Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yobu 34-35

34 Awo Eriku ne yeeyongera okwogera nti,

“Muwulire ebigambo byange, mmwe abasajja ab’amagezi;
    mumpulirize mmwe abayivu.
(A)Kubanga okutu kugezesa ebigambo
    ng’olulimi bwe lugezesa emmere.
(B)Leka twesalirewo ekituufu;
    muleke tulondewo ekisaanidde.

(C)“Yobu agamba nti, ‘Siriiko musango,
    naye Katonda agaanye okusala omusango gwange mu mazima.
(D)Wadde nga ndi mutuufu,
    ntwalibwa okuba omulimba,
wadde nga siriiko musango,
    akasaale ke kanteseeko ekiwundu ekitawonyezeka.’
(E)Musajja ki ali nga Yobu,
    anywa okunyoomebwa ng’anywa amazzi?
(F)Atambula n’abakozi b’ebibi,
    mukwano gw’abo abakola ebitali bya butuukirivu.
(G)Kubanga agambye nti, ‘Omuntu talina kyaganyulwa
    bw’agezaako okusanyusa Katonda.’
10 (H)Noolwekyo mumpulirize mmwe abasajja abalina okutegeera.
    Kikafuuwe Katonda okukola ebibi,
    wadde Ayinzabyonna okukola ebikyamu.
11 (I)Asasula omuntu olw’ekyo ky’aba akoze;
    n’amutuusaako ebyo ebimusaanidde olw’empisa ze.
12 (J)Weewaawo amazima gali nti, Katonda tasobya.
    Ayinzabyonna tasaliriza musango.
13 (K)Obuyinza yabuggya eri ani okukulembera ensi?
    Ani eyamuwa olukusa okufuga ensi yonna?
14 (L)Singa asalawo n’atwala omwoyo gw’omuntu
    awamu n’omukka gwe,
15 (M)abantu bonna bandizikiriridde wamu,
    era omuntu yandizzeeyo mu nfuufu.

16 “Bw’oba olina okutegeera, wuliriza kino;
    wuliriza kye ŋŋamba.
17 (N)Oyo atayagala bwenkanya asobola okufuga?
    Onoosalira abatuukirivu n’oyo ow’amaanyi omusango?
18 (O)Oyo si ye agamba bakabaka nti, ‘Tolina mugaso,’
    n’abakungu nti, ‘Oli mukozi wa bibi,’
19 (P)atattira balangira ku liiso
    era nga tafa ku bagagga kusinga bw’afa ku baavu,
    kubanga egyo gye mirimu gy’emikono gye?
20 (Q)Mu kaseera buseera baba bafiiridde wakati mu ttumbi.
    Abantu banyeenyezebwa ne baggyibwawo.
    Abo ab’amaanyi batwalibwa n’omukono ogutali gw’abantu.

21 (R)“Amaaso ge gatunuulira amakubo g’abantu;
    atunuulira buli kigere kye batambula.
22 (S)Teri kifo kikwafu wadde ekisiikirize eky’amaanyi,
    ababi gye bayinza okwekweka.
23 (T)Katonda teyeetaaga kwongera kwekebejja bantu
    okulabika mu maaso ge okusalirwa omusango.
24 (U)Awatali kwebuuza ku muntu yenna, amenyaamenya ab’amaanyi
    n’ateekawo abalala mu kifo kyabwe.
25 Olw’okubanga amanyi ebikolwa byabwe,
    abamalamu amaanyi ekiro ne babetentebwa.
26 Ababonereza olw’ebikolwa byabwe ebibi
    abantu bonna nga balaba,
27 (V)kubanga baamuvaako ne balekeraawo okumugoberera
    ne bataddayo kufaayo n’akatono ku makubo ge gonna.
28 (W)Baleetera abaavu okukaaba, ne kumutuukako
    era n’awulira okukaaba kw’abanyigirizibwa.
29 Naye bw’asalawo obutabaako ky’ayogera, ani ayinza okumunenya?
    Bwakweka amaaso ge ani ayinza okumulaba?
Eggwanga n’omuntu abalinako obuyinza bwe bumu;
30     (X)aziyiza omuntu atatya Katonda okufuga,
    aleme okutega abantu emitego.

