Old/New Testament
43 (A)Ayi Katonda, onnejjeereze
omponye eggwanga eritatya Katonda
ondokole mu mikono gy’abantu abalimba, abakola ebibi.
2 (B)Ddala ddala ggwe Katonda, ekigo kyange eky’amaanyi.
Lwaki ondese?
Lwaki ŋŋenda nkaaba
nga nnyigirizibwa omulabe?
3 (C)Kale tuma omusana gwo n’amazima
binnuŋŋamye;
bindeete ku lusozi lwo olutukuvu,
mu kifo mw’obeera.
4 (D)Ne ndyoka ndaga ku kyoto kya Katonda,
eri Katonda wange era essanyu lyange eritasingika.
Weewaawo nnaakutenderezanga n’ennanga,
Ayi Katonda, Katonda wange.
5 (E)Lwaki wennyise ggwe emmeeme yange?
Lwaki otabusetabuse munda yange?
Weesige Katonda; kubanga nnaamutenderezanga,
Omulokozi wange era Katonda wange.
Ya mukulu wa bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.
44 (F)Ayi Katonda, twawulira n’amatu gaffe,
bajjajjaffe baatubuulira,
ebyo bye wakola mu biro byabwe,
mu nnaku ez’edda ezaayita.
2 (G)Nga bwe wagoba amawanga mu nsi
n’ogiwa bajjajjaffe,
wasaanyaawo amawanga
n’okulaakulanya bajjajjaffe.
3 (H)Ekitala kyabwe si kye kyabaleetera okuwangula ensi,
n’omukono gwabwe si gwe gwabalokola;
wabula baawangula n’omukono gwo ogwa ddyo
awamu n’obulungi bwo, kubanga wabaagala.
4 (I)Ggwe oli Kabaka wange, era Katonda wange;
awa Yakobo obuwanguzi.
5 (J)Ku lulwo tunaawangulanga abalabe baffe;
ku lw’erinnya lyo tunaalinnyiriranga abalabe baffe.
6 (K)Ddala ddala omutego gwange ogw’obusaale si gwe neesiga,
n’ekitala kyange si kye kimpa obuwanguzi.
7 (L)Wabula ggwe otulokola mu balabe baffe,
n’oswaza abo abatuyigganya.
8 (M)Twenyumiririza mu Katonda olunaku lwonna.
Era tunaatenderezanga erinnya lyo emirembe gyonna.
9 (N)Naye kaakano otusudde ne tuswala;
era tokyatabaala na magye gaffe.
10 (O)Watuzza emabega okuva mu bifo mwe twali ng’abalabe baffe balaba,
abatuyigganya ne batunyaga.
11 (P)Watuwaayo okuliibwa ng’endiga;
n’otusaasaanya mu mawanga.
12 (Q)Watunda abantu bo omuwendo mutono nnyo,
n’otobaako ky’oganyulwa.
13 (R)Watufuula ekivume eri baliraanwa baffe,
ekinyoomebwa era ekisekererwa abo abatwetoolodde.
14 (S)Otufudde ekinyoomebwa mu mawanga gonna;
era abantu banyeenya emitwe gyabwe.
15 Nswazibwa obudde okuziba,
amaaso gange ne gajjula ensonyi,
16 (T)olw’abo abangigganya, abanvuma nga tebandabamu ka buntu,
olw’omulabe amaliridde okuwoolera eggwanga.
17 (U)Ebyo byonna bitutuseeko,
newaakubadde nga tetukwerabidde,
wadde obutagondera ndagaano yo.
18 (V)Omutima gwaffe tegukuvuddeeko,
so tetugaanyi kutambulira mu kkubo lyo.
19 (W)Naye ggwe otubonerezza n’otulekera emisege,
n’otuleka mu kizikiza ekikutte.
20 (X)Ddala singa twerabira erinnya lya Katonda waffe,
ne tusinza katonda omulala,
21 (Y)ekyo Katonda waffe teyandikizudde?
Kubanga ye amanyi n’ebikisibwa mu mutima.
22 (Z)Katonda waffe, tetukuvuddeeko, kubanga ku lulwo tuttibwa obudde okuziba,
era tuli ng’endiga ez’okusalibwa.
23 (AA)Golokoka Ayi Mukama, lwaki weebase?
Zuukuka! Totusuula Ayi Mukama!
24 (AB)Lwaki otwekwese?
Lwaki tofaayo ku kulumwa kwaffe n’okujoogebwa?
25 (AC)Ddala ddala tusuuliddwa mu nfuufu;
tuli ku ttaka.
26 (AD)Golokoka otuyambe;
tulokole olw’okwagala kwo okutaggwaawo.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Oluyimba “olw’Amalanga.” Zabbuli ya Batabani ba Koola.
45 Omutima gwange gujjudde ebigambo ebirungi
nga nnyimba oluyimba lwa Kabaka.
Olulimi lwange kkalaamu y’omuwandiisi omukugu.
2 (AE)Ggw’osinga abaana b’abantu obulungi;
n’akamwa ko nga kafukiddwako amafuta ag’ekisa.
Kubanga Katonda akuwadde omukisa emirembe gyonna.
3 (AF)Weesibe ekitala kyo, Ayi ggwe ow’amaanyi,
yambala ekitiibwa kyo n’obukulu bwo!
4 (AG)Weebagale embalaasi yo mu kitiibwa kyo eky’obuwanguzi,
ng’olwanirira amazima, obuwombeefu, n’obutuukirivu.
Omukono gwo ogwa ddyo gukole ebyewuunyisa.
5 Obusaale bwo obwogi bufumite emitima gy’abalabe ba kabaka;
afuge amawanga.
