Print Page Options
Previous Prev Day Next DayNext

Old/New Testament

Each day includes a passage from both the Old Testament and New Testament.
Duration: 365 days
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)
Version
Zeffaniya 1-3

(A)Ekigambo kya Mukama ekyajjira Zeffaniya mutabani wa Kuusi, muzzukulu wa Gedaliya, muzzukulu wa Amaliya, muzzukulu wa Keezeekiya, mu mirembe gya Yosiya mutabani wa Amoni, Kabaka wa Yuda.

Okulabula kw’Omusango n’Okuzikirizibwa kwa Yuda

(B)“Ndizikiririza ddala byonna okuva ku nsi,” bw’ayogera Mukama.
(C)“Ndizikiriza abantu wamu n’ensolo;
    ndizikiriza ebinyonyi eby’omu bbanga
    n’ebyennyanja;
ababi balisigaza ntuumu ya kafakalimbo;
    bwe ndimalawo abantu okuva ku nsi,”
    bw’ayogera Mukama.
(D)Ndigololera ku Yuda omukono gwange,
    era ne ku abo bonna abali mu Yerusaalemi;
era ekitundu kya Baali ekifisseewo n’ennyumba ya Bakemali,
    bakabona abasinza ebifaananyi, ndibazikiriza okuva mu kifo kino,
(E)abo abavuunamira eggye ery’omu ggulu
    ku nnyumba waggulu,
ne balisinza n’abo abalayira mu linnya lya Mukama,
    ate nga balayira ne mu linnya lya Malukamu,
(F)abo abadda emabega obutagoberera Mukama,
    wadde abo abatamunoonya newaakubadde okumwebuuzaako.

(G)Siriikirira awali Mukama Katonda,
    kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi.
Mukama ategese ssaddaaka,
    era atukuzizza abagenyi be.

(H)Ku lunaku olwa ssaddaaka ya Mukama,
    ndibonereza abakungu
    n’abaana ba Kabaka,
n’abo bonna abambadde
    ebyambalo ebitasaana.
(I)Awo ku lunaku olwo ndibonereza
    abo bonna abeewala okulinnya ku muziziko,
n’abo abajjuza ennyumba ya Mukama waabwe
    ebikolwa eby’obukambwe n’obulimba.

10 (J)Ku lunaku olwo, bw’ayogera Mukama,
    eddoboozi ery’okukaaba liriwulikika ku Mulyango ogw’Ebyennyanja,
    okukaaba okuva ku luuyi olwokubiri,
    n’okubwatuka okunene okuva ku nsozi.
11 (K)Mwekaabireko, mmwe abali mu matwale g’akatale;
    abasuubuzi bammwe bonna zibasanze,
    n’abo abeebinika ffeeza balizikirizibwa.
12 (L)Awo olulituuka mu biro ebyo ndimulisa Yerusaalemi n’ettabaaza nga nnoonya,
    mbonereze abo bonna abalagajjavu
    abali ng’omwenge ogutanasengejjebwa,
abalowooza nti Mukama
    talibaako ne ky’akolawo.
13 (M)Obugagga bwabwe bulinyagibwa,
    n’ennyumba zaabwe zimenyebwemenyebwe.
Ne bwe balizimba ennyumba
    tebalizituulamu,
era balisimba ennimiro ez’emizabbibu nazo
    tebalinywa wayini wamu.

Olunaku lwa Mukama Olukulu

14 (N)Olunaku lwa Mukama olukulu luli kumpi;
    ddala lunaatera okutuuka.
Wuliriza! Omulwanyi alikaabira eyo ng’aliko obuyinike bungi,
    n’okukaaba ku lunaku lwa Mukama kujja kuba kungi nnyo.
15 (O)Olunaku olwo lunaku lwa busungu,
    lunaku lwa buyinike n’okulaba ennaku,
lunaku lwa mutawaana n’okuzikirira,
    olunaku olw’ekikome n’ekizikiza,
    olunaku lw’ebire n’ekizikiza ekikutte ennyo;
16 (P)olunaku olw’okufuuwa ekkondeere n’okulangirira olutalo
    ku bibuga ebiriko ebigo
    n’eri eminaala emigulumivu.

17 (Q)Ndireeta, obuyinike ku bantu,
    batambule ng’abazibe b’amaaso,
    kubanga bakoze ebibi mu maaso ga Mukama,
omusaayi gwabwe guliyiyibwa ng’enfuufu,
    n’ebyenda byabwe bivundire kungulu.
18 (R)Effeeza yaabwe ne zaabu yaabwe
    tebiriyinza kubataasa
    ku lunaku olw’obusungu bwa Mukama.

