Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 5:1-8

Ya mukulu wa Bayimbi. Ya ndere. Zabbuli ya Dawudi.

Otege okutu eri ebigambo byange, Ayi Mukama;
    olowooze ku kunyolwa kwange.
(A)Wuliriza eddoboozi ly’omulanga gwange,
    Ayi Kabaka wange era Katonda wange:
    kubanga ggwe gwe nsaba.

(B)Ayi Mukama, buli nkya owulira eddoboozi lyange;
    buli nkya ndeeta gy’oli okusaba kwange,
    ne nnindirira onziremu.
(C)Kubanga ggwe Ayi Katonda, tosanyukira bibi:
    n’ebitasaana tobigumiikiriza.
(D)Ab’amalala era abakola ebibi tobeetaaga mu maaso go:
    kubanga okyawa abakola ebibi bonna.
(E)Abalimba bonna obazikiriza;
    Mukama akyawa abatemu
    era n’abalimba.
(F)Naye olw’ekisa kyo ekingi,
    nze nnaayingiranga mu nnyumba yo:
ne nkusinziza mu Yeekaalu yo Entukuvu
    n’okutya okungi.

(G)Onkulembere, Ayi Mukama, mu butuukirivu bwo,
    olw’abalabe bange,
    ondage ekkubo eggolokofu ery’okutambulirangamu.

1 Bassekabaka 20:23-34

23 (A)Mu kiseera ekyo, abakungu ba kabaka w’e Busuuli ne bamuwa amagezi nti, “Bakatonda b’Abayisirayiri bakatonda ba nsozi, era kyebavudde batusinza amaanyi. Naye bwe tunaabalwanyisizza mu lusenyi, mazima ddala tunaabasinza amaanyi. 24 Kola bw’oti, ggyawo bakabaka bonna mu bifo byabwe eby’okuduumira, osseewo abaduumizi abalala. 25 Oteekwa okufuna eggye ery’enkana liri lye wafiirwa, embalaasi edde mu kifo ky’embalaasi, n’eggaali mu kifo ky’eggaali, tulyoke tulwane nabo mu lusenyi, olwo tunaabasinzizza ddala amaanyi.” N’abawuliriza era n’akola bw’atyo.

26 (B)Omwaka ogwaddirira Benikadadi n’akuŋŋaanya Abasuuli, n’ayambuka mu Afeki okulwana ne Isirayiri. 27 (C)Awo abantu ba Isirayiri nabo ne bakuŋŋaana ne baweebwa entanda yaabwe, ne bagenda okubasisinkana. Abayisirayiri ne basiisira okuboolekera ne bafaanana ng’ebisibo bibiri ebitono eby’embuzi, naye Abasuuli ne babuna ensi yonna. 28 (D)Awo omusajja wa Katonda n’asembera, n’agamba kabaka wa Isirayiri nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Olw’okuba Abasuuli balowooza nga Mukama Katonda wa ku nsozi so si Katonda wa mu biwonvu, ndigabula eggye lino eddene mu mukono gwo, otegeere nga nze Mukama.’ ”

29 Ne basiisira nga boolekaganye okumala ennaku musanvu, ku lunaku olw’omusanvu ne balumbagana. Abayisirayiri ne batta abaserikale ab’ebigere Abasuuli emitwalo kkumi mu lunaku lumu. 30 (E)Abalala ne baddukira mu kibuga Afeki, era eyo bbugwe w’ekibuga ekyo gye yagwira ku bantu emitwalo musanvu ku baali bawonyeewo.

Akabu Asaasira Benikadadi

Benikadadi naye nadduka ne yeekweka mu kibuga mu kimu ku bisenge eby’omunda. 31 (F)Abakungu be ne bamugamba nti, “Laba, tuwulidde nti bakabaka b’ennyumba ya Isirayiri, ba kisa, twesibe ebibukutu mu biwato byaffe, tuzingirire emige ku mitwe gyaffe tugende ewa kabaka wa Isirayiri, oboolyawo anaakusaasira.”

32 Ne beesiba ebibukutu mu biwato byabwe, ne bazingirira emige ku mitwe gyabwe, ne balaga ewa kabaka wa Isirayiri, ne bamugamba nti, “Omuddu wo Benikadadi agamba nti, ‘Nkwegayiridde tonzita.’ ” Kabaka n’ababuuza nti, “Akyali mulamu? Oyo muganda wange.”

33 Abasajja ne balowooza nti ako kabonero kalungi, era ne banguwa okwogera nti, “Weewaawo, muganda wo Benikadadi.” Kabaka n’ayogera nti, “Mugende mumuleete.” Benikadadi bwe yavaayo, Akabu n’amuleetera mu gaali lye.

34 (G)Awo Benikadadi n’agamba nti, “Ndikuddiza ebibuga kitange bye yawamba ku kitaawo, era olyessizaawo obutale obubwo ggwe mu Ddamasiko, nga kitange bwe yakola mu Samaliya.” Akabu n’addamu nti, “Nzija kukuleka ogende nga tukoze endagaano.” Era ne bakola endagaano, n’amuleka n’agenda.

Abaruumi 11:1-10

11 (A)Kale ka mbuuze: Katonda yeegoberako ddala abantu be? Kikafuuwe. Kubanga nange ndi Muyisirayiri, era muzzukulu wa Ibulayimu, ow’omu kika kya Benyamini. (B)Katonda tasuulanga bantu be, be yalonda okuva ku lubereberye. Oba temumanyi ekyawandiikibwa ekyogera ku Eriya bwe yeegayirira Katonda nga yeemulugunya olwa Isirayiri? (C)Yagamba nti, “Mukama, basse bannabbi bo ne bamenyaamenya n’ebyoto byo. Nze nzekka nze nsigaddewo, ate bannoonya okunzita.” (D)Naye Katonda yamuddamu atya? Yamugamba nti: “Neesigalizzaawo abasajja kasanvu abatafukaamirira Baali.” (E)Era bwe kityo ne mu biro bino waliwo ekitundu ekyasigalawo abaalondebwamu olw’ekisa. (F)Naye obanga lwa kisa, si lwa bikolwa nate, kubanga ekisa kyandibadde tekikyali kisa.

(G)Kale tugambe ki? Abayisirayiri baalemwa okufuna kye baali banoonya, wabula be yalondamu be baakifuna, abalala ne bakakanyazibwa, emitima, (H)nga bwe kyawandiikibwa nti,

“Katonda yabawa omwoyo ogw’okubongoota,
    n’aleetera amaaso gaabwe obutalaba,
    n’amatu gaabwe obutawulira
okutuusa leero.”

Ne Dawudi yagamba nti,

“Leka ekijjulo kyabwe kibafuukire omutego, era ekitimba,
    eky’okubatega era empeera ebasaanira.
10 (I)Amaaso gaabwe ka gabeeko ekifu, baleme okulaba.
    Era batambule nga bakootakoota emirembe n’emirembe.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.