Okubikkulirwa 19:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Ekisolo ne kiwambibwa awamu ne nnabbi ow’obulimba eyakolanga ebyamagero ng’ekisolo kiraba; bye yakola ng’alimbalimba abo abakkiriza akabonero k’ekisolo era abasinza ekifaananyi kyakyo. Awo ekisolo ne nnabbi ow’obulimba ne basuulibwa nga balamu, mu nnyanja ey’omuliro eyaka ne salufa.
Read full chapter
Okubikkulirwa 14:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)oyo alinywa ku nvinnyo y’obusungu bwa Katonda, nga muka mu kikompe eky’obusungu bwe. Era alibonyaabonyezebwa n’omuliro ne salufa ebyaka mu maaso ga bamalayika abatukuvu ne mu maaso g’Omwana gw’Endiga.
Read full chapter
Okubikkulirwa 14:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Omukka gw’okubonaabona kwabwe gunyooka emirembe n’emirembe, so tebaliiko we bawummulira emisana n’ekiro abo abaasinza ekisolo n’ekifaananyi kyakyo, ne bakkiriza n’okuteekebwako akabonero ak’erinnya lyakyo.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.