Old/New Testament
6 (A)Muwulire Mukama by’ayogera ng’agamba nti,
“Muyimuke leero tuwoze ensonga zammwe mu maaso g’ensozi,
n’obusozi buwulire bye mugamba.
2 (B)“Kaakano mmwe ensozi muwulire Mukama ky’abavunaana;
nammwe emisingi gy’ensi egy’olubeerera muwulire.
Mukama alina ensonga ku bantu be
era agenda kuwawabira Isirayiri.
3 (C)“Mmwe abantu bange kiki kye nnali mbakoze?
Nnali mbazitooweredde? Munziremu.
4 (D)Nabaggya mu nsi ye Misiri
ne mbanunula mu nsi ey’obuddu,
ne mbawa Musa,
ne Alooni ne Miryamu okubakulembera.
5 (E)Mmwe abantu bange mujjukire
ekigendererwa kya Balaki kabaka wa Mowaabu
n’ebigambo, Balamu omwana wa Byoli bye yayogera.
Mujjukire bye nabakolera okuva e Sittimu okutuuka e Girugaali
mulyoke mumanye ebikolwa bya Mukama eby’obutuukirivu.”
6 (F)Mwebuuza nti kiki kye nnaaleeta mu maaso ga Mukama
nvuuname mu maaso ga Katonda agulumizibwa?
Mmusemberere n’ebiweebwayo ebyokebwa,
n’ennyana ezaakamala omwaka ogumu?
7 (G)Mukama alisiima endiga eza sseddume olukumi,
oba emitwalo gy’emigga gy’amafuta?
Mpeeyo omwana wange omubereberye olw’ebibi byange,
nga mpaayo ekibala ky’omubiri gwange olw’ekibi eky’emmeeme yange?
8 (H)Mukama akulaze, ggwe omuntu, ekirungi ky’oteekwa okukola.
Kaakano, Mukama kiki ky’akwetaaza,
okuggyako okukola eby’ensonga, okuba n’ekisa
era n’okutambulira mu buwombeefu ne Katonda wo.
9 Wuliriza, Mukama akoowoola ekibuga mu ddoboozi ery’omwanguka.
“Kya magezi ddala okutya erinnya lye,
n’okussaayo omwoyo eri okukangavvula n’eri oyo akangavvula.
10 (I)Nnyinza okwerabira eby’obugagga bye mwefunira,
mmwe ennyumba erina obutali butuukirivu,
erina n’ekigera ekitatuuka eky’omuzizo?
11 (J)Nnyinza okusonyiwa omuntu alina ebigera ebitatuuse,
alina ensawo ez’ebipimo eby’obulimba?
12 (K)Abagagga baakyo bakambwe
n’abatuuze baamu balimba
n’ennimi zaabwe tezoogera mazima.
13 (L)Nange kyenvudde ntandika okukuzikiriza,
nkumalewo olw’ebibi byo.
14 (M)Onoolyanga, naye n’otokutta,
era olubuto lwo lulisigala lutokota nga lukubanja.
Oligezaako okukuŋŋaanya, weeterekere, naye tolibaako na kimu ky’otereka
kubanga byonna ndibiwaayo eri ekitala.
15 (N)Olisiga naye tolikungula,
oligezaako okusogola emizeeyituuni weggyiremu amafuta naye tolifuna mafuta gamala kusaabako,
olisogola emizabbibu naye toliggyamu kyakunywa.
16 (O)Olw’okuba ng’okolera ku biragiro bya Omuli
n’ogoberera n’ebikolwa byonna eby’ennyumba ya Akabu
n’ogoberera n’emizizo gyabwe,
kyendiva nkufuula ekifulukwa,
n’abantu bo bonna babeere eky’okuduulirwa
era olibaako ekivume ky’amawanga.”
7 Ddala zinsanze nze.
Ndi ng’omuntu akungula ebibala
okuva mu bifo eby’enjawulo eby’ennimiro y’emizabbibu;
tewali kirimba kya mizabbibu kulyako,
wadde emizeeyituuni egisooka okwengera gye njagala ennyo.
2 (P)Abantu abatya Katonda, baweddewo mu nsi;
tewali n’omu mulongoofu asigaddewo.
Bonna banoonya okuyiwa omusaayi,
buli omu anoonya okutega muganda we ekitimba.