6 (AH)Entebe yo ey’obwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera;
n’omuggo ogw’obwenkanya gwe guliba ogw’obwakabaka bwo.
7 (AI)Oyagala obutuukirivu n’okyawa okukola ebibi;
noolwekyo Katonda, Katonda wo, kyavudde akugulumiza
n’akufukako amafuta ag’essanyu okusinga bakabaka banno bonna.
8 (AJ)Ebyambalo byo birina akawoowo ka mmooli ne alowe, ne kasiya.
Ebivuga eby’enkoba bikusanyusiza
mu mbiri zo ez’amasanga.
9 (AK)Mu bakyala bo mulimu abambejja;
namasole ali ku mukono gwo ogwa ddyo ng’ayambadde ebya zaabu ya Ofiri.
10 (AL)Muwala, wuliriza bye nkugamba:
“Weerabire ab’ewammwe n’ab’omu nnyumba ya kitaawo.
11 (AM)Kabaka akulowoozaako nnyo, kubanga walungiwa n’oyitirira;
nga bw’ali mukama wo, muwenga ekitiibwa.”
12 (AN)Muwala w’e Ttuulo[a] alijja n’ekirabo,
abasajja abagagga balikwegayirira obalage ekisa kyo.
13 (AO)Omuwala wa kabaka ajjudde ekitiibwa mu kisenge kye,
ng’ayambadde ekyambalo ekyalukibwa ne zaabu.
14 (AP)Aleetebwa mu maaso ga kabaka ng’ayambadde ebyambalo eby’emidalizo emingi.
Emperekeze ze zimuwerekerako;
bonna ne bajja gy’oli.
15 Baleetebwa nga bajjudde essanyu n’okweyagala,
ne bayingira mu lubiri lwa kabaka.
16 Batabani bo baliweebwa ebifo bya bajjajjaabwe,
olibafuula ng’abalangira mu nsi omwo.
17 (AQ)Erinnya lyo linajjukirwanga emirembe gyonna.
Amawanga kyeganaavanga gakutendereza emirembe n’emirembe.
Ekyombo Kisaanawo
27 Mu kiro eky’ekkumi n’ebina embuyaga bwe yali etuwuuba eno n’eri mu Nnyanja Aduliya, mu ttumbi abalunnyanja ne bateebereza nti olukalu luli kumpi. 28 Ne bapima ne balaba ng’obuwanvu bw’amazzi okukka wansi buli mita amakumi asatu mu musanvu. Bwe waayitawo akabanga ate ne bapima ne basanga nga mita amakumi abiri mu musanvu. 29 Bwe baatya okutomera enjazi ku lubalama ne basuula ennanga nnya emabega, ne basabirira obudde okukya. 30 (A)Abamu ku balunnyanja ne bateesa okwabulira ekyombo ne bassa akaato akeyambisibwa mu kabenje, nga beefuula ng’abagenda okusuula ennanga mu maaso g’ekyombo. 31 (B)Naye Pawulo n’agamba omukulu w’ekitongole n’abaserikale be nti, “Mwenna temujja kuwona okuggyako ng’abasajja bano basigala ku kyombo.” 32 Awo abaserikale ne basala emiguwa egyali gikutte akato, ne bakaleka ne kagwayo.
33 Awo obudde bwali bunaatera okukya, Pawulo ne yeegayirira buli muntu alye ku mmere, ng’abagamba nti, “Leero lunaku lwa kkumi na nnya nga mulindirira nga temulidde, ate era mukyeyongera obutalya. 34 (C)Noolwekyo mubeeko ke mulya, kubanga ekyo kye kijja okubalokola so tewaabe n’omu ku mmwe anaavibwako luviiri lwe ku mutwe gwe.” 35 (D)Awo Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, n’addira omugaati, ne yeebaza Katonda mu maaso gaabwe bonna, n’amenya omugaati n’alya. 36 (E)Amangwago buli omu n’atandika okulya ku mmere. 37 Abaali ku kyombo bonna awamu baali ebikumi bibiri mu nsanvu mu mukaaga. 38 (F)Bonna bwe baamala okulya nga bakkuse, ne basuula eŋŋaano mu nnyanja okwongera okuwewula ku kyombo.
39 (G)Awo obudde bwe bwakya ne batalaba lukalu naye ne balengera ekikono ky’ennyanja nga kirina ekibangirizi eky’omusenyu ku lubalama, ne baagala bagobye okwo ekyombo. 40 (H)Ne bakutula ennanga, ne bazireka mu nnyanja, ne basumulula emiguwa egikwata enkasi ne bawanika ettanga ery’omu maaso g’ekyombo empewo eryoke ekitwale mu maaso, ne balyoka boolekera olukalu. 41 (I)Naye ekyombo ne kyeggunda mu musenyu engezi ebbiri we zaali zisisinkana, ekitundu eky’omu maaso ne kiwagamira mu musenyu nga tekinyeenya, eky’emabega ne kisigala wabweru waggulu, ng’amayengo ag’amaanyi gakikuba, era ne kitandika okumenyekamenyeka.
42 Abaserikale ne bateesa batte abasibe bonna, si kulwa nga bawuga ne batuuka ku lukalu ne babomba. 43 (J)Naye olwokubanga Yuliyo yayagala okuwonya Pawulo, amagezi ago n’agagaana. Awo n’alagira buli muntu asobola okuwuga awuge alage ku lukalu, 44 (K)n’abo abatasobola kuwuga bagezeeko okweyambisa ebitundutundu by’embaawo ebyali bimenyese ku kyombo. Awo buli muntu n’atuuka bulungi ku lukalu nga taliiko kamogo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.