Ensi yonna erizikirizibwa
    omuliro gw’obuggya bwe,
era alimalirawo ddala
    abo bonna abali mu nsi.

Abalabe ba Isirayiri basalirwa omusango

(S)Mukuŋŋaane, weewaawo, mukuŋŋaane,
    mmwe eggwanga eritalina nsonyi,
(T)ekiseera ekyategekebwa nga tekinnatuuka,
    olunaku ne luba ng’ebisusunku ebifuumulibwa,
obusungu bwa Mukama nga tebunnabatuukako,
    ng’olunaku olw’obusungu bwa Mukama terunnabatuukako.
(U)Munoonye Mukama, mmwe mwenna abawombeefu ab’omu nsi,
    abakola by’alagira;
munoonye obutuukirivu n’obuwombeefu;
    mpozzi mulikwekebwa
    ku lunaku olw’obusungu bwe.

Obubaka eri Abafirisuuti

(V)Gaza kirirekebwawo,
    ne Asukulooni kiriba matongo:
abantu ba Asudodi baligobebwamu mu ttuntu,
    ne Ekuloni kirisimbulibwa.
(W)Zibasanze mmwe ababeera ku lubalama lw’ennyanja,
    eggwanga ery’Abakeresi!
Ekigambo kya Mukama kikwolekedde,
    ggwe Kanani, ensi ey’Abafirisuuti.
Ndikuzikiriza
    so tewaliba asigalawo.
(X)Olubalama lw’ennyanja ab’Akeresi gye babeera
    luliba malundiro g’abasumba n’ebisulo by’endiga.
(Y)Olubalama lw’ennyanja luliba lwa kitundu ky’ennyumba ya Yuda ekyasigalawo
    era we banaalundiranga,
ne mu nnyumba za Asukulooni
    mwe banaagalamiranga akawungeezi.
Mukama Katonda waabwe alibalabirira,
    n’akomyawo obugagga bwabwe.

Obubaka eri Abamowaabu n’Abamoni

(Z)Mpulidde okuvuma kwa Mowaabu
    n’okusekerera kw’Abamoni
kwe bavumye abantu bange
    ne batiisatiisa ensi yaabwe.
(AA)Kale nga bwe ndi omulamu,
    bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna, Katonda wa Isirayiri,
ddala Mowaabu aliba nga Sodomu,
    n’abaana ba Amoni nga Ggomola,
ekifo emyennyango kye gyemala, n’ebirombe by’omunnyo,
    amatongo agolubeerera. Balinyagibwa abantu bange abaliba basigaddewo,
n’ekitundu ky’eggwanga lyange ekifisseewo kiritwala ensi yaabwe.

10 (AB)Eno y’eriba empeera yaabwe olw’amalala gaabwe,
    kubanga bavumye ne banyooma abantu ba Mukama Ayinzabyonna.
11 (AC)Mukama aliba wa ntiisa gye bali
    bw’alizikiriza bakatonda bonna ab’ensi.
Amawanga gonna ag’oku mbalama zonna galimusinza,
    buli muntu ng’asinziira mu nsi ye.

Obubaka eri Abaesiyopiya

12 (AD)Nammwe Abaesiyopiya, mulittibwa n’ekitala kyange.

Obubaka eri Obwasuli

13 (AE)Aligololera omukono gwe ku bukiikakkono
    n’azikiriza Obwasuli;
n’afuula Nineeve amatongo
    era ekikalu ng’eddungu.
14 (AF)Ente n’endiga zinaagalamiranga wakati mu kyo,
    n’ensolo zonna eza buli kika:
ekiwuugulu era ne nnamunnungu
    banaasulanga ku mpagi zaakyo.
Amaloboozi gaabyo ganaawulikikanga mu madirisa;
    kafakalimbo ajjudde mu miryango,
    n’emikiikiro egy’emivule giryelulwa.
15 (AG)Kino kye kibuga ekya kyetwala,
    ekyayogeranga mu mutima gwakyo nti,
    Nze we ndi, tewali mulala wabula nze:
nga kifuuse bifulukwa,
    ekifo ensolo ez’omu nsiko we zigalamira!
Buli muntu akiyitako aneesoozanga
    n’akinyoomoola.

