Old/New Testament
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi. Nnabbi Nasani bwe yajja eri Dawudi, Dawudi ng’amaze okutwala Basuseba n’okutemula bba, Uliya.
51 (A)Onsaasire, Ayi Mukama,
ggwe alina okwagala okutaggwaawo.
Olw’okusaasira kwo okungi
nziggyaako ebyonoono byange byonna.
2 (B)Nnaazaako obutali butuukirivu bwange,
ontukulize ddala okuva mu kibi kyange.
3 (C)Ebyonoono byange mbikkiriza,
era ebibi byange mbimanyi bulijjo.
4 (D)Ggwe wennyini ggwe nnyonoonye,
ne nkola ebitali bya butuukirivu mu maaso go ng’olaba;
noolwekyo by’oyogera bituufu,
era n’ensala yo ey’omusango ya bwenkanya.
5 (E)Ddala, nazaalibwa mu kibi;
kasookedde ntondebwa mu lubuto lwa mmange ndi mwonoonyi.
6 (F)Oyagala amazima agaviira ddala mu mutima gwange.
Ompe amagezi munda ddala mu nze.
7 (G)Onnaaze n’ezobu[a] ntukule
onnaaze ntukule n’okusinga omuzira.
8 (H)Onzirize essanyu n’okwesiima,
amagumba gange ge wamenyaamenya gasanyuke.
9 (I)Totunuulira bibi byange,
era osangule ebyonoono byange byonna.
10 (J)Ontondemu omutima omulongoofu, Ayi Katonda,
era onteekemu omwoyo omulungi munda yange.
11 (K)Tongoba w’oli,
era tonzigyako Mwoyo wo Omutukuvu.
12 (L)Onkomezeewo essanyu ery’obulokozi bwo,
era ompe omutima ogugondera by’oyagala,
13 (M)ndyoke njigirizenga aboonoonyi amakubo go,
n’abakola ebibi bakukyukirenga bakomewo gy’oli.
14 (N)Ondokole mu kibi eky’okuyiwa omusaayi, Ayi Katonda,
ggwe Katonda ow’obulokozi bwange;
olulimi lwange lunaatenderezanga obutuukirivu bwo.
15 (O)Ayi Mukama, yasamya emimwa gyange,
n’akamwa kange kanaakutenderezanga.
16 (P)Tosanyukira ssaddaaka, nandigikuleetedde;
n’ebiweebwayo ebyokebwa tobisanyukira.
17 (Q)Ssaddaaka Katonda gy’ayagala gwe mwoyo ogutegedde okusobya kwagwo.
Omutima ogumenyese era oguboneredde,
Ayi Katonda, toogugayenga.
18 (R)Okulaakulanye Sayuuni nga bw’osiima.
Yerusaalemi okizzeeko bbugwe waakyo.
19 (S)Olyoke osanyukire ssaddaaka ey’obutuukirivu,
ebiweebwayo ebyokebwa ebikusanyusa;
n’ente ziweebweyo ku kyoto kyo.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi Dowegi Omwedomu bwe yagenda n’abuulira Sawulo nti, “Dawudi alaze mu nnyumba ya Akimereki.”
52 (T)Lwaki weenyumiririza mu kibi ggwe omusajja ow’amaanyi?
Endagaano ya Katonda ey’obwesigwa ebeerera emirembe n’emirembe.
2 (U)Oteekateeka enkwe ez’okuzikiriza.
Olulimi lwo lwogi nga kkirita
era buli kiseera lwogera bya bulimba.
3 (V)Oyagala okukola ebibi okusinga okukola ebirungi,
n’okulimba okusinga okwogera amazima.
4 (W)Osanyukira nnyo okwogera ebirumya.
Ggwe olulimi kalimbira!
5 (X)Kyokka Katonda alikuzikiriza emirembe gyonna;
alikusikula, akuggye mu maka go;
alikugoba mu nsi y’abalamu.
6 (Y)Bino abatuukirivu balibiraba, ne babitunuulira nga batidde.
Naye balikusekerera, nga bwe bagamba nti,
7 (Z)“Mumulabe omusajja
ateesiga Katonda okuba ekiddukiro kye,
naye ne yeesiganga obugagga bwe obungi,
ne yeeyongera n’amaanyi ng’azikiriza abalala.”
8 (AA)Naye nze nfaanana ng’omuti omuzeyituuni
ogukulira mu nnyumba ya Katonda.
Neesiga okwagala kwa Katonda okutaggwaawo
emirembe n’emirembe.
9 (AB)Nnaakwebazanga emirembe gyonna olw’ekyo ky’okoze.
Nneesiganga erinnya lyo kubanga erinnya lyo ddungi;
era nnaakutendererezanga awali abatuukirivu bo.
Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.
53 (AC)Omusirusiru ayogera mu mutima gwe nti,
“Tewali Katonda.”
Boonoonefu, n’empisa zaabwe mbi nnyo;
tewali n’omu akola kirungi.
2 (AD)Katonda atunuulira abaana b’abantu
ng’asinziira mu ggulu,
alabe obanga mulimu mu bo abamutegeera
era abamunoonya.
3 (AE)Bonna bamukubye amabega
ne boonooneka;
tewali akola kirungi,
tewali n’omu.
4 Aboonoonyi tebaliyiga?
Basaanyaawo abantu bange, ng’abalya emmere;
so tebakoowoola Katonda.
5 (AF)Balitya okutya okutagambika;
kubanga Katonda alisaasaanya amagumba g’abalabe be.
