Old/New Testament
Mukama Ayogera
38 (A)Mukama n’addamu Yobu ng’ayita mu muyaga, n’ayogera nti,
2 (B)“Ani ono aleeta ekizikiza ku kuteesa kwange,
n’ebigambo ebitaliimu magezi?
3 (C)Yambala ebyambalo byo ng’omusajja,
mbeeko bye nkubuuza
naawe onziremu.
4 (D)“Wali ludda wa nga nteekawo emisingi gy’ensi?
Mbuulira bw’oba otegeera.
5 (E)Ani eyasalawo ebipimo byayo? Ddala oteekwa okuba ng’omanyi!
Oba ani eyagipima n’olukoba?
6 (F)Entobo zaayo zaateekebwa ku ki?
7 Emunyeenye ez’oku makya bwe zaali ziyimba,
era n’abaana ba Katonda bonna nga baleekaana olw’essanyu,
8 (G)ani eyasiba enzigi n’aggalira ennyanja,
bwe yava mu lubuto lwayo?
9 “Bwe nakolera ebire ekyambalo kyabyo,
ne mbisibira mu kizikiza ekikwafu,
10 (H)bwe n’abiteekerawo we bikoma
ne mbiteerako emitayimbwa n’enzigi,
11 (I)bwe nagamba nti, Wano we mutuuse we munaakoma temujja kweyongerayo,
era wano amayengo gammwe ag’amalala we ganaakoma?
12 “Oba wali olagidde ku budde okukya kasookedde obaawo ku nsi,
oba emmambya okugiraga ekifo kyayo,
13 (J)eryoke ekwate ensi w’ekoma
eginyeenye esuule eri ababi bagiveeko bagwe eri?
14 Ensi eggyayo ebyafaayo byayo n’eba ng’ebbumba wansi w’akabonero,
ebyafaayo ebyo ne byefaananyiriza olugoye.
15 (K)Abakozi b’ebibi bammibwa ekitangaala kyabwe,
n’omukono gwabwe gwe bayimusa gumenyebwa.
16 (L)“Wali otuuseeko ku nsulo ennyanja w’esibuka,
oba n’olaga mu buziba bw’ennyanja?
17 (M)Wali obikuliddwa enzigi z’emagombe?
Oba wali olabye enzigi z’ekisiikirize ky’okufa?
18 (N)Wali otegedde obugazi bw’ensi?
Byogere, oba bino byonna obimanyi.
19 “Ekkubo eridda mu nnyumba omusana gye gusula liri ludda wa?
N’ekifo ekizikiza gye kisula kye kiruwa?
20 (O)Ddala, osobola okubitwala gye bibeera?
Omanyi ekkubo erigenda gye bisula?
21 (P)Ddala oteekwa okuba ng’obimanyi,
kubanga wali wazaalibwa dda!
22 (Q)“Wali oyingidde amazzi agakwata mu butiti, gye gaterekebwa,
oba wali olabye omuzira gye guterekebwa?
23 (R)Bye nterekera ebiseera eby’emitawaana,
bikozesebwe mu nnaku ez’entalo n’okulwana?
24 Kkubo ki erituusa ekitangaala ky’omusana gye kisaasaanira,
oba empewo ey’ebuvanjuba gy’esaasaanira ku nsi?
25 (S)Ani akubira amataba emikutu mwe ganaayita,
oba ekkubo eggulu eribwatuka mwe liyita?
26 (T)Ani atonnyesa enkuba mu nsi abantu mwe batabeera,
eddungu omutali muntu yenna,
27 (U)n’okufukirira ettaka eryalekebwa awo, eryazika,
n’okulimezaako omuddo?
28 (V)Enkuba erina kitaawe waayo?
Ani azaala amatondo ag’omusulo?
29 (W)Omuzira guva mu lubuto lw’ani?
Ani azaala obutiti obukwafu obw’omu ggulu,
30 (X)amazzi mwe gakwatira ne gakaluba ng’amayinja,
ne kungulu kw’obuziba ne kukwata?
31 (Y)“Oyinza okuziyiza okwakaayakana kwa Kakaaga,
oba okutaggulula enkoba za Ntungalugoye?
32 Oyinza okufulumya emunyeenye ziveeyo zaake ng’ekiseera kyazo kituuse,
oba okuluŋŋamya eddubu n’abaana balyo?
33 (Z)Omanyi amateeka n’obufuzi bw’eggulu?
Oyinza okuteekawo obufuzi bw’alyo oba obwa Katonda ku nsi?
