Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zabbuli 49-50

Ya Mukulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Batabani ba Koola.

49 (A)Muwulire mmwe amawanga gonna,
    mutege amatu mmwe mwenna abali mu nsi.
Ab’ekitiibwa n’abakopi, abagagga n’abaavu, mwenna;
    muwulirize ebigambo byange.
(B)Kubanga ebigambo by’omu kamwa kange bya magezi,
    ebiva mu mutima gwange bijjudde okutegeera.
(C)Nnaakozesanga ebikwata ku ngero,
    nga nnyinnyonnyola amakulu gaazo n’oluyimba ku nnanga.

(D)Siityenga ne bwe nnaabanga mu buzibu;
    newaakubadde ng’abalabe bange banneetoolodde,
(E)abantu abeesiga obugagga bwabwe
    beenyumiririza mu bintu ebingi bye balina.
Ddala ddala, tewali muntu ayinza kununula bulamu bwa munne,
    wadde okwegula okuva eri Katonda.
(F)Kubanga omuwendo ogununula obulamu munene nnyo,
    tewali n’omu agusobola;
(G)alyoke awangaale ennaku zonna
    nga tatuuse magombe.
10 (H)Kubanga n’abantu abagezi bafa;
    abasirusiru n’abatalina magezi bonna baaggwaawo,
    obugagga bwabwe ne babulekera abalala.
11 (I)Entaana zaabwe ge ganaabanga amaka gaabwe ennaku zonna;
    nga bye bisulo ebya buli mulembe oguliddawo;
    baafuna ettaka mu mannya gaabwe.

12 Omuntu tabeerera mirembe gyonna, ne bw’aba mugagga atya,
    alifa ng’ensolo bwe zifa.

13 (J)Ako ke kabi akatuuka ku beesiga ebitaliimu,
    era ye nkomerero y’abo abeesiga obugagga bwabwe.
14 (K)Okufaanana ng’endiga, bateekwa kufa;
    olumbe ne lubalya.
Bakka butereevu emagombe,
    obulungi bwabwe ne bubula,
    amagombe ne gafuuka amaka gaabwe.
15 (L)Naye Katonda alinunula emmeeme yange mu magombe,
    ddala ddala alintwala gy’ali.
16 Omuntu bw’agaggawalanga n’ekitiibwa ky’ennyumba ye nga kyeyongedde,
    tomutyanga,
17 (M)kubanga bw’alifa taliiko ky’alitwala, wadde n’ekitiibwa kye tekirigenda naye.
18 (N)Newaakubadde nga mu bulamu yeerowoozaako ng’aweereddwa omukisa
    kubanga omugagga abantu bamugulumiza,
19 (O)kyokka alikka emagombe eri bajjajjaabe,
    n’ayingira mu kizikiza ekikutte.

20 (P)Omuntu omugagga naye nga simutegeevu tabeerera mirembe gyonna,
    alizikirira ng’ensolo ez’omu nsiko.

Zabbuli ya Asafu.

50 (Q)Oyo Owaamaanyi, Mukama Katonda,
    akoowoola ensi
    okuva enjuba gy’eva okutuuka gy’egwa.
(R)Katonda ayakaayakana
    ng’ava mu Sayuuni n’obulungi bw’ekitiibwa kye ekituukiridde.
(S)Katonda waffe ajja, naye tajja kasirise,
    omuliro ogusaanyaawo buli kintu gwe gumukulembera,
    n’omuyaga ogw’amaanyi ne gumwetooloola.
(T)Akoowoola abali mu ggulu ne ku nsi,
    azze okusalira abantu be omusango.
(U)Agamba nti, “Munkuŋŋaanyize abantu bange abaayawulibwa,
    abaakola nange endagaano nga bawaayo ssaddaaka.”
(V)Eggulu litegeeza obutuukirivu bwa Katonda
    kubanga Katonda yennyini ye mulamuzi.