Baliswazibwa
kubanga Katonda yabanyooma.
6 Singa obulokozi bwa Isirayiri bufuluma mu Sayuuni,
Katonda n’akomyawo emirembe eri abantu be,
Yakobo asanyuka ne Isirayiri n’ajaguza.
Omusango Katonda aligusala na bwenkanya
2 (A)Gwe anenya omuntu omulala, okola ebibi bye bimu ne by’onenyeza omuntu oyo. Kyonoova olema okubeera n’eky’okuwoza, kubanga bw’okola bw’otyo, weesalira wekka omusango. 2 Naye kaakano, tumanyi nga Katonda mutuufu okunenya abo abakola ebiri ng’ebyo. 3 Naye ggwe omuntu obuntu, akola ebiri ng’ebyo, kyokka n’onenya abantu abalala, olowooza nga Katonda alikuleka? 4 (B)Oba onyooma ekisa kya Katonda ekingi, n’okugumiikiriza kwe n’obukwatampola bwe? Tomanyi ng’ekisa kya Katonda kikuleeta mu kwenenya?
5 (C)Naye olw’obukakanyavu bwo n’omutima oguteenenya, weeterekera ekiruyi ku lunaku lw’ekiruyi n’okubikkulirwa, Katonda lw’alisalirako omusango ogw’obutuukirivu. 6 (D)Katonda aliwa buli omu empeera esaanira ebikolwa bye. 7 (E)Aliwa obulamu obutaggwaawo abo abaakola obulungi, nga balina essuubi ery’okuweebwa ekitiibwa, ettendo n’obulamu obw’emirembe n’emirembe. 8 (F)Naye abo abeenoonyeza ebyabwe, abajeemera amazima nga bagondera obutali butuukirivu, kiriba kiruyi na busungu. 9 (G)Walibaawo ennaku n’okubonaabona ku buli mmeeme y’omuntu akola ebibi, okusookera ku Muyudaaya n’oluvannyuma ku Munnaggwanga. 10 (H)Naye ekitiibwa n’ettendo n’emirembe biriba ku buli akola ebituufu, okusookera ku Muyudaaya n’oluvannyuma ku Munnaggwanga. 11 (I)Kubanga Katonda tasosola mu bantu.
12 (J)Abo bonna abaayonoona olw’obutamanya mateeka, balizikirira; era n’abo bonna abaamanya amateeka ne boonoona, bwe batyo bwe balisalirwa omusango, okusinziira mu Mateeka. 13 (K)Kuba abawulira obuwulizi amateeka, si be bejjeerera eri Katonda, wabula abo abakola bye galagira, be baliweebwa obutuukirivu. 14 (L)Abaamawanga abatalina mateeka bwe bakolera mu buzaaliranwa ebintu eby’Amateeka, ebintu ebyo byennyini bifuuka amateeka gye bali, newaakubadde ng’Amateeka tegaabaweebwa. 15 Ekyo kiraga ng’Amateeka gawandiikibbwa mu mitima gyabwe, era kikakasa munda mu birowoozo byabwe, ng’emitima gyabwe giribasaliriza omusango oba okubejjeereza okusinziira ku ekyo kye bamanyi. 16 (M)Kino kiribaawo ku lunaku Katonda kw’aliramulira abantu olw’ebyo bye baakisa, ng’enjiri yange bw’eri ku bwa Yesu Kristo.
Abayudaaya n’amateeka
17 (N)Abamu ku mmwe mweyita Bayudaaya. Mwesiga amateeka ne mwewaana nga bwe mumanyi Katonda. 18 Bwe musoma ebyawandiikibwa muyiga engeri Katonda gy’ayagala mweyise ne muzuula ekituufu. 19 Mukakasa nga bwe muli abakulembeze b’abazibe b’amaaso, era ettabaaza eri abo bonna abali mu kizikiza. 20 Naye olwokubanga, amateeka ga Katonda gatuwa amagezi n’amazima, mulowooza muyinza okuyigiriza abatali bagezi n’abaana abato. 21 (O)Kale ggwe ayigiriza abalala, lwaki toyinza kweyigiriza wekka? Ategeeza abalala obutabba, tobba? 22 (P)Ategeeza obutayenda, toyenda? Akyawa ebifaananyi, si ggwe onyaga eby’omu masabo? 23 (Q)Mwenyumiririza mu mateeka, naye ne muswaza Katonda olw’obutagatuukiriza. 24 (R)Ekyawandiikibwa kigamba nti, “Olw’ebikolwa byammwe ebyo, erinnya lya Katonda kyelivudde livvoolebwa mu mawanga.”
25 (S)Okukomolebwa kugasiza ddala bw’okwata amateeka, naye bw’otagatuukiriza tewaba njawulo wakati wo n’atali mukomole. 26 (T)Kale obanga atali mukomole akwata amateeka, talibalibwa ng’eyakomolebwa? 27 (U)Noolwekyo ataakomolebwa mu buzaaliranwa naye ng’akuuma amateeka, alikusaliza omusango gwe alina amateeka amawandiike n’otagatuukiriza ate nga wakomolebwa.
28 (V)Okweyisa ng’Omuyudaaya ate nga wakomolebwa, tekikufuula Muyudaaya yennyini. 29 (W)Okuba Omuyudaaya yennyini oteekwa okugondera amateeka. Okukomolebwa okutuufu kwe kukomolebwa okubaawo mu mutima, so si okw’omubiri. Omuntu ng’oyo atenderezebwa Katonda, so si abantu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.