Old/New Testament
Zabbuli ya Dawudi gye yayimbira Mukama ng’efa ku Kuusi Omubenyamini.
7 (A)Ayi Mukama, Katonda wange, neesiga ggwe:
ngobaako bonna abangigganya era omponye,
2 (B)si kulwa nga bantagulataagula ng’empologoma
ne bankutulakutula obufiififi ne watabaawo amponya.
3 (C)Ayi Mukama, Katonda wange, obanga nkoze kino,
era ng’engalo zange ziriko omusango,
4 obanga waliwo andaze ebirungi nze ne si muyisa bulungi,
oba nzibye omulabe wange awatali nsonga:
5 Kale, abalabe bange baleke bangoberere bankwate,
bankube wansi banninnyirire,
banzitire mu nfuufu.
6 (D)Golokoka, Ayi Mukama, mu busungu bwo oziyize abalabe bange abajjudde obukambwe.
Golokoka, Ayi Katonda wange,
onnyambe ggwe asala omusango mu bwenkanya.
7 Kuŋŋaanya bannaggwanga bonna okukwetooloola;
obafuge ng’oli waggulu ennyo.
8 (E)Ggwe, Ayi Mukama, Ali Waggulu Ennyo,
asalira amawanga gonna emisango,
osale omusango gwange Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo ng’obutuukirivu bwange bwe buli,
era n’amazima agali mu nze bwe gali.
9 (F)Ayi Katonda omutukuvu,
akebera emitima n’emmeeme;
okomye ebikolwa by’abakola ebibi:
era onyweze abatuukirivu.
10 (G)Katonda Ali Waggulu Ennyo ye ngabo yange;
alokola abo abalina omutima omulongoofu.
11 (H)Katonda mulamuzi wa mazima;
era alaga ekiruyi kye buli lunaku.
12 (I)Mukama awagala ekitala kye
n’aleega omutego gwe
ogw’obusaale.
13 Era ategese ebyokulwanyisa ebissi;
era akozesa obusaale obw’omuliro.
14 (J)Omuntu ajjudde ebibi afuna emitawaana,
n’azaala obulimba.
15 (K)Asima ekinnya, n’akiwanvuya nnyo;
ate n’akigwamu ye kye yasimye.
16 Emitawaana gye gimwebunguludde;
n’obukambwe bwe bumuddire.
17 (L)Nneebazanga Mukama olw’obutuukirivu bwe;
nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lya Mukama Ali Waggulu Ennyo.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
8 (M)Ayi Mukama, Mukama waffe,
erinnya lyo nga ddungi era kkulu nnyo mu nsi yonna!
Ekitiibwa kyo kitenderezebwa
okutuuka waggulu mu ggulu.
2 (N)Abaana abato n’abawere
wabawa amaanyi okukutendereza;
ne basirisa omulabe wo
n’oyo ayagala okwesasuza.
3 (O)Bwe ntunuulira eggulu lyo,
omulimu gw’engalo zo,
omwezi n’emmunyeenye
bye watonda;
4 (P)omuntu kye ki ggwe okumujjukira,
omuntu obuntu ggwe okumussaako omwoyo?
5 (Q)Kubanga wamukola n’abulako katono okuba nga Katonda;
n’omussaako engule ey’obukulu n’ekitiibwa.
6 (R)Wamukwasa okufuga ebintu byonna bye wakola n’emikono gyo:
byonna wabissa wansi w’ebigere bye,
7 ebisibo n’amagana ag’ebisolo byonna eby’omu nsiko,
8 n’ennyonyi ez’omu bbanga,
n’ebyennyanja eby’omu nnyanja;
era na buli kiramu kyonna ekiyita mu nnyanja.
9 (S)Ayi Mukama, Mukama waffe, erinnya lyo nga ddungi
era kkulu nnyo mu nsi yonna!
Ya Mukulu wa Bayimbi. Eyimbibwa okujjukira Okufa kw’Omwana. Zabbuli ya Dawudi.
9 (T)Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama n’omutima gwange gwonna;
nnaayolesanga ebikolwa byo eby’ekitalo byonna.
2 (U)Nnaasanyukanga era nnaajagulizanga mu ggwe.
Nnaayimbanga nga ntendereza erinnya lyo, Ayi Mukama Ali Waggulu Ennyo.
3 Abalabe bange bazzeeyo emabega,
beesittadde ne bazikiririra mu maaso go.
4 (V)Kubanga owagidde ebiŋŋwanira, n’ensonga zange;
era otudde ku ntebe yo ey’obwakabaka n’osala omusango mu bwenkanya.
