;
    bw’akwata ku nsozi ennene, ne zinyooka omukka.

33 (I)Nnaayimbiranga Mukama obulamu bwange bwonna;
    nnaayimbanga nga ntendereza Katonda wange ennaku zonna ze ndimala nga nkyali mulamu.
34 (J)Ebirowoozo byange, nga nfumiitiriza, bimusanyusenga;
    kubanga mu Mukama mwe neeyagalira.

Zabbuli 104:35

35 (A)Naye abakola ebibi baggweewo ku nsi;
    aboonoonyi baleme kulabikirako ddala.

Weebaze Mukama, gwe emmeeme yange.

Mumutenderezenga Mukama.

2 Bassekabaka 2:1-15

Okutwalibwa kwa Eriya mu Ggulu

(A)Awo Mukama bwe yali ng’anaatera okutwala Eriya mu ggulu mu mbuyaga ey’amaanyi, nga Eriya ne Erisa bava e Girugaali, (B)Eriya n’agamba Erisa nti, “Sigala wano, ŋŋende e Beseri[a] Mukama gy’antumye.” Naye Erisa n’amuddamu nti, “Mazima nga Mukama bw’ali omulamu, era nga nawe bw’oli omulamu, siireme kugenda naawe.”

Awo ne baserengeta bonna e Beseri. (C)Ekibiina ekya bannabbi abaali e Beseri ne bagenda eri Erisa ne bamugamba nti, “Okimanyi nga Mukama anaatwala mukama wo olwa leero?”

Erisa n’abaddamu nti, “Nkimanyi, naye temukyogerako.”

(D)Eriya n’addamu omulundi ogwokubiri n’agamba Erisa nti, “Sigala wano, ŋŋende e Yeriko Mukama gy’antumye.” Naye Erisa n’amuddamu nti, “Mazima nga Mukama bw’ali omulamu, era nga nawe bw’oli omulamu, siireme kugenda naawe.”

Awo ne bagenda bonna e Yeriko.

(E)Awo ekibiina ekya bannabbi abaali e Yeriko ne batuukirira Erisa ne bamugamba nti, “Okimanyi nga Mukama anaatwala mukama wo olwa leero?” Erisa n’abaddamu nti, “Weewaawo nkimanyi, naye temukyogerako.”

(F)Eriya n’addamu nate n’amugamba nti, “Sigala wano, nserengete ku Yoludaani Mukama gy’antumye.” Naye Erisa n’amuddamu nti, “Mazima nga Mukama bw’ali omulamu, era nga nawe bw’oli omulamu, siireme kugenda naawe.”

Awo ne batambula bombi.

Ne waba ekibiina kya bannabbi amakumi ataano abaali bayimiridde akabanga okuva Eriya ne Erisa we baali ku lubalama lw’omugga Yoludaani. (G)Awo Eriya n’addira omunagiro gwe n’aguzinga wamu n’akuba amazzi ne gaawulibwamu, agamu ne gadda ku luuyi olwa ddyo n’amalala ku luuyi olwa kkono, bombi ne bayita ku lukalu.

(H)Awo bwe baamala okusomoka, Eriya n’abuuza Erisa nti, “Kiki ky’oyagala nkukolere nga sinnaba kukuggyibwako?” Erisa n’amuddamu nti, “Nkusaba, nsikire emigabo ebiri egy’Omwoyo akuliko.” 10 N’amugamba nti, “Ky’osabye kigambo kizibu, naye bw’onondaba nga ntwalibwa, kale kinaaba nga bw’osabye, naye bw’otondabe tekiibe bwe kityo.” 11 (I)Awo bwe baali batambula nga bwe banyumya bokka na bokka, ne walabika eggaali ey’omuliro n’embalaasi ez’omuliro ne zibaawula, era mu kiseera kye kimu Eriya n’atwalibwa mu ggulu mu mbuyaga ey’amaanyi. 12 (J)Awo Erisa bwe yalaba ekyo, n’ayogerera waggulu nti, “Kitange, Kitange, amagaali n’abeebagala embalaasi aba Isirayiri!” Erisa n’ataddamu kumulaba nate. N’addira engoye ze yali ayambadde, n’aziyuzaayuza.

13 Waaliwo omunagiro ogwali gusuulibbwa Eriya ng’atwalibwa mu ggulu, era ogwo Erisa gwe yalonda n’addayo ku mugga Yoludaani n’ayimirira ku lubalama lw’omugga. 14 (K)N’addira omunagiro gwe yali alonze n’aguzinga n’akuba amazzi n’ayogera nti, “Kaakano Mukama, Katonda wa Eriya ali luuyi wa?” Bwe yakuba amazzi ne geeyawulamu, agamu ne gadda ku luuyi olwa ddyo n’amalala ku luuyi olwa kkono, n’asomoka.

15 (L)Awo ekibiina ekya bannabbi abaali mu Yeriko ne bayogera nti, “Omwoyo wa Eriya ali ku Erisa.” Ne bagenda okumusisinkana ne bamuvuunamira.

Lukka 1:5-17

Okulanga Okuzaalibwa kwa Yokaana Omubatiza

(A)Awo mu biro Kabaka Kerode we yafugira Obuyudaaya, waaliwo kabona erinnya lye Zaakaliya, nga wa mu kitongole kya Abiya, nga mukyala we naye yali wa mu kika kya Alooni, erinnya lye Erisabesi. (B)Abantu abo bombi baali batuukirivu mu maaso ga Katonda, era nga batambulira mu mateeka ga Katonda gonna, ne mu biragiro bya Mukama, nga tebaliiko kya kunenyezebwa. Bombi baali bakaddiye nnyo, era tebaalina mwana, kubanga Erisabesi yali mugumba.

(C)Awo lwali lumu, Zaakaliya bwe yali ng’ali ku mulimu gwe ogw’obwakabona mu maaso ga Katonda, kubanga kye kyali ekiseera eky’oluwalo lwe, (D)n’alondebwa okwoteza obubaane mu yeekaalu ya Mukama, ng’emirimu gy’obwakabona bwe gyabanga. 10 (E)Mu ssaawa eyo ey’okwoteza obubaane ekibiina kyonna eky’abantu baali bakuŋŋaanidde mu luggya lwa Yeekaalu.

11 (F)Awo malayika wa Mukama n’alabikira Zaakaliya, n’ayimirira ku luuyi olwa ddyo olw’ekyoto okwoterezebwa obubaane! 12 (G)Zaakaliya n’atya nnyo bwe yalaba malayika, entiisa n’emukwata. 13 (H)Naye malayika n’amugamba nti, “Totya Zaakaliya! Kubanga okusaba kwo kuwuliddwa, era mukazi wo Erisabesi ajja kukuzaalira omwana wabulenzi. Olimutuuma erinnya Yokaana. 14 (I)Mwembi mulisanyuka nnyo ne mujaguza. Era bangi abalibasanyukirako olw’okuzaalibwa kwe. 15 (J)Kubanga aliba mukulu mu maaso ga Katonda. Talinywa mwenge wadde ekitamiiza kyonna. Era alijjuzibwa Mwoyo Mutukuvu ng’akyali mu lubuto lwa nnyina. 16 Era alireetera abaana ba Isirayiri bangi okudda eri Mukama Katonda waabwe. 17 (K)Aliweerereza mu mwoyo ne mu maanyi aga nnabbi Eriya, n’akyusa emitima gy’aba kitaabwe okudda eri abaana baabwe, n’okukyusa emitima gy’abajeemu okudda eri amagezi g’abatuukirivu alyoke ateeketeeke abantu okulindirira Mukama.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.