(W)“Muwulirize, mmwe abantu bange, nange nnaayogera.
    Ggwe Isirayiri bino bye nkuvunaana:
    Nze Katonda, Katonda wo.
(X)Sikunenya lwa ssaddaaka zo,
    oba ebiweebwayo ebyokebwa by’ossa mu maaso gange bulijjo.
(Y)Sikyakkiriza nte nnume n’emu evudde mu kiralo kyo,
    wadde embuzi ennume ezivudde mu bisibo byo.
10 (Z)Kubanga buli nsolo ey’omu kibira yange,
    awamu n’ente eziri ku nsozi olukumi.
11 Ennyonyi zonna ez’oku nsozi nzimanyi,
    n’ebiramu byonna eby’omu nsiko byange.
12 (AA)Singa nnumwa enjala sandikubuulidde:
    kubanga ensi n’ebigirimu byonna byange.
13 Ndya ennyama y’ente ennume,
    wadde okunywa omusaayi gw’embuzi?

14 (AB)“Owangayo ssaddaaka ey’okwebaza eri Katonda;
    era otuukirizanga obweyamo bwo eri oyo Ali Waggulu Ennyo.
15 (AC)Bw’obanga mu buzibu,
    nnaakuwonyanga, naawe onongulumizanga.”

16 (AD)Naye omubi Katonda amugamba nti,

“Lekeraawo okwatulanga amateeka gange,
    n’endagaano yange togyogerangako.
17 (AE)Kubanga okyawa okuluŋŋamizibwa,
    n’ebigambo byange tobissaako mwoyo.
18 (AF)Bw’olaba omubbi, ng’omukwana;
    era weetaba n’abenzi.
19 (AG)Okolima era olimba;
    olulimi lwo lwogera ebitali bya butuukirivu.
20 (AH)Muganda wo omwogerako bibi byereere buli kiseera,
    era owayiriza omwana wa nnyoko yennyini.
21 (AI)Ebyo byonna obikoze, ne nsirika,
    n’olowooza nti twenkanankana.
Naye kaakano ka nkunenye,
    ebisobyo byonna mbikulage.

22 (AJ)“Ggwe eyeerabira Katonda, ebyo bisseeko omwoyo,
    nneme kukuyuzaayuza nga tewali na wa kukuwonya.
23 (AK)Oyo awaayo ssaddaaka ey’okwebaza angulumiza,
    era ateekateeka ekkubo
    ndyoke mulage obulokozi bwa Katonda.”

Abaruumi 1

(A)Nze Pawulo, omuddu[a] wa Yesu Kristo, Mukama waffe Kristo, nayitibwa okuba omutume, eyayawulibwa okubuulira Enjiri ya Katonda, (B)gye yasuubiriza mu bannabbi be mu byawandiikibwa ebitukuvu, (C)ebyogera ku Mwana we, eyava mu zadde lya Dawudi mu mubiri, eyakakasibwa okuba Omwana wa Katonda mu maanyi aga Mwoyo Mutukuvu olw’okuzuukira kw’abafu, ye Yesu Kristo Mukama waffe. (D)Mu Yesu Kristo Mukama waffe, mwe twaweerwa ekisa, ne mpitibwa okuba omutume, amawanga gonna galyoke gamugondere mu kukkiriza ku lw’erinnya lye. (E)Nammwe muli mu abo abaayitibwa okuba abayigirizwa ba Yesu Kristo.

(F)Mpandikira abo bonna ababeera mu Ruumi, abaagalwa ba Katonda, abaayitibwa okuba abatukuvu.[b]

Ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Mukama waffe, bibeerenga nammwe.

Pawulo Ayagala Okukyala mu Ruumi

(G)Okusooka neebaza nnyo Katonda wange ku lwammwe mwenna, ku bwa Yesu Kristo, olw’okukkiriza kwammwe okunywevu okwogerwako mu nsi yonna. (H)Katonda gwe mpeereza n’omutima gwange gwonna nga mbulira Enjiri ey’Omwana we, ye mujulirwa wange, nga bwe mbasabira bulijjo, 10 (I)nga mbegayiririra bulijjo mu kusaba kwange, ndyoke nsobole okubatuukako nga Katonda bw’anaayagala.

11 (J)Kubanga neesunga nnyo okubalaba, ndyoke mbawe ku kirabo eky’omwoyo, mulyoke munywezebwe okutuuka ku nkomerero, 12 kwe kugamba: twezengamu amaanyi ffekka ne ffekka olw’okukkiriza kwe tulina. 13 (K)Wabula njagala mumanye kino, abooluganda nti, Emirundi mingi nateekateeka okujja gye muli naye ne nziyizibwa okutuusa kaakano, ndyoke nkungule ebibala mu mmwe, nga bwe kiri mu mawanga amalala.