34 (AA)“Oyinza okuyimusa eddoboozi lyo oleekaanire ebire,
olyoke obiggyemu amataba gakubikke?
35 (AB)Ggwe otuma eggulu limyanse era libwatuke?
Lisobola okukweyanjulira nti, ‘Tuutuno tuli wano’?
36 (AC)Ani eyateeka amagezi mu mutima gw’omuntu,
oba eyateeka okutegeera mu mmeeme?
37 Ani alina amagezi agabala ebire?
Ani ayinza okuwunzika ebibya by’amazzi eby’omu ggulu,
38 enfuufu ng’efuuse ettaka ekkalu,
era amafunfugu ne geegattira ddala?
39 (AD)“Empologoma enkazi, oyinza okugiyiggira ky’eneerya,
oba okuliisa empologoma n’ozimalako enjala,
40 (AE)bwe zeezinga mu mpuku zaazo,
oba bwe zigalamira nga ziteeze mu bisaka?
41 (AF)Ani awa namuŋŋoona emmere,
abaana baayo bwe bakaabirira Katonda,
nga batambulatambula nga babuliddwa emmere?”
39 (AG)“Omanyi ebiro embuzi z’oku nsozi mwe zizaalira?
Oba oyinza okumanya empeewo we ziwakira?
2 Oyinza okubala emyezi gye zimala zizaale?
Omanyi obudde mwe zizaalira?
3 Zikutama ne zizaala abaana baazo,
ne ziwona obulumi bw’okuzaala.
4 Abaana baazo bakula ne bagejjera ku ttale,
batambula ne bagenda obutadda.
5 (AH)“Ani eyaleka entulege okwetambulira mu ddembe lyayo?
Ani eyasumulula emiguwa gyayo,
6 (AI)gye nawa ensi ey’omuddo okuba amaka gaayo,
n’ensi ey’omunnyo okubeerangamu?
7 (AJ)Esekerera oluyoogaano lw’ekibuga,
tewuliriza kulekaana kw’abavuzi ba bidduka.
8 Ebuna ensozi, ly’eddundiro lyayo,
ng’enoonya ekintu kyonna ekibisi.
9 (AK)“Embogo eyinza okukkiriza okuba omuweereza wo,
n’esula ekiro mu kisibo kyo?
10 Oyinza okugisiba ku muguwa n’ogirimisa olubimbi?
Eyinza okukuvaako emabega ng’erima mu kiwonvu.
11 Oyinza okugyesiga olw’amaanyi gaayo amangi?
Oyinza okugirekera emirimu gyo egy’amaanyi?
12 Oyinza okugyesiga okukuleetera emmere yo ey’empeke,
oba okukuleetera eŋŋaano mu gguuliro lyo?
13 “Ebiwaawaatiro bya maaya bisanyusa nga byewujja,
naye ebiwaawaatiro n’ebyoya bya kalooli tebiraga kisa.
14 Kubanga emaaya ebiika amagi gaayo ku ttaka,
n’egaleka ne gabugumira mu musenyu,
15 ne yeerabira nti, ekigere kisobola okugaasa,
era nga ensolo ey’omu nsiko eyinza okugalinnya.
16 (AL)Obwana bwayo ebuyisa bubi ng’obutali bwayo
gy’obeera nti, yazaalira bwereere.
17 (AM)Kubanga Katonda teyagiwa magezi
wadde okutegeera.
18 Ate bw’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo edduke
esoomooza embalaasi n’omugoba waayo.
19 “Embalaasi ggwe ogiwa amaanyi,
oba ggwe oyambaza ensingo yaayo obwoya obwewumba?
20 (AN)Ggwe ogisobozesa okubuuka ng’enzige
n’ekanga n’okukaaba kwayo okw’entiisa?
21 (AO)Etakula ettaka mu kiwonvu, nga yeeyagala olw’amaanyi gaayo,
n’eryoka efuluma okusisinkana abalwanyi abakutte ebyokulwanyisa.
22 Esekerera okutya, n’eteba na kigitiisa.
Ekitala tekigitiisa kugizza mabega.
23 Omufuko ogujjudde obusaale gwesuukundira ku lubuto lwayo,
awamu n’effumu erimasamasa, n’akasaale.
24 (AP)Mu busungu obungi emira ettaka,
tesobola kusigala mu kifo kimu ng’ekkondeere livuze.
25 (AQ)Ekkondeere bwe livuga n’egamba nti, ‘Awo!’
