Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Yobu 25-27

Birudaadi Addamu

25 Awo Birudaadi Omusuki n’addamu n’ayogera nti,

(A)“Okufuga kwa Katonda n’entiisa ya Katonda;
    ateekawo enkola entuufu mu bifo ebya waggulu mu ggulu.
(B)Amaggye ge gasobola okubalibwa?
    Ani atayakirwa musana gwe?
(C)Olwo omuntu ayinza atya okwelowooza nti mutuukirivu awali Katonda?
    Omuntu eyazaalibwa omukazi ayinza atya okuba omulongoofu?
(D)Laba n’omwezi tegulina bye gwaka,
    n’emmunyeenye si nnongoofu mu maaso ge.
(E)Ate omuntu obuntu oyo envunyu obuvunyu,
    omwana w’omuntu, oyo olusiriŋŋanyi, ayinza atya okwelowooza nti mulongoofu!”

Yobu Ayanukula

26 Awo Yobu n’addamu nti,

(F)“Ng’oyambye oyo atalina maanyi!
    Ng’oyambye omukono ogwo ogutalina maanyi!
Ng’amagezi ga kitalo ago g’owadde oyo atalina magezi!
    Ng’owadde okuluŋŋamizibwa okuyitirivu!
Ani akuyambye okwogera ebigambo ebyo?
    Era mwoyo ki ogwogeredde mu kamwa ko?

(G)“Abafu kye balimu tekigumiikirizika,
    n’abo abali wansi w’amazzi ne bonna abagabeeramu.
(H)Amagombe gali bwereere mu maaso ga Katonda;
    n’okuzikiriza tekulina kikubisse.
(I)Ayanjuluza eggulu ery’obukiikakkono mu bbanga ejjereere,
    awanika ensi awatali kigiwanirira.
(J)Asiba amazzi mu bire bye;
    ate ebire tebyabika olw’okuzitoowererwa.
(K)Abikka obwenyi bw’omwezi,
    agwanjululizaako ebire bye.
10 (L)Ateekawo ekipimo ekiraga waggulu amazzi g’ennyanja we gayita,
    ng’ensalo eyawula ekitangaala n’ekizikiza.
11 Empagi z’eggulu zikankana,
    zeewuunya olw’okunenya kwe.
12 (M)Afuukuula ennyanja n’obuyinza bwe,
    n’asalaasala Lakabu mu bitundutundu n’amagezi ge.
13 (N)Yafuuwa omukka ogwatereeza eggulu,
    omukono gwe gwafumita omusota oguwulukuka.
14 (O)Naye nga bino katundu butundu ku bye yakola.
    Nga kye tumuwulirako katundu butundu ku ekyo ky’ali!
    Ani ayinza okutegeera okubwatuka kw’obuyinza bwe?”

27 (P)Yobu n’ayongera okwogera kwe bw’ati nti,

(Q)“Nga Katonda bw’ali omulamu, agaanye okusala ensonga yange mu mazima,
    oyo Ayinzabyonna, aleetedde emmeeme yange okulumwa,
(R)gye nkomye okuba nga nkyalina obulamu mu nze,
    omukka gwa Katonda nga gukyali mu nnyindo zange,
(S)emimwa gyange tegijja kwogera butali butuukirivu,
    era olulimi lwange terujja kwogera bulimba.
(T)Sirikkiriza nti muli batuufu;
    okutuusa lwe ndifa, siryeggyako bugolokofu bwange.
(U)Nzija kwongera okunywerera ku butuukirivu bwange obutabuleka;
    omutima gwange tegunsalira musango nga nkyali mulamu.