3 (Q)Emikono gyabwe gyombi mikugu mu kukola ebibi;
omufuzi asaba ebirabo,
n’omulamuzi alya enguzi,
n’ab’amaanyi mu nsi, beekolera kye baagala
nga basala enkwe.
4 (R)Mu abo bonna asingamu obulungi, afaanana ng’omweramannyo;
asingamu ku mazima y’asinga olukomera lw’amaggwa obubi.
Naye olunaku lw’abakuumi bammwe lutuuse,
era kino kye kiseera eky’okutabukatabuka.
5 (S)Tewesiga muntu n’omu,
wadde mukwano gwo,
newaakubadde mukazi wo,
Weegendereze by’oyogera.
6 (T)Kubanga omulenzi agaya kitaawe,
n’omwana alwanyisa nnyina,
muka mwana n’alwanyisa nnyazaala we.
Abalabe b’omuntu, bantu be, ab’omu nju ye bennyini.
7 (U)Naye nze nnindirira Mukama nga nnina essuubi,
nnindirira Katonda Omulokozi wange;
Katonda wange anampulira.
8 (V)Tonjeeyereza ggwe omulabe wange,
kubanga wadde ngudde, nnaayimuka.
Ne bwe naatuula mu kizikiza,
Mukama anaabeera ekitangaala kyange.
9 (W)Nnaagumikirizanga Mukama bw’anaabanga ambonereza,
kubanga nnyonoonye mu maaso ge,
okutuusa lw’alimpolereza,
n’anziza buggya.
Alindeeta mu kitangaala,
era ndiraba obutuukirivu bwe.
10 (X)Olwo omulabe wange alikiraba,
n’aswala,
oyo eyanjeeyerezanga ng’agamba nti,
“Ali ludda wa Mukama Katonda wo?”
Ndisanyuka ng’agudde,
era alirinnyirirwa ng’ebitoomi eby’omu nguudo.
11 (Y)Olunaku olw’okuzimba bbugwe wo lulituuka,
olunaku olw’okugaziya ensalo yo.
12 (Z)Mu biro ebyo abantu balijja gy’oli
nga bava mu Bwasuli ne mu bibuga by’e Misiri,
n’okuva e Misiri okutuuka ku mugga Fulaati,
n’okuva ku nnyanja emu okutuuka ku nnyanja endala,
n’okuva ku lusozi olumu okutuuka ku lusozi olulala.
13 (AA)Ensi erifuuka matongo,
olw’ebikolwa by’abantu abagibeeramu.
Okusaba N’okutendereza
14 (AB)Lunda abantu bo n’omuggo gwo,
ekisibo kye weeroboza,
ababeera bokka mu kibira
mu malundiro amagimu.
Baleke baliire mu Basani ne Gireyaadi, nga mu biseera eby’edda.
15 (AC)Nga bwe kyali mu nnaku ze mwaviiramu mu Misiri,
nzija kubalaga ebikulu eby’ekitalo.
16 (AD)Amawanga galikiraba ne gakwatibwa ensonyi,
ne gamalibwamu amaanyi.
Abantu baago balikwata ku mimwa gyabwe
n’amatu gaabwe ne gaziba.
17 (AE)Balirya enfuufu ng’omusota,
ng’ebisolo ebyewalula.
Balifuluma obunnya bwabwe nga bakankana
ne bakyuka okudda eri Mukama Katonda waffe, ne babatya.
18 (AF)Katonda ki omulala ali nga ggwe,
asonyiwa ekibi era n’asonyiwa ebyonoono byabo
abaasigalawo ku bantu be?
Obusungu bwe tebubeerera emirembe gyonna,
naye asanyukira okusaasira.
19 (AG)Alikyuka n’atukwatirwa ekisa nate; alirinnyirira ebibi byaffe,
n’asuula ebyonoono byaffe byonna mu buziba bw’ennyanja.
20 (AH)Olikola eby’amazima bye wasuubiza Yakobo,
n’ebyekisa bye wasuubiza Ibulayimu,
nga bwe weeyama eri bajjajjaffe
okuva mu nnaku ez’edda.