31 “Singa omuntu agamba Katonda nti,
    gunsinze, sikyaddayo kwonoona,
32 (Y)kye sitegeera kinjigirize,
    bwe mba nga nsobezza sikyaddayo kukikola,
33 (Z)olwo Katonda akuddemu nga bw’oyagala,
    akuleke ng’ogaanye okwenenya?
Kaakano ggwe olina okusalawo, so sinze;
    noolwekyo mbuulira ggwe ky’omanyi.

34 “Abantu abalina okutegeera mumbuulire,
    abasajja abagezi abawulira muntegeeze,
35 (AA)‘Yobu ayogeza butamanya
    ebigambo bye tebiriimu kwolesebwa.’
36 (AB)Singa Yobu agezesebbwa okutuusa ku nkomerero,
    olw’okwogera ng’abasajja abakozi b’ebibi!
37 (AC)Kubanga ku kibi kye ayongeddeko obujeemu,
    n’akuba mu ngalo wakati mu ffe,
    n’ayongera okwogera ng’awakanya Katonda.”

35 Eriku n’ayongera okwogera nti,

“Olowooza kiba kituufu ggwe okugamba nti, Katonda ananziggyako omusango.
    Oyogera nti, obutuukirivu bwange businga obwa Katonda.
(AD)Ate obuuza nti, ‘Nganyulwa ntya?’
    Kirungi ki kye nfuna mu kwonoona kwange?

“Nandyagadde okukuddamu
    ne mikwano gyo egyo gy’oli nagyo.
(AE)Tunula eri eggulu olabe;
    tunuulira ebire, ebiri waggulu ennyo okukusinga.
(AF)Singa oyonoona ekyo kimukwatako kitya?
    Ebyonoono byo bwe byeyongera, ekyo kimukolako ki?
(AG)Bw’oba omutuukirivu, kiki ky’oba omuwadde,
    oba kiki ky’aba afunye okuva mu ngalo zo?
Okwonoona kwo kukosa muntu nga ggwe,
    era n’obutuukirivu bwo bukwata ku baana b’abantu.
(AH)Abantu bakaaba olw’okunyigirizibwa okw’amaanyi,
    balaajaanira ab’omukono ogw’amaanyi.
10 (AI)Naye tewali n’omu agamba nti, Aluwa Mukama Omutonzi wange
    atuwa ennyimba ekiro,
11 (AJ)atuyigiriza ebingi okusinga ensolo ez’omu nsiko,
    era n’atufuula bagezi okusinga ebinyonyi eby’omu nsiko?
12 (AK)Newaakubadde nga bakaaba, tayinza kuwulira
    n’addamu kukaaba kw’abasajja ab’amalala abakozi b’ebibi.
13 (AL)Ddala ddala Katonda tawuliriza kukoowoola kwabwe okwo okutaliimu;
    Ayinzabyonna takufaako.
14 (AM)Kale kiba kitya
    bw’ogamba nti tomulaba,
era nti, Omusango gwo guli mu maaso ge
    era oteekwa okumulindirira;
15 oba nti, ne bw’asunguwala tabonereza
    era tafaayo nnyo ku butali butuukirivu.
16 (AN)Kale nno Yobu ayasamya akamwa ke okwogera ebitaliimu;
    obutamanya bumwogeza ebigambo olukunkumuli.”