“Abalabe bange babeere ng’abakozi b’ebibi,
    n’abo abangolokokerako babeere ng’abatali batuukirivu!
(V)Kubanga ssuubi ki oyo atalina Katonda ly’aba nalyo ng’asaliddwako,
    nga Katonda amuggyeko obulamu?
(W)Katonda awulira okukaaba kwe
    ng’ennaku emujjidde?
10 (X)Alifuna essanyu mu oyo Ayinzabyonna?
    Aliyita Katonda ebbanga lyonna?
11 Nzija kubayigiriza ebikwata ku maanyi ga Katonda;
    ebikwata ku oyo Ayinzabyonna sijja kubikweka.
12 Weekalirize bino byonna bye mwerabiddeko,
    lwaki kaakano okwogera ebyo ebitalina makulu?

Empeera y’abakozi b’ebibi

13 (Y)“Eno y’empeera Katonda gy’awa abakozi b’ebibi,
    omugabo omuntu omujoozi gw’afuna okuva eri oyo Ayinzabyonna:
14 (Z)Abaana be ne bwe baba bangi batya, enkomerero yaabwe kitala;
    ezzadde lye teririfuna byakulya bibamala.
15 (AA)Abo abaliwona kawumpuli, balifa ne baziikibwa,
    ne bannamwandu baabwe tebalibakaabira.
16 (AB)Wadde ng’atereka effeeza ng’enfuufu,
    n’engoye ng’entuumo y’ebbumba,
17 (AC)ebyo bye yeeterekera omutuukirivu y’alibyambala,
    era abo abatalina musango be baligabana effeeza ye.
18 (AD)Ennyumba gy’azimba eribeera ng’ey’ekiwojjolo;
    ng’akasiisira akazimbiddwa omukuumi.
19 (AE)Agenda okwebaka nga mugagga, naye ekyo tekiddemu kubaawo,
    kubanga alizuukuka nga byonna biweddewo.
20 (AF)Entiisa erimuzingako ng’amataba;
    kibuyaga amutwala ekiro mu kyama.
21 (AG)Embuyaga ey’ebuvanjuba emutwalira ddala n’agenda;
    emuggya mu kifo kye n’amaanyi.
22 (AH)Emukuba awatali kusaasira,
    ng’adduka ave mu maanyi gaayo.
23 (AI)Erimukubira engalo zaayo,
    n’emusiiya okuva mu kifo kye.”

Ebikolwa by’Abatume 12

Peetero Aggyibwa mu Kkomera

12 Awo mu biro ebyo Kabaka Kerode n’atandika okuyigganya abamu ku bakkiriza ab’omu Kkanisa. (A)N’atta Yakobo muganda wa Yokaana n’ekitala. (B)Bwe yalaba nga ky’akoze kisanyusizza Abayudaaya, n’akwata Peetero mu kiseera eky’Embaga ey’Emigaati Egitazimbulukuswa n’amusiba mu kkomera, ng’amutaddeko abaserikale abamukuuma kkumi na mukaaga mu bibinja bina eby’abaserikale banabana. Kerode yali ategese amuleete mu bantu, ng’Embaga y’Okuyitako ewedde.

(C)Peetero n’akuumirwa mu kkomera, naye Ekkanisa n’enyiikira nnyo okumusabira eri Katonda.

(D)Ekiro ekyo, ng’enkeera Kerode ategese okuwaayo Peetero, Peetero yali yeebase wakati w’abaserikale babiri, ng’asibiddwa n’enjegere bbiri, nga ne ku mulyango gw’ekkomera kuliko abakuumi. (E)Laba malayika wa Mukama n’ayimirira awali Peetero, ekitangaala ne kyaka mu kisenge, Malayika n’akuba ku Peetero mu mbiriizi n’amuzuukusa ng’amugamba nti, “Yanguwa. Ggolokoka.” Enjegere ne ziva ku mikono gye ne zigwa wansi.

