Revised Common Lectionary (Complementary)
Endagaano ya Katonda ne Dawudi.
89 (A)Nnaayimbanga ku kwagala kwo okungi, Ayi Mukama, emirembe gyonna.
Nnaatenderezanga obwesigwa bwo n’akamwa kange, bumanyibwe ab’emirembe gyonna.
2 (B)Ddala ddala nnaategeezanga nti okwagala kwo tekuggwaawo ennaku zonna;
n’obwesigwa bwo bunywevu ng’eggulu.
3 Nakola endagaano n’omulonde wange;
nalayirira omuweereza wange Dawudi nti,
4 (C)“Ezadde lyo nnaalinywezanga ennaku zonna,
era entebe yo ey’obwakabaka nnaaginywezanga emirembe gyonna.”
5 (D)Eggulu linaatenderezanga ebyamagero byo n’obwesigwa bwo,
Ayi Mukama, mu kibiina ky’abatukuvu bo.
6 (E)Kale, mu ggulu waggulu, ani ageraageranyizika ne Mukama?
Ani afaanana nga Mukama, mu abo ababeera mu ggulu?
7 (F)Katonda atiibwa nnyo mu lukiiko olw’abatukuvu;
era wa ntiisa okusinga bonna abamwetooloola.
8 (G)Ayi Mukama Katonda ow’Eggye, ani akufaanana?
Oli wa buyinza, Ayi Mukama, ojjudde obwesigwa.
9 (H)Ggwe ofuga amalala g’ennyanja;
amayengo gaayo bwe geekuluumulula ogakkakkanya.
10 (I)Lakabu wamubetentera ddala;
abalabe bo n’obasaasaanya n’omukono gwo ogw’amaanyi.
11 (J)Eggulu liryo, n’ensi yiyo;
ensi yonna gwe wagitonda ne byonna ebigirimu.
12 (K)Watonda obukiikakkono n’obukiikaddyo;
ensozi Taboli ne Kerumooni zitendereza erinnya lyo.
13 Oli wa buyinza bungi nnyo; omukono gwo gwa maanyi,
omukono gwo ogwa ddyo gunaagulumizibwanga.
14 (L)Obutuukirivu n’obwenkanya gwe musingi gw’obwakabaka bwo.
Okwagala n’obwesigwa bye binaakukulemberanga.
15 (M)Balina omukisa abantu abamanyi okukutendereza Mukama n’amaloboozi ag’essanyu;
Ayi Mukama, banaatambuliranga mu ssanyu lyo.
16 (N)Banaasanyukiranga mu linnya lyo okuzibya obudde,
n’obutuukirivu bwo banaabugulumizanga.
17 (O)Kubanga gw’obawa amaanyi ne bafuna ekitiibwa.
Olw’okwagala kwo otutuusa ku buwanguzi olw’ekisa kyo.
18 (P)Ddala ddala, Mukama ye ngabo yaffe,
Omutukuvu wa Isirayiri kabaka waffe.
Manase Kabaka wa Yuda
33 (A)Manase yalya obwakabaka nga wa myaka kkumi n’ebiri, n’afugira emyaka amakumi ataano mu etaano mu Yerusaalemi. 2 (B)N’akola ebitaali bya butuukirivu mu maaso ga Mukama, ng’agoberera ebikolwa eby’ekivve eby’amawanga Mukama ge yagoba mu maaso g’Abayisirayiri. 3 (C)N’addaabiriza ebifo ebigulumivu kitaawe Keezeekiya bye yali amenyeemenye, n’azimbira ne Baali ebyoto, n’akola ne Baasera, n’asinza era n’aweereza n’eggye lyonna ery’oku ggulu. 4 (D)N’azimba ebyoto mu yeekaalu ya Mukama, Mukama gye yayogerako nti, “Mu Yerusaalemi erinnya lyange mwe linaabeeranga emirembe gyonna.” 5 (E)N’azimba ebyoto eby’okusinzizangako eggye lyonna ery’oku ggulu, mu mpya zombi eza yeekaalu ya Mukama. 6 (F)N’awaayo abaana be ng’ekiweebwayo, n’abookera mu kiwonvu ekya mutabani wa Kinomu, n’akola eby’obufumu, n’alagulira mu bire, n’akola eby’obulogo, n’agendanga n’eri abaliko emizimu ne ddayimooni. N’akola ebitaali bya butuukirivu bingi mu maaso ga Mukama, n’asunguwaza nnyo Mukama.