Ebikolwa by’Abatume 15:1-21

Olukiiko lw’Abakristaayo mu Yerusaalemi

15 (A)Awo ne wajja abantu abamu abaava mu Buyudaaya ne bayigiriza abooluganda nti, “Ssinga temukomolebwa ng’akalombolombo ka Musa bwe kali temuyinza kulokolebwa.” (B)Pawulo ne Balunabba ne bawakana nnyo nabo ku nsonga eyo ne kisalibwawo nti Pawulo ne Balunabba n’abamu ku bakkiriza ab’omu Antiyokiya, batwale ensonga eyo eri abatume n’abakadde b’Ekkanisa mu Yerusaalemi. (C)Ababaka ne bakwata ery’e Yerusaalemi, ne bayimirirako mu kibuga ky’e Fayiniikiya n’e Samaliya okukyalira abakkiriza mu bibuga ebyo n’okubategeeza ng’Abamawanga bangi bwe baakyuka ne bakkiriza. Ebigambo ebyo ne bisanyusa nnyo abooluganda. (D)Bwe baatuuka mu Yerusaalemi ne baanirizibwa ekkanisa, abatume n’abakadde b’Ekkanisa bonna. Ne babategeeza byonna Katonda bye yabakozesa.

Naye abamu ku bakkiriza, ab’omu kibiina ky’Abafalisaayo, ne basituka ne bagamba nti Abaamawanga bonna abakkiriza bateekwa okukomolebwa nga bwe kiri mu mateeka ga Musa, era n’okugoberera obulombolombo bwonna ng’empisa z’Ekiyudaaya bwe ziragira.

Awo abatume n’abakadde b’Ekkanisa ne bakuŋŋaana bateese ku nsonga eyo. Oluvannyuma nga bateeserezza ebbanga ggwanvu, Peetero n’asituka n’abagamba nti, “Abooluganda, mwenna mumanyi nga Katonda yannonda dda mu mmwe mu nnaku ezaasooka, mbuulire Enjiri mu baamawanga nabo bakkirize. (E)Era Katonda amanyi emitima gy’abantu, yayaniriza Abaamawanga ng’abawa Mwoyo Mutukuvu nga naffe bwe yatumuwa. (F)Teyabasosola kubanga bwe baamala okukkiriza, obulamu bwabwe n’abunaaza ng’obwaffe bwe yabunaaza. 10 (G)Kale kaakano, lwaki mwagala okukema Katonda nga mukakaatika ekikoligo mu bulago bw’abayigirizwa, kye mumanyi nga bajjajjaffe kyabakaluubirira era naffe kitukaluubirira okwetikka? 11 (H)Tukkiriza nti tulokolebwa lwa kisa kya Mukama waffe Yesu, era n’abamawanga bwe batyo bwe balokolebwa.”

12 (I)Ekibiina kyonna ne kisiriikirira ne bawuliriza Balunabba ne Pawulo nga babategeeza eby’amagero n’obubonero Katonda bye yabakozesa nga bali ku mulimu gwe mu baamawanga. 13 (J)Bwe baamala okwogera, Yakobo n’agamba nti, “Abasajja abooluganda, mumpulirize. 14 Simooni abategeezezza ng’okusookera ddala Katonda bwe yakyalira Abaamawanga ne yeeronderamu abo ab’okuweesa erinnya lye ekitiibwa. 15 Era kino kituukiriza bannabbi bye baayogera ng’Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti,

16 “ ‘Oluvannyuma lwa bino ndikomawo,
    ne nziddaabiriza ennyumba ya Dawudi eyagwa.
Ndiddaabiriza ebifo ebyamenyebwamenyebwa. Ndigizaawo,
17 (K)n’abantu abalala
    basobole okunoonya Mukama,
era n’abamawanga be nayita okuba abantu bange.
18     Bw’atyo bw’ayogera Mukama, alaga entegeka ye okuviira ddala ku ntandikwa y’ensi.’

19 “Kyenva nsalawo nti, Tetusaana kutikka baamawanga abakkiriza Katonda mugugu munene nga tubawaliriza okukwata obulombolombo bwaffe obw’Ekiyudaaya. 20 (L)Wabula tubawandiikire tubategeeze beewale okulya ennyama eya ssaddaaka eweebwayo eri bakatonda abalala, beewale obwenzi n’okulya ennyama ey’ebisolo ebitugiddwa, era beewale okulya n’omusaayi. 21 (M)Kubanga ebintu byonna biri mu mateeka ga Musa, era bibuulirwa mu makuŋŋaaniro g’Abayudaaya mu buli kibuga buli lunaku lwa Ssabbiiti ebbanga lyonna.”

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.