Malayika n’amugamba nti, “Weesibe olukoba lwo, oyambale n’engatto zo.” Peetero n’akola nga bw’agambiddwa. Malayika n’amugamba nti, “Kale, yambala omunagiro gwo ongoberere.” (F)Awo Peetero n’agoberera malayika. Naye ekiseera kino kyonna ng’alowooza nti alabye kwolesebwa, nga tayinza kukitegeera nti byonna ebyali bimutuukako mu kaseera ako byaliwo ddala. 10 (G)Ne bayita ku bakuumi abasooka n’abookubiri ne batuuka ku luggi olunene olw’ekyuma olufuluma mu kkomera nga luggukira mu kibuga. Luno ne lweggulawo lwokka, ne bayitamu. Bwe baatambulako akabanga mu luguudo mu kibuga, amangwago malayika n’amuleka.

11 (H)Awo Peetero bwe yeddamu n’alyoka ategeera bwe bibadde, n’agamba nti, “Ntegeeredde ddala nga Mukama yatumye malayika we n’anziggya mu mukono gwa Kerode, era n’amponya n’eby’akabi byonna Abayudaaya bye babadde bantegekedde.”

12 (I)Bwe yamala okukakasa ebyo munda ye, n’atambula n’alaga mu maka ga Maliyamu nnyina wa Yokaana Makko, abantu bangi gye baali bakuŋŋaanidde nga basaba. 13 (J)Awo Peetero n’akonkona ku luggi olunene olw’ebweru, omuwala omuweereza erinnya lye Looda n’ajja okuggulawo. 14 (K)Naye bwe yategeera nga ddoboozi lya Peetero essanyu ne limuyitirira, n’adduka buddusi nga n’oluggi talugguddeewo, n’ategeeza abaali mu nju nti, “Peetero ali wabweru ku luggi!”

15 (L)Naye abaali mu nju ne bamuddamu nti, “Oguddemu akazoole.” Naye ne yeyongera okulumiriza nti ky’agamba bwe kiri. Ne bagamba nti, “Oyo malayika we.”

16 Naye Peetero n’ayongera okukonkona. Oluvannyuma ne bagenda ne baggulawo oluggi, ne bamulaba. Ne basamaalirira nnyo. 17 (M)N’abakomako basirike, n’alyoka abategeeza byonna ebyamubaddeko, nga Mukama bwe yamusumuludde mu kkomera. N’abagamba nti, “Mutegeeze Yakobo n’abooluganda bino byonna ebibaddewo.” Awo n’afuluma n’alaga mu kifo ekirala.

18 Enkeera ekkomera ne lijjula akagugumuko ng’abaserikale beebuuza nti, “Peetero abulidde wa?” 19 (N)Awo Kerode bwe yamutumya ne basanga nga taliiyo, ne bamunoonya n’ababula. Abaserikale bwe baamala okuwozesebwa n’alagira babafulumye babatte.

Okufa kwa Kerode

Oluvannyuma Kerode n’ava e Buyudaaya n’agenda abeera e Kayisaliya. 20 (O)Kerode yali anyiigidde abantu b’e Ttuulo n’e Sidoni. Awo ne bamuweereza ababaka baabwe okujja okumulaba, ne bakwana omuwandiisi we Bulasito, era n’abayamba okubatuusiza ensonga zaabwe ewa Kerode nga bamusaba emirembe, kubanga emmere eyali eriisa ebibuga byabwe byombi yali eva mu nsi ya kabaka.

21 Awo olunaku olwategekebwa bwe lwatuuka, Kerode n’ayambala eminagiro gye egy’obwakabaka n’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka, n’ayogera eri ababaka n’abantu bonna. 22 Abantu bonna ne boogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Lino ddoboozi lya Katonda so si lya muntu!” 23 (P)Amangwago malayika wa Mukama n’amubonereza, n’ajjula envunyu yenna, ne zimulya n’afa, kubanga yakkiriza abantu ne bamusinza, n’atawa Katonda kitiibwa.

24 (Q)Awo ekigambo kya Katonda ne kyeyongera okubuna wonna.

Balunabba ne Sawulo Baddayo mu Antiyokiya

25 Balunabba ne Sawulo bwe baamala okutuukiriza ekyabaleeta mu Yerusaalemi, ne baddayo ne Yokaana ayitibwa Makko.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.