Revised Common Lectionary (Complementary)
Endagaano ya Katonda ne Dawudi.
89 (A)Nnaayimbanga ku kwagala kwo okungi, Ayi Mukama, emirembe gyonna.
Nnaatenderezanga obwesigwa bwo n’akamwa kange, bumanyibwe ab’emirembe gyonna.
2 (B)Ddala ddala nnaategeezanga nti okwagala kwo tekuggwaawo ennaku zonna;
n’obwesigwa bwo bunywevu ng’eggulu.
3 Nakola endagaano n’omulonde wange;
nalayirira omuweereza wange Dawudi nti,
4 (C)“Ezadde lyo nnaalinywezanga ennaku zonna,
era entebe yo ey’obwakabaka nnaaginywezanga emirembe gyonna.”
5 (D)Eggulu linaatenderezanga ebyamagero byo n’obwesigwa bwo,
Ayi Mukama, mu kibiina ky’abatukuvu bo.
6 (E)Kale, mu ggulu waggulu, ani ageraageranyizika ne Mukama?
Ani afaanana nga Mukama, mu abo ababeera mu ggulu?
7 (F)Katonda atiibwa nnyo mu lukiiko olw’abatukuvu;
era wa ntiisa okusinga bonna abamwetooloola.
8 (G)Ayi Mukama Katonda ow’Eggye, ani akufaanana?
Oli wa buyinza, Ayi Mukama, ojjudde obwesigwa.
9 (H)Ggwe ofuga amalala g’ennyanja;
amayengo gaayo bwe geekuluumulula ogakkakkanya.
10 (I)Lakabu wamubetentera ddala;
abalabe bo n’obasaasaanya n’omukono gwo ogw’amaanyi.
11 (J)Eggulu liryo, n’ensi yiyo;
ensi yonna gwe wagitonda ne byonna ebigirimu.
12 (K)Watonda obukiikakkono n’obukiikaddyo;
ensozi Taboli ne Kerumooni zitendereza erinnya lyo.
13 Oli wa buyinza bungi nnyo; omukono gwo gwa maanyi,
omukono gwo ogwa ddyo gunaagulumizibwanga.
14 (L)Obutuukirivu n’obwenkanya gwe musingi gw’obwakabaka bwo.
Okwagala n’obwesigwa bye binaakukulemberanga.
15 (M)Balina omukisa abantu abamanyi okukutendereza Mukama n’amaloboozi ag’essanyu;
Ayi Mukama, banaatambuliranga mu ssanyu lyo.
16 (N)Banaasanyukiranga mu linnya lyo okuzibya obudde,
n’obutuukirivu bwo banaabugulumizanga.
17 (O)Kubanga gw’obawa amaanyi ne bafuna ekitiibwa.
Olw’okwagala kwo otutuusa ku buwanguzi olw’ekisa kyo.
18 (P)Ddala ddala, Mukama ye ngabo yaffe,
Omutukuvu wa Isirayiri kabaka waffe.
14 (A)“ ‘Ennaku zijja,’ bw’ayogera Mukama, ‘lwe ndituukiriza ekisuubizo eky’ekisa kye nakolera ennyumba ya Isirayiri n’ennyumba ya Yuda.
15 (B)“ ‘Mu nnaku ezo era mu kiseera ekyo
ndireeta Ettabi ettukuvu mu lunyiriri lwa Dawudi
era alikola eby’amazima era ebituufu mu nsi.
16 (C)Mu nnaku ezo Yuda alirokolebwa
ne Yerusaalemi alibeera mirembe.
Lino lye linnya ly’aliyitibwa nti,
Mukama Obutuukirivu bwaffe.’ ”
17 (D)Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Dawudi talirema kubeera na muntu kutuula ku ntebe ey’obwakabaka bw’ennyumba ya Isirayiri, 18 (E)wadde bakabona, n’Abaleevi, okulemwa okubeera n’omusajja ow’okuyimirira mu maaso gange ebbanga lyonna okuwaayo ssaddaaka ezokebwa, okwokya ekiweebwayo eky’empeke era n’okuwaayo ssaddaaka.”
19 Ekigambo kya Mukama kyajjira Yeremiya nti, 20 (F)“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Bw’oba osobola okumenya endagaano yange n’emisana era n’endagaano yange n’ekiro, ne kiba nti emisana n’ekiro tebijja mu biseera byabyo ebyateekebwawo, 21 (G)olwo endagaano yange ne Dawudi omuddu wange, n’endagaano yange n’Abaleevi, ne bakabona, n’abaweereza bange eyinza okumenyebwa, Dawudi aleme kuddayo kuba na muntu wa mu nju ye okufuga ku ntebe ye ey’obwakabaka. 22 (H)Ndifuula ab’enju ya Dawudi omuddu wange n’Abaleevi abaweereza mu maaso gange okwala ng’emmunyeenye ez’oku ggulu ezitabalika era abatabalika ng’omusenyu gw’okulubalama lw’ennyanja ogutapimika.’ ”
23 Ekigambo kya Mukama ne kijjira Yeremiya nti, 24 (I)Tonategeera nti abantu bano bagamba nti, “Mukama agaanye obwakabaka obubiri bwe yalonda? Kale banyooma abantu bange era tebakyababala ng’eggwanga. 25 (J)Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Bwe mba nga sassaawo ndagaano yange n’emisana n’ekiro n’amateeka ag’enkalakkalira ag’eggulu n’ensi, 26 (K)olwo nzija kwegaana ezzadde lya Yakobo ne Dawudi omuddu wange era sirironda n’omu ku batabani be okufuga ezzadde lya Ibulayimu, ne Isaaka ne Yakobo. Kubanga ndizzaawo nate emikisa gyabwe, era ne mbakwatirwa ekisa.’ ”
41 Awo Peetero n’amubuuza nti, “Mukama waffe, olugero luno olugeredde ffe, oba bonna?”
42 (A)Mukama waffe n’addamu nti, “Omuweereza oyo omwesigwa era ow’amagezi ye aluwa mukama we gw’alikwasa obuvunaanyizibwa obw’okulabirira abaweereza be n’okugaba emmere mu kiseera ekituufu? 43 Alina omukisa mukama we bw’alikomawo gw’alisanga ng’atuukiriza bulungi emirimu gye. 44 Ddala ddala mbagamba nti mukama we alimukwasa okulabirira ebintu bye byonna. 45 Naye singa omuddu oyo alowooza mu mutima gwe nti, ‘Mukama wange ajja kulwawo okudda,’ n’adda ku baweereza banne, n’abakuba, n’ebiseera bye n’abimala mu kulya ne mu kunywa ne mu kutamiira, 46 (B)mukama we agenda kudda mu kiseera ky’atamusuubira, amubonereze, era amusuule eyo abatakkiriza gye bali.
47 (C)“Omuweereza oyo eyamanya mukama we by’ayagala akole, kyokka ye n’atabikola agenda kuweebwa ekibonerezo kinene. 48 (D)Naye ataamanya n’akola ebisaanidde okumukubya alikubwa kitono. Oyo aweebwa ebingi alisuubirwamu bingi, n’oyo gwe basigira ebingi, alivunaanyizibwa bingi okusingawo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.