N’ewunyiriza olutalo olukyali ewala,
n’ewulira n’okuleekaana kwa baduumizi b’amaggye.
26 “Amagezi go ge gabuusa kamunye,
n’ayanjuluza ebiwaawaatiro bye e bukiikaddyo?
27 (AR)Ggwe olagira empungu okubuukira ewala mu bbanga,
era n’ezimba n’ekisu kyayo waggulu ennyo?
28 Ku lwazi kw’ezimba amaka gaayo ekiro n’esula okwo,
ku lwazi olunywevu olutabetentebwa.
29 (AS)Eyo gy’ekettera omuyiggo gw’eneerya,
eriiso lyayo ligulengerera wala.
30 (AT)Obwana bwayo bunywa omusaayi,
era awali emirambo w’ebeera.”
40 (AU)Awo Mukama n’agamba Yobu nti,
2 “Oyo anoonya okuyombera ebitaliimu anaayombesa Ayinzabyonna?
Oyo aleeta empaka ku Katonda, amuddemu.”
3 Awo Yobu n’addamu Mukama nti,
4 (AV)“Laba, sisaanidde, kiki kye nnaakuddamu?
Emimwa kangibikkeko n’engalo.
5 (AW)Njogedde omulundi gumu, so siddemu;
weewaawo emirundi ebiri sseeyongere mulundi mulala.”
6 (AX)Awo Mukama ng’ali mu muyaga ogw’amaanyi n’addamu Yobu nti,
7 (AY)“Weesibe engoye zo onywere ng’omusajja.
Ka nkubuuze,
naawe onziremu.
8 (AZ)“Onojjulula ensala yange ey’emisango;
ononsingisa omusango ggwe atuukiridde?
9 (BA)Olina omukono ng’ogwa Katonda,
eddoboozi lyo lisobola okubwatuka ng’erirye?
10 (BB)Kale nno yambala ekitiibwa n’obukulu
weesibe ekitiibwa n’okusukkuluma osukkulume.
11 (BC)Yolesa obusungu bw’ekiruyi kyo
otunuulire buli wa malala omusse wansi.
12 (BD)Tunuulira buli musajja ow’amalala omukkakkanye
era olinnyirire abakozi b’ebibi obabetentere we bali.
13 Bonna baziikire wamu mu nfuufu,
emitwe gyabwe ogibikkire mu ntaana.
14 (BE)Nange kennyini ndyoke nzikirize,
ng’omukono gwo ogwa ddyo, gusobola okukuwa amaanyi.”
Amaanyi g’envubu
15 “Laba ekisolo ekyefaananyiriza ng’envubu
kye natonda nga ggwe,
erya omuddo ng’ente,
16 nga kirina amaanyi mayitirivu mu kiwato kyakyo
amaanyi mangi mu binywa by’olubuto lwakyo.
17 Kiwuuba omukira gwakyo ne guba ng’omukira gw’omuvule
Ebinywa by’ebisambi byakyo byakwatagana nnyo.
18 Amagumba gaakyo gali ng’enseke ez’ebikomo;
amagulu n’emikono ng’emitayimbwa.
19 (BF)Kibalibwa mu bitonde bya Katonda ebisooka,
ate nga Katonda eyakitonda asobola okukisemberera n’ekitala kye.
20 (BG)Weewaawo ensozi zikireetera emmere,
eyo ku nsozi, ensolo ez’omu nsiko zonna gye zizannyira.
21 Wansi w’ebisiikirize by’emiti egy’amaggwa, we kyebaka,
ne kyekweka mu bitoogo ne mu bitosi.
22 (BH)Ebisiikirize by’emiti bikibikkako,
emiti egiri ku mabbali g’omugga ne gikibikkako.
23 Laba omugga ne bwe gusiikuuka tekyekanga;
kiba kinywevu, Yoludaani ne bwajjula n’abooga.
24 (BI)Eriyo omuntu yenna ayinza okukikwata,
oba okuyuza ennyindo yaakyo n’akasaale?”
