Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 127

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Sulemaani.

127 (A)Mukama bw’atazimba nnyumba,
    abo abagizimba bazimbira bwereere.
Mukama bw’atakuuma kibuga,
    abakuumi bateganira bwereere.
(B)Oteganira bwereere bw’okeera mu makya n’okola,
    ate n’olwawo n’okwebaka
ng’okolerera ekyokulya;
    kubanga Mukama abaagalwa be abawa otulo.

(C)Abaana aboobulenzi kya bugagga okuva eri Mukama;
    era abaana mpeera gy’agaba okuva gy’ali.
Ng’obusaale bwe bubeera mu mukono gw’omulwanyi,
    n’abaana abazaalibwa mu buvubuka bw’omuntu bwe bali bwe batyo.
(D)Alina omukisa omuntu oyo
    ajjuzza ensawo ye n’obusaale,
kubanga tebaliswazibwa;
    balyolekera abalabe baabwe mu mulyango omunene.

Omubuulizi 12:1-8

Ennaku ze Tumala ku Nsi

12 (A)Jjukiranga omutonzi wo mu nnaku ez’obuvubuka bwo,
ng’ennaku embi tezinnakutuukako
    n’emyaka nga teginnasembera,
    mw’olyogerera nti, “Sizisanyukira”;
ng’enjuba n’obutangaavu,
    omwezi n’emmunyeenye nga tebinnafuuka kizikiza;
    nga n’ebire biweddemu enkuba;
abakuumi b’enju mwe balikankanira,
    n’abasajja ab’amaanyi mwe bakutamizibwa,
nga n’abo abasa baleseeyo okusa, kubanga batono,
    n’abo abalingiza mu butuli nga tebakyalaba;
(B)nga n’enzigi ez’olekedde enguudo zigaddwawo,
    n’eddoboozi ly’okusa nga livumbedde;
ng’abasajja bagolokoka olw’eddoboozi ly’ennyonyi,
    naye nga ennyimba zaabwe zivumbedde;
(C)nga batya buli kiwanvu
    n’akabi akali mu nguudo,
ng’omubira gumulisizza,
    ng’enseenene yeewalula era nga tewakyali alimu keetaaga kino oba kiri.
Omuntu n’agenda mu nnyumba ye gy’alimala ekiseera ekiwanvu
    n’abakungubazi ne babuna enguudo.

Jjukira omutonzi wo ng’omuguwa gwa ffeeza tegunnakutuka
    oba ebbakuli eya zaabu nga tennayatika,
ng’ensuwa tennayatikira ku luzzi
    obanga ne nnamuziga tennamenyekera ku luzzi,
(D)ng’enfuufu edda mu ttaka mwe yava,
    n’omwoyo ne gudda eri Katonda eyaguwa omuntu.

(E)Obutaliimu! Obutaliimu! Omubuulizi bw’agamba,
    “Buli kintu butaliimu.”

Omubuulizi 12:13-14

13 (A)Kale byonna biwuliddwa;
    eno y’enkomerero yaabyo:
Tyanga Katonda okwatenga amateeka ge,
    kubanga ekyo omuntu ky’agwanira okukola.
14 (B)Kubanga Katonda alisala omusango olwa buli kikolwa;
    ekyo ekyakwekebwa,
    nga kirungi oba nga kibi.

Lukka 12:22-31

Temweraliikiriranga

22 Awo Yesu n’agamba abayigirizwa be nti, “Noolwekyo mbagamba nti, Temweraliikiriranga bya bulamu bwammwe oba mmere gye munaalya oba engoye ez’okwambala. 23 Kubanga omwoyo gusinga wala emmere n’omubiri gusinga ebyambalo. 24 (A)Mulowooze ku namuŋŋoona, tezisiga so tezikungula, era tezirina na mawanika mwe zitereka mmere yaazo, naye Katonda aziriisa. Naye mmwe muli ba muwendo nnyo okukira ennyonyi ezo! 25 Ani ku mmwe bwe yeeraliikirira, ayinza okwongerayo obulamu bwe akatundu n’akamu? 26 Obanga temusobola kukola kantu katono ng’ako, kale kikugasa ki okweraliikirira ebintu ebirala?

27 (B)“Mutunuulire amalanga bwe gakula! Tegategana wadde okulanga ewuzi z’engoye, naye mbategeeza nti ne Sulemaani mu kitiibwa kye kyonna teyagenkana mu kwambala. 28 (C)Kale, obanga Katonda ayambaza bw’atyo omuddo ogw’omu nsiko, ogw’ekiseera obuseera ogubaawo leero ate enkeera ne gwokebwa mu kyoto, naye ate talisingawo nnyo okwambaza mmwe ab’okukkiriza okutono! 29 Temunoonyanga kye munaalya oba kye munaanywa, era temweraliikiriranga n’akatono. 30 (D)Kubanga ebintu ebyo byonna amawanga ge biyaayaanira, naye Kitammwe amanyi nga mubyetaaga. 31 (E)Naye munoonye obwakabaka bwe, n’ebintu ebyo mulibyongerwako.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.