Obujeemu bwa Yerusaalemi

(AH)Zikisanze ekibuga ekijooga,
    ekijeemu era ekyonoonefu!
(AI)Tekigondera ddoboozi lya Mukama,
    wadde okukkiriza okubuulirirwa;
tekyesiga Mukama;
    wadde okusemberera Katonda waakyo.
(AJ)Abakungu baakyo mpologoma eziwuluguma,
    era n’abalamuzi baakyo misege gya kiro,
    bakirimululu abatafissaawo kantu.
(AK)Bannabbi baakyo si ba buvunaanyizibwa
    era ba nkwe;
bakabona baakyo baweebuusizza ekifo ekitukuvu,
    era bamenya amateeka.
(AL)Mukama ali wakati mu kyo, mutuukirivu
    era tasobya.
Buli nkya alamula mu bwenkanya,
    era buli lukya talemwa;
    naye atali mutuukirivu taswala.

(AM)“Nsanyizzaawo amawanga,
    era ebigo byabwe bifufuggaziddwa;
nzisizza enguudo zaabwe,
    ne wataba ayitamu.
Ebibuga byabwe bizikiridde,
    ne watabaawo muntu n’omu abeeramu.
(AN)Nagamba eri ekibuga nti,
    ‘Ddala onontya,
    era onokkiriza okubuulirirwa.’
Ennyumba zaakyo tezandimaliddwawo,
    n’ebibonerezo byange byonna tebyandimutuuseeko.
Naye beesunganga nnyo
    okukola ebitasaana mu byonna bye baakolanga.
(AO)Noolwekyo munnindirire,” bw’ayogera Mukama.
    Olunaku lwe ndiyimirira ne ntegeeza byonna
kubanga mmaliridde okukuŋŋaanya amawanga,
    ndireeta obwakabaka wamu
okubayiwako obusungu bwange,
    n’ekiruyi kyange kyonna.
Omuliro ogw’obuggya bwange
    gulisaanyaawo ensi yonna.

Essuubi lya Isirayiri

(AP)“Mu biro ebyo ndirongoosa enjogera ey’amawanga;
    bonna balikoowoola erinnya lya Mukama,
    okumuweereza n’omwoyo gumu.
10 (AQ)Okuva emitala w’emigga egy’Obuwesiyopya,
    abo abansinza, abantu bange abasaasaana,
    balindeetera ssaddaaka.
11 (AR)Ku lunaku olwo toliswala
    olw’ebyo byonna by’osobezza gye ndi:
kubanga ndiggya wakati mu ggwe
    abo abeenyumiririza mu malala,
toliddayo nate kwegulumiza
    ku lusozi lwange olutukuvu.
12 (AS)Naye ndireka wakati mu ggwe
    abantu abakakkamu era abeetoowaze,
    abo abesiga erinnya lya Mukama.
13 (AT)Ekitundu kya Isirayiri ekirisigalawo tebalikola bitali bya butuukirivu
    so tebalyogera bya bulimba
    wadde okuba abakuusa.
Balirya, baligalamira,
    so tewaliba alibatiisa.”

Oluyimba olw’Essanyu

14 (AU)Yimba, ggwe omuwala wa Sayuuni;
    yogerera waggulu, ggwe Isirayiri;
sanyuka ojaguze n’omutima gwo gwonna,
    ggwe omuwala wa Yerusaalemi.
15 (AV)Mukama akuggyeeko ekibonerezo kyo,
    agobyewo omulabe wo.
Kabaka wa Isirayiri, Mukama, ali naawe;
    tokyaddayo kutya kabi konna.
16 (AW)Ku lunaku olwo Yerusaalemi kirigambibwa nti,
    “Totya, ggwe Sayuuni;
    emikono gyo gireme okuddirira.
17 (AX)Mukama Katonda ali naawe,
    ow’amaanyi alokola:
alikusanyukira,
    alikukkakkanyiza mu kwagala kwe,
    alikusanyukira n’okuyimba.”

18 “Ennaku eyabakwatanga olw’embaga ezabakuŋŋaanyanga
    ndigibaggyako;
    kubanga kibafuukidde omugugu.
19 (AY)Laba, mu biro ebyo ndibonereza
    abo bonna abaakubonyaabonya:
era ndinunula omulema,
    ne nkuŋŋaanya n’abo abaasaasaanyizibwa;
era ndibafuula ettendo ne mbawa ekitiibwa
    mu nsi zonna gye baaswazibwa.
20 (AZ)Mu biro ebyo ndibakuŋŋaanya;
    mu kiseera ekyo ndibazza eka.
Weewaawo ndibawa ekitiibwa n’ettendo
    mu mawanga gonna ag’omu nsi zonna,
bwe ndikomyawo obugagga bwammwe
    nga mulaba,”
    bw’ayogera Mukama.

