Old/New Testament
9 (A)Ekigambo kya Katonda kyolekedde ensi ya Kadulaki
era kirituuka e Ddamasiko.
Kubanga abantu bonna n’ebika byonna ebya Isirayiri
batunuulidde Mukama,
2 (B)era ne Kamasi ekiriraanyeewo nakyo bwe kityo,
ne Ttuulo ne Sidoni wadde nga birina amagezi mangi.
3 (C)Ttuulo kyezimbira ekigo
ne kituuma ffeeza n’eba ng’enfuufu,
ne zaabu n’eba nnyingi ng’ettaka ery’omu kkubo.
4 (D)Laba, Mukama alikyambulako ebintu byakyo,
alizikiriza amaanyi gaakyo ag’oku nnyanja,
era kiryokebwa omuliro.
5 Asukulooni bino kiribiraba ne kitya;
ne Gaza bwe kityo kiribeera mu kulumwa okw’amaanyi.
Era n’essuubi lya Ekuloni liriggwaawo;
Gaza aliggyibwako kabaka we,
ne Asukulooni tekiribaamu bantu.
6 Abagwira balitwala Asudodi,
era n’amalala g’Abafirisuuti ndigamalawo.
7 Era ndiggya omusaayi mu kamwa ke
n’emmere ey’omuzizo okuva wakati mu mannyo ge.
N’abo bonna abalisigalawo mu kyo baliba bantu ba Katonda waffe,
balifuuka bakulembeze mu Yuda,
ne Ekuloni kiriba nga Abayebusi.
8 (E)Naye ndirwanirira ennyumba yange
eri eggye eddumbaganyi,
so tewaliba mulumbaganyi aliddayo kujooga bantu bange
kubanga kaakano mbalabirira.
9 (F)Sanyuka nnyo ggwe omuwala wa Sayuuni:
leekaana nnyo, ggwe omuwala wa Yerusaalemi;
laba, kabaka wo ajja gy’oli;
mutuukirivu era muwanguzi;
muwombeefu era yeebagadde endogoyi,
endogoyi ento, omwana gw’endogoyi.
10 (G)Efulayimu ndimuggyako amagaali,
ne Yerusaalemi muggyeko embalaasi ennwanyi,
n’omutego gw’obusaale gulimenyebwa
era alireeta emirembe mu mawanga,
n’obufuzi bwe buliva ku nnyanja emu butuuke ku nnyanja endala
era buve ku mugga Fulaati butuuke ku nkomerero z’ensi.
11 (H)Naawe ggwe, olw’omusaayi gw’endagaano gye nakola naawe,
ndisumulula abasibe bo okuva mu bunnya obutaliimu mazzi.
12 (I)Mudde mu nkambi yammwe mmwe abasibe abalina essuubi;
nangirira leero nti ndibadizaawo emirundi ebiri.
13 (J)Yuda ndigiweta ng’omutego ogw’obusaale
ngujjuze Efulayimu.
Ndiyimusa batabani ba Sayuuni,
balwane n’abaana bo, ggwe Buyonaani,
mbakozese ng’ekitala eky’omutabaazi.
14 (K)Era Mukama alirabika ng’ali waggulu waabwe,
akasaale ke kamyanse ng’okumyansa kw’eggulu.
Mukama Katonda alifuuwa ekkondeere,
n’akumbira mu muyaga ogw’omu bukiikaddyo.
15 (L)Mukama ow’Eggye alibakuuma.
Balirinnyirira ne bawangula envuumuulo,
balinywa ne baleekaana ng’abatamiivu.
Balijjula ng’ekibya ekikozesebwa okumansira ku nsonda z’ekyoto.
16 (M)Ku lunaku olwo Mukama Katonda alirokola abantu be
ng’omusumba bw’alokola ekisibo ky’endiga ze.
Balitangalijja mu nsi ye,
ng’amayinja ag’omuwendo bwe gatemagana mu ngule.
17 Nga baliba balungi era abatuukirivu!
Emmere ey’empeke erireetera abavubuka abalenzi obulamu obweyagaza,
n’abawala nabo beeyagale olwa wayini omuggya.
Mukama Alirabirira Yuda
10 Musabe Mukama enkuba mu biseera byayo;
kubanga Mukama y’akola ebire
enkuba n’etonnya,
olwo buli muntu n’afuna ebirime.
2 (N)Kubanga bakatonda abalala
n’abalaguzi balaba okwolesebwa okw’obulimba;
ne baloota ebirooto eby’obulimba,
ne bagumya abantu eby’obulimba.
Abantu kyebava bazuŋŋana ng’endiga,
nga banyigirizibwa olw’obutaba na musumba.