14 (L)Kubanga nnina ebbanja eri Abayonaani n’abatali Bayonaani, n’eri ab’amagezi n’eri abasirusiru, 15 (M)era nammwe ab’e Ruumi kyenva njagala okubabuulira Enjiri.

16 (N)Enjiri tenkwasa nsonyi: kubanga ge maanyi ga Katonda agalokola buli muntu akkiriza, okusooka eri Omuyudaaya n’eri Omunnamawanga. 17 (O)Kubanga mu yo obutuukirivu bwa Katonda bubikkulibwa. Obutuukirivu obwo butuweebwa olw’okukkiriza, olw’okukkiriza kwokka, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Abatuukirivu banaabeeranga balamu lwa kukkiriza.”

Obusungu bwa Katonda eri abantu

18 (P)Kubanga obusungu bwa Katonda bubikkulibbwa okuva mu ggulu ku abo abatatya Katonda bonna n’abakaafiiri bonna ku bye bakola okuziyiza amazima okuvaayo. 19 (Q)Kubanga ebisoboka okumanyibwa ku Katonda bibabikkuliddwa, kubanga Katonda abibalaze byonna mu bujjuvu. 20 (R)Kubanga okuviira ddala ku kutondebwa kw’ensi, ebintu bye ebitalabika, bwe buyinza bwe obutaggwaawo n’obwa Katonda bwe, bitegeerwa ne birabikira ddala mu by’obutonde bwe, abantu balyoke baleme kubaako na kya kwewolereza.

21 (S)Kubanga newaakubadde nga Katonda bamumanyi, tebaamugulumiza nga Katonda wadde okumwebazanga, naye ne bagobereranga ebitaliimu mu mpaka zaabwe, omutima gwabwe omusirusiru ne gujjuzibwa ekizikiza. 22 (T)Beeyita ab’amagezi ne bafuuka abasirusiru, 23 (U)ne bawanyisa ekitiibwa kya Katonda ataggwaawo okukifaananyiriza ekifaananyi ky’omuntu aggwaawo, n’eky’ebinyonyi, n’eky’ebirina amagulu ana n’eky’ebyewalula.

24 (V)Katonda kyeyava abaleka, emitima gyabwe ne girulunkanira eby’obugwagwa ne bawemula emibiri gyabwe bokka na bokka. 25 (W)Ne bafuula amazima ga Katonda okuba obulimba ne basinza era ne baweereza ebitonde, mu kifo ky’okusinza eyabitonda, eyeebazibwa emirembe n’emirembe. Amiina.

26 (X)Katonda kyeyava abaleka ne beeyongera mu kwegomba kwabwe okw’obuwemu. Abakazi baabwe baawanyisa enkolagana yaabwe ey’obuzaaliranwa n’abasajja, ne bakola ebitali bya buzaaliranwa. 27 (Y)Abasajja nabo baalekayo okwegatta ne bakazi baabwe mu ngeri ey’obuzaaliranwa, ne bajjuzibwa obukaba ne beegatta ne basajja bannaabwe. N’ekyava mu bikolwa ebyo eby’obugwagwa, kwe kusasulibwa empeera esaanira okwonoona kwabwe.

28 (Z)Bwe baagaana okumanya Katonda, Katonda kyeyava abaleka ne babeera n’omutima omwonoonefu ne bakola ebitasaana. 29 (AA)Bajjuzibbwa obutali butuukirivu bwonna, n’ebibi, n’omululu, n’obukyayi, n’obuggya, n’obussi, n’entalo, n’obulimba, n’enkwe, n’okwogera ebitasaana, nga basala ku bannaabwe ebigambo, 30 (AB)era nga bageya, nga bakyawa Katonda, nga bavuma bannaabwe, nga bajjudde amalala n’okwekulumbaza, nga bagunjawo enkola y’ebikyamu, era nga bajeemera bakadde baabwe. 31 (AC)Tebategeera so tebalina kukkiriza, tebalina kwagala, era tebalina mutima gusaasira. 32 (AD)Newaakubadde nga bamanyi nga Katonda yagamba nti abantu abakola ebintu ng’ebyo balizikirizibwa, tebakoma ku kubikola kyokka, naye basiima n’abo ababikola.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.