7 (G)N’addira ekifaananyi ekyole kye yakola, n’akiteeka mu yeekaalu ya Katonda, Katonda gye yayogerako eri Dawudi ne Sulemaani mutabani we nti, “Mu yeekaalu eno ne mu Yerusaalemi muno, bye nalonda mu bika byonna ebya Isirayiri, mwe munaabeeranga Erinnya lyange emirembe gyonna. 8 (H)Sijjululenga nate kigere kya Isirayiri okuva mu nsi gye nawa bajjajjammwe, bwe baneekuumanga okukola bye mbalagidde, nga bagoberera amateeka gonna, n’ebiragiro, n’obulombolombo bye nnawa Musa.” 9 (I)Naye Manase n’asendasenda Yuda n’abantu b’e Yerusaalemi okukola ebitaali bya butuukirivu okusinga amawanga Mukama ge yazikiririza mu maaso g’Abayisirayiri.
10 Mukama n’ayogera ne Manase n’abantu be, kyokka ne batassaayo mwoyo. 11 (J)Mukama kyeyava abasindikira abaduumizi b’eggye lya kabaka w’e Bwasuli, ne basiba Manase mu njegere ne mu masamba, ne bateeka eddobo mu nnyindo ye, ne bamutwala e Babulooni nga musibe. 12 (K)Ng’ali eyo mu nnaku ye, ne yeegayirira Mukama Katonda we, ne yeetoowaza nnyo mu maaso ga Katonda wa bajjajjaabe. 13 N’amusaba, Mukama n’awulira okwegayirira kwe, n’amukomyawo e Yerusaalemi n’eri obwakabaka bwe. Awo Manase n’ategeera nga Mukama ye Katonda.
14 (L)Oluvannyuma lw’ebyo n’addaabiriza bbugwe ow’ebweru ow’ekibuga kya Dawudi, ku luuyi olw’ebugwanjuba olwa Gikoni, mu kiwonvu, okutuuka awayingirirwa mu Mulyango ogw’Ebyennyanja, n’okwetooloola olusozi lwa Oferi, n’okumuzimba n’amuzimba ng’asingako bbugwe eyaliwo obuwanvu. N’ateeka n’abaduumizi b’eggye mu bibuga byonna ebiriko bbugwe mu Yuda. 15 (M)N’aggyamu bakatonda abamawanga n’ekifaananyi ekyole mu yeekaalu ya Mukama, n’ebyoto byonna bye yazimba ku kasozi ka yeekaalu ne mu Yerusaalemi, n’abisuula ebweru w’ekibuga. 16 (N)N’addaabiriza ekyoto kya Mukama, n’aweerayo ssaddaaka ez’ebiweebwayo olw’emirembe n’ez’okwebaza, n’alagira Yuda okuweerezanga Mukama Katonda wa Isirayiri. 17 Wabula abantu bo, ne beeyongera okuweerangayo ssaddaaka ku bifo ebigulumivu, nga baziwaayo eri Mukama Katonda waabwe.
Okukkiriza
11 (A)Okukkiriza kwe kukakasa ebyo bye tusuubira, bwe butabaamu kakunkuna newaakubadde nga tebirabika. 2 (B)Okukkiriza kwe kwaleetera abantu ab’edda abakulu okusiimibwa Katonda.
3 (C)Olw’okukkiriza tumanyi ng’ensi yatondebwa na kigambo kya Katonda, ebirabika kyebyava bikolebwa nga biggibwa mu bitalabika. 4 (D)Olw’okukkiriza Aberi yawaayo Ssaddaaka esinga obulungi eri Katonda okusinga eya Kayini gye yawaayo, era ne kimubalirwa okuba obutuukirivu, Katonda ng’amuweerwa obujulirwa olw’ebirabo bye, era newaakubadde nga Aberi yafa, akyayogera.
5 (E)Olw’okukkiriza Enoka yatwalibwa nga taleze ku kufa, n’atalabika kubanga Katonda yamutwala. Bwe yali tannamutwala, yayogera nga Enoka bwe yamusanyusa. 6 (F)Naye awatali kukkiriza toyinza kusanyusa Katonda. Buli ajja eri Katonda kimugwanira okukkiriza nti Katonda waali era n’abo abamunoonya n’obwesigwa abawa empeera.
7 (G)Nuuwa bwe yalabulwa ku bintu bye yali tannalaba, n’atya, era mu kukkiriza n’azimba eryato olw’okulokola ennyumba ye. Bw’atyo n’asalira ensi omusango, ate n’afuuka omusika w’obutuukirivu obuli mu kukkiriza.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.