Old/New Testament
Zabbuli ya Dawudi.
26 (A)Onnejjeereze, Ayi Mukama,
kubanga obulamu bwange tebuliiko kya kunenyezebwa;
nneesiga ggwe, Ayi Mukama,
nga sibuusabuusa.
2 (B)Neetegereza, Ayi Mukama, ongezese;
weekalirize ebiri mu mutima gwange ne mu mmeeme yange.
3 (C)Kubanga okwagala kwo kwe kunkulembera,
era mu mazima go mwe ntambulira.
4 (D)Situula na bantu balimba,
so siteesaganya na bakuusa.
5 (E)Nkyawa ekibiina ky’aboonoonyi;
so situula na bakozi ba bibi.
6 (F)Naaba mu ngalo zange okulaga nga bwe sirina misango;[a]
ne ndyoka nzija ku Kyoto kyo, Ayi Mukama;
7 (G)ne nnyimba oluyimba olw’okwebaza,
olwogera ku bikolwa byo ebyewuunyisa.
8 (H)Ennyumba yo mw’obeera njagala, Ayi Mukama,
kye kifo ekijjudde ekitiibwa kyo.
9 (I)Tombalira mu boonoonyi,
wadde mu batemu,
10 (J)abakozesa emikono gyabwe okutegeka ebikolwa ebibi,
era abali b’enguzi.
11 (K)Naye nze ntambula nga siriiko kye nnenyezebwa;
nkwatirwa ekisa, Ayi Mukama, ondokole.
12 (L)Nnyimiridde watereevu.
Nnaatenderezanga Mukama mu kibiina ky’abantu ekinene.
Zabbuli ya Dawudi.
27 (M)Mukama gwe musana gwange n’obulokozi bwange;
ani gwe nnaatyanga?
Mukama ge maanyi ag’obulamu bwange;
ani asobola okuntiisa?
2 (N)Abalabe bange n’abantu ababi bonna
bwe banannumba nga baagala okunzita,
baneesittala
ne bagwa.
3 (O)Newaakubadde ng’eggye linaasiisira okunneebungulula,
omutima gwange teguutyenga;
olutalo ne bwe lunansitukirangako,
nnaabanga mugumu.
4 (P)Ekintu kimu kye nsaba Mukama,
era ekyo kye nnoonya:
okubeeranga mu nnyumba ya Mukama
ennaku zonna ez’obulamu bwange,
ne ndabanga obulungi bwa Mukama,
era ne nsinzizanga mu Yeekaalu ye.
5 (Q)Kubanga mu biseera eby’obuzibu
anansuzanga mu nju ye;
anankwekanga mu weema ye,
n’ankuumira ku lwazi olugulumivu.
6 (R)Olwo ononnyimusanga
waggulu w’abalabe bange abanneetoolodde.
Nnaaweerangayo ssaddaaka mu weema ye nga bwe ntendereza n’eddoboozi ery’omwanguka olw’essanyu;
nnaayimbiranga Mukama ennyimba ez’okumutenderezanga.
7 (S)Wulira eddoboozi lyange, Ayi Mukama, nga nkukoowoola;
onkwatirwe ekisa onnyanukule!
8 Omutima gwange guwulidde eddoboozi lyo nga lyogera nti, “Munnoonye, munsinze.”
Omutima gwange ne guddamu nti, “Nnaakunoonyanga, Ayi Mukama.”
9 (T)Tonneekweka,
so tonyiigira muweereza wo,
kubanga ggw’obadde omubeezi wange bulijjo.
Tonneggyaako, so tonsuula,
Ayi Katonda, Omulokozi wange.
10 Kitange ne mmange bwe balindeka,
Mukama anandabiriranga.
11 (U)Njigiriza, Ayi Mukama, by’oyagala nkole,
era onkulembere mu kkubo lyo,
kubanga abalabe bange banneetoolodde.
12 (V)Tompaayo mu balabe bange,
kubanga abajulizi ab’obulimba bansitukiddeko n’enkwe zaabwe,
okunkambuwalira.
13 (W)Nkyakakasiza ddala
nga ndiraba obulungi bwa Mukama
mu nsi ey’abalamu.
14 (X)Lindirira Mukama.
Ddamu amaanyi, ogume omwoyo.
