Old/New Testament
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
31 Ayi Mukama, ggwe kiddukiro kyange,
leka nneme kuswazibwa.
Ndokola mu butuukirivu bwo.
2 (A)Ontegere okutu kwo
oyanguwe okunziruukirira.
Beera ekiddukiro kyange eky’olwazi
era ekigo eky’amaanyi eky’okumponya.
3 (B)Nga bw’oli olwazi lwange era ekigo kyange;
olw’erinnya lyo onkulembebere era onnuŋŋamye.
4 (C)Omponye mu mutego gwe banteze;
kubanga ggwe kiddukiro kyange.
5 (D)Nteeka omwoyo gwange mu mikono gyo;
ondokole, Ayi Mukama, Katonda ow’amazima.
6 (E)Nkyawa abo abeesiga bakatonda abalala;
nze nneesiga Mukama.
7 (F)Nnaajaguzanga ne nsanyukira mu kwagala kwo,
kubanga olabye okubonaabona kwange
era omanyi ennaku endi ku mwoyo.
8 (G)Tompaddeeyo mu balabe bange,
naye otadde ebigere byange mu kifo ekigazi.
9 (H)Onsaasire, Ayi Mukama, kubanga ndi mu nnaku nnyingi;
amaaso gange gakooye olw’ennaku;
omwoyo gwange n’omubiri gwange nabyo binafuye olw’obuyinike.
10 (I)Obulamu bwange buweddewo olw’obunaku n’emyaka gyange
ne giggwaawo olw’okusinda.
Amaanyi gampweddemu olw’okwonoona kwange,
n’amagumba ganafuye.
11 (J)Abalabe bange bonna bansekerera,
banneetamiddwa.
Nfuuse ekyenyinyalwa mu mikwano gyange,
n’abandaba mu kkubo banziruka.
12 (K)Nneerabiddwa ng’eyafa edda;
nfuuse ng’ekibumbe ekyatifu.
13 (L)Buli ludda mpulirayo obwama
nga bangeya;
bye banteesaako
nga basala olukwe okunzita.
14 (M)Naye nneesiga ggwe, Ayi Mukama;
nga njogera nti, “Oli Katonda wange.”
15 (N)Entuuko zange ziri mu mikono gyo;
ondokole mu mikono gy’abalabe bange
n’abangigganya.
16 (O)Amaaso go ogatunuulize omuweereza wo;
ondokole n’okwagala kwo okutaggwaawo.
17 (P)Ayi Mukama tondeka kuswazibwa,
kubanga nkukoowoola;
leka abo ababi baswale,
era bagalamire emagombe nga basirise.
18 (Q)Akamwa kaabwe akayogera eby’obulimba
kasirisibwe,
kubanga boogera ebitaliimu ku batuukirivu bo,
nga babyogeza amalala n’okunyooma.
19 (R)Obulungi bwo,
bwe waterekera abo abakutya nga buyitirivu,
n’obuwa mu lwatu
abo abaddukira gy’oli.
20 (S)Obalabirira n’obawonya enkwe z’abalabe baabwe,
n’obakuuma bulungi mu nnyumba yo,
n’ennyombo z’abantu
ne zitabatuukako.
21 (T)Mukama atenderezebwenga
kubanga yandaga okwagala kwe okungi,
bwe nnali mu kibuga kye baali bazingizza.
22 (U)Bwe natya ennyo
ne njogera nti, “Ngobeddwa mu maaso go.”
Kyokka wampulira nga nkukaabirira
n’onsaasira.
23 (V)Mwagalenga Mukama abatukuvu be mwenna!
Mukama akuuma abo abamwesiga,
naye ab’amalala ababonereza mu bujjuvu.
24 (W)Muddeemu amaanyi mugume omwoyo
mmwe mwenna abalina essuubi mu Mukama.
Zabbuli ya Dawudi.
32 (X)Alina omukisa oyo
asonyiyiddwa ebyonoono bye
ekibi ne kiggyibwawo.
2 (Y)Alina omukisa omuntu oyo
Mukama gw’atakyabalira kibi kye,
ne mu mutima gwe nga temuli bukuusa.
3 (Z)Bwe nasirikiranga ekibi kyange,
ne nkogga,
kubanga nasindanga olunaku lwonna.
4 (AA)Wambonerezanga
emisana n’ekiro,
amaanyi ne ganzigwamu
ng’amazzi bwe gakalira mu kyeya.
5 (AB)Awo ne nkwatulira ekibi kyange,
ne sibikkirira kwonoona kwange.
Ne njogera nti,
“Leka neenenyeze Mukama ebibi byange.”
Bw’otyo n’onsonyiwa,
n’onziggyako omusango gw’ebibi byange.
6 (AC)Noolwekyo abaweereza bo bonna abeesigwa
bakwegayirire ng’okyalabika;
oluvannyuma ebizibu bwe birijja,
ng’amazzi ag’amaanyi amangi tebiribatuukako.
7 (AD)Oli kifo kyange mwe nneekweka,
ononkuumanga ne situukwako kabi
era ononneetooloozanga ennyimba ez’obulokozi.
