Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 33-34

Zabbuli ya Dawudi.

33 (A)Muyimbire Mukama n’essanyu mmwe abatuukirivu;
    kisaanira abalongoofu okumutenderezanga.
(B)Mutendereze Mukama n’ennanga,
    mumukubire ennyimba ku ntongooli ey’enkoba ekkumi.
(C)Mumuyimbire oluyimba oluggya;
    musune enkoba ze ntongooli n’amagezi nga bwe muyimba mu ddoboozi ery’omwanguka olw’essanyu.

(D)Kubanga ekigambo kya Mukama kituufu era kya mazima;
    mwesigwa mu buli ky’akola.
(E)Mukama ayagala obutuukirivu n’obwenkanya.
    Ensi ejjudde okwagala kwa Mukama okutaggwaawo.

(F)Mukama yayogera kigambo, eggulu ne likolebwa;
    n’assiza omukka mu kamwa ke eggye lyonna ery’omu ggulu ne litondebwa.
Yakuŋŋaanya amazzi g’ennyanja mu ntuumu,
    agayanja n’agasibira mu masitoowa gaago.
(G)Ensi yonna esaana etyenga Mukama,
    n’abantu ab’omu mawanga gonna bamussengamu ekitiibwa;
(H)kubanga yayogera bwogezi n’etondebwa,
    n’alagira n’eyimirira nga nywevu.

10 (I)Mukama asansulula enteekateeka y’amawanga;
    alemesa abantu okutuukiriza bye bagenderera.
11 (J)Naye enteekateeka za Mukama zibeerawo nga nywevu emirembe gyonna;
    n’ebigendererwa by’omutima gwe bya lubeerera.

12 (K)Lirina omukisa eggwanga eririna Katonda nga ye Mukama waalyo,
    ng’abantu baalyo yabalonda babeere bantu be.
13 (L)Mukama asinziira mu ggulu
    n’alaba abaana b’abantu bonna;
14 (M)asinziira mu kifo kye mw’abeera
    n’alaba abantu bonna abali ku nsi.
15 (N)Ye y’ategeka ebirowoozo byabwe bonna
    ne yeetegereza byonna bye bakola.

16 (O)Tewali kabaka asobola kuwona olw’obunene bw’eggye lye;
    era tewali mulwanyi ayinza kuwona olw’amaanyi ge amangi.
17 (P)Okusuubira embalaasi yokka okukuwanguza olutalo kuteganira bwerere;
    newaakubadde erina amaanyi mangi naye tesobola kulokola.
18 (Q)Naye amaaso ga Mukama galabirira abo abamutya;
    abalina essuubi mu kwagala kwe okutaggwaawo,
19 (R)abawonya okufa,
    era abawonya enjala.

20 (S)Tulindirira Mukama nga tulina essuubi,
    kubanga ye mubeezi waffe era ye ngabo yaffe.
21 (T)Mu ye emitima gyaffe mwe gijaguliza,
    kubanga twesiga erinnya lye ettukuvu.
22 Okwagala kwo okutaggwaawo kubeerenga mu ffe,
    Ayi Mukama, ng’essuubi lyaffe bwe liri mu ggwe.

Ya Dawudi. Bwe yeefuula okuba omugu w’eddalu mu maaso ga Abimereki, oluvannyuma eyamugoba, era naye n’amuviira.

34 (U)Nnaagulumizanga Mukama buli kiseera,
    akamwa kange kanaamutenderezanga bulijjo.
(V)Omwoyo gwange guneenyumiririzanga mu Mukama;
    ababonyaabonyezebwa bawulire bajaguzenga.
(W)Kale tutendereze Mukama,
    ffenna tugulumizenga erinnya lye.

(X)Nanoonya Mukama, n’annyanukula;
    n’ammalamu okutya kwonna.
(Y)Abamwesiga banajjulanga essanyu,
    era tebaaswalenga.
Omunaku ono yakoowoola Mukama n’amwanukula,
    n’amumalako ebyali bimuteganya byonna.
(Z)Malayika wa Mukama yeebungulula abo abatya Mukama,
    n’abawonya.