Weewaawo, lindirira Mukama.
Zabbuli ya Dawudi.
28 (Y)Nkukoowoola ggwe, Ayi Mukama, Olwazi lwange,
tolema kumpuliriza;
kubanga bw’onoonsiriikirira
nzija kuba nga bali abakkirira mu kinnya.
2 (Z)Owulire eddoboozi ery’okwegayirira kwange,
nga mpanise emikono gyange
okwolekera ekifo kyo ekisinga byonna obutukuvu,
nga nkukaabirira okunnyamba.
3 (AA)Tontwalira mu boonoonyi,
abakola ebibi;
abanyumya obulungi ne bannaabwe,
so ng’emitima gyabwe gijjudde bukyayi bwerere.
4 (AB)Basasule ng’ebikolwa byabwe bwe biri,
n’olw’ebyambyone bye bakoze.
Basasule olwa byonna emikono gyabwe gye bisobezza,
obabonereze nga bwe basaanidde.
5 (AC)Olwokubanga tebafaayo ku mirimu gya Mukama,
oba ku ebyo bye yakola n’emikono gye,
alibazikiririza ddala,
era talibaddiramu.
6 Atenderezebwe Mukama,
kubanga awulidde eddoboozi ly’okwegayirira kwange.
7 (AD)Mukama ge maanyi gange,
era ye ngabo yange, ye gwe neesiga.
Bwe ntyo ne nyambibwa.
Omutima gwange gunaajaguzanga, ne mmuyimbira ennyimba ez’okumwebazanga.
22 1 (A)“Abasajja abooluganda, ne bakadde bange, mumpulirize.” 2 (B)Bwe baawulira ng’ayogera Lwebbulaniya ne beeyongera okusirikira ddala. 3 (C)Pawulo n’abagamba nti, “Ndi Muyudaaya, nazaalibwa mu kibuga Taluso eky’omu Kirukiya, naye ne nkulira wano mu Yerusaalemi. Era mu kibuga muno mwe nayigira ne nzijjumbira amateeka gonna aga bajjajjaffe n’obwegendereza, nga njigirizibwa Gamalyeri. Nafubanga nnyo okuweesa Katonda ekitiibwa mu buli kye nakolanga, nga nammwe bwe mukola leero. 4 (D)Nayigganya abantu b’Ekkubo n’okubatuusa ku kufa, ne nkwata abasajja n’abakazi ne mbasibisa mu kkomera. 5 (E)Era Kabona Asinga Obukulu n’ab’Olukiiko Olukulu be bajulirwa bange. Kubanga nabasaba bawandiikire bannaabwe mu Damasiko ebbaluwa okunnyamba nkwate abaali eyo mbaleete wano mu Yerusaalemi nga mbasibye mu njegere mbaweeyo babonerezebwe.
6 (F)“Naye mu ssaawa ez’omu ttuntu bwe nnali nga nsemberera Damasiko, amangwago ekitangaala eky’amaanyi ekyava mu ggulu ne kinjakira okunneetooloola. 7 Ne ngwa wansi ku ttaka, ne mpulira eddoboozi nga liŋŋamba nti, ‘Sawulo, Sawulo, onjigganyiza ki?’
8 “Ne mbuuza nti, ‘Ani, Mukama wange?’
“N’anziramu nti, ‘Nze Yesu Omunnazaaleesi gw’oyigganya.’ 9 (G)Be nnali nabo baalaba ekitangaala, naye eddoboozi ly’oyo eyayogera nange tebaaliwulira.
10 (H)“Ne mmubuuza nti, ‘Nkole ki, Mukama wange?’
“Mukama waffe n’anziramu nti, ‘Yimuka ogende mu Damasiko, bw’onootuuka eyo ojja kutegeezebwa byonna bye nkutumye okukola.’ 11 (I)Bannange ne bankwata ku mukono ne bannyingiza mu Damasiko, kubanga ekitiibwa ky’ekitangaala kiri eky’amaanyi kyali kinzibye amaaso.
12 (J)“Omusajja omu ayitibwa Ananiya, ng’atya Katonda era ng’agondera amateeka gonna ag’Ekiyudaaya, n’Abayudaaya bonna mu Damasiko nga bamussaamu ekitiibwa, 13 n’ajja okundaba n’ayimirira we ndi n’aŋŋamba nti, ‘Owooluganda Sawulo, zibuka amaaso!’ Mu ssaawa eyo yennyini ne nsobola okumulaba!
