Add parallel Print Page Options

(A)Malayika ow’olubereberye n’afuuwa ekkondeere lye, omuzira n’omuliro nga byetabudde n’omusaayi ne bisuulibwa wansi ku nsi. Ekitundu ekyokusatu eky’ensi ne kiggya omuliro, bwe kityo n’ekitundu kimu kya kusatu eky’emiti ne kiggya omuliro, n’omuddo gwonna ne guggya.

Read full chapter

(A)Gujja kufuuka nfuufu mu nsi yonna ey’e Misiri, guleete amayute ku bantu ne ku nsolo aganaatulikamu amabwa mu nsi yonna ey’e Misiri.”

10 Bwe batyo ne bayoola omunyale mu kyokero, ne bagenda bayimirira mu maaso ga Falaawo. Musa n’amansa evvu waggulu mu bbanga, ne lifuuka amayute, ne gatulikamu amabwa ku bantu ne ku nsolo. 11 (B)Abalogo ne batasobola kuyimirira mu maaso ga Musa olw’amayute;[a] kubanga amayute gaakwata abalogo n’Abamisiri bonna.

Read full chapter

Footnotes

  1. 9:11 Ebirwadde n’ebibonoobono ebyasooka byali bituuse ku bintu ebisinzibwa, kyokka ekirwadde kino kyali kituuse ku balogo, baleme kuddayo nate kutawanya Musa.

15 (A)Ekisolo ekyo ne kiweebwa okufuuwa omukka ogw’obulamu mu kifaananyi ky’ekisolo ekyo kyogere, era ekifaananyi ekyo ne kittisa abantu bangi abaagaana okukisinza. 16 (B)Awo ekisolo ne kiragira bonna, abakulu n’abato, abagagga n’abaavu, ab’eddembe n’abaddu, bateekebweko akabonero ku mukono ogwa ddyo oba mu kyenyi, 17 (C)nga tewali n’omu akkirizibwa okugula oba okutunda ekintu kyonna, nga talina kabonero ak’erinnya ly’ekisolo ekyo oba ennamba yaakyo.

Read full chapter