5 (W)Waboggolera amawanga, n’ozikiriza ababi;
erinnya lyabwe n’olisangulirawo ddala emirembe n’emirembe.
6 (X)Abalabe obamaliddewo ddala,
n’ebibuga byabwe obizikirizza,
era tewali aliddayo kubijjukira.
7 (Y)Naye Mukama afuga emirembe gyonna;
era ataddewo entebe ye ey’okusalirako emisango.
8 (Z)Aliramula ensi mu butuukirivu,
era alisalira abantu bonna emisango mu bwenkanya.
9 (AA)Mukama kye kiddukiro ky’abo abanyigirizibwa;
era kye kigo kyabwe mu biseera eby’akabi.
10 (AB)Abo abamanyi erinnya lyo, Ayi Mukama, banaakwesiganga;
kubanga abakunoonya tobaleka bokka.
11 (AC)Muyimbe okutendereza Mukama, atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu Sayuuni;
mutegeeze amawanga gonna by’akoze.
12 (AD)Ajjukira n’awoolera eggwanga
era assaayo omwoyo eri abo abanyigirizibwa.
13 (AE)Onsaasire, Ayi Mukama; otunuulire abalabe bange abangigganya,
onzigye ku miryango gy’okufa.
14 (AF)Ndyoke nkutenderezenga mu lwatu
mu miryango[a] gy’omuwala wa Sayuuni:
era njagulizenga mu bulokozi bwo.
15 (AG)Abantu mu mawanga bagudde mu binnya bye baasima;
era n’emitego gyabwe gimasuse ne gibakwasa.
16 Mukama yeeraze nga bw’asala emisango egy’ensonga.
Omubi akwatiddwa mu mutego gw’emikono gye.
17 (AH)Ababi balisuulibwa emagombe;
ebyo bye bituuka ku mawanga gonna ageerabira Katonda.
18 (AI)Kubanga abali mu kwetaaga tebalyerabirwa ennaku zonna,
era n’ababonyaabonyezebwa tebaliggwaamu ssuubi emirembe gyonna.
19 Ogolokoke, Ayi Mukama, tokkiriza muntu kuwangula;
leka amawanga gasalirwe omusango mu maaso go.
20 (AJ)Bakankanye n’okutya, Ayi Mukama;
amawanga gonna galyoke gategeere nti bantu buntu.
Pawulo mu Kkolinso
18 (A)Oluvannyuma lw’ebyo, Pawulo n’asitula okuva mu Asene n’alaga mu Kkolinso. 2 (B)Eyo gye yasisinkana omusajja Omuyudaaya erinnya lye Akula, eyazaalibwa mu Ponto, nga yaakava mu ltaliya ne mukazi we Pulisikira, kubanga Kulawudiyo yali awadde ekiragiro okugoba Abayudaaya bonna mu Ruumi. 3 (C)Olw’okuba nga baali bakola omulimu gwe gumu ogw’okukola weema, n’abeeranga nabo, era n’akolanga nabo. 4 (D)Buli lwa Ssabbiiti Pawulo yabeeranga mu kkuŋŋaaniro ng’amatiza Abayudaaya n’Abayonaani.
5 (E)Era Siira ne Timoseewo bwe baatuuka nga bava mu Makedoniya, Pawulo n’awaayo ekiseera kye kyonna mu kubuulira Ekigambo n’okukakasa Abayudaaya nti Yesu ye Kristo. 6 (F)Naye Abayudaaya bwe baatandika okumuwakanya, era n’okuvvoola erinnya lya Yesu, n’akunkumula ebyambalo bye, n’abagamba nti, “Omusaayi gwammwe gubeere ku mitwe gyammwe! Nze ndi mulongoofu. Okuva kaakano nnaagendanga eri Abaamawanga.”
7 Awo Pawulo n’ava eyo n’alaga mu nnyumba ya Tito Yusito, eyasinzanga Katonda, ng’amaka ge galiraanye n’ekkuŋŋaaniro. 8 (G)Kulisupo, eyali omukulu w’ekkuŋŋaaniro, n’ennyumba ye yonna, ne bakkiriza Mukama waffe, n’abalala bangi ku Bakkolinso abaawulira ne bakkiriza era ne babatizibwa.
9 Awo ekiro kimu Mukama n’ayogera ne Pawulo mu kwolesebwa, n’amugamba nti, “Totya! Weeyongere okubuulira, so tosirika! 10 (H)Kubanga ndi wamu naawe, tewali ayinza kukulumba n’akukola kabi. Era mu kibuga muno mulimu abantu bange bangi.” 11 Bw’atyo Pawulo n’abeerayo ebbanga lya mwaka mulamba n’ekitundu ng’ayigiriza ekigambo kya Katonda.