(AA)Mulegeeko mulabe nga Mukama bw’ali omulungi!
    Balina omukisa abaddukira gy’ali.
(AB)Musseemu Mukama ekitiibwa mmwe abatukuvu be,
    kubanga abamutya tebaajulenga.
10 (AC)Empologoma zirumwa enjala ne ziggwaamu amaanyi;
    naye abo abanoonya Mukama, ebirungi tebiibaggwengako.
11 (AD)Mujje wano baana bange, mumpulirize;
    mbayigirize okutya Mukama.
12 (AE)Oyagala okuwangaala mu bulamu obulungi,
    okuba mu ssanyu emyaka emingi?
13 (AF)Olulimi lwo lukuumenga luleme okwogera ebitasaana,
    n’akamwa ko kaleme okwogera eby’obulimba.
14 (AG)Lekeraawo okukola ebibi, okolenga ebirungi;
    noonya emirembe era ogigobererenga.

15 (AH)Amaaso ga Mukama gatunuulira abo abatuukirivu,
    n’amatu ge gawulira okukaaba kwabwe.
16 (AI)Mukama amaliridde okumalawo abakola ebibi,
    okubasaanyizaawo ddala n’obutaddayo kujjukirwa ku nsi.

17 (AJ)Abatuukirivu bakoowoola Mukama n’abawulira
    n’abawonya mu byonna ebiba bibateganya.
18 (AK)Mukama abeera kumpi n’abalina emitima egimenyese, era alokola abo abalina emyoyo egyennyise.

19 (AL)Omuntu omutuukirivu ayinza n’okuba n’ebizibu bingi,
    naye byonna Mukama abimuyisaamu.
20 (AM)Amagumba ge gonna Mukama agakuuma,
    ne watabaawo na limu limenyeka.

21 (AN)Ekibi kiritta abakola ebibi,
    n’abalabe b’abatuukirivu balibonerezebwa.
22 (AO)Mukama anunula abaweereza be;
    so tewali n’omu ku abo abaddukira gy’ali alibonerezebwa.

Ebikolwa by’Abatume 24

Pawulo Awozesebwa mu maaso ga Ferikisi

24 (A)Awo nga wayiseewo ennaku ttaano, Ananiya, Kabona Asinga Obukulu, n’atuuka mu Kayisaliya ng’ali n’abamu ku bakulembeze b’Abayudaaya era ng’aleese n’omwogezi omulungi erinnya lye Terutuulo, eyannyonnyola gavana emisango egyali givunaanibwa Pawulo. Pawulo bwe yaleetebwa, Terutuulo n’ayitibwa ategeeze ekivunaanibwa Pawulo, n’awoza bw’ati nti, “Oweekitiibwa, ffe Abayudaaya otuwadde eddembe, n’enkulaakulana olw’amagezi go. (B)Tukwebaza nnyo olwa bino byonna by’otukoledde. Obutayagala kukukooya, nsaba ompulirize akaseera katono nga mpitaayita mu byangu ku nsonga ze tuvunaana omusajja ono.

(C)“Omusajja ono tumulabye nga wa mutawaana nnyo, kubanga akuma omuliro mu Bayudaaya bonna mu nsi yonna, basasamale era bajeemere gavumenti y’Abaruumi, omukulembeze mu ttabi ly’eddiini erimanyiddwa ng’ery’Abannazaalaayo. (D)N’okugezaako yali agezaako okwonoona Yeekaalu, ne tumukwata. Twali tugenda okumusalira omusango n’ekibonerezo ng’amateeka gaffe bwe galagira, naye Lusiya, omuduumizi w’abaserikale n’ajja n’atumuggyako n’amaanyi, n’alagira nti awozesebwe mu mateeka g’Ekiruumi, era n’alagira abamuwawaabira bajje wano mu maaso go. Bw’onoogenda ng’omubuuza ebintu bino byonna, amazima g’ensonga zaffe gajja kweyoleka.”

(E)Olwo n’Abayudaaya abalala ne boogera nga bawagira ebyo Terutuulo bye yawoza nti bya mazima.