14 (K)“Awo n’aŋŋamba nti, ‘Katonda wa bajjajjaffe akulonze otegeere by’ayagala era olabe Omutuukirivu we, era owulire okuyitibwa okuva mu kamwa ke. 15 (L)Olituusa obubaka bwe mu bantu bonna ng’obategeeza by’olabye era ne by’owulidde. 16 (M)Kaakano olinda ki? Situka obatizibwe onaazibweko ebibi byo nga bw’oyatudde erinnya lye.’
17 (N)“Ne nkomawo mu Yerusaalemi. Naye olunaku lumu bwe nnali mu Yeekaalu nga nsaba, ne mbeera ng’eyeebase, 18 ne nfuna okwolesebwa ne ndaba Mukama waffe ng’ayogera nange, n’aŋŋamba nti, ‘Yanguwa mangu ove mu Yerusaalemi, kubanga abantu ba wano tebajja kukkiriza bubaka bwo bw’onoobategeeza obufa ku nze.’
19 (O)“Ne nziramu nti, ‘Naye Mukama wange, abantu bonna bamanyi nga bwe nagendanga mu buli kkuŋŋaaniro ne nzigyamu abakukkiriza, ne mbatwala ne bakubwa emiggo n’okusibibwa ne basibibwa mu kkomera. 20 (P)Era n’omujulirwa wo Suteefano bwe yali attibwa nnali nnyimiridde awo era nga mpagira okuttibwa kwe, era nga ndabirira engoye z’abo abaali bamutta.’
21 (Q)“Naye Mukama waffe n’aŋŋamba nti, ‘Vva mu Yerusaalemi, kubanga nzija kukutuma mu bitundu bye wala mu baamawanga!’ ”
Pawulo Omuruumi
22 (R)Ekibiina ky’abantu ne bawuliriza Pawulo okutuusa lwe yatuuka ku bigambo ebyo, bonna ne balyoka baleekaanira wamu nti, “Mumuggyeewo! Mumutte! Tasaanira kuba mulamu!” 23 (S)Ne bawowoggana nnyo nga bwe bakasuka n’engoye zaabwe waggulu mu bbanga, ne bayoola enfuufu nga bagiyiwa mu bbanga. 24 (T)Omukulu w’abaserikale n’ayingiza Pawulo munda mu nkambi yaabwe, n’alagira akubwemu embooko nga bwe bamubuuza ayogere omusango gwe yazzizza oguleetedde ekibiina kyonna okwecwacwana. 25 (U)Bwe baali bamugalamizza nga bagenda okumusiba bamukube, Pawulo n’abuuza omuserikale eyali amuyimiridde okumpi nti, “Amateeka gabakkiriza okukuba omuntu Omuruumi nga temunnaba na kumuwozesa?”
26 Omuserikale n’agenda eri omuduumizi waabwe n’amutegeeza nti, “Kiki kino ky’ogenda okukola? Omusajja ono Muruumi.”
27 Omuduumizi w’abaserikale n’ajja n’abuuza Pawulo nti, “Mbulira, oli Muruumi?”
Pawulo n’amuddamu nti, “Yee, bwe kiri.”
28 Omuduumizi w’abaserikale n’amugamba nti, “Nange ndi Muruumi, naye nabusasulira ensimbi nnyingi.”
Pawulo n’amuddamu nti, “Nze mwe nazaalirwa!”
29 (V)Abaserikale abaali beetegese okumubuuza ne baseebulukuka ne bavaawo bwe baategeera nga Pawulo Muruumi, n’omuduumizi waabwe naye n’atya nnyo kubanga yali alagidde okumusiba n’okumukuba kibooko.
30 (W)Enkeera omuduumizi w’abaserikale bwe yayagala okumanyira ddala ensonga Abayudaaya gye bamulanze, n’asumulula Pawulo mu njegere, n’alagira bakabona abakulu bayite Olukiiko lw’Abayudaaya Olukulu lutuule. N’alagira Pawulo aleetebwe mu Lukiiko ensonga Abayudaaya gye bamuvunaana eryoke etegeerebwe.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.