Add parallel Print Page Options

25 (A)Naye Omuli n’akola ebyali ebibi mu maaso ga Mukama, era n’ayonoona nnyo okusinga n’abo abaamusooka.

Read full chapter

Akabu alya Obwakabaka bwa Isirayiri

29 Mu mwaka ogw’amakumi asatu mu omunaana ogw’obufuzi bwa Asa Kabaka wa Yuda, Akabu mutabani wa Omuli n’alya obwakabaka bwa Isirayiri, n’afugira Isirayiri mu Samaliya emyaka amakumi abiri mu ebiri. 30 (A)Akabu mutabani wa Omuli n’akola ebibi mu maaso ga Mukama okusinga bonna abaamusooka. 31 (B)Teyakoma ku kukola bibi bya Yerobowaamu mutabani wa Nebati, naye era n’awasa ne Yezeberi muwala wa Esubaali kabaka w’Abasidoni, era n’atandika okuweereza n’okusinza Baali. 32 (C)Yazimbira Baali ekyoto mu ssabo lya Baali lye yazimba mu Samaliya. 33 (D)Akabu n’akola n’empagi ya Baaseri, ne yeeyongera nnyo okusunguwaza Mukama Katonda wa Isirayiri, okusinga bakabaka abalala bonna aba Isirayiri abaamusooka.

Read full chapter

24 (A)Naye tebampulira wadde okunzisaako omwoyo, wabula bagoberera okuteesa kw’emitima gyabwe egijjudde ebibi. Badda emabega so tebaalaga mu maaso.

Read full chapter

(A)nzija kukoowoola abantu bonna ab’omu bukiikakkono n’omuddu wange Nebukadduneeza, balumbe ensi eno n’abantu baamu era n’ensi zonna ezibeetoolodde. Nzija kuzizikiririza ddala nzifuule ekintu eky’entiisa era eky’okusekererwa, era zoonoonekere ddala.

Read full chapter

51 (A)“Tuweddemu amaanyi
    kubanga tuvumiddwa
    era tukwatiddwa ensonyi,
kubanga abagwira bayingidde
    mu bifo ebitukuvu eby’ennyumba ya Mukama.”

Read full chapter