Ekisolo Ekyava mu Nnyanja
13 Awo ne ndaba ekisolo ekikambwe nga kiva mu nnyanja, nga kirina emitwe musanvu n’amayembe kkumi era nga kirina engule kkumi ku mayembe gaakyo, era ku buli mutwe nga kuwandiikiddwako amannya agavvoola Katonda. 2 (A)Ekisolo ekyo kye nalaba kyali kifaanana ng’engo naye ng’ebigere byakyo biri ng’eby’eddubu, kyokka ng’akamwa kaakyo kali ng’ak’empologoma. Ogusota ne guwa ekisolo ekyo amaanyi gaagwo awamu n’entebe yaakyo ey’obufuzi era n’obuyinza bungi. 3 (B)Awo ogumu ku mitwe gyagwo gwali gufumitiddwa nga gufunye ekiwundu ekyali kigenda okugutta, naye ekiwundu ekyali kigenda okugutta ne kiwona. Ensi yonna ne yeewuunya era abantu ne bagoberera ekisolo ekyo. 4 (C)Ne basinza ogusota olw’okuwa ekisolo ekikambwe obuyinza obwenkaniddaawo, era n’ekisolo ne bakisinza, nga bagamba nti, “Ani akisinga amaanyi era ani ayinza okulwana nakyo?”
5 (D)Awo ekisolo ne kikkirizibwa okwogera ebintu eby’okwegulumiza n’eby’obuvvoozi era ne kiweebwa n’obuyinza okumala emyezi amakumi ana mu ebiri. 6 (E)Ekisolo ne kitandika okuvvoola Katonda n’obutayogera birungi ku linnya lye, ne ku kifo kye mw’abeera, ne kivuma n’abo ababeera mu ggulu. 7 (F)Ne kiweebwa obuyinza okulwanyisa abatukuvu n’okubawangula era n’okufuga buli kika, na buli ggwanga, na buli lulimi, na buli nsi. 8 (G)Era abantu bonna abaaliwo okuva ku kutondebwa kw’ensi, abatawandiikiddwa mu kitabo eky’Obulamu eky’Omwana gw’Endiga eyattibwa balisinza ekisolo ekyo.
9 (H)Alina amatu awulire.
10 (I)Buli ow’okutwalibwa mu busibe
wa kusiba.
Era buli ow’okuttibwa n’ekitala,
wa kuttibwa na kitala.
Kubanga awo okugumiikiriza n’okukkiriza kw’abatukuvu we kutegeererwa.
Ekisolo Ekyava mu Ttaka
11 Awo ne ndyoka ndaba ekisolo ekikambwe ekirala nga kiva mu ttaka, nga kirina amayembe abiri agali ng’ag’akaliga akato naye ng’eddoboozi lyakyo liri ng’ery’ogusota. 12 (J)Ekisolo ekyo ne kikozesa obuyinza obwa kiri ekyasooka ekyalina ekiwundu ekyawonyezebwa era ekyasinzibwa ensi yonna. 13 (K)Ne kikola ebyamagero ebyewuunyisa, gamba ng’okuwandula ennimi ez’omuliro ku nsi nga ziva mu bbanga nga buli omu alaba. 14 (L)Olw’okuweebwa obuyinza okukola ebyamagero ebyo mu linnya ly’ekisolo kiri ekyasooka, abantu bangi baalimbibwalimbibwa. Ekisolo ekyo ne kiragira abantu ab’oku nsi okukola ekifaananyi eky’ekisolo kiri ekyasooka ekyalina ekiwundu eky’ekitala ekyawona. 15 (M)Ekisolo ekyo ne kiweebwa okufuuwa omukka ogw’obulamu mu kifaananyi ky’ekisolo ekyo kyogere, era ekifaananyi ekyo ne kittisa abantu bangi abaagaana okukisinza. 16 (N)Awo ekisolo ne kiragira bonna, abakulu n’abato, abagagga n’abaavu, ab’eddembe n’abaddu, bateekebweko akabonero ku mukono ogwa ddyo oba mu kyenyi, 17 (O)nga tewali n’omu akkirizibwa okugula oba okutunda ekintu kyonna, nga talina kabonero ak’erinnya ly’ekisolo ekyo oba ennamba yaakyo.
18 (P)Ekyo kyetaaga amagezi: abo abasobola okutegeera amakulu g’omuwendo guno babale ennamba eri ku kisolo kubanga gwe muwendo gw’omuntu. Omuwendo ogwo guli lukaaga mu nkaaga mu mukaaga.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.