3 (O)“Obusungu bwange bubuubuukidde ku basumba
era nzija kubonereza abakulembeze ba Yuda,
kubanga Mukama ow’Eggye ajja
kulabirira endiga ze, ennyumba ya Yuda,
era alibafuula ng’embalaasi ye emwenyumiririzaamu ennyo mu lutalo.
4 (P)Mu Yuda mulivaamu ejjinja ery’oku nsonda,
muveemu n’enkondo enyweza weema,
muveemu n’omutego ogw’akasaale
era muveemu na buli mufuzi yenna.
5 (Q)Bonna awamu balyoke babe ng’abasajja abazira ennyo mu lutalo
abatambulira mu bitoomi by’omu nguudo mu biseera eby’entalo.
Kubanga Mukama ali nabo,
balirwana ne bawangula eggye eryebagadde embalaasi.
6 (R)“Ndiwa ennyumba ya Yuda amaanyi
era ndiwonya ennyumba ya Yusufu,
ndibakomyawo
kubanga mbakwatiddwa ekisa.
Balibeera
nga be sseegaanangako
era ndibawulira
kubanga nze Mukama Katonda waabwe.
7 (S)Olwo aba Efulayimu baliba ng’abasajja ab’amaanyi,
emitima gyabwe ne gisanyuka nnyo ng’abanywedde wayini.
Abaana baabwe balikiraba ne basanyuka,
omutima gwabwe gulisanyukira mu Mukama.
8 (T)Ddala ndibawonya
ne mbakuŋŋaanya.
Ddala ndibanunula,
baddeyo babeere bangi nga bwe baabanga.
9 (U)Newaakubadde nga nabasaasaanyiza mu mawanga,
naye balisinzira eyo mu nsi ezeewala ne banzijukira.
Bo n’abaana baabwe baliba balamu
era ne bakomawo gye ndi.
10 (V)Ndibakomyawo okuva mu Misiri,
mbakuŋŋaanye okuva mu Bwasuli.
Ndibaleeta mu Gireyaadi ne Lebanooni
ne bajjula ensi ezo ne watasigalawo kabanga ka kubeeramu.
11 (W)Baliyita mu nnyanja ey’okubonaabona;
ennyanja ewuluguma erikkakkanyizibwa,
n’obuziba bwa Kiyira bwonna bulikala.
Amalala ga Bwasuli galibaggwaamu
n’omugo ogw’obufuzi bwa Misiri gulimenyebwa.
12 (X)Ndibafuula ba maanyi mu Mukama
era nabo balitambulira mu linnya lyange,”
bw’ayogera Mukama.
11 (Y)Ggulawo enzigi zo ggwe Lebanooni,
omuliro gwokye emivule gyo.
2 (Z)Kaaba ggwe omuberosi, kubanga emivule gigudde!
Emiti emirungi ennyo gyonoonese.
Mukube ebiwoobe mmwe emyera gya Basani,
kubanga ekibira ekikwafu kigudde.
3 (AA)Wuliriza ebiwoobe by’abasumba,
amalundiro gaabwe amalungi gazikirizibbwa.
Wuliriza okuwuluguma kw’empologoma.
Omuddo omulungi oguli ku Yoludaani guzikirizibbwa.
Abasumba Ababiri
4 Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wange nti, “Lunda endiga zigejje ezinaatwalibwa okuttibwa. 5 (AB)Abo abazigula bazitta ne batabaako musango. N’abo abazitunda ne bagamba nti, ‘Mukama atenderezebwe ngaggawadde!’ Abasumba baazo bennyini tebazikwatirwa kisa. 6 (AC)Kubanga sikyaddayo kukwatirwa bantu ba nsi eno kisa,” bw’ayogera Mukama. “Ndiwaayo buli muntu okugwa mu mikono gya muliraanwa we, ne mu mikono gya kabaka we. Nabo balijooga ensi era sirigiwonya kuva mu mikono gwabwe.”
7 Awo ne nunda ekisibo ekyateekebwateekebwa okuttibwa, okusingira ddala ezaali zijoogebwa. Ne ntwala emiggo gy’abasumba ebiri, ogumu ne ngutuuma erinnya Kisa, omulala ne ngutuuma Kwegatta era ne ndiisa endiga. 8 Mu mwezi gumu ne neegobako abasumba basatu, emmeeme yange ng’ebakyaye era nabo nga bankyaye. 9 (AD)Awo ne ndyoka ŋŋamba nti, “Siibeere musumba wammwe, ekinaafa leka kife, ekyokwonooneka kyonooneke, era leka ebyo ebisigaddewo biryaŋŋane, buli kimu kirye kinnaakyo.”
