Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Semicontinuous)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with sequential stories told across multiple weeks.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 83

Oluyimba. Zabbuli ya Asafu.

83 (A)Ayi Katonda, tosirika busirisi n’etebaayo kanyego.
    Tosirika, Ayi Katonda, n’otobaako ky’okola.
(B)Wuliriza oluyoogaano oluva mu balabe bo;
    abo abaagala okukulwanyisa bali mu keetalo.
(C)Bateesa n’obujagujagu okulumba abantu bo;
    basalira enkwe abo b’oyagala ennyo.
(D)Bagamba nti, “Mujje eggwanga lyabwe tulizikirize,
    n’erinnya lya Isirayiri lireme okujjukirwanga emirembe gyonna!”

(E)Basala olukwe n’omwoyo gumu;
    beegasse wamu bakulwanyise.
(F)Abantu b’omu weema za Edomu, n’ez’Abayisimayiri,
    n’eza Mowaabu, n’Abakagale;
(G)Gebali ne Amoni, ne Amaleki,
    n’Abafirisuuti n’abantu b’omu Ttuulo.
(H)Era ne Asiriya yeegasse nabo,
    okuyamba bazzukulu ba Lutti.

(I)Bakoleko nga bwe wakola Midiyaani,
    era nga bwe wakola Sisera ne Yabini[a] ku mugga Kisoni,
10 (J)abaazikiririra mu Endoli
    ne bafuuka ng’obusa ku ttaka.
11 (K)Abakungu baabwe bafuule nga Olebu ne Zeebu,[b]
    n’abalangira baabwe bonna bafuuke nga Zeba ne Zalumunna,
12 (L)abaagamba nti, “Ka tutwale
    amalundiro ga Katonda, tugeefunire.”

13 (M)Ayi Katonda wange, bafuumuule ng’enfuufu,
    obasaasaanye ng’ebisusunku mu mbuyaga.
14 (N)Ng’omuliro bwe gwokya ekibira;
    n’ennimi z’omuliro ne zikoleeza ensozi,
15 (O)naawe bw’otyo bw’oba obawondera n’omuyaga gwo,
    obatiise ne kibuyaga wo ow’amaanyi.
16 (P)Baswaze nnyo,
    balyoke banoonyenga erinnya lyo, Ayi Mukama.

17 (Q)Bajjule ensonyi n’okutya,
    bazikirire nga baswadde nnyo.
18 (R)Balyoke bategeere nti, Ggwe wekka, Ayi Mukama, ggw’oyitibwa YAKUWA,
    gw’obeera waggulu ennyo ng’ofuga ensi yonna.

2 Samwiri 19:31-43

31 (A)Baluzirayi Omugireyaadi naye n’aserengeta okuva e Logerimu n’agenda okusomosa kabaka, Yoludaani. 32 (B)Baluzirayi yali musajja mukadde nnyo, ng’awezezza emyaka kinaana, era yali agabiridde kabaka ebyokulya we yabeerera e Makanayimu kubanga yali musajja mugagga nnyo. 33 Awo kabaka n’agamba Baluzirayi nti, “Somoka nange, tugende ffenna e Yerusaalemi, n’akulabiriranga.”

34 Naye Baluzirayi n’addamu kabaka nti, “Nnina ennaku meka okuba omulamu, ndyoke ŋŋende ne kabaka e Yerusaalemi? 35 (C)Mpezezza emyaka kinaana, olowooza nkyayinza okwawula ekirungi n’ekibi? Olowooza nga omuddu wo akyayinza okutegeera ky’alya ne ky’anywa? Nkyayinza okuwuliriza amaloboozi g’abasajja abayimba n’abakyala abayimbi? Lwaki nzitoowerera mukama wange kabaka? 36 Omuweereza wo anasomosa busomosa kabaka, Yoludaani, naye nga siraba kiki enkimpeesa empeera eyenkana awo. 37 (D)Nkwegayiridde, kkiriza omuddu wo addeyo, nfiire mu kibuga kyange okumpi n’ebiggya bya kitange ne mmange. Naye omuddu wo Kimamu wuuyo. Leka asomoke ne mukama wange kabaka, onoomukolera byonna nga bw’onoosiima.”

38 Kabaka n’ayogera nti, “Kale Kimamu anaasomoka nange, era ndimukolera nga bw’olisiima; ne kyonna ky’onooyagala n’akikukolera.”

39 (E)Awo abantu bonna ne basomoka Yoludaani, kabaka n’asomoka nabo. Kabaka n’anywegera Baluzirayi n’amusabira omukisa, n’addayo ewuwe. 40 Kabaka n’agenda e Girugaali ne Kimamu n’agenda naye; abantu bonna aba Yuda, n’ekimu kyakubiri ku bantu ba Isirayiri ne bawerekera kabaka.

41 (F)Oluvannyuma lwe bbanga ttono, abasajja bonna aba Isirayiri ne bagenda eri kabaka, ne bagamba kabaka nti, “Lwaki baganda baffe, abasajja aba Yuda, babba kabaka, ne bamutwala ye n’ennyumba ye, ne bamusomosa Yoludaani n’abasajja be?”

42 Abasajja bonna aba Yuda ne baddamu abasajja ba Isirayiri nti, “Ekyo twakikola kubanga tuli ba musaayi gumu naye. Kiki ekibatabudde mu nsonga eyo? Tulina bye tulidde ku bya kabaka? Oba mulowooza nga tulina ebirabo bye tugabanye?”

43 (G)Awo abasajja ba Isirayiri ne baddamu abasajja ba Yuda nti, “Okusooka byonna, obwakabaka tubulinamu emigabo kkumi. N’ekyokubiri, Dawudi wa ku luganda lwaffe n’okusinga mmwe. Kale lwaki mwatunyooma? Si ffe twasooka okwogera ku ky’okukomyawo kabaka waffe?”

Naye ebigambo eby’abasajja ba Yuda ne biba bisongovu nnyo n’okusinga ebigambo eby’abasajja ba Isirayiri.

Abaggalatiya 3:10-14

10 (A)Naye abo abafugibwa ebikolwa eby’amateeka, bafugibwa kikolimo; kubanga kyawandiikibwa nti, “Buli ataagobererenga byonna ebiwandiikiddwa mu kitabo ky’amateeka, akolimiddwa.” 11 (B)Kimanyiddwa bulungi nti tewali n’omu Katonda gw’awa butuukirivu olw’okukuuma amateeka, kubanga abatuukirivu banaabeeranga balamu lwa kukkiriza, 12 (C)naye amateeka tegeesigama ku kukkiriza, naye anaagagobereranga anaabeeranga mulamu mu go. 13 (D)Kristo yatununula okuva mu kikolimo ky’amateeka, bwe yafuuka ekikolimo ku lwaffe, kubanga kyawandiikibwa nti, “Akolimiddwa buli awanikiddwa ku muti.” 14 (E)Kale kaakano amawanga gaweebwe omukisa gwa Ibulayimu, mu Kristo Yesu, tulyoke tuweebwe ekyasuubizibwa eky’Omwoyo olw’okukkiriza.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.