10 (F)Oluwalo lwa Pawulo ne lutuuka, gavana n’amuwenya asituke ayogere. Pawulo n’ayanukula nti, “Mmanyi, ssebo, nga bw’osaze emisango egifa ku nsonga zaffe ez’Ekiyudaaya okumala emyaka emingi, ekyo kimpa obugumu nga mpoleza mu maaso go. 11 (G)Ggwe bw’onoobuuza, ojja kuzuula nti ennaku tezinnayita kkumi na bbiri kasookedde nyambuka mu Yerusaalemi okusinza mu Yeekaalu. 12 (H)Abo abampawaabira tebansisinkanangako nga nnina gwe nnyumya naye mu Yeekaalu, wadde nga nsasamaza ekibiina mu kuŋŋaaniro oba awalala wonna mu kibuga. 13 (I)Era tebayinza kukulaga bukakafu bwonna ku bintu bino bye bampawaabira nti nabikola. 14 (J)Naye waliwo ekintu kimu kye nzikiriza. Nsinza Katonda nga nzikiririza mu Kkubo, bano kye bayita enzikiriza endala. Nsinza Katonda n’okumuweereza nga ngoberera empisa za bajjajjaffe n’obulombolombo, nga bwe baabitegeka, era nzikiririza ddala mu mateeka g’Ekiyudaaya ne mu byonna ebyawandiikibwa mu bitabo bya bannabbi. 15 (K)Era nzikiriza, nga bano bwe bakkiriza, nti walibaawo okuzuukira kw’abatuukirivu n’ababi. 16 (L)Olw’essuubi lino lye nnina, nfuba bulijjo okuba n’emmeeme ennongoofu eri Katonda n’eri abantu.

17 (M)“Oluvannyuma lw’emyaka mingi, nga siriiwo, nakomawo mu Yerusaalemi ng’Abayudaaya mbaleetedde n’ensimbi ez’okubayamba, nga nange neeretedde ekirabo eky’okuwaayo eri Katonda mu Yeekaalu. 18 (N)Bano abampawaabira bansanga ndi mu kusinza kuno mu Yeekaalu, nga nneerongoosezza, mmaze n’okumwa omutwe ng’amateeka bwe galagira, nga tewaliiwo kibiina kinneetoolodde, era nga tewali kasasamalo. 19 (O)Naye waliwo Abayudaaya abava mu kitundu kye Asiya era basaanye babeewo wano boogere obanga balina kye banvunaana. 20 Oba si ekyo buuza bano abali wano kaakano, bakutegeeze omusango Olukiiko lw’Abayudaaya Olukulu gwe lwandabako, bwe nayimirira mu maaso gaalwo. 21 (P)Mpozzi kino ekimu kye nayogera nti, ‘Ndi wano mu Lukiiko nga mpozesebwa olwokubanga nzikiriza okuzuukira kw’abafu!’ ”

22 Awo Ferikisi, eyali amanyi obulungi ebikwata ku Kkubo, n’agamba Abayudaaya nti, “Lusiya, omuduumizi w’abaserikale mu Yerusaalemi, bw’alituuka ne ndyoka nsala omusango gwammwe.” 23 (Q)N’alagira Pawulo azzibweyo mu kkomera akuumibwe, naye ng’alekerwamu ku ddembe, ne mikwano gye bakkirizibwe okujjanga okumulaba n’okumuleetera bye yeetaaga.

24 (R)Awo nga wayiseewo ennaku ntonotono, Ferikisi n’ajja ne mukyala we Dulusira, eyali Omuyudaaya. N’atumya Pawulo, ne bamuwuliriza ng’abategeeza ku kukkiriza Kristo Yesu. 25 (S)Awo Pawulo bwe yagenda abannyonnyola ebikwata ku butuukirivu, n’okwefuga mu bikolwa, n’okusalirwa omusango okugenda okujja, Ferikisi n’atya nnyo, n’agamba Pawulo nti, “Ebyo binaagira bimala! Kaakano genda, bwe ndifuna ekiseera ekirungi ndyongera okukuyita.” 26 Era Ferikisi yali asuubira nti Pawulo ajja kumuwa enguzi, kyeyava amutumya emirundi mingi n’ayogera naye.

27 (T)Ne wayitawo emyaka ebiri, Polukiyo Fesuto n’adda mu bigere bya Ferikisi. Naye Ferikisi olw’okwagala Abayudaaya bamusiime, bwe yali agenda n’aleka nga Pawulo musibe mu kkomera.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.