12 (I)Naye Galiyo bwe yalya obwagavana bwa Akaya, Abayudaaya ne beegatta wamu ne balumba Pawulo, ne bamukwata ne bamutwala mu mbuga z’amateeka ewa gavana okumusalira omusango. 13 Ne bamuwawaabira nti, “Omusajja ono asendasenda abantu okusinza Katonda mu ngeri etakkirizibwa mu mateeka.” 14 Naye Pawulo bwe yali ng’atandika okuwoza, Galiyo n’akyukira Abayudaaya abaawaaba n’abagamba nti, “Muwulire, mmwe Abayudaaya. Singa omusango guno gubadde gumenya mateeka, nandibadde nteekwa okubawuliriza. 15 (J)Naye ensonga zammwe nga bwe zifa ku nkozesa y’ebigambo n’amannya, era nga zikwata ku mateeka gammwe, kirungi mmwe muzeemalire. Nze saagala kusala musango gw’ebyo.” 16 Bw’atyo n’abagoba mu mbuga z’amateeka. 17 (K)Awo bonna ne bakyukira Sossene, eyali omukulembeze omuggya ow’ekkuŋŋaaniro, ne bamukwata, ne bamukubira awo mu maaso g’embuga z’amateeka. Kyokka Galiyo teyabafaako.
Pulisikira ne Akula
18 (L)Pawulo n’amala mu kibuga omwo ennaku eziwerako, oluvannyuma n’asiibula abooluganda n’asaabala ku nnyanja n’agenda e Siriya, ng’atutte Pulisikira ne Akula. Naye yali tannasaabala, enviiri ze ne bazisalirako e Kenkereya olw’obweyamo bwe yali akoze. 19 (M)Bwe baatuuka mu Efeso, banne n’abaleka awo n’agenda n’akubaganya ebirowoozo n’Abayudaaya mu kkuŋŋaaniro. 20 Ne bamusaba abeere nabo ennaku eziwerako, naye n’atakkiriza. 21 (N)N’abagamba nti, “Nsaana okugenda ndyoke nsobole okubaawo ku mbaga ejja mu Yerusaalemi.” Kyokka n’abasuubiza nti agenda kukomawo mu Efeso nga Katonda amukkirizza. Bw’atyo n’asaabala ku nnyanja okuva mu Efeso. 22 (O)Pawulo bwe yagoba mu Kayisaliya, n’akyalira Ekkanisa n’oluvannyuma n’aserengeta mu Antiyokiya.
23 (P)Eyo n’amalayo ekiseera, n’asitula n’atambula n’ayitaayita mu bibuga ebiri mu bitundu bya Ggalatiya ne Fulugiya, ng’akyalira abayigirizwa bonna ng’abanyweza mu kukkiriza.
Apolo mu Efeso ne mu Kkolinso
24 (Q)Waaliwo Omuyudaaya erinnya lye Apolo, nga yazaalibwa mu Alegezanderiya eky’omu Misiri, n’atuuka mu Efeso. Yali musajja muyigirize nnyo, era ng’amanyi nnyo Ebyawandiikibwa. 25 (R)Yali ayigirizibbwa Ekkubo lya Mukama, nga w’amaanyi mu mwoyo, era yayogeranga n’ayigiriza bulungi byonna ebifa ku Yesu, wabula ng’amanyi kubatizibwa kwa Yokaana kwokka. 26 N’atandika okubuulira n’obuvumu mu kkuŋŋaaniro. Awo Pulisikira ne Akula bwe baamuwulira, ne bamuyita mu maka gaabwe ne bamunnyonnyola bingi eby’Ekkubo lya Katonda.
27 (S)Awo Apolo n’ayagala okuwunguka agende mu Akaya mu Buyonaani, n’abooluganda ne bamuwagira nnyo mu kirowoozo ekyo. Ne bawandiikira bannaabwe abakkiriza mu Buyonaani bamwanirize n’essanyu. Era bwe yatuuka mu Buyonaani, Katonda n’amukozesa nnyo mu kunyweza Ekkanisa, 28 (T)kubanga yasambajja n’amaanyi mangi ensonga Abayudaaya ze baaleetanga nga bawakanya Enjiri mu bantu, n’asinziiranga mu Byawandiikibwa okulaga nti ddala Yesu ye Kristo.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.