10 (AE)Ne ndyoka nkwata omuggo gwange Kisa ne ngumenya, ne mmenya endagaano gye nnali nkoze n’abantu bonna. 11 Endagaano n’agikomya ku lunaku olwo era abasuubuzi b’endiga abaali bandaba ne bamanya nti ekyo kyali kigambo kya Katonda.
12 (AF)Ne ndyoka mbagamba nti, “Bwe kiba nga kisaanidde mu maaso gammwe mumpe empeera yange; naye obanga temusiimye mulekeeyo.” Awo ne bambalira ensimbi eza ffeeza amakumi asatu.
13 (AG)Awo Mukama n’aŋŋamba nti, “Zisuulire omubumbi,” omuwendo guno ogw’ekitalo gwe bansasula! Kale ne ntwala ensimbi amakumi asatu eza ffeeza ne nzisuulira omubumbi mu nnyumba ya Mukama.
14 Awo ne mmenya omuggo gwange ogwokubiri Kwegatta, okulaga nti obumu obwali wakati wa Yuda ne Isirayiri bwali bukomye. 15 Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Twala nate ebintu eby’omusumba omusirusiru bye yandikozesezza. 16 Kubanga laba, nze nyimusizza omusumba mu nsi atafaayo ku ndiga ezizikirira era atanoonya zisaasaanye, era atayunga zimenyese wadde okuliisa ennamu, naye alya ensolo ensava ng’aziyuzaako ebinuulo.
17 (AH)“ ‘Zimusanze omusumba wange ataliiko ky’agasa
agayaalirira ekisibo!
Ekitala kifumite omukono gwe ogwa ddyo, kiggyemu n’eriiso lye erya ddyo!
Omukono gwe gukalire ddala,
n’eriiso lye erya ddyo lizibire ddala!’ ”
Okununulibwa kwa Yerusaalemi Okujja
12 (AI)Kino ky’ekigambo kya Katonda ekikwata ku Isirayiri. Bw’ati bw’ayogera Mukama eyabamba eggulu era n’assaawo emisingi gy’ensi, era n’akola n’omwoyo gw’omuntu ogumulimu. 2 (AJ)“Laba ŋŋenda okufuula Yerusaalemi ekikompe ekitagaza amawanga gonna ageetoolodde enjuuyi zonna. Yuda awamu ne Yerusaalemi birizingizibwa. 3 (AK)Awo ku lunaku olwo ndifuula Yerusaalemi ejjinja erizitowa eri amawanga gonna, ag’ensi agalikuŋŋaana okukizingiza. Abo bonna abaligezaako okuliggyawo, balyetusaako ebisago. 4 (AL)Ku lunaku olwo, bw’ayogera Mukama, ndikuba buli mbalaasi na buli muvuzi waayo ndimusuula eddalu. Ndikuuma ennyumba ya Yuda kyokka amaaso g’embalaasi za bannaggwanga ndigaziba. 5 Awo abakulembeze ba Yuda baligamba mu mitima gyabwe nti, ‘Abantu b’omu Yerusaalemi ba maanyi, kubanga Mukama Katonda ow’Eggye ye Katonda waabwe.’
6 (AM)“Ku lunaku olwo ndifuula abakulembeze ya Yuda ng’ogusigiri ogwaka ogwetooloddwa enku, ng’olumuli olw’omuliro mu makkati g’ebinywa. Balimalawo amawanga gonna ag’oku njuyi zonna, olw’oku kkono n’olw’oku ddyo; naye Yerusaalemi kirisigalawo, n’abantu baakyo mu kifo kyakyo awatali kunyeenyezebwa.
7 (AN)“Mukama alisooka kununula weema za Yuda, ekitiibwa ky’ennyumba ya Dawudi, n’ekitiibwa ky’abatuuze b’omu Yerusaalemi kireme kusukka ku kya Yuda. 8 (AO)Ku lunaku olwo Mukama aliteeka obukuumi ku batuuze b’omu Yerusaalemi; abo abasembayo obunafu ku lunaku olwo babeere nga Dawudi, era ennyumba ya Dawudi ebeere ng’ennyumba ya Katonda, nga malayika wa Mukama abakulembeddemu. 9 (AP)Ku lunaku olwo ndizikiriza amawanga gonna agalumba Yerusaalemi.
