Revised Common Lectionary (Semicontinuous)
Ya mukulu wa Bayimbi. Ya ndere. Zabbuli ya Dawudi.
5 Otege okutu eri ebigambo byange, Ayi Mukama;
olowooze ku kunyolwa kwange.
2 (A)Wuliriza eddoboozi ly’omulanga gwange,
Ayi Kabaka wange era Katonda wange:
kubanga ggwe gwe nsaba.
3 (B)Ayi Mukama, buli nkya owulira eddoboozi lyange;
buli nkya ndeeta gy’oli okusaba kwange,
ne nnindirira onziremu.
4 (C)Kubanga ggwe Ayi Katonda, tosanyukira bibi:
n’ebitasaana tobigumiikiriza.
5 (D)Ab’amalala era abakola ebibi tobeetaaga mu maaso go:
kubanga okyawa abakola ebibi bonna.
6 (E)Abalimba bonna obazikiriza;
Mukama akyawa abatemu
era n’abalimba.
7 (F)Naye olw’ekisa kyo ekingi,
nze nnaayingiranga mu nnyumba yo:
ne nkusinziza mu Yeekaalu yo Entukuvu
n’okutya okungi.
8 (G)Onkulembere, Ayi Mukama, mu butuukirivu bwo,
olw’abalabe bange,
ondage ekkubo eggolokofu ery’okutambulirangamu.
Nnabbi Anenya Akabu
35 (A)Omu ku batabani ba bannabbi n’agamba munne nti, “Katonda alagidde onfumite n’ekyokulwanyisa kyo,” naye munne oyo n’agaana.
36 (B)Mutabani wa nnabbi n’ayogera nti, “Olw’obutagondera ddoboozi lya Mukama, bw’onooba wakava wano, empologoma eneekutta.” Awo bwe baali kyebajje baawukane, n’asanga empologoma era n’emutta.
37 Mutabani wa nnabbi n’asanga omusajja omulala, n’amugamba nti, “Nfumita, nkwegayiridde.” Omusajja n’amufumita n’amuleetako ekiwundu. 38 Awo n’agenda n’alindirira kabaka mu kkubo, ne yeebuzaabuza ng’abisse ekiremba kye ku maaso ge. 39 (C)Kabaka bwe yali ng’ayitawo, mutabani wa nnabbi n’amukoowoola ng’agamba nti, “Omuddu wo yagenze wakati mu lutalo, ne wabaawo omuserikale eyandetedde omusibe n’aŋŋamba nti, ‘Kuuma omusajja ono. Bw’anaabula ggw’onottibwa mu kifo kye, oba si kyo oteekwa okusasula kilo amakumi asatu mu nnya eza ffeeza.’ 40 Omuddu wo bwe yali ng’atawaana erudda n’erudda, laba omusajja n’abula.”
Kabaka wa Isirayiri n’amuddamu nti, “Ogwo musango gwo, era ogwesalidde.”
41 Awo mutabani wa nnabbi n’ayanguwa, okuggya ekiremba ku maaso ge, kabaka wa Isirayiri n’amutegeera nga y’omu ku bannabbi. 42 (D)N’agamba kabaka nti, “Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Otadde omusajja gwe namaliridde okutta. Noolwekyo ggw’ojja okufa mu kifo kye, n’abantu bo bafe mu kifo ky’abantu be.’ ” 43 (E)Kabaka wa Isirayiri n’alaga mu lubiri lwe e Samaliya ng’aswakidde era nga munyiivu.
Yesu Awonya Akoozimbye
17 (A)Lwali lumu Yesu yali ayigiriza abakulembeze b’Abayudaaya, n’abannyonnyozi b’amateeka nabo nga batudde awo, abaali bavudde mu buli kyalo eky’e Ggaliraaya ne Buyudaaya era n’e Yerusaalemi. Amaanyi ga Mukama gaali ku ye okuwonya. 18 Awo abasajja ne bajja nga basitudde omusajja ku katanda eyali akoozimbye. Ne bagezaako okumuyingiza okumuleeta Yesu we yali. 19 Naye bwe bataasobola kumuyingiza olw’ekibiina ekinene ne balinnya waggulu ku kasolya, ne baggyawo ku mategula ne bayisaamu omulwadde ne bamussa ng’agalamidde ku katanda ke ne baamutereereza ddala mu maaso ga Yesu.
20 (B)Awo Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n’agamba omusajja akoozimbye nti, “Omusajja, ebibi byo bikusonyiyiddwa.”
21 (C)Abafalisaayo n’abannyonnyozi b’amateeka ne beebuuzaganya nti, “Ono ye ani avvoola! Ani ayinza okusonyiwa ebibi wabula Katonda yekka?”
22 Nate Yesu bwe yamanya ebirowoozo byabwe, n’ababuuza nti, “Lwaki mulowooza bwe mutyo mu mutima gwammwe? 23 Ekyangu kye kiri wa? Okwogera nti ebibi byo bikusonyiyiddwa oba nti situka otambule? 24 (D)Naye mulyoke mutegeere nti, Omwana w’Omuntu alina obuyinza ku nsi okusonyiwa ebibi.” N’agamba eyali akozimbye nti, “Situka, ositule akatanda ko, weddireyo ewuwo.” 25 Amangwago omusajja n’asituka n’asitula akatanda kwe yali agalamidde, n’addayo ewuwe ng’agulumiza Katonda. 26 (E)Abantu bonna ne bajjula encukwe. Ne bagulumiza Katonda nga bajjudde entiisa nga boogera nti, “Tulabye ebyewuunyisa leero.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.