Timoseewo Yeegatta ku Pawulo ne Siira
16 (A)Awo Pawulo n’asookera e Derube n’oluvannyuma n’alaga e Lusitula. Eyo waaliyo omuyigirizwa erinnya lye Timoseewo. Nnyina yali Muyudaaya omukkiriza, nga kitaawe Muyonaani, 2 (B)abooluganda mu Lusitula ne mu Ikoniya nga bamwogerako birungi byereere. 3 (C)Pawulo n’ayagala Timoseewo agende nabo mu lugendo lwabwe. Bw’atyo n’amala okumukomola, kubanga Abayudaaya bonna mu kitundu ekyo baali bamanyi kitaawe wa Timoseewo nga bw’ali Omuyonaani. 4 (D)Awo bwe baali nga bayita mu bibuga ne babategeeza okukwatanga ebiragiro ebyasalibwawo abatume n’abakadde b’Ekkanisa mu Yerusaalemi ebikwata ku baamawanga. 5 (E)Ekkanisa ne yeeyongeranga amaanyi mu kukkiriza era n’abantu ne beeyongera obungi buli lunaku.
Okwolesebwa kwa Pawulo
6 (F)Pawulo ne banne ne batambula ne bayita mu nsi y’e Fulugiya n’e Ggalatiya kubanga Mwoyo Mutukuvu yali abaziyizza okugenda mu Asiya okubuulirayo Ekigambo. 7 (G)Bwe baatuuka e Musiya ne bagezaako okugenda Bisuniya, naye Mwoyo wa Yesu n’atabakkiriza. 8 (H)Kyebaava bayita obuyisi mu kitundu kya Musiya ne baserengeta e Tulowa. 9 (I)Ekiro ekyo Pawulo n’afuna okwolesebwa, omusajja Omumakedoni ng’ayimiridde mu maaso ge ng’amwegayirira nti, “Jjangu ewaffe e Makedoniya otuyambe.” 10 (J)Pawulo bwe yafuna okwolesebwa okwo ne yeetegeka mangu okulaga e Makedoniya, kubanga yakitegeera nga Katonda atutumye okubabuulira Enjiri.
Okukyuka kwa Ludiya mu Firipi
11 (K)Awo ne tusaabala ku nnyanja e Tulowa, ne tuwunguka okutuuka e Samoserakiya, enkeera ne tulaga e Neyapoli, 12 n’oluvannyuma ne tutuuka e Firipi, ettwale ly’Abaruumi, era nga ky’ekibuga ekikulu mu kitundu ekyo ekya Makedoniya. Ne tumalawo ennaku ntonotono.
13 (L)Ku Ssabbiiti ne tufuluma mu kibuga okulaga ku mugga ogwali okumpi n’ekibuga gye baali batutegeezezza nti waliwo abakuŋŋaanirayo okusabirayo. Ne tutuula wamu n’abakazi abaali bazze okusaba ne twogera nabo. 14 (M)Omu ku bakazi abo erinnya lye nga ye Ludiya, yali musuubuzi wa ngoye ez’effulungu ng’abeera mu kibuga Suwatira. Yali asinza Katonda bulijjo. Katonda n’amubikkulira okutegeera obulungi ebyo Pawulo bye yali ayigiriza. 15 (N)Bw’atyo n’abatizibwa n’ab’omu nnyumba ye bonna. N’atuyita tumukyalire mu maka ge, ng’agamba nti, “Obanga mukakasa nti nzikirizza Mukama, mujje mubeere mu maka gange.” N’atuwaliriza.
Pawulo ne Siira Basibwa mu Kkomera
16 (O)Olunaku lumu twali tuserengeta ku mugga mu kifo we twasabiranga, ne tusisinkana omuwala omuddu ng’aliko ddayimooni eyalagulanga, era n’afuniranga bakama be ensimbi nnyingi. 17 (P)N’atuvaako emabega ng’aleekaana nti, “Bano baddu ba Katonda Ali Waggulu Ennyo, era babategeeza ekkubo ly’obulokozi.” 18 (Q)Ekyo yakikola okumala ennaku nnyingi Pawulo n’anyiiga. Pawulo kyeyava akyuka n’agamba ddayimooni nti, “Nkulagira mu linnya lya Yesu Kristo, muveeko!” Era amangwago dayimooni n’ava ku muwala.
19 (R)Bannannyini muwala bwe baalaba nga tewakyali ssuubi lya kwongera kumufunamu nsimbi, ne bakwata Pawulo ne Siira ne babatwala mu katale eri ab’obuyinza. 20 (S)Ne babaleeta mu maaso g’abalamuzi, ne bagamba nti, “Abasajja bano Bayudaaya, basasamaza ekibuga kyaffe 21 (T)nga bayigiriza empisa n’obulombolombo bye tutakkirizibwa kugoberera na kukozesa mu mateeka gaffe ag’Ekiruumi.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.