Add parallel Print Page Options

22 (A)Ndibabonereza ne kawumpuli n’okuyiwa omusaayi, era nditonnyesa amatondo ag’enkuba amanene nga mulimu omuzira n’omuliro ku ye, n’eggye lye ne ku mawanga amangi agaamwegattako.

Read full chapter

(A)Malayika ow’olubereberye n’afuuwa ekkondeere lye, omuzira n’omuliro nga byetabudde n’omusaayi ne bisuulibwa wansi ku nsi. Ekitundu ekyokusatu eky’ensi ne kiggya omuliro, bwe kityo n’ekitundu kimu kya kusatu eky’emiti ne kiggya omuliro, n’omuddo gwonna ne guggya.

(B)Malayika owookubiri n’afuuwa ekkondeere lye, ekintu ekinene ennyo nga kifaanana ng’olusozi olunene ennyo nga lwonna lwaka omuliro ne kisuulibwa mu nnyanja. Ekitundu ekimu ekyokusatu ekyennyanja ne kifuuka omusaayi, (C)n’ekimu ekyokusatu eky’ebitonde eby’omu nnyanja ne kifa, n’ekitundu ekimu ekyokusatu eky’amaato ne kizikirira.

10 (D)Malayika owookusatu n’afuuwa ekkondeere lye, emmunyeenye ennene eyakaayakana n’egwa okuva mu ggulu, n’egwa mu kitundu ekimu ekyokusatu eky’emigga n’ensulo z’amazzi. 11 (E)Emmunyeenye eyo yali eyitibwa “Kukaawa” n’etteeka obutwa mu kitundu ekimu ekyokusatu eky’amazzi gonna, abantu bangi ne bafa.

12 (F)Malayika owookuna n’afuuwa ekkondeere lye, ekitundu ekimu ekyokusatu eky’enjuba n’ekimu ekyokusatu eky’omwezi, n’ekimu ekyokusatu eky’emmunyeenye, ne bikubwa; era ekyavaamu, obudde obw’emisana ne buzikirako ekitundu ekimu ekyokusatu, n’ekiro ne kyeyongera okukwata ekitundu ekimu ekyokusatu, n’omusana ne gulema okwaka ekitundu ekimu ekyokusatu, n’ekizikiza ne kyeyongera bwe kityo.

Read full chapter

15 (A)Bamalayika abana abaali basibiddwa nga balindirira omwaka n’omwezi ogwo, n’olunaku olwo, n’essaawa eyo, ne basumululwa okutta ekitundu ekimu ekyokusatu eky’abantu.

Read full chapter

18 (A)Ebibonyoobonyo ebyo ebisatu: Omukka n’omuliro n’obuganga ebyava mu bumwa bwazo ne bitta ekitundu ekimu ekyokusatu eky’abantu.

Read full chapter

(A)Ku mukira gw’ogusota kwali kuwalulirwako ekitundu ekimu ekyokusatu eky’emmunyeenye zonna eziri waggulu mu ggulu, ne guzisuula wansi ku nsi. Ne guyimirira mu maaso g’omukazi oyo, anaatera okuzaala nga gulindirira okulya omwana we nga yaakazaalibwa.

Read full chapter

(A)Zaagambibwa obutakola ku muddo kabi konna, newaakubadde ebimera, wadde emiti; wabula zirumbe abantu abo abataalina kabonero ka Katonda mu byenyi byabwe.

Read full chapter