Okubikkulirwa 16

Ebibya Omusanvu ebirimu Obusungu bwa Katonda

16 (A)Awo ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka okuva mu Yeekaalu nga ligamba bamalayika omusanvu nti, “Mugende muyiwe ku nsi ebibya omusanvu ebirimu ekiruyi kya Katonda.” (B)Malayika eyasooka n’ava mu Yeekaalu n’ayiwa ekibya kye ku nsi. Awo amabwa amazibu ne gajja ne gakwata buli muntu eyalina akabonero k’ekisolo na buli eyasinzanga ekifaananyi kyakyo.

(C)Malayika owookubiri n’ayiwa ekibya kye ku nnyanja, amazzi ne gafuuka ng’omusaayi gw’omuntu amaze ekiseera ekitono ng’afudde. Ebiramu byonna ebyali mu nnyanja ne bifa.

(D)Malayika owookusatu n’ayiwa ekibya kye ku migga ne ku nsulo z’amazzi, byonna ne bifuuka ng’omusaayi. (E)Ne mpulira malayika eyakola ku mazzi ng’ayogera nti,

“Oli mutuukirivu, Ayi ggwe Omutukuvu,
    aliwo era eyaliwo, kubanga bw’otyo bwe wasala omusango.
(F)Olw’okubanga baayiwa omusaayi gw’abatukuvu ne bannabbi,
    ogwo gwe musaayi gw’obawadde okunywa.”

(G)Awo ne mpulira ekyoto ng’akyogera nti,

“Weewaawo Mukama Katonda Ayinzabyonna,
    ensala yo ya bwenkanya era ya mazima.”

(H)Awo malayika owookuna n’ayiwa ekibya kye ku njuba, n’evaamu omuliro ne gwokya abantu. (I)Abantu ne bookebwa omuliro ogwagivaamu ne bavvoola erinnya lya Katonda Omuyinza w’ebibonyoobonyo ebyo, ne bateenenya okukyuka okuliwa ekitiibwa.

10 (J)Awo malayika owookutaano n’ayiwa ekibya kye ku ntebe ey’obufuzi bw’ekisolo, obwakabaka bwakyo ne bujjula ekizikiza. N’abo be kifuga nabo obulumi ne bubalumya obujiji, 11 (K)ne bavvoola Katonda ow’eggulu olw’obulumi bwe baalimu, n’amabwa agaali gabaluma, naye ne bateenenya bikolwa byabwe ebibi.

12 (L)Awo malayika ow’omukaaga n’ayiwa ekibya kye ku mugga omunene Fulaati ne gukalira, bakabaka ab’ebuvanjuba basobole okuyisaawo amaggye gaabwe. 13 (M)Ne ndaba emyoyo egitali mirongoofu esatu nga gifaanana ng’ebikere nga giva mu kamwa k’ogusota, n’ak’ekisolo, n’aka nnabbi ow’obulimba. 14 (N)Abo be baddayimooni abakozi b’ebyamagero abateesa n’abafuzi bonna ab’oku nsi okukuŋŋaana okulwana ne Katonda Ayinzabyonna ku lunaku olw’olutalo.

15 (O)“Laba, nzija ng’omubbi! Alina omukisa oyo alindirira n’akuuma ekyambalo kye nga kiyonjo, era taliyita bwereere, si kulwa ng’aswala.”

16 (P)Emyoyo egyo ne gibakuŋŋaanyiza mu kifo ekiyitibwa Magedoni mu Lwebbulaniya.

17 (Q)Awo malayika ow’omusanvu n’ayiwa ebyali mu kibya kye mu bbanga. Eddoboozi ery’omwanguka ne liva mu Yeekaalu mu ntebe y’obwakabaka nga lyogera nti, “Kiwedde.” 18 (R)Awo ne walabika okumyansa kw’eggulu n’okubwatuka ne musisi ow’entiisa atabangawo ku nsi. 19 (S)Ekibuga Babulooni ekikulu ne kyeyubuluzaamu ebitundu bisatu, n’ebibuga by’amawanga ne bigwa. Awo Babulooni ekikulu ne kijjukirwa mu maaso ga Katonda, era ne kiweebwa ekikompe ky’envinnyo eky’obukambwe bw’ekiruyi kya Katonda. 20 (T)Buli kizinga ne kidduka era tewaali lusozi na lumu olwalabikako. 21 (U)N’omuzira ogw’amaanyi ne gugwa okuva mu ggulu, buli mpeke ng’obuzito bwayo buwera nga kilo amakumi ataano malamba ne gukuba abantu. Abantu ne bakolimira Katonda olw’ekibonyoobonyo ekyo eky’okukubibwa omuzira ogw’amaanyi era omuzito bwe gutyo.

Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya (LCB)

Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.