10 (AQ)“Era ndifuka ku nnyumba ya Dawudi era ku batuuze ba Yerusaalemi Omwoyo ow’ekisa n’okwegayirira. Balintunuulira nze gwe baafumita: era balimukungubagira ng’omuntu bw’akungubagira omwana we omu yekka, era balimulumirwa nnyo omwoyo ng’omuntu bw’alumirwa mutabani we omubereberye. 11 (AR)Ku lunaku olwo okukuba ebiwoobe kuliyitirira mu Yerusaalemi okwenkana ng’okwa Kadadulimmoni mu kiwonvu Megiddoni. 12 (AS)Ensi erikungubaga, buli kika kyokka; ekika eky’ennyumba ya Dawudi ne bakazi baabwe kyokka, n’ekika ky’ennyumba ya Nasani ne bakazi baabwe bokka; 13 Ekika eky’ennyumba ya Leevi ne bakazi baabwe, n’ekika kya Simeeyi ne bakazi baabwe; 14 n’ebika byonna ebirala ebisigaddeyo ne bakazi baabwe.
Emyaka Olukumi
20 (A)Awo ne ndaba malayika ng’akka okuva mu ggulu ng’alina ekisumuluzo eky’obunnya obutakoma era ng’alina olujegere oluzito mu mukono gwe. 2 (B)N’akwata ogusota guli ogw’edda, ye Setaani, n’agusiba mu lujegere gumale emyaka lukumi, 3 (C)n’agusuula mu bunnya obutakoma era n’agusibiramu n’ateekako n’envumbo guleme kulimbalimba mawanga nate okutuusa ng’emyaka olukumi giweddeko. Bwe giriggwaako, Setaani ng’asumululwa okumala akaseera katono.
4 (D)Awo ne ndaba entebe ez’obwakabaka nga zituuliddwako abaaweebwa obuyinza okusala emisango. Ne ndaba emyoyo gy’abo abaatemebwako emitwe olw’okunywerera ku Yesu ne ku kigambo kya Katonda, era abataasinza kisolo ekikambwe wadde ekifaananyi kyakyo era abatakkiriza kabonero kaakyo mu byenyi byabwe oba ku mikono gyabwe. Abantu abo ne balamuka era ne bafugira wamu ne Kristo okumala emyaka lukumi. 5 (E)Naye abafu abalala tebaazuukira okutuusa ng’emyaka olukumi giweddeko. Kuno kwe kuzuukira okusooka. 6 (F)Balina omukisa era batukuvu abalizuukirira mu kuzuukira okusooka. Kubanga okufa okwokubiri tekuliba na maanyi ku bo, balibeera bakabona ba Katonda ne Kristo era balifugira wamu ne Kristo okumala emyaka egyo olukumi.
Setaani Azikirizibwa
7 (G)Awo emyaka olukumi bwe giriggwaako, Setaani aliteebwa okuva mu kkomera lye. 8 (H)Alifuluma okulimbalimba Googi ne Magoogi, ge mawanga ag’omu nsonda ennya ez’ensi, era alikuŋŋaanya abantu ne baba eggye ery’okulwana eritasoboka na kubalika nga liri ng’omusenyu ogw’oku lubalama lw’ennyanja. 9 (I)Ne bambuka basale olusenyi olunene olw’ensi balyoke bazingize abatukuvu okuva ku buli luuyi lw’ekibuga ekyagalwa. Kyokka omuliro ne guva mu ggulu ne gubookya era ne gubamalawo. 10 (J)Awo Setaani eyabalimbalimba n’asuulibwa mu nnyanja ey’omuliro eyaka ne salufa, omuli ekisolo ne nnabbi ow’obulimba era banaabonyaabonyezebwanga emisana n’ekiro emirembe n’emirembe.
Abafu Balamulwa
11 (K)Awo ne ndaba entebe ey’obwakabaka enjeru n’Oyo eyali agituddeko. Ensi n’ebbanga ne bidduka okuva mu maaso ge, naye nga tewali we biyinza kwekweka. 12 (L)Ne ndaba abafu abeekitiibwa n’abatali baakitiibwa nga bayimiridde mu maaso g’entebe ey’obwakabaka. Ebitabo ne bibikkulwa, n’ekitabo ekirala ky’ekitabo eky’obulamu ne kibikkulwa. Abafu ne basalirwa omusango okusinziira ku ebyo ebyali biwandiikiddwa mu bitabo ebyo, buli omu ng’ebikolwa bye bwe byali. 13 (M)Ennyanja zonna ne ziwaayo abafu abaali mu zo, n’okufa n’Amagombe nabyo ne biwaayo abafu abaabirimu. Buli omu n’asalirwa omusango, ng’ebikolwa bye bwe byali. 14 (N)Okufa n’Amagombe ne bisuulibwa mu nnyanja ey’omuliro, kuno kwe kufa okwokubiri. 15 (O)Era buli eyasangibwa ng’erinnya lye teriwandiikiddwa mu kitabo eky’obulamu, n’asuulibwa mu nnyanja ey’omuliro.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.