Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Revised Common Lectionary (Complementary)

Daily Bible readings that follow the church liturgical year, with thematically matched Old and New Testament readings.
Duration: 1245 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 127

Oluyimba nga balinnya amadaala. Lwa Sulemaani.

127 (A)Mukama bw’atazimba nnyumba,
    abo abagizimba bazimbira bwereere.
Mukama bw’atakuuma kibuga,
    abakuumi bateganira bwereere.
(B)Oteganira bwereere bw’okeera mu makya n’okola,
    ate n’olwawo n’okwebaka
ng’okolerera ekyokulya;
    kubanga Mukama abaagalwa be abawa otulo.

(C)Abaana aboobulenzi kya bugagga okuva eri Mukama;
    era abaana mpeera gy’agaba okuva gy’ali.
Ng’obusaale bwe bubeera mu mukono gw’omulwanyi,
    n’abaana abazaalibwa mu buvubuka bw’omuntu bwe bali bwe batyo.
(D)Alina omukisa omuntu oyo
    ajjuzza ensawo ye n’obusaale,
kubanga tebaliswazibwa;
    balyolekera abalabe baabwe mu mulyango omunene.

Omubuulizi 3:16-4:8

16 Ate era nalaba nga wansi w’enjuba,

mu kifo ky’okusala amazima waliwo kusaliriza;
    ne mu kifo ky’obutuukirivu waliwo bwonoonyi.

17 (A)Ne njogera munda yange nti,

“Katonda aliramula
    abatuukirivu n’aboonoonyi;
kubanga yateekawo ekiseera ekya buli kimu;
    era na buli mulimu.”

18 (B)Ne ndowooza nti, “Katonda agezesa abaana b’abantu era bajjukire nti nsolo busolo. 19 (C)Kubanga ekituuka ku baana b’abantu kye kituuka ne ku nsolo; omuntu afa, n’ensolo n’efa. Bonna bassa omukka gwe gumu; omuntu talina nkizo ku nsolo. Byonna butaliimu. 20 (D)Bonna bagenda mu kifo kye kimu, bonna bava mu nfuufu era mu nfuufu mwe badda. 21 (E)Ani amanyi obanga omwoyo gw’omuntu gwambuka waggulu, ogw’ensolo gwo ne gukka mu ttaka?”

22 (F)Bwe ntyo nalaba nga tewali kisinga muntu kusanyukira mulimu gwe, kubanga ekyo gwe mugabo gwe. Anti tewali asobola kumukomyawo alabe ebyo ebiribaawo oluvannyuma lwe.

Amaziga g’Abanyigirizibwa

(G)Ate nalaba okunnyigirizibwa kwonna okukolebwa wansi w’enjuba.

Ate laba, amaziga gaabo abanyigirizibwa,
    era nga tebalina wakugabasangulako!
Ababanyigiriza baalina obuyinza,
    kyokka nga tewali asobola kubagambako.
(H)Ne ndowooza ku abo abaafa,
nga baali ba mukisa okusinga
    abo abakyali abalamu;
(I)naye abasinga abo,
    y’oyo atannaba kuzaalibwa,
atannalaba bibi
    obukolebwa wansi w’enjuba.

(J)Awo ne ndaba ng’okutegana, n’okutuukiriza mu bikolebwa, kuva mu kukwatirwa obuggya muliraanwa. Na kino butaliimu na kugoberera mpewo.

(K)Omusirusiru awumba emikono gye,
    ne yeezikiriza yekka.
(L)Kirungi okuba n’emirembe emijjuvu
    okusinga okujjula okubonaabona
    n’okugoberera empewo.

Ate era ne ndaba obutaliimu wansi w’enjuba:

(M)nalaba omuntu ng’ali bwannamunigina,
    nga talina mwana wabulenzi wadde muganda we, naye ng’ategana okukamala, nga tamatira na bugagga bwe,
    ne yeebuuza nti, “Nteganira ani
    ne neefiiriza essanyu?
Kino nakyo butaliimu,
    era tekiriiko kye kigasa.”

Abakkolosaayi 4:2-6

(A)Munyiikirirenga mu kusaba, nga temuddirira, wabula nga mwebazanga (B)nga mwenna awamu mutusabira Katonda atuggulirewo oluggi okubuulira Enjiri, n’okutegeeza ekyama kya Kristo, kye nasibirwa. Ndyoke njolesenga ekyama ekyo nga bwe kiŋŋwanidde okukyogerako. (C)Abo abatannakkiriza mutambulenga nabo n’amagezi, nga mukozesa bulungi ebiseera bye mulina. (D)Enjogera yammwe ebeerenga ya kisa, era ng’enoga omunnyo, mulyoke mumanye eky’okwanukulanga buli muntu yenna.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.