8 (AE)Nnaakulagiranga era ne nkuyigiriza ekkubo mw’onootambuliranga;
nnaakuwanga amagezi nga bwe nkulabirira.
9 (AF)Temubeeranga ng’embalaasi
oba ennyumbu ezitategeera,
ze bateekwa okussa ekyuma mu kamwa ekisibwa ku lukoba,
ziryoke zifugibwe zijje gy’oli.
10 (AG)Ababi balaba ennaku nnyingi;
naye abeesiga Mukama bakuumirwa
mu kwagala kwe okutaggwaawo.
11 (AH)Musanyukire mu Mukama era mujaguze mmwe abatuukirivu,
era muyimbire waggulu n’essanyu mmwe abalina omutima omulongoofu.
16 (A)Naye mutabani wa mwannyina Pawulo bwe yategeera olukwe olwo n’agenda mu nkambi y’abaserikale n’ategeeza Pawulo.
17 Awo Pawulo n’ayita omuserikale atwala banne n’amugamba nti, “Twala omulenzi ono eri omuduumizi wammwe, kubanga alina ekintu ekikulu ky’ayagala okumutegeeza.” 18 (B)Omuserikale n’atwala omulenzi eri omuduumizi waabwe n’amugamba nti, “Omusibe Pawulo ampise n’antuma ndeete omulenzi ono gy’oli ng’alina ky’ayagala okukutegeeza.”
19 Omuduumizi w’abaserikale n’akwata omulenzi ku mukono n’amuzza wabbali n’amubuuza nti, “Kiki ky’oyagala okuntegeeza?”
20 (C)Omulenzi n’amubuulira nti, “Enkya Abayudaaya bajja kukusaba ozzeeyo Pawulo mu Lukiiko lwabwe, nga beekwasiza ku kwagala abeeko ky’ayongera okwennyonnyolako. 21 (D)Tokkiriza! Kubanga waliwo abasajja amakumi ana abajja okwekwekerera abaserikale bo abanaaba bamutwala, bamufubutukireko bamutte. Kubanga beerayiridde obutalya n’obutanywa okutuusa nga bamaze okumutta. Kaakano bali eyo nga basuubira nti onokkiriza.”
22 Omuduumizi w’abaserikale bwe yali asiibula omulenzi n’amukuutira nti, “Tobuulirako muntu yenna nti ontegeezezza ebintu bino.”
Pawulo Atwalibwa e Kayisaliya
23 (E)Awo omuduumizi w’abaserikale n’ayita abamyuka be babiri n’abalagira nti, “Mutegeke ekibinja ky’abaserikale ebikumi bibiri, n’abeebagala embalaasi abaserikale nsanvu, n’ab’amafumu ebikumi bibiri, bagende e Kayisaliya ekiro kya leero ku ssaawa ssatu. 24 (F)Mutegekeewo n’embalaasi Pawulo z’ajja okweyambisa mu lugendo alyoke atwalibwe bulungi atuusibwe mirembe ewa Gavana Ferikisi.”
25 Awo n’awandiikira gavana ebbaluwa eno nti:
26 (G)Nze Kulawudiyo Lusiya, nkulamusa Oweekitiibwa Gavana Ferikisi.
27 (H)Omusajja ono Abayudaaya baamukwata, naye baali bagenda okumutta, nze kwe kuweerezaayo abaserikale bange ne bamutaasa, kubanga nnali ntegedde nga Muruumi. 28 (I)Awo ne mmutwala mu Lukiiko lwabwe ntegeere ekisobyo kye yali akoze. 29 (J)Ne nvumbula ng’ensonga ze baali bamuvunaana zaali zifa ku bya kukkiriza kwabwe na by’amateeka gaabwe naye nga tezisaanyiza kussa muntu wadde okumusibya mu kkomera. 30 (K)Naye bwe nategeezebwa nti waliwo olukwe olw’okumutta, kwe kusalawo okukumuweereza, era nzija kulagira baleete ensonga zaabwe gy’oli.
31 Awo abaserikale ne basitula ekiro ekyo, nga bwe baalagirwa, ne batwala Pawulo ne batuuka mu Antipatuli. 32 (L)Enkeera ekibinja eky’oku mbalaasi ne kitwala Pawulo e Kayisaliya, abaserikale abalala bo ne baddayo mu nkambi yaabwe. 33 (M)Abaserikale ab’omu kibinja eky’oku mbalaasi bwe baatuuka e Kayisaliya ne batwala Pawulo ewa gavana n’ebbaluwa ne bagiwaayo. 34 (N)Gavana bwe yamala okugisoma, n’abuuza Pawulo essaza mw’ava. Pawulo n’addamu nti, “Nva mu Kirukiya.” 35 (O)Awo gavana n’amugamba nti, “Abakuvunaana bwe banaatuuka ne ndyoka mpulira ensonga zo mu bujjuvu.” N’alagira bagira bamukuumira mu kkomera eriri mu lubiri lwa Kerode.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.